歷代志下 13 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

歷代志下 13:1-22

亞比雅與耶羅波安爭戰

1耶羅波安王執政第十八年,亞比雅登基做猶大王, 2耶路撒冷執政三年。他母親叫米該亞13·2 米該亞」在代下11·20是「押沙龍的女兒瑪迦」。,是基比亞烏列的女兒。亞比雅耶羅波安之間常有爭戰。 3有一次,亞比雅率領四十萬精兵出戰,耶羅波安率領八十萬精兵列陣迎戰。

4亞比雅站在以法蓮山區的西瑪蓮山上說:「耶羅波安和全體以色列人啊,你們聽我說, 5你們不知道以色列的上帝耶和華曾經立下永世之約13·5 永世之約」希伯來文是「鹽約」。,要把以色列國永遠賜給大衛和他的子孫嗎? 6尼八的兒子耶羅波安本是大衛的兒子所羅門的僕人,他卻背叛他的主人, 7召集一群無賴惡棍,與所羅門的兒子羅波安作對。那時,羅波安年輕怯懦,無力抵抗。

8「現在你們仗著人多勢眾,又有耶羅波安製造的金牛犢作為你們的神明,便企圖反抗大衛子孫所治理的耶和華的國度。 9你們趕走了做耶和華祭司的亞倫之後裔和利未人,效法外族人的惡俗為自己設立祭司。任何人牽來一頭公牛犢和七隻公綿羊,就可以自封為假神的祭司。

10「至於我們,耶和華是我們的上帝,我們沒有背棄祂,我們有亞倫的後裔做祭司事奉耶和華,也有利未人各盡其職。 11他們每天早晚向耶和華獻燔祭,燒芬芳的金燈臺香,把供餅擺在潔淨13·11 潔淨」指宗教禮儀上的潔淨。的桌子上,每晚點上的燈。我們遵守我們上帝耶和華的吩咐,你們卻背棄祂。 12上帝與我們同在,祂率領我們。祂的祭司就要吹響向你們進攻的號角。以色列人啊,不要與你們祖先的上帝耶和華作對,因為你們絕不會得勝。」

13耶羅波安卻在猶大人後面設伏兵,企圖前後夾攻他們。 14猶大人轉身,發現自己前後受敵,就呼求耶和華。祭司吹響號角, 15猶大人便吶喊,上帝使耶羅波安以色列人敗在亞比雅猶大人面前。 16以色列人從猶大人面前逃跑,上帝把他們交在猶大人手中。 17亞比雅和他的軍隊大敗以色列人,殲滅了他們五十萬精兵。 18這樣,以色列人被擊敗,猶大人因為倚靠他們祖先的上帝耶和華而大獲全勝。

19亞比雅追趕耶羅波安,攻取了伯特利耶沙拿以法拉音各城以及它們周圍的村莊。 20亞比雅在世之日,耶羅波安再也沒有恢復勢力。後來,耶和華攻擊他,他就死了。 21亞比雅卻日漸強大,他有十四個妻妾、二十二個兒子、十六個女兒。 22亞比雅其餘的事及其言行都記在易多先知的史記上。

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 13:1-22

Abiya Kabaka wa Yuda

1Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu, Abiya n’afuuka kabaka wa Yuda, 213:2 a 2By 11:20 b 1Bk 15:6era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Erinnya lya nnyina yali Mikaaya muwala wa Uliyeri ow’e Gibea. 3Ne waba olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu. Abiya n’agenda mu lutalo ng’alina eggye lya basajja emitwalo amakumi ana, ate Yerobowaamu ng’alina abasajja emitwalo kinaana. 413:4 a Yos 18:22 b 1By 11:1Awo Abiya n’ayimirira ku Lusozi Zemalayimu mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, n’ayogera nti, “Yerobowaamu ne Isirayiri yenna, mumpulirize! 513:5 a 2Sa 7:13 b Lv 2:13; Kbl 18:19Temumanyi nga Mukama Katonda wa Isirayiri, yagabula obwakabaka bwa Isirayiri eri Dawudi ne zadde lye emirembe gyonna olw’endagaano ey’omunnyo? 613:6 1Bk 11:26Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati, omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi, n’amugolokokerako n’amujeemera. 713:7 Bal 9:4Era waaliwo abasajja abalalulalu abamu abeegatta ku Yerobowaamu ne bajeemera Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani bwe yali omuto, nga talina kyayinza kusalawo, nga n’amaanyi ag’okubaziyiza tagalina.

813:8 1Bk 12:28; 2By 11:15“Kaakano mulowooza nti muyinza okwaŋŋanga obwakabaka bwa Mukama obuli mu mikono gy’abazzukulu ba Dawudi, kubanga muli ekibiina kinene, abalina n’ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe abalala? 913:9 a 2By 11:14-15 b Kuv 29:35-36 c Yer 2:11Mwagoba bakabona ba Mukama, batabani ba Alooni, n’Abaleevi, ne mussaawo bakabona abammwe ng’amawanga ag’omu nsi endala bwe gakola. Buli aleeta ente ennume ento n’endiga ennume musanvu ayinza okwewaayo okufuuka kabona wa bakatonda abalala.

10“Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, era tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, batabani ba Alooni, era bayambibwako Abaleevi. 1113:11 a Kuv 29:39; 2By 2:4 b Lv 24:5-9Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’obubaane obwa kawoowo eri Mukama, ne bategeka n’emigaati egy’okulaga ku mmeeza eya zaabu omwereere, ne bakoleeza n’ettaala eziri ku bikondo ebya zaabu buli kawungeezi. Tugondera Mukama Katonda waffe nga tukola bye yatukuutira, naye mmwe mwamuvaako. 1213:12 a Kbl 10:8-9 b Bik 5:39Laba, Katonda ali naffe, era ye mukulembeze waffe, era ne bakabona be banaafuuwa amakondeere mu maloboozi ag’olutalo, okuggulawo okulwana nammwe. Abasajja Abayisirayiri temulwanyisa Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, temujja kuwangula.”

1313:13 Yos 8:9Naye mu kiseera kye kimu Yerobowaamu yali asindise abaserikale be okutaayiza emabega ne mu maaso ga Yuda. 1413:14 2By 14:11Laba Yuda bwe baakyuka ne balaba nga balumbiddwa okuva mu maaso n’emabega, ne bakaabira Mukama, ne bakabona ne bafuuwa amakondeere. 1513:15 2By 14:12Awo abasajja ba Yuda olwa wowogganira waggulu n’eddoboozi ery’olutalo, Katonda n’awangula Yerobowaamu ne Isirayiri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda. 1613:16 2By 16:8Abayisirayiri ne badduka okuva mu maaso ga Yuda, naye Mukama n’abawaayo mu mukono gwa Yuda. 17Abiya n’abasajja be ne batta bangi nnyo ku Bayisirayiri, ne waba emitwalo amakumi ataano ku abo abaafa. 1813:18 1By 5:20; 2By 14:11; Zab 22:5Mu kiseera ekyo abasajja Abayisirayiri ne bawangulwa; abasajja ba Yuda ne baba bawanguzi kubanga beesiga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.

19Abiya n’agoba Yerobowaamu, n’amutwalako Beseri, ne Yesana, ne Efulooni wamu n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo. 20Yerobowaamu n’ataddamu nate kuba na buyinza mu mirembe gya Abiya, Mukama n’alwaza Yerobowaamu n’afa.

21Awo Abiya n’aba w’amaanyi n’awasa abakazi kkumi na bana, n’abeera n’abaana aboobulenzi amakumi abiri mu babiri n’abaana aboobuwala kkumi na mukaaga.

22Ebyafaayo ebirala ebyomumirembe gya Abiya, ne bye yakola ne bye yayogera, byawandiikibwa mu ngero za nnabbi Iddo.