撒母耳記上 7 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記上 7:1-17

1基列·耶琳人就下來把耶和華的約櫃抬到山上,放在亞比拿達的家裡,派他的兒子以利亞撒看守耶和華的約櫃。

撒母耳征服非利士人

2約櫃在基列·耶琳停留了二十年。那時,全體以色列人都痛悔地尋求耶和華。 3撒母耳對他們說:「如果你們全心歸向耶和華,就要除掉你們那些外族的神明,包括亞斯她錄神像,一心歸向耶和華,單單事奉祂,祂必從非利士人手中救你們。」 4於是,他們除掉了巴力亞斯她錄神像,單單事奉耶和華。

5撒母耳又說:「你們全體以色列人到米斯巴來,我會為你們向耶和華祈求。」 6他們就在那裡聚集,打水倒在耶和華面前,並在當天禁食。他們說:「我們得罪了耶和華。」於是,撒母耳米斯巴以色列人的士師。 7非利士人聽說以色列人在米斯巴聚集,他們的首領就率領軍隊來攻打以色列人。以色列人聽見消息後,非常害怕。 8他們對撒母耳說:「請你為我們不停地呼求我們的上帝耶和華,求祂從非利士人手中拯救我們。」 9撒母耳把一隻還在吃奶的羊獻給耶和華作全牲燔祭。他為以色列人呼求耶和華,耶和華垂聽了他的祈求。 10撒母耳正在獻燔祭的時候,非利士人已經逼近了。那天,耶和華向非利士人發出雷霆之聲,使他們陷入一片恐慌,敗在了以色列人手下。 11以色列人從米斯巴一路追殺他們,直到伯·甲附近。

12撒母耳拿了一塊石頭放在米斯巴的中間,稱之為以便以謝7·12 以便以謝」意思是「援助之石」。,說:「耶和華到如今都幫助我們。」

13這樣非利士人被征服了,沒有再侵犯以色列人。在撒母耳有生之年,耶和華一直嚴厲地對付非利士人。 14以色列人收復了從以革倫迦特之間被非利士人奪去的城邑,並奪回了這些城邑的周邊地區。那時以色列人與亞摩利人和平共處。

15撒母耳一生做以色列人的士師。 16他每年都到伯利恆吉甲米斯巴各地巡迴,審理以色列人的案件。 17之後,他才回到拉瑪自己的家中,也在那裡審理以色列人的案件,並為耶和華築了一座祭壇。

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 7:1-17

17:1 2Sa 6:3Awo abantu b’e Kiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi. Ne bayawula Eriyazaali mutabani we okuvunaanyizibwa essanduuko ya Mukama7:1 Essanduuko ya Mukama yasigalayo okutuusa Dawudi lwe yagizzaayo e Yerusaalemi (2Sa 6:2-3).

Abafirisuuti Bawangulwa e Mizupa

2Essanduuko n’emala mu Kiriyasuyalimu ebbanga ddene, eryawerera ddala emyaka amakumi abiri, era abantu b’ennyumba ya Isirayiri bonna baali banakuwavu era nga banoonya Mukama. 37:3 a Ma 30:10; Is 55:7; Kos 6:1 b Lub 35:2; Yos 24:14 c Bal 2:12-13; 1Sa 31:10 d Yo 2:12 e Ma 6:13; Mat 4:10; Luk 4:8Awo Samwiri n’agamba ennyumba ya Isirayiri yonna nti, “Obanga mudda eri Mukama n’omutima gumu, muggyeewo bakatonda abagwira ne Baasutoleesi, mmweweeyo eri Mukama gwe muba muweerezanga yekka, era anaabalokola okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.” 4Awo Abayisirayiri ne bava ku Babaali ne Baasutoleesi, ne baweerezanga Mukama yekka.

57:5 Bal 20:1Samwiri n’ayogera nti, “Mukuŋŋaanye Isirayiri yenna e Mizupa, mbegayiririre eri Mukama.” 67:6 a Zab 62:8; Kgb 2:19 b Bal 10:10; Nek 9:1; Zab 106:6Bwe baali bakuŋŋaanidde e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagayirira mu maaso ga Mukama, ne basiiba era ne baatula ebibi byabwe nga boogera nti, “Twonoonye eri Mukama.” Olwo Samwiri nga ye mukulembeze era omulamuzi wa Isirayiri e Mizupa.

77:7 1Sa 17:11Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Abayisirayiri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abafuzi b’Abafirisuuti ne babalumba. Abayisirayiri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti. 87:8 1Sa 12:19, 23; Is 37:4; Yer 15:1Ne bagamba Samwiri nti, “Tolekeraawo kutukaabiririra eri Mukama Katonda waffe, atulokole okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.” 97:9 a Zab 99:6 b Yer 15:1Awo Samwiri n’addira omwana gw’endiga oguyonka n’aguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, n’akaabirira Mukama ku lwa Isirayiri, Mukama n’amuddamu.

107:10 a 1Sa 2:10; 2Sa 22:14-15 b Yos 10:10Ku lunaku olwo Samwiri bwe yali ng’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, Abafirisuuti ne basembera okulwanyisa Isirayiri, naye Mukama n’abwatuka okubwatuka okw’amaanyi, Abafirisuuti ne batya nnyo, era ne badduka Abayisirayiri. 11Abasajja Abayisirayiri ne bava e Mizupa ne bagoba Abafirisuuti, ne bagenda nga babatta okutuukira ddala ku Besukali.

127:12 Lub 35:14; Yos 4:9Awo Samwiri n’addira ejjinja n’aliteeka wakati wa Mizupa ne Seni, ekifo ekyo n’akituuma Ebenezeri7:12 Ebenezeri kitegeeza ejjinja ery’obuyambi, ng’agamba nti, “Mukama atuyambye okutuusa kaakano.” 137:13 Bal 13:1, 5; 1Sa 13:5Abafirisuuti ne bawangulwa, ne bataddayo nate kulumba Isirayiri. Era ennaku zonna eza Samwiri, omukono gwa Mukama ne gunyigiriza Abafirisuuti. 14Abayisirayiri ne beddiza ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali babawambyeko okuva mu Ekulooni okutuuka e Gaasi, ate era Isirayiri n’anunula ebitundu ebyali biriraanyeewo okuva mu buyinza bw’Abafirisuuti. Ne waba okutabagana wakati wa Isirayiri n’Abamoli7:14 Erinnya Abamoli likozesebwa okutegeeza Abakanani bonna.

157:15 nny 6; 1Sa 12:11Samwiri n’alamula era n’afuga Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwe. 16Buli mwaka n’agendanga e Beseri, n’e Girugaali n’e Mizupa7:16 Beseri, ne Girugaali ne Mizupa bye bibuga ebisatu mu ssaza lya Benyamini ebifo awaasinzizibwanga (laba Yos 4:19) mu mpalo ng’alamula Isirayiri mu bifo ebyo byonna. 177:17 a 1Sa 1:19; 8:4 b Bal 21:4N’oluvannyuma yakomangawo e Laama, amaka ge gye gaabeeranga, nayo n’alamulirayo Isirayiri. N’azimbirayo Mukama ekyoto.