民數記 4 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

民數記 4:1-49

哥轄子孫的職責

1耶和華對摩西亞倫說: 2「你要按宗族和家系統計利未人中哥轄子孫的人數, 3登記三十歲到五十歲、可在會幕司職的男子。 4他們在會幕裡管理至聖之物。

5「拔營出發的時候,亞倫父子們要進會幕解下聖所和至聖所之間的幔子,用它遮蓋約櫃, 6再在上面依次蓋上海狗皮和純藍色的布,然後穿上抬約櫃的橫杠。

7「要在擺放供餅的桌子上鋪一塊藍布,把盤、碟、杯和獻酒用的瓶子擺在上面。桌上要有供餅。 8這些東西上面要蓋朱紅色的布,再蓋上海狗皮,然後穿上抬桌子的橫杠。

9「要用藍布把燈臺、燈盞、蠟剪、蠟盤和盛油的器皿全遮蓋起來, 10再在上面蓋上海狗皮,然後放在抬架上。

11「金香壇上面要蓋藍色布,再蓋上海狗皮,穿上抬金香壇的橫杠。

12「聖所裡面一切器皿都要用藍色布包好,蓋上海狗皮,放在抬架上。

13「要清除祭壇上的灰燼,鋪上紫色布, 14然後把火鼎、肉叉、鏟、碗等祭壇的器具放在上面,再蓋上海狗皮,穿上抬祭壇的橫杠。

15「拔營出發時,哥轄的子孫要等到亞倫父子們把聖所和聖所的器具都蓋好後,才可以來抬。他們負責抬這些會幕的器具,但不可觸摸這些聖物,免得死亡。 16亞倫祭司的兒子以利亞撒負責管理整個聖幕及裡面的燈油、香料、素祭、膏油等一切物品。」

17耶和華對摩西亞倫說: 18「不要讓哥轄宗族在利未人中滅絕。 19他們走近至聖之物以前,亞倫父子們要先進去指派他們做什麼、抬什麼,以免他們死亡。 20他們不可進去看聖物,一刻都不可,免得死亡。」

革順子孫的職責

21耶和華對摩西說: 22「你要按宗族和家系統計革順子孫的人數, 23登記三十歲到五十歲、可在會幕司職的男子。 24以下是他們負責的事務。

25「他們要抬聖幕的幔子、會幕、會幕頂蓋、頂蓋上的海狗皮、會幕門簾、 26圍繞聖幕和祭壇的院子的帷幔、院門門簾、繩索等器具,還負責其他相關事務。 27你們要把任務分配給革順的子孫,他們要遵照亞倫父子們的吩咐司職。 28這是革順宗族的人在會幕裡的職責,他們要按祭司亞倫的兒子以他瑪的吩咐司職。

米拉利子孫的職責

29「你要按宗族和家系統計米拉利子孫的人數, 30登記三十歲到五十歲、可在會幕司職的男子。 31他們在會幕裡負責抬聖幕的木板、橫閂、柱子、帶凹槽的底座, 32院子四周的柱子及其帶凹槽的底座、橛子、繩索和其他相關器具。你們要把當抬的物件一一指派給他們。 33這是米拉利宗族的人在會幕的職責,由祭司亞倫的兒子以他瑪監督。」

34於是,摩西亞倫和會眾的首領按宗族和家系統計哥轄的子孫, 35登記了三十歲到五十歲、可在會幕司職的男子, 36共兩千七百五十人。 37這是哥轄宗族在會幕司職的人數,是摩西亞倫照耶和華的吩咐統計的。

38-40按宗族和家系統計,革順的子孫中三十歲到五十歲、可在會幕司職的共兩千六百三十人。 41這是革順宗族在會幕司職的人數,是摩西亞倫照耶和華的吩咐統計的。

42-44按宗族和家系統計,米拉利的子孫中三十歲到五十歲、可在會幕司職的共三千二百人。 45這是米拉利宗族的人數,是摩西亞倫照耶和華的吩咐統計的。

46摩西亞倫以色列人的首領按宗族和家系統計了利未人的人數, 47-48三十歲到五十歲可司職、搬運會幕器具的利未人共八千五百八十人。 49照耶和華對摩西的吩咐,每個人都被統計在內,都有指定的職責和當抬的器具。這樣,照耶和華對摩西的吩咐,人口統計完畢。

Luganda Contemporary Bible

Okubala 4:1-49

Batabani ba Kokasi

1Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 24:2 Kuv 30:12“Mubale batabani ba Kokasi abava mu kika ky’Abaleevi, ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri. 34:3 nny 23; Kbl 8:25; 1By 23:3, 24, 27; Ezr 3:8Mubabale nga muva ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.

44:4 nny 19“Gino gye mirimu eginaakolwanga batabani ba Kokasi: nga gya kulabirira ebintu ebitukuvu ennyo. 54:5 a Kuv 26:31, 33 b Kuv 25:10, 16Olusiisira bwe lunaabanga lusitula, Alooni ne batabani be banaayingiranga mu Weema ya Mukama, ne batimbulula eggigi ery’olutimbe ne balibikka ku Ssanduuko ey’Endagaano. 64:6 Kuv 25:13-15; 1Bk 8:7; 2By 5:8Okwo banaabikkangako amaliba ga lukwata, kuno ne babikkako olugoye olwa bbululu omuka, ne balyoka basonsekamu emisituliro gyayo.

74:7 a Kuv 25:23, 29; Lv 24:6 b Kuv 25:30“Ku mmeeza ey’Emigaati egy’Okulaga banaayaliirangako ekitambala ekya bbululu, ne bassaako amasowaane, n’ebijiiko ebinene, n’amabakuli, n’ejaagi omunaabeeranga ebiweebwayo ebyokunywa; n’emigaati egy’okulaga nagyo ginaabeeranga okwo. 8Banaayaliirangako ekitambaala ekimyufu ennyo, ne bakibikkako amaliba ga lukwata; ne basonsekamu emisituliro gyayo.

94:9 Kuv 25:31, 37, 38“Banaddiranga ekitambaala ekya bbululu ne bakibikka ku kikondo ky’ettaala kwe zinaayakiranga, n’ettabaaza zaako, n’ebikomola entambi n’ensuniya ez’ebisirinza, n’ejaagi ez’amafuta ag’omuzeeyituuni aganaakozesebwanga mu ttaala ezo. 10Ekikondo n’ebigenderako byonna binaasibibwanga mu maliba ga lukwata ne biteekebwa ku musituliro.

114:11 Kuv 30:1“Banaayaliiranga olugoye olwa bbululu ku kyoto ekya zaabu, okwo ne babikkako amaliba ga lukwata, ne basonsekamu emisituliro gyakyo.

12“Banaddiranga ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu gy’obuweereza mu watukuvu ne babiteeka mu lugoye olwa bbululu ne babibikkako amaliba ga lukwata, ne babiteeka ku misituliro gyabyo. 134:13 Kuv 27:1-8Ekyoto banaakiggyangamu evvu ne bakibikkako olugoye olwa ffulungu; 144:14 a 2By 4:16 b Yer 52:18 c Kuv 27:6ne balyoka bakissaako ebintu byonna ebikozesebwa mu mirimu gy’oku kyoto, nga mwe muli ensiniya ez’omuliro, n’ewuuma, n’ebijiiko n’ebibya. Okwo banaabikkangako amaliba ga lukwata, ne balyoka basonsekamu emisituliro gyakyo.

154:15 a Kbl 7:9 b Kbl 1:51; 2Sa 6:6, 7“Alooni ne batabani be bwe banaamalanga okusibako awatukuvu ne byonna ebibeeramu, nga n’ekiseera ky’olusiisira okusitula mu lugendo kituuse; awo batabani ba Kokasi banajjanga ne babisitula, naye ekintu kyonna ekitukuvu tebakikwatangako, baleme okufa. Ebyo bye bintu eby’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu batabani ba Kokasi bye baneetikkanga.

164:16 a Lv 10:6 b Kuv 25:6 c Kuv 29:41; Lv 6:14-23“Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, y’anaabeeranga n’obuvunaanyizibwa obw’amafuta g’ettaala ag’omuzeeyituuni, n’obubaane obwakaloosa, n’ekiweebwayo eky’okulaga eky’emmere ey’empeke, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula. Era y’anaalabiriranga Eweema ya Mukama ne byonna ebigirimu, n’awatukuvu ne byonna ebikozesezebwamu.”

17Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 18“Mwegendereze ab’omu mpya z’ennyumba z’Abakokasi baleme okukutulwa ku kika ky’Abaleevi. 194:19 nny 15Ekyo munaakibakoleranga, bwe batyo bwe banaasembereranga ebintu ebitukuvu ennyo balemenga okufa, naye basigalenga nga balamu. Alooni ne batabani be banaayingiranga mu watukuvu ne bagabira buli Mukokasi omulimu gwe n’ebyo by’aneetikkanga. 204:20 Kuv 19:21; 1Sa 6:19Naye Abakokasi tebaayingirenga munda kutunula ku bintu ebitukuvu, wadde n’eddakiika emu, balemenga okufa.”

Batabani ba Gerusoni

21Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 22“Bala ne batabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri. 234:23 nny 3; 1By 23:3, 24, 27Babale ng’otandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu egya Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.

24“Gino gye mirimu eginaakolebwanga ab’omu mpya z’Abagerusoni mu kuweereza era ne mu kwetikka emigugu: 254:25 a Kuv 27:10-18; Kbl 3:26 b Kbl 3:25 c Kuv 26:14Baneetikkanga entimbe ez’omu Weema ya Mukama, y’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebigibikkako, n’amaliba aga lukwata agabikkibwa kungulu kwayo, n’entimbe ez’omu mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, 26n’entimbe ez’omu luggya olwebungulula Weema ya Mukama n’ekyoto, n’olutimbe lw’omulyango gw’oluggya, n’emiguwa, ne byonna ebinaakozesebwanga mu kuweereza okwo. Abagerusoni banaakolanga byonna ebineetaagibwanga okukola ku bintu ebyo. 27Mu kuweereza kwonna okw’Abagerusoni, oba mu kwetikka oba mu kukola emirimu egy’engeri endala, Alooni ne batabani be, be banaabalagiranga. Abagerusoni ojjanga kubakwasa obuvunaanyizibwa bwonna ku ebyo bye baneetikkanga. 284:28 Kbl 7:7Obwo bwe buweereza bwa batabani ba Gerusoni nga bukwata ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bye banaakolanga binaalabirirwanga Isamaali mutabani wa Alooni kabona.

Batabani ba Merali

294:29 Lub 46:11“Batabani ba Merali nabo babale ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri. 30Babale ng’otandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu egya Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 314:31 Kbl 3:36Gino gye ginaabanga emirimu gyabwe egikwata ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu: Okusitula omudaala gwa Weema ya Mukama, n’embaawo zaayo, n’empagi n’ebibya mwe zituula, 32awamu n’empagi ezeebungulula oluggya n’ebibya byazo mwe zituula, n’enkondo z’eweema, n’emiguwa, ne byonna ebyetaagibwa okukozesebwa ku mirimu egyo. Buli musajja onoomutegeezanga amannya g’ebintu byennyini by’ajjanga okwetikka. 33Egyo gye ginaabanga emirimu gy’omu mpya z’abaana ba Merali nga bali mu buweereza bwabwe obwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.”

Ebyava mu Kubala Abantu

344:34 nny 2Awo Musa ne Alooni n’abakulembeze b’abantu ne babala batabani b’Abakokasi ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali.

35Ne bababala nga batandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku myaka amakumi ataano, abajja okuweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, 36nga bababala ng’empya zaabwe bwe zaali; baawera enkumi bbiri mu lusanvu mu amakumi ataano (2,750). 374:37 Kbl 3:27Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogw’abo abaali mu mpya z’Abakokasi abaaweerezanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama bwe yalagira Musa.

384:38 Lub 46:11Batabani ba Gerusoni nabo baabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali.

39Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abaaweerezanga mu mirimu egy’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, 40baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali, ne bawera enkumi bbiri mu lukaaga mu amakumi asatu (2,630). 41Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwa batabani ba Gerusoni abaali mu mpya za Abagerusoni abaaweerezanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

42Batabani ba Merali baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali. 43Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abajja okuweereza mu mirimu gy’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, 44abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali baali bawera enkumi ssatu mu ebikumi bibiri (3,200). 454:45 nny 29Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwabalibwa ogw’omu mpya za batabani ba Merali. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

46Bwe batyo Musa ne Alooni n’abakulembeze ba Isirayiri ne babala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu nnyumba z’abakadde baabwe. 474:47 nny 3Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abajja okuweereza mu mirimu egy’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, 484:48 Kbl 3:39abaabalibwa baawera kanaana mu ebikumi bitaano mu kinaana (8,580). 494:49 Kbl 1:47Buli musajja yaweebwa omulimu ogw’okukola n’ategeezebwa ky’aneetikka, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Bwe batyo bonna ne babalibwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.