撒母耳記上 24 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記上 24:1-22

大衛不殺掃羅

1掃羅追擊非利士人回來,得知大衛隱·基底的曠野, 2就率領三千以色列精兵去野羊岩附近搜索大衛和他的部下。 3他們來到路旁的一處羊圈,那裡有一個山洞,掃羅進去大解。大衛和他的部下就躲在洞的深處。 4大衛的部下對大衛說:「耶和華說過要把你的仇敵交在你手中,任你處置,今天機會來了。」大衛就爬過去,偷偷割了掃羅外袍的一角。 5事後,大衛心裡不安, 6他對部下說:「我不該做這樣的事,我主是耶和華所膏立的王,我絕不出手傷害他,因為他是耶和華所膏立的。」 7大衛用這些話攔住他的部下,不讓他們殺掃羅

掃羅起來離開山洞走了, 8大衛隨後也來到洞外,在後面喊掃羅:「我主我王啊!」掃羅回頭一看,見大衛俯伏在地,向他下拜。 9大衛掃羅說:「你為什麼聽信讒言,認為我要謀害你呢? 10你現在親眼看見了,剛才在山洞裡,耶和華把你交在我手中,有人叫我殺你,我卻不肯,因為你是耶和華所膏立的王,我不會動手傷害你。 11我父請看,你的這塊袍子在我手中。我割下了你的袍角,沒有殺你,現在你應該明白我並未圖謀背叛你。我沒有對不起你,你卻要置我於死地。 12願耶和華在你我之間判定是非,替我伸冤,我卻不會動手傷害你。 13俗語說,『惡事出於惡人』,所以我不會動手傷害你。 14以色列王出來要捉拿誰呢?一條死狗嗎?一隻跳蚤嗎? 15願耶和華做我們的審判官,在你我之間判定是非。願耶和華鑒察,為我伸冤,從你手中拯救我。」

16大衛說完了,掃羅問道:「我兒大衛啊!是你嗎?」便放聲大哭起來。 17掃羅大衛說:「你比我公義,因為你善待我,我卻惡待你。 18你今天使我明白你善待了我,耶和華把我交在你手中,你卻沒有下手殺我。 19有誰會讓自己手中的仇敵平安離去呢?願耶和華因你今日善待我而賜福你。 20我知道你必做王,以色列國必在你手中得到堅固。 21現在請你憑耶和華向我起誓,你不會殺害我的子孫,滅絕我的後代。」 22大衛便向掃羅起誓。之後,掃羅回家了,大衛和部下也回堡壘去了。

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 24:1-22

Dawudi Asaasira Sawulo n’atamutta

124:1 1Sa 23:28-29Awo Sawulo bwe yakomawo ng’ava okugoba Abafirisuuti, ne bamutegeeza nti, “Dawudi ali mu ddungu erya Engedi.” 224:2 1Sa 26:2Sawulo n’alonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri yenna, n’agenda nabo okunoonya Dawudi n’abasajja be, ku luuyi olw’enjazi embulabuzi gye Zaabeeranga.

324:3 a Zab 57; 142 b Bal 3:24Sawulo n’atuuka okumpi n’awaali ebisibo by’endiga ebyali ku mabbali g’ekkubo, n’alaba empuku, n’ayingira omwo okuwummulako. Dawudi n’abasajja be baali mu mpuku omwo mu bifo ebikomererayo. 424:4 a 1Sa 25:28-30 b 1Sa 23:17; 26:8Awo abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Luno lwe lunaku Mukama lwe yayogerako bwe yagamba nti, ‘Ndiwaayo omulabe wo mu mukono gwo, omukole nga bw’osiima.’ ” Dawudi n’asooba mpola n’asala ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo.

524:5 2Sa 24:10Naye oluvannyuma Dawudi n’awulira okulumirizibwa mu mutima olw’okusala ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo. 624:6 1Sa 26:11N’agamba abasajja be nti, “Kikafuuwe, nze okukola mukama wange ekintu ekifaanana bwe kityo, Mukama gwe yafukako amafuta, wadde okumugololerako omukono, kubanga Mukama yamufukako amafuta.” 7N’ebigambo ebyo Dawudi n’aziyiza abasajja be n’atabakkiriza kulumba Sawulo. Awo Sawulo n’ava mu mpuku, n’agenda.

824:8 1Sa 25:23-24Oluvannyuma, Dawudi naye n’afuluma empuku, n’akoowoola Sawulo ng’ayogera nti, “Mukama wange kabaka!” Awo Sawulo n’akyuka n’atunula emabega, Dawudi n’avuunama n’akka wansi ne yeeyala ku ttaka. 9Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Lwaki owuliriza eŋŋambo z’abantu aboogera nti, ‘Dawudi amaliridde okukukola akabi?’ 10Leero okirabye n’amaaso go, Mukama bw’akumpadde mu mukono gwange ng’oli mu mpuku. Wabaddewo ababadde banneegayirira nkutte, naye ne sibawuliriza. Nagambye nti, ‘Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange, kubanga Mukama yamufukako amafuta.’ 1124:11 a Zab 7:3 b 1Sa 23:14, 23; 26:20Kitange laba, akatundu ke naggye ku kirenge ky’ekyambalo kyo. Nasaze busazi ku kyambalo kyo naye ne sikutta. Kaakano kitegeere era okimanye nga sikusobyanga newaakubadde okukujeemera. Sinnakusobya newaakubadde ng’onjigganya okunzita. 1224:12 a Lub 16:5; 31:53; Yob 5:8 b Bal 11:27; 1Sa 26:10Mukama alamule wakati wange naawe. Mukama akusasule ng’ebikolwa ebibi byonna by’onkoze bwe biri, naye nze siriyimusa mukono gwange ku ggwe. 1324:13 Mat 7:20Ng’olugero olw’ab’edda bwe baalugera nti, ‘Mu babi mwe muva akabi,’ kyendiva sikuyimusiza mukono gwange. 1424:14 a 1Sa 17:43; 2Sa 9:8 b 1Sa 26:20Kabaka wa Isirayiri ajjiridde ani? Ani gw’oyigganya? Mbwa nfu oba nkukunyi? 1524:15 a nny 12 b Zab 35:1, 23; Mi 7:9 c Zab 43:1 d Zab 119:134, 154Mukama atulamule, asalewo wakati wo nange. Mukama atunuulire ensonga yange andokole mu mukono gwo.”

1624:16 1Sa 26:17Awo Dawudi bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, Sawulo n’abuuza nti, “Eryo ddoboozi lyo, Dawudi mutabani wange?” Sawulo n’akuba ebiwoobe. 1724:17 a Lub 38:26; 1Sa 26:21 b Mat 5:44N’agamba Dawudi nti, “Ggwe oli mutuukirivu okunsinga, kubanga onsasudde bulungi, newaakubadde nga nze nkuyisizza bubi. 1824:18 1Sa 26:23Leero ontegeezezza bw’onkoze obulungi, bw’otanzise ate nga Mukama yampaddeyo mu mukono gwo. 19Omuntu bw’asiŋŋaana omulabe we, ayinza okumuganya okugenda nga tamutuusizzaako bisago? Kale Mukama akusasule bulungi olw’ekikolwa ky’onkoze leero. 2024:20 a 1Sa 23:17 b 1Sa 13:14Kaakano ntegeeredde ddala ng’onoobeera kabaka, era n’obwakabaka bwa Isirayiri bulinywezebwa mu mukono gwo. 2124:21 a Lub 21:23; 2Sa 21:1-9 b 1Sa 20:14-15Kale nno ndayirira eri Mukama, nga tolizikiriza bazzukulu bange newaakubadde okusaanyaawo erinnya lyange mu nnyumba ya kitange.”

2224:22 1Sa 23:29Awo Dawudi n’alayirira Sawulo. Sawulo n’addayo ewuwe, naye Dawudi ne basajja be ne baddayo mu kifo gye baali beekwese.