民數記 33 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

民數記 33:1-56

從埃及到約旦河

1以下是以色列人在摩西亞倫的領導下離開埃及列隊行軍的路線。 2摩西遵照耶和華的吩咐記錄啟行的地點,以下是他們停留過的地方。

3一月十五日,即逾越節的第二天,埃及人眼睜睜地看著以色列人昂首挺胸地離開了蘭塞4當時埃及人正埋葬他們的長子,耶和華擊殺了他們的長子,並藉此懲罰了他們的眾神明。 5以色列人從蘭塞啟行,至疏割紮營; 6疏割啟行,至曠野邊界的以倘紮營; 7以倘啟行,又折回巴力·洗分對面的比哈·希錄,在密奪附近紮營; 8比哈·希錄啟行,經過紅海到書珥曠野,在伊坦曠野走了三天,至瑪拉紮營; 9瑪拉啟行,至以琳紮營,那裡有十二股水泉和七十棵棕樹; 10以琳啟行,至紅海岸邊紮營; 11從紅海啟行,至曠野紮營; 12曠野啟行,至脫加紮營; 13脫加啟行,至亞錄紮營; 14亞錄啟行,至利非訂紮營,在那裡民眾沒有水喝; 15利非訂啟行,至西奈曠野紮營; 16西奈曠野啟行,至基博羅·哈他瓦紮營; 17基博羅·哈他瓦啟行,至哈洗錄紮營; 18哈洗錄啟行,至利提瑪紮營; 19利提瑪啟行,至臨門·帕烈紮營; 20臨門·帕烈啟行,至立拿紮營; 21立拿啟行,至勒撒紮營; 22勒撒啟行,至基希拉他紮營; 23基希拉他啟行,至沙斐山紮營; 24沙斐山啟行,至哈拉大紮營; 25哈拉大啟行,至瑪吉希錄紮營; 26瑪吉希錄啟行,至他哈紮營; 27他哈啟行,至他拉紮營; 28他拉啟行,至密加紮營; 29密加啟行,至哈摩拿紮營; 30哈摩拿啟行,至摩西錄紮營; 31摩西錄啟行,至比尼·亞干紮營; 32比尼·亞干啟行,至曷·哈吉甲紮營; 33曷·哈吉甲啟行,至約巴他紮營; 34約巴他啟行,至阿博拿紮營; 35阿博拿啟行,至以旬·迦別紮營; 36以旬·迦別啟行,至曠野的加低斯紮營; 37加低斯啟行,至以東邊界的何珥山紮營。

38以色列人離開埃及後的第四十年五月一日,亞倫祭司遵照耶和華的吩咐上了何珥山,並在那裡離世, 39享年一百二十三歲。

40在南地的迦南亞拉得王得知了以色列人要來的消息。

41以色列人從何珥山啟行,至撒摩拿紮營; 42撒摩拿啟行,至普嫩紮營; 43普嫩啟行,至阿伯紮營; 44阿伯啟行,至摩押邊境的以耶·亞巴琳紮營; 45以耶·亞巴琳啟行,至底本·迦得紮營; 46底本·迦得啟行,至亞門·低比拉太音紮營; 47亞門·低比拉太音啟行,至尼波對面的亞巴琳山紮營; 48亞巴琳山啟行,至耶利哥對面、約旦河邊的摩押平原紮營。 49他們沿著約旦河在摩押平原紮營,營地從伯·耶施末一直延伸到亞伯·什亭

50耶和華在耶利哥對面、約旦河邊的摩押平原對摩西說: 51「你告訴以色列人,『你們過約旦河進了迦南以後, 52一定要趕走當地的居民,毀掉他們一切的石像和鑄像,拆毀他們所有的邱壇。 53你們要佔領那片土地,住在那裡,因為我已經把那裡賜給你們作產業了。 54你們要按宗族家系抽籤分配土地,人口多的多分,人口少的少分,抽到哪塊地就得哪塊地。 55如果你們不趕走那裡的居民,留下來的人必成為你們眼裡的刺和肋旁的荊棘,在你們所居之地攪擾你們, 56我也會用預備對付他們的方法來對付你們。』」

Luganda Contemporary Bible

Okubala 33:1-56

Olugendo lw’Abaana ba Isirayiri okuva e Misiri okutuuka e Kanani

133:1 a Mi 6:4 b Zab 77:20Bino bye bitundu by’olugendo lw’abaana ba Isirayiri olwabaggya mu nsi y’e Misiri mu bibinja byabwe, nga bakulemberwa Musa ne Alooni. 2Musa yawandiika buli kitundu ky’olugendo we kyatandikiranga, nga Mukama Katonda bwe yamulagira.

Bino bye bitundu ebyo: 333:3 a Kuv 13:4 b Kuv 14:8Abaana ba Isirayiri baasitula okuva e Lamesesi ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’olubereberye, nga lwe lunaku oluddirira Embaga ey’Okuyitako. Baasitula n’obuvumu awatali kutya, nga beeyagala, ng’Abamisiri bonna babalaba bulungi; 433:4 Kuv 12:12ng’Abamisiri bwe baziika abaana baabwe ababereberye Mukama be yali abasseemu; kubanga Mukama Katonda yali asalidde bakatonda b’Abamisiri omusango okubasinga.

533:5 Kuv 12:37Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Lamesesi ne basiisira e Sukkosi.

633:6 Kuv 13:20Ne bava e Sukkosi ne basiisira e Yesamu, eddungu we litandikira.

733:7 a Kuv 14:9 b Kuv 14:2Bwe baava mu Yesamu ne baddako emabega ne batuuka e Pikakirosi ekiri ku buvanjuba bwa Baali Zefoni, ne basiisira okuliraana Migudooli.

833:8 a Kuv 14:22 b Kuv 15:23Ne basitula okuva mu Pikakirosi ne bayita wakati mu Nnyanja Emyufu ne bagguka mu ddungu lya Yesamu; ne balitambuliramu ennaku ssatu ne basiisira e Mala.

933:9 Kuv 15:27Ne bava e Mala ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo z’amazzi ekkumi n’ebbiri n’emiti emikindu nsanvu, ne basiisira awo.

10Bwe baava mu Erimu ne basiisira okumpi n’Ennyanja Emyufu.

1133:11 Kuv 16:1Ne bava ku Nnyanja Emyufu ne basiisira mu Ddungu Sini.

12Bwe bava mu Ddungu Sini ne basiisira e Dofuka.

13Ne bava e Dofuka ne basiisira e Yalusi.

14Bwe bava e Yalusi ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi abantu okunywako.

1533:15 a Kuv 17:1 b Kuv 19:1Ne bava e Lefidimu ne basiisira mu Ddungu lya Sinaayi.

1633:16 Kbl 11:34Ne bava mu Ddungu lya Sinaayi ne basiisira e Kiberosu Katava.

1733:17 Kbl 11:35Bwe bava e Kiberosu Katava ne basiisira e Kazerosi.

18Bwe bava e Kazerosi ne basiisira e Lisuma.

19Ne bava e Lisuma ne basiisira e Limoni Perezi.

2033:20 Yos 10:29Bwe bava e Limoni Perezi ne basiisira e Libuna.

21Ne bava e Libuna ne basiisira e Lisa.

22Ne bava e Lisa ne basiisira e Kekerasa.

23Bwe bava e Kekerasa ne basiisira ku Lusozi Seferi.

24Bwe bava ku Lusozi Seferi ne basiisira e Kalada.

25Ne bava e Kalada ne basiisira e Makerosi.

26Ne bava e Makerosi ne basiisira e Takasi.

27Bwe bava e Takasi ne basiisira e Tera.

28Bwe bava e Tera ne basiisira e Misuka.

29Ne bava e Misuka ne basiisira e Kasumona.

3033:30 Ma 10:6Ne bava e Kasumona ne basiisira e Moserosi.

31Bwe bava e Moserosi ne basiisira e Beneyakani.

32Ne bava e Beneyakani ne basiisira e Kolu Kagidugada.

3333:33 Ma 10:7Ne bava e Kolu Kagidugada ne basiisira e Yotubasa.

34Ne bava e Yotubasa ne basiisira e Yabulona.

3533:35 Ma 2:8; 1Bk 9:26; 22:48Ne bava e Yabulona ne basisira mu Ezyoni Geba.

3633:36 Kbl 20:1Ne bava mu Ezyoni Geba ne basiisira e Kadesi mu Ddungu lya Zini.

3733:37 a Kbl 20:22 b Kbl 20:16; 21:4Bwe baava e Kadesi ne basiisira ku Lusozi Koola, okuliraana n’ensi ya Edomu. 3833:38 a Ma 10:6 b Kbl 20:25-28Awo Alooni kabona n’alinnya ku Lusozi Koola, nga Mukama Katonda bwe yamulagira, n’afiira eyo, ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, ng’abaana ba Isirayiri baakamaze emyaka amakumi ana kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. 39Alooni yali yakamaze emyaka egy’obukulu kikumi mu abiri mu esatu bwe yafiira ku Lusozi Koola.

4033:40 Kbl 21:1Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo obwa Kanani, n’awulira ng’abaana ba Isirayiri bajja.

41Abaana ba Isirayiri ne basitula okuva ku Lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona.

42Bwe baava e Zalumona ne basiisira e Punoni.

4333:43 Kbl 21:10Ne bava e Punoni ne basiisira e Yebosi.

4433:44 Kbl 21:11Ne bava e Yebosi ne basiisira mu Lye Abalimu, okuliraana ne Mowaabu.

45Ne bava mu Iyimu ne basiisira e Diboni Gadi.

46Ne bava e Diboni Gadi ne basiisira e Yalumonu Dibulasaimu.

4733:47 Kbl 27:12Ne bava e Yalumonu Dibulasaimu ne basiisira mu nsozi za Abalimu, okuliraana Nebo.

4833:48 Kbl 22:1Bwe baava mu nsozi za Abalimu ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu okuliraana n’omugga Yoludaani olwolekera Yeriko. 4933:49 Kbl 25:1Ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu nga bagendera ku mugga Yoludaani okuva e Besu Yesimosi okutuuka e Yaberi Sitimu.

50Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko n’amugamba nti, 5133:51 Yos 3:17“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani; 5233:52 Kuv 23:24; 34:13; Lv 26:1; Ma 7:2, 5; 12:3; Yos 11:12; Zab 106:34-36mugobangamu abatuuze baamu bonna abagirimu kaakano. Muzikirizanga ebifaananyi byabwe byonna ebibajje n’ebiweese byonna; era musaanyangawo ebifo byabwe ebigulumivu mwe basinziza. 5333:53 Ma 11:31; Yos 21:43Ensi eyo muligyetwalira, ne mugituulamu, kubanga ensi eyo ngibawadde okubeera eyammwe ey’obwanannyini. 5433:54 Kbl 26:54Ensi mugigabananga nga mukuba akalulu ng’ebika byammwe bwe biri. Ekika ekinene kifunanga ekitundu eky’obutaka bwakyo kinene, n’ekika ekitono kinaafunanga ekitundu kitono. Buli kye banaafunanga ng’akalulu bwe kanaagambanga ng’ekyo kye kyabwe. Ensi mugigabananga ng’ebitundu by’ebika byammwe eby’ennono eby’obujjajja bwe biri.

5533:55 Yos 23:13; Bal 2:3; Zab 106:36“Naye abatuuze ab’omu nsi omwo bwe mutalibagobamu bonna, kale, abo abalisigalamu bagenda kubafuukira enkato mu mmunye zammwe era babeere maggwa mu mbiriizi zammwe. Balibateganya mu nsi omwo mwe munaabeeranga. 56Olwo bye ntegeka okukola bali, ndibikola mmwe.”