歷代志上 19 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

歷代志上 19:1-19

大衛擊敗亞捫人和亞蘭人

1後來,亞捫拿轄死了,他兒子繼位。 2大衛說:「我要恩待拿轄的兒子哈嫩,因為他父親曾經恩待我。」他便派臣僕去安慰喪父的哈嫩大衛的臣僕來到亞捫境內要安慰哈嫩3亞捫的官長卻對哈嫩說:「大衛派人來安慰你,你以為他是來弔唁你父親嗎?他的臣僕來見你不過是來探聽虛實,想征服這地方。」 4哈嫩便把大衛的臣僕抓起來,剃去他們一半鬍子,割去他們下身的衣服,然後放走他們。 5消息傳到大衛那裡,他就派人去迎接他們,告訴他們住在耶利哥,等鬍鬚長好了再回來,因為他們倍覺羞辱。

6哈嫩及其他亞捫人知道得罪了大衛,就派人用三十四噸銀子從美索不達米亞亞蘭瑪迦瑣巴招兵買馬, 7雇了三萬二千輛戰車和瑪迦王及其軍隊。他們在米底巴附近紮營,亞捫人也從各城出來準備作戰。 8大衛聽見消息後,就派約押率領全體勇士出戰。 9亞捫人在城門前列陣,來助戰的諸王在郊野列陣。

10約押見自己前後受敵,就從以色列軍中挑選一些精兵迎戰亞蘭人, 11把餘下的軍兵交給他的兄弟亞比篩領導,迎戰亞捫人。 12他對亞比篩說:「倘若我勝不過亞蘭人,你便過來支援我;倘若你勝不過亞捫人,我便過去支援你。 13我們要剛強,為我們的人民和我們上帝的城邑而奮勇作戰。願耶和華成全祂自己的旨意!」 14於是,約押率領軍兵進攻亞蘭人,亞蘭人敗逃。 15亞蘭人敗逃,亞捫人也逃離亞比篩,退回城中。約押便回師耶路撒冷

16亞蘭人見自己敗在以色列人手下,就派使者調來幼發拉底河那邊的亞蘭人,由哈大底謝的將軍朔法率領。 17大衛聽到消息後,就召集以色列全軍,渡過約旦河,列陣與亞蘭人交戰。 18他們擊潰了亞蘭人,殺了七千名戰車兵、四萬步兵,還殺了他們的將軍朔法19哈大底謝的屬下見自己敗於以色列人,便向大衛求和,臣服於他。從此,亞蘭人不敢再支援亞捫人了。

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 19:1-19

119:1 Lub 19:38; Bal 10:17–11:33; 2By 20:1-2; Zef 2:8-11Awo oluvannyuma lw’ebyo, nga wayiseewo ebbanga, Nakasi kabaka w’Abamoni n’afa, mutabani we n’amusikira. 2Dawudi n’alowooza nti, “Nzija kulaga ebyekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga ne kitaawe yankolera ebyekisa.” Awo Dawudi n’amuweereza ababaka okumukubagiza nga kitaawe amaze okufa.

Naye abasajja ba Dawudi bwe baatuuka eri Kanuni mu nsi ey’Abamoni okumukubagiza, 319:3 Kbl 21:32abakungu b’abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti, “Olowooza nga Dawudi assaamu kitaawo ekitiibwa, bwakuweerezza abakubagizza? Era olowooza nga, abasajja be tebazze kulawuna na kuketta nsi era na kugirya?” 4Awo Kanuni n’alagira abasajja ba Dawudi bakwatibwe, n’abamwako enviiri n’abasalako n’ebirevu, n’asala ebyambalo byabwe wakati okukoma ku nnyuma, n’oluvannyuma n’abagoba baddeyo.

5Awo Dawudi bwe yawulira bye baakola abasajja be yatuma, n’abagamba nti, “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula, mulyoke mukomewo.” 619:6 a Lub 34:30 b 1By 18:3, 5, 9Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga Dawudi abanyiigidde; bo ne kabaka waabwe Kanuni ne baweereza ttani eza ffeeza amakumi asatu mu nnya e Mesopotamiya n’e Alamumaaka, ne Zoba, okubeyazikako amagaali n’abeebagala embalaasi. 719:7 Kbl 21:30; Yos 13:9, 16Beeyazika amagaali n’abeebagala embalaasi emitwalo esatu mu enkumi bbiri, era ne kabaka w’e Maaka n’eggye lye, abajja okumwegattako ne basiisira okumpi ne Medeba. Abaana ba Amoni bo baakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bagenda okutabaala.

8Olwawulira ekyo, Dawudi n’aweereza Yowaabu n’eggye lyonna ery’abasajja abalwanyi abazira. 9Abamoni ne bavaayo bategeke okutabaala nga basimbye ennyiriri ku wankaaki w’ekibuga kyabwe, ate nga bakabaka abaali bazze okubayamba baali bokka ku ttale.

10Awo Yowaabu bwe yalaba ng’abalabe bamutabaala mu maaso n’emabega, n’alonda mu basajja be, abasajja abazira mu Isirayiri, era abo n’abaweereza okulwana n’Abasuuli. 1119:11 1Sa 26:6Abalala n’abakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, ne bagenda okulwana n’Abamoni. 12Yowaabu n’agamba muganda we nti, “Abasuuli bwe banaaba nga bansinza amaanyi, onojja n’ombeera, naye Abamoni bwe banaaba nga bakusinza amaanyi nange nzija kujja nkubeere. 13Guma omwoyo, tulwanirire abantu baffe n’ebibuga bya Katonda waffe n’obuzira. Mukama akole ng’okusiima kwe bwe kuli.”

14Awo Yowaabu n’abalwanyi be yalina ne batabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka. 15Abaana ba Amoni bwe balaba ng’Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi muganda wa Yowaabu, ne bayingira ekibuga. Awo Yowaabu n’addayo e Yerusaalemi.

16Abasuuli bwe baalaba nga Isirayiri abawangudde, ne batuma ababaka, okuggyayo Abasuuli abaali emitala w’Omugga Fulaati, nga Sofaki omuduumizi ow’eggye lya Kadalezeri yabakulembedde.

1719:17 1By 9:1Awo Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna, n’asomoka Yoludaani nabo, n’agenda n’abalumba n’asimba ennyiriri ng’abesimbye mu maaso. Dawudi n’atandika okulwana n’Abasuuli, n’abo ne bamulwanyisa. 18Naye Abasuuli ne badduka Isirayiri, era Dawudi n’atta abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ena. Ate n’atta ne Sofaki omuduumizi w’eggye lyabwe.

19Awo abantu ba Kadalezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne batabagana ne Dawudi era ne bafuuka abaddu be; so n’Abasuuli tebakkiriza kuyamba abaana be Amooni nate.