民數記 13 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

民數記 13:1-33

打探迦南

1耶和華對摩西說: 2「你要派十二位首領,每個支派一位,去打探我要賜給以色列人的迦南。」 3摩西就按耶和華的吩咐,從巴蘭曠野派出了十二位首領。 4他們的名字如下:呂便支派撒刻的兒子沙姆亞5西緬支派何利的兒子沙法6猶大支派耶孚尼的兒子迦勒7以薩迦支派約色的兒子以迦8以法蓮支派的兒子何西阿9便雅憫支派拉孚的兒子帕提10西布倫支派梭底的兒子迦疊11約瑟的子孫、瑪拿西支派穌西的兒子迦底12支派基瑪利的兒子亞米利13亞設支派米迦勒的兒子西帖14拿弗他利支派縛西的兒子拿比15迦得支派瑪基的兒子臼利16以上是摩西派去打探迦南的人,他稱的兒子何西阿約書亞

17摩西派他們去打探迦南,並囑咐說:「你們先去南地,然後再進山區, 18打探那地方,看看那裡的居民是強是弱,是多是少; 19那地方是好是壞,人們住的是堅固的城池還是不設防的營地; 20土地是肥沃還是貧瘠,有沒有樹木。儘量帶些當地的果子回來。」當時是葡萄初熟的季節。

21於是,他們從曠野一直打探到哈馬口附近的利合22他們經南地到達希伯崙希伯崙城比埃及鎖安城還要早建七年,那裡住著亞衲人的子孫亞希幔示篩撻買23他們來到以實各谷,在那裡砍下一根葡萄枝,上面有一串葡萄,由兩個人用杠子抬著,又採了一些石榴和無花果。 24因為他們在那裡砍了一串葡萄,所以就稱那地方為以實各13·24 以實各」意思是「一串」。谷。

25過了四十天,他們打探完畢,返回營地。 26他們來到巴蘭曠野的加低斯摩西亞倫以色列全體會眾彙報,把當地的果子給大家看。 27他們對摩西說:「我們照你的指示打探了那地方,果然是奶蜜之鄉,這些都是那裡的果子。 28但那裡的居民很強悍,城邑又大又堅固。我們在那裡還見到亞衲人的子孫。 29亞瑪力人住在南地,人、耶布斯人和亞摩利人住在山區,迦南人住在海邊和約旦河沿岸。」 30迦勒讓站在摩西面前的民眾安靜,然後說:「我們立刻去佔領那地方吧!我們必能取勝。」 31跟他一起去打探的人卻說:「我們不能去攻打那些人,他們比我們強大。」 32他們還危言聳聽,說:「我們去打探的地方是吞吃居民之地,我們看見的人個個身材高大。 33我們在那裡看見了亞衲人的子孫,他們是巨人的後裔,我們跟他們相比就像蚱蜢,他們看我們也像蚱蜢。」

Luganda Contemporary Bible

Okubala 13:1-33

Abakessi Kkumi na Babiri Baweerezebwa mu Kanani

1Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 213:2 Ma 1:22“Tuma abasajja bagende bakette beetegereze ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa abaana ba Isirayiri. Mu buli kika kya bajjajja ojja kulondamu omusajja omu ku bakulembeze baakyo.”

3Bw’atyo Musa n’abatuma okuva mu ddungu lya Palani, ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali. Bonna baali bakulembeze b’abaana ba Isirayiri.

4Amannya gaabwe ge gano:

Eyava mu kika kya Lewubeeni yali Sammuwa mutabani wa Zakula.

5Eyava mu kika kya Simyoni yali Safati mutabani wa Kooli.

613:6 nny 30; Kbl 14:6, 24; 34:19; Bal 1:12-15Eyava mu kika kya Yuda yali Kalebu mutabani wa Yefune.

7Eyava mu kika kya Isakaali yali Igali mutabani wa Yusufu.

8Eyava mu kika kya Efulayimu yali Koseya mutabani wa Nuuni.

9Eyava mu kika kya Benyamini yali Paluti mutabani wa Lafu.

10Eyava mu kika kya Zebbulooni yali Gadyeri mutabani wa Sodi.

11Eyava mu kika kya Manase, ky’ekika kya Yusufu, yali Gaadi mutabani wa Susi.

12Eyava mu kika kya Ddaani yali Ammiyeri mutabani wa Gemali.

13Eyava mu kika kya Aseri yali Sesula mutabani wa Mikaeri.

14Eyava mu kika kya Nafutaali yali Nakabi mutabani wa Vofesi.

15Eyava mu kika kya Gaadi yali Geweri mutabani wa Maki.

1613:16 a nny 8 b Ma 32:44Ago ge mannya ag’abasajja Musa be yatuma okugenda okuketta n’okwetegereza ensi eyo. Musa yali atuumye Koseya mutabani wa Nuuni erinnya Yoswa.

1713:17 a Lub 12:9 b Bal 1:9Musa n’abatuma okuketta n’okwetegereza ensi ya Kanani, n’abagamba nti, “Mwambuke nga muyita mu Negebu muggukire mu nsi ey’ensozi. 18Mwetegerezenga ensi nga bw’efaanana, n’abantu baamu nga bwe bali, obanga ba maanyi oba banafu, obanga bangi oba batono. 19Mulyetegereza obanga ensi mwe babeera nnungi oba mbi. Era muliraba ebibuga byabwe obanga tebiriiko bisenge bya bbugwe oba byetooloddwa bigo. 2013:20 Ma 1:25Mulikebera okulaba obanga ensi yaabwe ngimu oba nkalu, era obanga erimu emiti mingi oba temuli. Mwenywezanga ne muleetayo ku bibala eby’omu nsi eyo.” Ekyo kye kyali ekiseera ezabbibu nga zaakatandika okwengera.

2113:21 a Kbl 20:1; 27:14; 33:36; Yos 15:1 b Yos 19:28 c Yos 13:5Awo ne bambuka ne beetegereza ensi okuva mu ddungu lya Zini okutuuka e Lekobu okumpi n’awayingirirwa mu Kamasi. 2213:22 a Yos 15:14 b Yos 15:13 c Zab 78:12, 43; Is 19:11, 13Ne bambuka mu Negebu ne batuuka e Kebbulooni, era wano Akimaani ne Sesayi ne Talumaayi abazzukulu ba Anaki nga we babeera. Kebbulooni bwe kyamala okuzimbibwa waayitawo emyaka musanvu ne Zowani eky’omu Misiri nakyo ne kiryoka kizimbibwa. 23Ne batuuka mu kiwonvu ekiyitibwa Esukoli13:23 Esukoli Kitegeeza kiwagu. Laba ne mu lunny 24 ne batemamu ettabi limu eryaliko ekirimba kimu ekya zabbibu, abantu babiri ne bakireetera ku musituliro. Era ne baleeta ne ku makomamawanga ne ku ttiini. 24Ekifo ekyo ne kiyitibwa Ekiwonvu kya Esukoli, olw’ekirimba ekyo abaana ba Isirayiri kye baatemamu.

Abakessi Bakomawo

25Awo nga wayiseewo ennaku amakumi ana ne bakomawo nga bamaze okuketta ensi. 2613:26 Kbl 32:8Ne bajja eri Musa ne Alooni e Kadesi mu ddungu lya Palani. Ne babakomezaawo obubaka n’eri ekibiina kyonna, era ne babanjulira ebibala bye baggya mu nsi eyo. 2713:27 a Kuv 3:8 b Ma 1:25Ne bategeeza Musa nti, “Twatuuka mu nsi gye watutumamu: ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ejjudde ebirungi ebyereere, era bino bye bibala byamu. 2813:28 Ma 1:28; 9:1, 2Naye nno abantu ababeera mu nsi omwo ba maanyi, n’ebibuga byabwe binene nnyo era byetooloddwako ebigo. Ate n’ekirala twalabaayo n’abazzukulu ba Anaki. 29Abamaleki babeera mu Negebu mu bukiikaddyo; Abakiiti n’Abayebusi, n’Abamoli babeera mu nsi ey’ensozi; n’Abakanani ne babeera okumpi n’ennyanja ne ku lubalama lw’omugga Yoludaani.”

30Awo Kalebu n’asirisa abantu awali Musa n’agamba nti, “Twambukirewo kaakano tutwale ensi eyo, kubanga ndaba nga tusobola okugiwangula.”

3113:31 Ma 1:28; 9:1; Yos 14:8Kyokka abaagenda ne Kalebu okuketta ne baddamu nti, “Abantu bali tetubasobola, batusinga amaanyi.” 3213:32 a Kbl 14:36, 37 b Ez 36:13, 14 c Am 2:9Bwe batyo ne babunya mu baana ba Isirayiri alipoota etaali nnungi ng’efa ku nsi gye baali bagenze okuketta; nga bagamba nti, “Ensi gye twayitaayitamu nga tugiketta tesobola na kuliisa bantu baayo abagituulamu; ate n’abantu bonna be twalabamu baali ba kiwago. 3313:33 a Lub 6:4 b Ma 1:28Twalabayo n’Abanefisi, abazzukulu ba Anaki abava mu Banefiri. Bwe twetunulako nga tuli ng’obwacaaka, era nabo nga bwe batulaba bwe batyo.”