歷代志上 11 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

歷代志上 11:1-47

大衛做以色列人的王

1以色列人都聚集到希伯崙來見大衛,對他說:「我們是你的骨肉同胞。 2從前,即使掃羅做王的時候,率領以色列人出征打仗的仍是你。你的上帝耶和華也曾應許讓你做祂以色列子民的牧者和首領。」 3以色列的長老都到希伯崙大衛王,大衛與他們在耶和華面前立約,他們膏立大衛以色列的王,這應驗了耶和華藉撒母耳所說的話。 4大衛以色列眾人來到耶路撒冷,即耶布斯。那時耶布斯人住在那裡。 5耶布斯人對大衛說:「你攻不進來。」可是,大衛攻取了錫安的堡壘,即後來的大衛城。 6大衛說:「誰先攻打耶布斯人,誰就做元帥。」洗魯雅的兒子約押首先進攻,於是就做了元帥。 7大衛佔據了堡壘,因此那堡壘就叫大衛城。 8大衛又從米羅開始,在四圍修建城牆,其餘的部分由約押修建。 9大衛日漸強盛,因為萬軍之耶和華與他同在。

大衛的勇士

10以下是大衛手下眾勇士的統領,他們和以色列百姓竭力擁護大衛做王,正如耶和華對以色列的應許。 11大衛的勇士有哈革摩尼雅朔班,他是三勇士之首,曾在一次交戰中揮矛刺死了三百人。 12其次是亞合朵多的兒子以利亞撒,他是三勇士之一。 13他曾在巴斯·達閔大衛一起抵抗非利士人。那裡有一塊大麥田,以色列人戰敗逃跑, 14他們卻堅守陣地,奮勇殺敵。耶和華使以色列人大獲全勝。 15一次,三十位勇士中有三位到亞杜蘭洞附近的磐石那裡見大衛,當時非利士的軍隊駐紮在利乏音谷。 16那時大衛留守在堡壘裡,非利士人的駐軍在伯利恆17大衛渴了,說:「真想有人打一些伯利恆城門旁的井水給我喝!」 18那三位勇士就衝過非利士人的營地,到伯利恆城門旁的井打水,帶回來給大衛大衛卻不肯喝,他把水澆奠在耶和華面前, 19說:「我的上帝啊!這三人冒死去打水,這些水就像是他們的血,我決不能喝。」因此,大衛不肯喝。這是三勇士的事蹟。

20約押的兄弟亞比篩是這三個勇士的統領,他曾揮矛刺死三百人,在三勇士中出了名, 21最有聲望,因此做了他們的統領,只是不及前三位勇士。

22甲薛耶何耶大的兒子比拿雅是位勇士,做過非凡的事。他曾殺死摩押的兩個勇猛戰士,也曾在下雪天跳進坑中殺死一頭獅子, 23還曾殺死一個兩米多高的埃及巨人。當時埃及人拿著織布機軸般粗的長矛,比拿雅只拿著棍子迎戰,他奪了對方的長矛,用那矛刺死了對方。 24這是耶何耶大的兒子比拿雅的事蹟,他在這三個勇士中出了名, 25比那三十個勇士更有聲望,只是不及前三位勇士。大衛派他做護衛長。

26其他勇士有約押的兄弟亞撒黑伯利恆朵多的兒子伊勒哈難27哈律沙瑪比倫希利斯28提哥亞益吉的兒子以拉亞拿突亞比以謝29戶沙西比該亞合以萊30尼陀法瑪哈萊尼陀法巴拿的兒子希立31便雅憫支派基比亞利拜的兒子以太比拉頓比拿雅32迦實溪戶萊亞拉巴亞比33巴路米押斯瑪弗沙本以利雅哈巴34基孫哈深的眾子、哈拉沙基的兒子約拿單35哈拉沙甲的兒子亞希暗吾珥的兒子以利法勒36米基拉希弗比倫亞希雅37迦密希斯羅伊斯拜的兒子拿萊38拿單的兄弟約珥哈基利的兒子彌伯哈39亞捫洗勒、為洗魯雅的兒子約押拿兵器的比錄拿哈萊40以帖以拉以帖迦立41烏利亞亞萊的兒子撒拔42示撒的兒子亞第拿——呂便支派中率領三十人的首領、 43瑪迦的兒子哈難彌特尼約沙法44亞施他拉烏西亞亞羅珥何坦的兒子沙瑪耶利45提洗申利的兒子耶疊和他的兄弟約哈46瑪哈未以利業伊利拿安的兒子耶利拜約沙未雅摩押伊特瑪47以利業俄備得米瑣巴雅西業

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 11:1-47

Dawudi Afuuka kabaka wa Isirayiri Yonna

111:1 a 1By 9:1 b Lub 13:18; 23:19Isirayiri yenna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba tuli ba mubiri gwo, na musaayi gwo. 211:2 a 1Sa 18:5, 16 b Zab 78:71; Mat 2:6 c 1By 5:2Mu biro eby’edda, Sawulo bwe yali kabaka ggwe wakulembera Isirayiri mu ntalo. Era Mukama Katonda wo n’akugamba nti, ‘Ggwe olirabirira abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ”

311:3 1Sa 16:1-13Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira eri Kabaka Dawudi e Kebbulooni, n’akola endagaano nabo e Kebbulooni mu maaso ga Mukama, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza mu kigambo kye ng’ayita mu Samwiri.

411:4 Lub 10:16; 15:18-21; Yos 3:10; 15:8; Bal 1:21; 19:10Awo Dawudi ng’ali wamu n’Abayisirayiri bonna ne boolekera Yerusaalemi, ye Yebusi. Ne basangayo Abayebusi abaabeerangamu. 5Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Tojja kuyingira muno.” Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.

611:6 2Sa 2:13; 8:16Dawudi yali asuubizza nti, “Oyo anaakulembera okulumba Abayebusi, ye aliba Omuduumizi w’eggye omukulu.” Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’abakulembera era n’aweebwa obukulu obwo. 7Awo Dawudi n’abeeranga mu kigo, era ne kituumibwa Ekibuga kya Dawudi. 811:8 2Sa 5:9; 2By 32:5N’azimba ekibuga okukyetooloola, okuva ku Miiro okutuukira ddala ku bbugwe w’ekibuga, ate Yowaabu ye n’addaabiriza ebitundu ebirala eby’ekibuga. 911:9 2Sa 3:1; Es 9:4Awo Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi, kubanga Mukama ow’Eggye yali wamu naye.

Abasajja Abazira aba Dawudi

1011:10 a nny 1 b nny 3; 1By 12:23Bano be baali abasajja abalwanyi abazira aba Dawudi, abaamuwagiranga ennyo mu bwakabaka bwe, wamu ne Isirayiri yenna okumufuulira ddala kabaka ow’enkalakkalira ng’ekigambo kya Mukama kye yasuubiza Isirayiri bwe kyali; 1111:11 2Sa 17:10Bano be basajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yasobeyamu Omukakumoni, eyali omukulu w’abaduumizi abasatu; era yayimusiza abasajja abalwanyi bisatu effumu lye bonna n’abatta mu lulumbagana lumu.

12Eyamuddiriranga mu buyinza ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodo Omwakowa, era nga y’omu ku baduumizi abasatu. 13Yali wamu ne Dawudi e Pasudawinimu, bwe baali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, mu nnimiro eyalimu sayiri omungi, era abaserikale badduka Abafirisuuti. 1411:14 Kuv 14:30; 1Sa 11:13Naye baayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, era ne batta Abafirisuuti, nga Mukama y’abawadde obuwanguzi.

1511:15 1By 14:9; Is 17:5Awo abasajja basatu ne balaga mu mpuku ya Adulamu omwali Dawudi, nga n’eggye ly’Abafirisuuti lisiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 1611:16 2Sa 5:17Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, nga n’eggye ly’Abafirisuuti liri e Besirekemu. 17Dawudi n’ayagala amazzi, n’agamba nti, “Singa wabaddewo omuntu anfunira amazzi ag’okunywa ag’omu luzzi oluli okumpi ne wankaaki ya Besirekemu.” 1811:18 Ma 12:16Awo abasajja abazira abasatu ne bawaguza mu ggye ly’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi oluli okumpi ne wankaaki wa Besirekemu, era ne bagatwalira Dawudi. Naye Dawudi mu kifo ky’okuganywa yagawaayo ng’agafuka eri Mukama. 19N’agamba nti, “Nnyinza ntya okunywa omusaayi gw’abasajja bano, abawaddeyo obulamu bwabwe, okumpi n’okubufiirwa?” Olw’okuwaayo obulamu bwabwe okugaleeta, Dawudi yali tasobola kuganywa.

Obwo nno bwe bwali obuzira bw’abasajja abo.

2011:20 1Sa 26:6Abisayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w’abo abasatu, era oyo ye yayimusiza effumu abasajja abalwanyi bisatu era n’abatta, era kyeyava ayatiikirira mu basatu. 21Yali mwatiikirivu nnyo okusinga abasatu, aboolubereberye, era n’aba muduumizi waabwe, newaakubadde nga teyabalibwa ng’omu ku bakulu.

2211:22 a Yos 15:21 b 1Sa 17:36Benaya mutabani wa Yekoyaada yali mulwanyi omuzira ow’e Kabuzeeri, eyakola ebyobuzira bingi, era n’okutta yatta abasajja ababiri abaali basingayo amaanyi mu Mowaabu. Ate era yakka mu bunnya mu biro eby’omuzira n’atta empologoma. 2311:23 1Sa 17:7Yatta Omumisiri omuwanvu ennyo eyali fuuti musanvu n’ekitundu. Newaakubadde nga Omumisiri yalina effumu eryenkana omuti ogulukirwako engoye, Benaya ye yagenda gyali ng’alina omuggo, era n’amuggyako effumu, n’alimuttisa. 24Ebyo bye bimu ku byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira nga bali abasajja abasatu ab’amaanyi. 25Yaweebwa ekitiibwa kya waggulu nnyo okusinga abakulu amakumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa lya bali abasatu. Era Dawudi yamufuula omukulu w’abambowa be.

2611:26 2Sa 2:18Abasajja abazira ab’eggye baali:

Asakeri muganda wa Yowaabu,

ne Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,

2711:27 1By 27:8ne Sammosi Omukalooli,

ne Kerezi Omuperoni;

2811:28 1By 27:12ne Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,

ne Abiyezeeri Omwanasosi,

2911:29 2Sa 21:18ne Sibbekayi Omukusasi,

ne Irayi Omwakowa,

30ne Makalayi Omunetofa,

ne Keredi mutabani wa Bayaana Omunetofa,

3111:31 a 1By 27:14 b Bal 12:13ne Isayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea ow’ekika kya Benyamini,

ne Benaya Omupirasoni,

32ne Kulayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,

ne Abyeri Omwalubasi,

33ne Azumavesi Omubakalumi,

ne Eriyaba Omusaaluboni,

34batabani ba Kasamu Omugizoni,

ne Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali;

35ne Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali,

ne Erifali mutabani wa Uli,

36ne Keferi Omumekera,

ne Akiya Omuperoni,

37ne Kezulo Omukalumeeri,

ne Naalayi mutabani wa Ezubayi,

38ne Yoweeri muganda wa Nasani,

ne Mibukali mutabani wa Kaguli;

39ne Zereki Omwamoni,

ne Nakalayi Omubeerosi, ey’etikkanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,

40ne Ira Omuyisuli,

ne Galebu Omuyisuli,

4111:41 a 2Sa 11:6 b 1By 2:36ne Uliya Omukiiti,

ne Zabadi mutabani wa Akulayi,

42ne Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni, eyali omukulembeze wa Balewubeeni, n’amakumi asatu abaabeeranga naye,

43ne Kanani mutabani wa Maaka,

ne Yosafaati Omumisuni,

4411:44 Ma 1:4ne Uzziya Omwasutaloosi,

ne Samma ne Yeyeri batabani ba Kosamu Omwaloweri,

45ne Yediyayeri mutabani wa Simuli,

ne muganda we Yoka, nga bombi Batiizi,

46ne Eryeri Omumakavi,

ne Yeribayi ne Yosaviya batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu,

47ne Eryeri, ne Obedi ne Yaasiyeri Omumezoba.