撒母耳記下 5 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記下 5:1-25

大衛統治全以色列

1以色列各支派都來希伯崙大衛,對他說:「我們是你的骨肉同胞。 2從前掃羅做王的時候,率領以色列人出征打仗的是你,耶和華也曾應許讓你做祂以色列子民的牧者和首領。」 3以色列的長老都到希伯崙大衛王,大衛與他們在耶和華面前立約,他們膏立大衛以色列的王。 4大衛三十歲登基,執政共四十年。 5他在希伯崙統治猶大七年半,在耶路撒冷統治以色列猶大三十三年。

6大衛率領軍隊來到耶路撒冷,要攻打那裡的耶布斯人。耶布斯人對大衛說:「你攻不進來,就連我們這裡的瞎子、瘸子都可以把你趕走。」他們以為大衛攻不進去。 7結果大衛的軍隊攻取了錫安的堡壘,即後來的大衛城。 8那天,大衛下令軍隊從地下水道爬進城去,攻打那些「瞎子、瘸子」,他憎惡這些耶布斯人。後來便有一句俗語:「瞎子、瘸子不得進殿!」 9大衛住在錫安的堡壘裡,並稱之為大衛城,他又從米羅興建環城圍牆。 10大衛日漸強盛,因為萬軍之上帝耶和華與他同在。

11泰爾希蘭差遣使者帶著香柏木、木匠和石匠去為大衛建造宮殿。 12那時,大衛知道耶和華已立他做以色列王,並因祂以色列子民的緣故而使他國家興旺。

13大衛希伯崙遷到耶路撒冷以後,又選立妃嬪,生了更多的兒女。 14以下是他在耶路撒冷生的兒子:沙姆亞朔罷拿單所羅門15益轄以利書亞尼斐雅非亞16以利沙瑪以利雅大以利法列

大衛戰勝非利士人

17非利士人聽說大衛已被膏立為以色列王,就全軍出動,要搜尋大衛大衛得到消息便退到堅城裡。 18非利士人大軍壓境,散佈在利乏音谷。 19大衛求問耶和華:「我可以去迎戰非利士人嗎?你會把他們交在我手裡嗎?」耶和華說:「去吧,我必把他們交在你手裡。」 20大衛前往巴力·毗拉心,在那裡打敗了敵人。他說:「耶和華像洪水決堤一樣為我沖垮了仇敵。」於是他稱那地方為巴力·毗拉心5·20 巴力·毗拉心」意思是「沖垮之主」。21大衛和他的軍隊帶走了非利士人所丟棄的神像。

22後來非利士人又捲土重來,散佈在利乏音谷。 23大衛又求問耶和華,耶和華說:「你不要正面出擊,要繞到他們後面,從桑林對面攻打他們。 24當你聽見桑樹梢上響起腳步聲時,就要快速進攻,因為那表示耶和華已在你前頭去攻擊非利士的軍隊了。」 25大衛遵命而行,打敗非利士人,由迦巴一直殺到基色

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 5:1-25

Dawudi Afuuka Kabaka wa Isirayiri

15:1 a 2Sa 19:43 b 1By 11:1Ebika byonna ebya Isirayiri ne bigenda eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba, tuli mubiri gwo era musaayi gwo. 25:2 a 1Sa 18:5, 13, 16 b 1Sa 16:1; 2Sa 7:7 c 1Sa 25:30Mu biro eby’edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, gwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo. Era Mukama yakwogerako nti, ‘Olirunda abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ” 35:3 a 2Sa 3:21 b 2Sa 2:4Awo abakadde bonna aba Isirayiri bwe bajja eri kabaka e Kebbulooni, n’akola nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama Katonda, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri5:3 Guno gwali mulundi gwa kusatu Dawudi okufukibwako amafuta, okukakasa nti ye kabaka wa Isirayiri..

45:4 a Luk 3:23 b 1Bk 2:11; 1By 3:4 c 1By 26:31; 29:27Dawudi we yatanulira okuba kabaka yalina emyaka amakumi asatu; n’afugira emyaka amakumi ana. 55:5 2Sa 2:11; 1By 3:4Mu Kebbulooni n’afugirayo Yuda emyaka musanvu n’ekitundu, ate mu Yerusaalemi n’afugiramu Isirayiri yenna ne Yuda emyaka asatu mu esatu.

Dawudi Awamba Yerusaalemi

65:6 a Bal 1:8 b Yos 15:8Kabaka n’abasajja be ne boolekera Yerusaalemi okulwana n’Abayebusi abaabeeranga eyo. Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Toliyingira muno, kubanga abazibe b’amaaso n’abalema balikulwanyisa ne bakulemesa;” nga balowooza nti Dawudi tayinza kukiyingira. 75:7 2Sa 6:12, 16; 1Bk 2:10Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.

8Ku lunaku olwo Dawudi n’alagira nti, “Abanaagenda okutta Abayebusi, bayitire ku lusalosalo batte abazibe b’amaaso n’abalema, emmeeme ya Dawudi b’ekyawa.” Kyekyava kigambibwa nti, “Abazibe b’amaaso n’abalema tebaliyingira mu lubiri.” 95:9 nny 7; 1Bk 9:15, 24Dawudi n’abeera mu kigo, n’akituuma Ekibuga kya Dawudi. N’azimba ekibuga okukyetooloola, n’akiteekako ne bbugwe. 105:10 2Sa 3:1Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi kubanga Mukama Katonda ow’Eggye yali wamu naye.

115:11 1Bk 5:1, 18; 1By 14:1Awo kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda, n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri. 12Dawudi n’ategeera nga Mukama yali amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era ng’agulumizizza obwakabaka bwe olw’abantu ba Mukama Isirayiri.

135:13 Ma 17:17; 1By 3:9Dawudi bwe yava e Kebbulooni n’awasa abakyala abalala mu Yerusaalemi, abaana aboobulenzi n’aboobuwala ne bamuzaalirwa. 145:14 1By 3:5Amannya g’abo abaamuzaalirwa mu Yerusaalemi gaali Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, 15ne Ibukali, ne Eriswa, ne Nefegi, ne Yafiya, 16ne Erisaama, ne Eriyada ne Erifereti.

Dawudi Awangula Abafirisuuti

175:17 2Sa 23:14; 1By 11:16Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Dawudi afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri, bonna ne bambuka okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulira n’aserengeta mu kigo kye. 185:18 Yos 15:8; 17:15; 18:16Abafirisuuti baali bazze nga basaasaanye mu kiwonvu Lefayimu. 195:19 1Sa 23:2; 2Sa 2:1Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”

205:20 Is 28:21Awo Dawudi n’agenda e Baaluperazimu, era n’abawangula. N’ayogera nti, “Mukama abonerezza abalabe bange mu maaso gange, ng’embuyaga ez’amazzi bwe zita ne zikulukuta n’amaanyi.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu. 215:21 Ma 7:5; 1By 14:12; Is 46:2Abafirisuuti ne baleka eyo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’abasajja be ne babatwala.

22Abafirisuuti ne badda, ne basaasaana mu kiwonvu kya Lefayimu. 23Awo Dawudi bwe yeebuuza ku Mukama, n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda. 245:24 a 2Bk 7:6 b Bal 4:14Awo olunaatuuka bw’onoowulira abakumba ku masanso g’emitugunda, oyanguwe okulumba, kubanga ekyo kinaategeeza nti Mukama akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.” 255:25 a Is 28:21 b 1By 14:16Awo Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, n’azikiriza Abafirisuuti okuva e Geba okutuuka e Gezeri.