撒迦利亞書 12 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒迦利亞書 12:1-14

耶路撒冷必蒙拯救

1以下是耶和華關於以色列的啟示。

鋪展穹蒼、奠立大地的根基、塑造人靈魂的耶和華說: 2「看啊,我要使耶路撒冷成為令周圍萬民昏醉的酒杯。耶路撒冷被圍困時,猶大也必受困。 3到那天,當地上的列國聚集起來攻擊耶路撒冷的時候,我要使耶路撒冷成為一塊沉重的石頭。凡試圖舉起它的,必傷自己。 4到那天,我要使所有的戰馬驚恐,使馬上的騎士癲狂。我必看顧猶大家,使列邦的馬匹瞎眼。這是耶和華說的。 5那時,猶大的族長必心裡說,『耶路撒冷的居民從他們的上帝——萬軍之耶和華那裡得到了力量。』

6「到那天,我必使猶大的族長像木柴中的火盆,像禾捆中的火把,吞噬左右四圍的列邦,但耶路撒冷人必仍在原處——耶路撒冷安居。

7「耶和華必首先拯救猶大的帳篷,免得大衛家和耶路撒冷居民的榮耀超過猶大8到那天,耶和華必保護耶路撒冷的居民,使他們當中最軟弱的像大衛一樣剛強,使大衛家像上帝一樣,像耶和華的天使一樣帶領他們。 9到那天,我必毀滅前來攻擊耶路撒冷的列國。

10「我必將施恩和禱告的靈澆灌在大衛家和耶路撒冷的居民身上。他們必仰望我——他們所刺的那位,如喪獨子一般為祂哀傷,如喪長子一般為祂痛哭。 11到那天,耶路撒冷必一片哀聲,猶如米吉多平原的哈達臨門的哀聲。 12境內家家戶戶都必哀哭。大衛家的男子在一處,女子在一處;拿單家的男子在一處,女子在一處; 13利未家的男子在一處,女子在一處;示每家的男子在一處,女子在一處。 14其餘各家也都哀哭,男女分開。

Luganda Contemporary Bible

Zekkaliya 12:1-14

Okununulibwa kwa Yerusaalemi Okujja

112:1 a Is 42:5; Yer 51:15 b Zab 102:25; Beb 1:10 c Is 57:16Kino ky’ekigambo kya Katonda ekikwata ku Isirayiri. Bw’ati bw’ayogera Mukama eyabamba eggulu era n’assaawo emisingi gy’ensi, era n’akola n’omwoyo gw’omuntu ogumulimu. 212:2 a Zab 75:8 b Is 51:23 c Zek 14:14“Laba ŋŋenda okufuula Yerusaalemi ekikompe ekitagaza amawanga gonna ageetoolodde enjuuyi zonna. Yuda awamu ne Yerusaalemi birizingizibwa. 312:3 a Zek 14:2 b Dan 2:34-35 c Mat 21:44Awo ku lunaku olwo ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna, ag’ensi agalikuŋŋaana okukizingiza. Abo bonna abaligezaako okuliggyawo, balyetusaako ebisago. 412:4 Zab 76:6Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama, ndikuba buli mbalaasi na buli muvuzi waayo ndimusuula eddalu. Ndikuuma ennyumba ya Yuda kyokka amaaso g’embalaasi za bannaggwanga ndigaziba. 5Awo abakulembeze ba Yuda baligamba mu mitima gyabwe nti, ‘Abantu b’omu Yerusaalemi ba maanyi, kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye Katonda waabwe.’

612:6 a Is 10:17-18; Zek 11:1 b Ob 18“Ku lunaku olwo ndifuula abakulembeze ya Yuda ng’ogusigiri ogwaka ogwetooloddwa enku, ng’olumuli olw’omuliro mu makkati g’ebinywa. Balimalawo amawanga gonna ag’oku njuyi zonna, olw’oku kkono n’olw’oku ddyo; naye Yerusaalemi kirisigalawo, n’abantu baakyo mu kifo kyakyo awatali kunyeenyezebwa.

712:7 Yer 30:18; Am 9:11Mukama alisooka kununula weema za Yuda, ekitiibwa ky’ennyumba ya Dawudi, n’ekitiibwa ky’abatuuze b’omu Yerusaalemi kireme kusukka ku kya Yuda. 812:8 a Yo 3:16; Zek 9:15 b Zab 82:6 c Mi 7:8Ku lunaku olwo Mukama aliteeka obukuumi ku batuuze b’omu Yerusaalemi; abo abasembayo obunafu ku lunaku olwo babeere nga Dawudi, era ennyumba ya Dawudi ebeere ng’ennyumba ya Katonda, nga malayika wa Mukama abakulembeddemu. 912:9 Zek 14:2-3Ku lunaku olwo ndizikiriza amawanga gonna agalumba Yerusaalemi.

1012:10 a Is 44:3; Ez 39:29; Yo 2:28-29 b Yk 19:34, 37*; Kub 1:7“Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi era ku batuuze ba Yerusaalemi Omwoyo ow’ekisa n’okwegayirira. Balintunuulira nze gwe baafumita: era balimukungubagira ng’omuntu bw’akungubagira omwana we omu yekka, era balimulumirwa nnyo omwoyo ng’omuntu bw’alumirwa mutabani we omubereberye. 1112:11 2Bk 23:29Ku lunaku olwo okukuba ebiwoobe kuliyitirira mu Yerusaalemi okwenkana ng’okwa Kadadulimmoni mu kiwonvu Megiddoni. 1212:12 Mat 24:30; Kub 1:7Ensi erikungubaga, buli kika kyokka; ekika eky’ennyumba ya Dawudi ne bakazi baabwe kyokka, n’ekika ky’ennyumba ya Nasani ne bakazi baabwe bokka; 13Ekika eky’ennyumba ya Leevi ne bakazi baabwe, n’ekika kya Simeeyi ne bakazi baabwe; 14n’ebika byonna ebirala ebisigaddeyo ne bakazi baabwe.