民數記 36 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

民數記 36:1-13

女子繼承產業的律例

1基列約瑟之子瑪拿西的孫子,瑪吉的兒子。他宗族中的各族長來見摩西和做以色列人首領的各族長,說: 2「耶和華曾吩咐我主用抽籤的方式把土地分給以色列人,還吩咐我主將我們兄弟西羅非哈的產業分給他的女兒們。 3但如果她們嫁給其他支派的人,從我們祖業中分給她們的產業就會歸入她們夫家的支派。這樣的話,我們抽籤分到的土地就會減少。 4到了以色列人的禧年,這些女兒的產業就會歸給她們丈夫的支派,我們支派的祖業就會失去她們那份產業。」

5摩西照耶和華的話吩咐以色列人說:「約瑟支派的人說的對。 6關於西羅非哈的女兒們,耶和華說她們可以自由嫁人,但必須嫁給本支派的人。 7以色列人的產業不可從一個支派轉到另一個支派,各支派必須守住本支派的祖業。 8繼承了產業的女子必須嫁給本支派的人,以便以色列人都能守住自己的祖業。 9以色列人的產業不可從一個支派轉到另一個支派,各支派必須守住本支派的產業。」

10於是,西羅非哈的女兒們遵行了耶和華對摩西的吩咐。 11瑪拉得撒曷拉密迦挪阿都嫁給了她們叔伯的兒子, 12約瑟之子瑪拿西支派的人。這樣,她們的產業仍留在本支派中。

13以上是在耶利哥對面、約旦河邊的摩押平原,耶和華藉摩西頒佈給以色列人的命令和律例。

Luganda Contemporary Bible

Okubala 36:1-13

Okufumbirwa kw’Abasika Abakazi

136:1 a Kbl 26:29 b Kbl 27:2Awo abakulembeze b’ennyumba z’empya ez’omu lunyiriri lwa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, nga bava mu kika kya Yusufu, ne bajja ne boogera ne Musa n’abakulembeze n’abazadde b’abaana ba Isirayiri. 236:2 Kbl 26:33; 27:1, 7Ne bagamba nti, “Mukama Katonda yalagira mukama waffe, abaana ba Isirayiri obagabanyizeemu ettaka ery’obusika bwabwe ng’okuba akalulu, era n’akulagira ebyobusika ebya muganda waffe Zerofekadi abigabire abaana be abawala. 3Kale, nno, bwe balifumbirwa abalenzi abazaalibwa mu bika ebirala eby’abaana ba Isirayiri, ebyobusika byabwe bigenda kuggyibwa ku by’obusika obwa bajjajjaffe bigattibwe ku by’obusika obw’ebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa. Kale olwo ebyobusika bye twagabana birituggyibwako. 436:4 Lv 25:10Awo Omwaka gwa Jjubiri ogw’abaana ba Isirayiri bwe gunaatuukanga, ebyobusika byabwe bigenda kugattibwanga ku bw’ebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa, n’eby’obutaka bwabwe nga bitoolebwa ku butaka obwa bajjajjaffe obw’ensikirano.”

5Awo Musa n’addamu abantu ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Abava mu batabani ab’omu kika kya Yusufu kye bagamba kituufu. 6Kino kye kiragiro kya Mukama Katonda ku nsonga z’abawala ba Zerofekadi: Mubaleke bafumbirwenga omusajja gwe baneesiimiranga, naye omusajja oyo gwe banaafumbirwanga anaavanga mu kika kya kitaabwe. 736:7 1Bk 21:3Mu by’obusika bw’abaana ba Isirayiri, tewaabengawo butaka obw’obusika obunaggibwanga mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala, kubanga buli omu mu baana ba Isirayiri anaakuumanga butiribiri obutaka obw’omu kika kye bw’anaabanga asikidde okuva ku bajjajjaabe. 836:8 1By 23:22Era buli mwana owoobuwala anaasikiranga obutaka mu kika kyonna eky’abaana ba Isirayiri, anaateekwanga okufumbirwa omusajja ow’omu kika kya kitaawe w’omuwala oyo; bwe kityo buli mwana wa Isirayiri anaabeeranga n’obutaka obw’obusika bwa bakitaawe. 9Noolwekyo tewaabengawo butaka obw’obusika obuggyibwa mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala; kubanga buli kika eky’abaana ba Isirayiri kinaakuumanga butiribiri obutaka bw’obusika obw’ekika ekyo.”

10Bwe batyo bawala ba Zerofekadi ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa. 1136:11 Kbl 26:33; 27:1Bawala ba Zerofekadi bano: Maala, ne Tiruza, ne Kogula, ne Mirika, ne Noowa, baafumbirwa batabani ba baganda ba bakitaabwe. 12Baafumbirwa mu mpya za batabani ba Manase mutabani wa Yusufu, ebyobusika byabwe ne bisigala mu kika kya kitaabwe.

1336:13 a Lv 26:46; 27:34 b Kbl 22:1Ago ge mateeka n’ebiragiro Mukama Katonda bye yalagira Musa n’abituusa eri abaana ba Isirayiri nga bali mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.