申命記 5 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

申命記 5:1-33

十誡

1摩西把所有的以色列人召來,對他們說:「以色列人啊,要留心聽我今天對你們宣講的律例和典章,要學習並謹慎遵行。 2我們的上帝耶和華曾在何烈山與我們立約, 3這約不是與我們祖先立的,乃是與我們今天還活著的人立的。 4耶和華在山上的烈火中面對面跟你們說話。 5那時,因為你們害怕那烈火,沒有到山上去,我就站在耶和華和你們中間,把耶和華的話傳給你們。耶和華說,

6「『我是你的上帝耶和華,曾把你領出埃及,使你不再受奴役。

7「『除我以外,你不可有別的神。

8「『不可為自己雕刻神像,不可仿照任何飛禽走獸或水族的樣子造神像, 9不可跪拜它們,也不可供奉它們,因為我——你的上帝耶和華痛恨不貞,我必追討背棄我之人的罪,從父到子直到三四代。 10但那些愛我、遵守我誡命的人,我必以慈愛待他們,直到千代。

11「『不可妄用你上帝耶和華的名,違者必被耶和華定罪。

12「『要遵照你的上帝耶和華的吩咐守安息日為聖日。 13你一週可工作六天, 14但第七天是你的上帝耶和華的安息日,你和兒女、僕婢、牛驢等牲畜以及你那裡的外族人在這一天不可做任何工,好讓僕婢和你一樣得到休息。 15要記住,你曾在埃及做奴隸,你的上帝耶和華伸出臂膀,用大能的手把你從那裡領出來。因此,你的上帝耶和華吩咐你守安息日。

16「『要遵照你的上帝耶和華的吩咐孝敬父母,以便在你的上帝耶和華要賜給你的土地上享長壽,蒙祝福。

17「『不可殺人。

18「『不可通姦。

19「『不可偷盜。

20「『不可作偽證陷害人。

21「『不可貪戀別人的妻子,不可貪圖別人的房屋、田地、僕婢、牛驢或其他任何物品。』

22「這是耶和華在山上的烈火、烏雲和幽暗中高聲頒佈給你們全體會眾的誡命。此外,祂沒有說別的。祂把這些話寫在兩塊石版上交給我。 23當時,山上燃燒著烈焰,你們聽見聲音從黑暗中傳來。你們各支派的首領和長老都到我跟前, 24說,『看啊,我們的上帝耶和華向我們彰顯了祂的榮耀和威嚴,我們聽見了祂從火中發出的聲音。今天我們已經看見,人聽見上帝說話後還能活著。 25但我們何必冒死,被這烈火吞噬呢?我們若再次聽到我們的上帝耶和華的聲音,必然喪命。 26世上有誰像我們一樣聽見永活上帝從火中說話後還能活著呢? 27你去聽聽我們上帝耶和華所說的話,然後回來告訴我們,我們必聽從、遵行。』

28「耶和華聽見了你們的話,就對我說,『我聽見了眾人對你說的話,他們所說的都對。 29但願他們常常敬畏我,遵從我的一切誡命,以便他們和他們的子孫世世代代可以蒙福。 30你吩咐他們回到自己的帳篷, 31然後你再回到我這裡來,我要把所有的誡命、律例和典章都賜給你,你要把這些傳授給眾人,使他們可以在我要賜給他們的土地上遵行。』 32所以,你們要謹遵你們上帝耶和華的吩咐,不可偏離左右。 33這樣,你們便得享長壽,並且可以在你們將要佔領的土地上興盛。

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 5:1-33

Amateeka Ekkumi

1Awo Musa n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna, n’abagamba nti, Wulira, Ayi Isirayiri, amateeka n’ebiragiro bye nkutegeeza ng’owulira ku lunaku lwa leero.

Mubiyige era mubigobererenga n’obwegendereza. 25:2 Kuv 19:5Mukama Katonda waffe yakola naffe endagaano nga tuli e Kolebu. 35:3 Beb 8:9Endagaano eyo Mukama Katonda teyagikola ne bazadde baffe, naye yagikola naffe abali wano era abalamu ku lunaku lwa leero. 45:4 Ma 4:12, 33, 36Mukama Katonda yayogera nammwe nga mwolekaganye naye, ye ng’asinziira mu muliro ku lusozi olunene. 55:5 a Bag 3:19 b Kuv 20:18, 21Mu kaseera ako nze nnali nnyimiridde wakati wa Mukama nammwe okubatuusaako ekigambo kya Mukama Katonda, kubanga mmwe mwali mutidde omuliro, noolwekyo ne mutalinnya ku lusozi olunene.

N’abagamba nti:

6“Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri, mu nsi gye mwafuulibwa abaddu.

7“Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.

8Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi. 95:9 Kuv 34:7Ebyo tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga Nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa. 105:10 Yer 32:18Naye abo enkumi n’enkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo.

115:11 Lv 19:12; Mat 5:33-37Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa: kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.

125:12 Kuv 20:8Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira. 13Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga, 145:14 Lub 2:2; Beb 4:4naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, oba ente yo eya sseddume, oba endogoyi yo, oba ku nte zo endala zonna, oba omugenyi ali omumwo, abaweereza bo abasajja, n’abaweereza bo abakazi, nabo balyoke bawummuleko nga ggwe. 155:15 Ma 4:34Ojjukiranga nga wali muweereza mu nsi ey’e Misiri, Mukama Katonda wo n’akuggyayo n’omukono gwe omuwanvu era ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okuumenga olunaku olwa Ssabbiiti.

165:16 a Kuv 20:12; Lv 19:3; Ma 27:16; Bef 6:2-3*; Bak 3:20 b Ma 4:40Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira, olyoke owangaale, era obeerenga n’emirembe, mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.

175:17 Mat 5:21-22*Tottanga.

185:18 Mat 5:27-30; Luk 18:20*; Yak 2:11*Toyendanga.

19Tobbanga.

20Towaayirizanga muntu munno.

215:21 Bar 7:7*; 13:9*Teweegombanga mukyala wa muntu munno. So teweegombanga nnyumba ya muntu munno, newaakubadde ennimiro ye, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”

Katonda ne Musa ku Lusozi Sinaayi

225:22 Kuv 24:12; 31:18; Ma 4:13Ago ge mateeka Mukama ge yalangirira eri ekibiina kyammwe kyonna, nga muli wansi w’olusozi Sinaayi, ng’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka eryava mu muliro, n’ekire, n’ekizikiza ekikutte ennyo; teyayongerako birala. Bw’atyo n’agawandiika ku bipande bibiri eby’amayinja, n’abinkwasa.

23Bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza, ate ng’olusozi lwaka omuliro, ne musembera gye ndi, n’abakulembeze bonna ab’ebika byammwe, n’abakulu bammwe bonna. 245:24 Kuv 19:19Ne mugamba nti, “Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n’obukulu bwe, era n’eddoboozi lye ne tuliwulira nga lifuluma wakati mu muliro. 255:25 Ma 18:16Kale, kaakano tufiira ki? Kubanga omuliro guno omungi bwe guti gujja kutusaanyaawo, tufe tuggweewo, singa twongera okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe. 265:26 Ma 4:33Kubanga, ani mu bantu omuntu eyali awulidde ku ddoboozi lya Katonda omulamu ng’ayogerera wakati mu muliro, nga ffe bwe tuliwulidde, n’asigala ng’akyali mulamu? 27Ggwe, musemberere, owulirize bulungi byonna Mukama Katonda waffe by’anaayogera. Olyoke otubuulire ebyo byonna Mukama Katonda waffe by’anaakugamba. Tujja kubiwuliriza era tubigondere.”

285:28 Ma 18:17Mukama yawulira ebigambo byammwe, bwe mwayogera nange, Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Ebigambo abantu abo bye bakugambye mbiwulidde. Byonna bye boogedde bibadde birungi. 295:29 a Zab 81:8, 13 b Ma 11:1; Is 48:18 c Ma 4:1, 40Singa nno bulijjo emitima gyabwe gibeera bwe gityo; ne bantya, era ne bagonderanga amateeka gange gonna, ne balyoka balaba ebirungi awamu n’abaana baabwe emirembe gyonna! 30Genda obagambe baddeyo mu weema zaabwe. 315:31 Kuv 24:12Naye ggwe sigala wano nange, ndyoke nkutegeeze amateeka gonna n’ebiragiro, by’ojja okubayigiriza babikolerengako nga bali mu nsi gye mbawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.

325:32 Ma 17:11, 20; 28:14; Yos 1:7; 23:6; Nge 4:27“Noolwekyo mwegenderezenga nnyo, mukolenga nga Mukama Katonda wammwe bw’abalagidde; mulemenga okukyama okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono. 335:33 a Yer 7:23 b Ma 4:40Mutambulirenga mu kkubo Mukama Katonda wammwe ly’abalagidde, mulyoke mubenga balamu, mugaggawale, era muwangaalenga nga muli mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira.”