民數記 11 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

民數記 11:1-35

以色列人發怨言

1民眾因為困難而發怨言,傳到耶和華耳中。耶和華聽見後便向他們發怒,使火在他們中間燃燒,燒毀了營地的邊緣部分。 2民眾呼求摩西摩西便向耶和華禱告,火就熄了。 3那地方叫他備拉,因為耶和華的火曾在他們中間燃燒。

4他們中間有一群烏合之眾貪戀從前的食物,以色列人也哭著說:「要是有肉吃多好啊! 5還記得在埃及的時候,我們不花錢就可以吃魚,還有黃瓜、西瓜、韭菜、蔥和蒜。 6我們現在毫無胃口,眼前除了嗎哪外,什麼都沒有。」 7嗎哪的形狀像芫荽籽,又像珍珠。 8-9每天晚上露水降在營地上時,嗎哪也隨著降下來。早晨民眾到四周撿嗎哪,把嗎哪磨碎或搗碎後,放在鍋裡煮,再做成餅,味道就像油餅。 10聽見民眾都在自己帳篷門口哭泣,惹耶和華發怒,摩西感到難過, 11就對耶和華說:「你為什麼為難僕人?我做了什麼令你不悅的事,你竟把管理這些民眾的重擔放在我身上? 12難道他們是我的骨肉,是我生的嗎?為什麼你要我像父親呵護兒子一樣,把他們抱到你應許給他們祖先的地方呢? 13他們都哭著向我要肉吃,我去哪裡找肉給他們吃呢? 14管理民眾的責任實在是太重了,我一個人擔當不起啊! 15你既然這樣對待我,求你施恩殺了我吧,別讓我受苦了!」

16耶和華對摩西說:「你給我招聚七十個以色列人的長老——你所瞭解的首領,把他們帶到會幕,讓他們站在你身邊。 17我要在那裡降臨,對你說話,把降在你身上的靈也賜給他們,讓他們為你分擔管理民眾的責任,免得你獨自承擔。 18你要叫民眾潔淨自己,到明天就會有肉吃。因為我聽見了他們哭著要肉吃、說埃及的日子更好,我必給他們肉吃。 19他們將不止吃一天、兩天、五天、十天或二十天, 20而是要吃整整一個月,直到肉從他們鼻孔裡噴出來,令他們厭膩。因為他們厭棄我,在我面前哭訴,後悔離開埃及。」 21摩西說:「和我同行的,僅男子就有六十萬,你還說要讓他們吃整整一個月的肉! 22就是把牛羊都宰了,把海裡的魚都捕來,恐怕也不夠他們吃!」 23耶和華說:「難道我的臂膀能力不夠嗎?你很快將看見我的話會不會應驗。」

24摩西就出去把耶和華的話轉告民眾,又選了七十位長老,叫他們站在會幕周圍。 25耶和華在雲中降臨,對摩西說話,把降在摩西身上的靈也賜給七十位長老。靈一降在他們身上,他們就說起預言來,但只說了這一次。 26七十位長老中的伊利達米達沒有到會幕去,但耶和華的靈也降在他們身上,他們就在營中說起預言來。 27有一個青年跑去稟告摩西說:「伊利達米達正在營中說預言。」 28摩西揀選的助手——的兒子約書亞就說:「我主摩西,請你禁止他們。」 29摩西說:「你是怕我的權威受影響嗎?願耶和華的子民都成為先知!願耶和華把祂的靈降在他們身上!」 30之後,摩西以色列的長老都返回營中。

耶和華賜下鵪鶉

31耶和華颳起一陣風,把鵪鶉從海面颳到營地四周,達一米之厚,方圓數公里。 32民眾花了兩天一夜的時間去捕捉鵪鶉,每人至少捉了一噸。他們把鵪鶉攤在營地的周圍。 33他們口中的肉還沒嚼爛,耶和華的怒氣就已向他們發作,降下了大災。 34因此,那地方叫基博羅·哈他瓦11·34 基博羅·哈他瓦」意思是「貪慾之墓」。,因為那些貪食者埋葬在那裡。 35民眾從基博羅·哈他瓦前往哈洗錄,在哈洗錄住了下來。

Luganda Contemporary Bible

Okubala 11:1-35

Abantu Beemulugunya

111:1 Lv 10:2Awo abantu ne beemulugunya olw’ebizibu byabwe nga ne Mukama awulira; bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka. Omuliro ne guva eri Mukama ne gwakira mu bo, ne gwokya ebitundu ebimu ebyali bikomererayo eby’olusiisira lwabwe. 211:2 Kbl 21:7Abantu ne bakaabirira Musa; Musa n’asaba Mukama, omuliro ne guzikira. 311:3 Ma 9:22Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera, kubanga omuliro ogwava eri Mukama gwabaakiramu.

Emmaanu

411:4 a Kuv 12:38 b Zab 78:18; 1Ko 10:6Abagwira abaali beetabudde mu baana ba Isirayiri ne baluluunkanira ebyokulya; n’abaana ba Isirayiri nabo ne bongera okukaaba nga bwe bagamba nti, “Singa nno tufuna ku nnyama ne tulyako! 511:5 Kuv 16:3Tukyajjukira ebyennyanja bye twalyanga mu Misiri nga tewali na kye tubisasulidde, ne wujju n’ensujju, n’enderema n’obutungulu ne katungulukyumu n’ebyokuliira. 6Naye kaakano n’okwoya emmere kutuweddemu, buli we tukuba eriiso tulaba mmaanu eno!”

711:7 a Kuv 16:31 b Lub 2:12Emmaanu yafaanananga ng’ensigo za koliyanda, nga n’ekifaananyi kyayo kiri ng’ekya bideriamu. 8Abantu baagendanga ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku lubengo oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu oba ne bakolamu bukeeke. Nga mu kamwa ebanga ekoleddwa n’amafuta ga zeyituuni. 911:9 Kuv 16:13Omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira ekiro n’emmaanu nayo n’egwa nagwo.

Musa Asaba Ennyama

10Musa n’awulira abantu aba buli luggya nga bakaaba, buli omu ng’akaabira mu muzigo gw’eweema ye; obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuuka nnyo, ne Musa n’asoberwa n’anyiikaala. 1111:11 Kuv 5:22Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Lwaki oleetedde omuddu wo obuzibu buno? Nkoze ki ekitakusanyusizza ne kikuleetera okwetikka omugugu gw’abantu bano bonna? 1211:12 a Is 40:11; 49:23 b Kuv 13:5Nze nali olubuto omwali abantu bano bonna? Nze nabazaala? Lwaki oŋŋamba okubasitula mu mikono gyange ng’omulezi w’abaana bw’asitula omwana omuwere mbatwale mu nsi gye wabasuubiza ng’ogirayirira bajjajjaabwe? 1311:13 Yk 6:5-9Ennyama abantu bano bonna gye banaalya nnaagiggya wa? Kubanga baneetayirira nga bankaabirira nti, ‘Tuwe ennyama tulye!’ 1411:14 Kuv 18:18Sisobola kusitula bantu bano bonna bw’omu kubanga obuzito bwabwe buyinza okummenya nga ndi nzekka. 1511:15 Kuv 32:32; 1Bk 19:4; Yon 4:3Obanga bw’otyo bw’ojja okumpisa, ate nga bulijjo ondaga ekisa kyo, kale nno nzitiraawo kaakano oleme kundeka ne neereetera okwezikiriza.”

Mukama Ayanukula Musa

16Mukama n’agamba Musa nti, “Nfunira abasajja nsanvu mu bakulu ba Isirayiri b’omanyi nga be bakulu b’abantu era nga be bakulembeze baabwe obaleete ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, bayimirire awo naawe. 1711:17 a nny 25, 29; 1Sa 10:6; 2Bk 2:9, 15; Yo 2:28 b Kuv 18:18Nzija kukka awo njogere naawe; era nzija kutoola ku mwoyo oguli mu ggwe ngubateekemu, balyokenga bakusitulireko omugugu gw’abantu oleme kugwetikkanga wekka.

1811:18 a Kuv 19:10 b Kuv 16:7 c nny 5; Bik 7:39“Abantu bagambe nti, ‘Mwetukuze nga mwetegekera olunaku lw’enkya, lwe mujja okulya ennyama. Kubanga Mukama Katonda yabawulira nga mumukaabirira bwe muti nti, “Singa tufunye ku nnyama ne tulyako! Bwe twali mu Misiri twali bulungi!” Noolwekyo Mukama ajja kubawa ennyama mugirye. 19Temugenda kugirya mu lunaku lumu, oba mu nnaku bbiri, oba mu nnaku ttaano, oba mu nnaku kkumi, oba nnaku abiri; 2011:20 a Zab 78:29; 106:14, 15 b Yos 24:27; 1Sa 10:19naye kumala mwezi mulambirira, okutuusa lw’erifulumira mu nnyindo zammwe n’ebanyiwa, kubanga mwesamudde Mukama Katonda abeera mu mmwe, ne mumukaabirira nga mugamba nti, “Mu Misiri twaviirayo ki?” ’ ”

2111:21 Kuv 12:37Musa n’agamba nti, “Abantu bano mwe ndi bawera omuwendo gwa mitwalo nkaaga abatambuza ebigere, naawe ogamba nti, ‘Nzija kubawa ennyama gye banaalya okumala omwezi mulamba!’ 2211:22 Mat 15:33Ebisolo ebiri mu biraalo ne mu bisibo bwe binattibwa binaabamala? Nantiki ebyennyanja byonna eby’omu nnyanja bwe binaavubibwa ne bibaweebwa, binaabamala?”

2311:23 a Is 50:2; 59:1 b Kbl 23:19; Ez 12:25; 24:14Mukama n’agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.”

24Awo Musa n’afuluma n’ategeeza abantu ebigambo bya Mukama Katonda; n’akuŋŋaanya abasajja nsanvu mu bakulembeze b’abantu n’abayimiriza okumpi ne Weema ya Mukama. 2511:25 a Kbl 12:5 b nny 17 c 1Sa 10:6 d Bik 2:17 e 1Sa 10:10Awo Mukama Katonda n’akkira mu kire n’ayogera ne Musa, n’addira ku mwoyo ogwali mu Musa n’agussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola.

26Waaliwo abasajja babiri nga bayitibwa Eridaadi ne Medadi, baali babaliddwa ku bakulembeze ensanvu, naye bo ne basigala mu lusiisira, ne batagenda ku Weema ya Mukama; nabo baafuna omwoyo, era ne bategeeza obunnabbi mu lusiisira. 27Omuvubuka n’adduka n’agenda ategeeza Musa nti, “Eridaadi ne Medadi bategeeza obunnabbi mu lusiisira.”

2811:28 a Kuv 33:11; Yos 1:1 b Mak 9:38-40Awo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa gwe yali yeerondedde ng’akyali muvubuka n’agamba nti, “Mukama wange Musa, baziyize.”

2911:29 1Ko 14:5Naye Musa n’amugamba nti, “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Kyandibadde kirungi singa abantu ba Mukama bonna bannabbi, ne Mukama Katonda n’abawa omwoyo gwe!” 30Musa n’abakulembeze ba Isirayiri ne baddayo mu lusiisira.

Mukama Aweereza Ennyama ey’Obugubi

3111:31 Kuv 16:13; Zab 78:26-28Awo empewo n’eva eri Mukama Katonda n’ereeta obugubi nga buva mu nnyanja ne bugwa okwebungulula olusiisira nga bukoze entuumo nga ya mita emu okuva ku ttaka, nga bujjuza ebbanga lya lugendo lwa lunaku lumu ku ludda olumu olw’olusiisira n’olugendo lwa lunaku lumu ku ludda olulala. 32Ku lunaku olwo ne ku lunaku olwaddirira abantu ne bakuŋŋaanya obugubi emisana n’ekiro. Tewali yakuŋŋaanya buzito bwakka wansi wa kilo lukumi; ne babwanika buli wantu mu lusiisira. 3311:33 a Zab 78:30 b Zab 106:15Naye ennyama yali ekyali mu mannyo gaabwe nga tebannaba kugirya, obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira abantu n’abaleetera kawumpuli ow’amaanyi ennyo. 3411:34 Ma 9:22Noolwekyo ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Kiberosu Katava, kubanga awo we baaziika abantu abaalina omulugube.

3511:35 Kbl 33:17Abantu bwe baava e Kiberosu Katava ne batambula okutuuka e Kazerosi ne babeera awo.