彼得後書 3 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

彼得後書 3:1-18

主再來的應許

1親愛的弟兄姊妹,我現在寫給你們的是第二封信。這兩封信都是為了提醒你們,激勵你們保持真誠的心, 2叫你們記得從前聖先知們說的預言,以及我們的主和救主藉著派到你們那裡的使徒所傳給你們的誡命。

3最重要的是,你們要知道在末世的時候必出現喜歡冷嘲熱諷、為所欲為的人。他們說: 4「主要降臨的應許在哪裡?從我們的祖先長眠地下直到現在,萬物依舊與創世之初一樣。」 5他們故意忽略:太初,上帝憑口中的話語創造了諸天,並藉著水從水中造出了地; 6後來,那個世界被水淹沒而毀滅了。 7同樣,現在的天地要憑上帝的話語存留到不敬虔的人被審判和毀滅的日子,那時天地要被火焚燒。

8親愛的弟兄姊妹,有一件事你們不可忽略,就是主看一日如千年,千年如一日。 9主的應許還未實現,有人以為祂拖延,其實祂不是拖延,而是在寬容你們。祂不願任何人滅亡,願意人人悔改。 10不過,主再來的日子要像賊一樣突然臨到。那日,諸天必在一聲巨響中消失,有形有質的都要被烈火焚毀,大地和其中的一切將不復存在。

11-12一切都要這樣被焚毀,你們在熱切等候上帝來臨的日子期間,該怎樣過聖潔、敬虔的生活啊!因為到那日,天要被火焚毀,有形有質的都要被烈火熔化燒盡。 13但我們等候的是上帝應許的新天新地,有公義住在其中。

14所以,親愛的弟兄姊妹,你們既然盼望這些事,就當努力使自己在主面前毫無瑕疵,無可指責,安然無懼。 15你們要把耶穌的寬容看作是讓眾人得救的機會,正如我們親愛的弟兄保羅按著上帝賜給他的智慧寫信告訴你們的。 16他所有的書信都談到這些事。一些不學無術、反覆無常的人曲解了信中一些難懂的地方,就像曲解其他經文一樣,他們是自取滅亡。

17因此,親愛的弟兄姊妹,你們既然預先知道了這些事,就應該提防,不要讓那些不法之徒用錯謬的理論引誘你們,使你們失去原本堅固的立場。 18相反,你們要在我們的主和救主耶穌基督的恩典中不斷長進,越來越認識祂。

願榮耀歸給祂,從現在直到永遠。阿們!

Luganda Contemporary Bible

2 Peetero 3:1-18

Olunaku lwa Mukama

13:1 2Pe 1:13Abaagalwa, eno y’ebbaluwa eyookubiri gye mbawandiikira. Mu bbaluwa zombi ngezezzaako okubakubiriza mutegeerere ddala ebyo ebituufu era ebisaana. 2Mujjukire ebyo ebyayogerwa bannabbi abatukuvu n’ekiragiro kya Mukama waffe era Omulokozi waffe ekyaweebwa abatume bammwe.

33:3 a 1Ti 4:1 b 2Pe 2:10; Yud 18Ekisooka, mutegeerere ddala nga mu nnaku ez’oluvannyuma abantu abagoberera okwegomba kw’omubiri gwabwe balijja mu mmwe nga babasekerera, 43:4 a Is 5:19; Ez 12:22; Mat 24:48 b Mak 10:6nga bwe bagamba nti, “Eyasuubiza nti alijja, aluwa? Kubanga kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna biri nga bwe byabanga okuva ensi lwe yatondebwa!” 53:5 a Lub 1:6, 9; Beb 11:3 b Zab 24:2Beefuula abatamanyi nti edda Katonda yalagira bulagizi, era olw’ekigambo eggulu n’ensi ne bitondebwa. Olw’ekigambo kya Katonda ensi yatondebwa ng’eggyibwa mu mazzi era n’ebeera wakati w’amazzi. 63:6 Lub 7:21, 22Era olw’ekigambo ekyo ensi eyo ey’edda, amazzi gaagisaanyaawo n’ezikirira. 73:7 nny 10, 12; 2Bs 1:7Era olw’ekigambo ekyo, eggulu n’ensi ebiriwo kaakano bikuumibwa nga birindiridde okwokebwa omuliro ku lunaku olw’okusalirako omusango, n’okuzikirizibwa kw’abo abatatya Katonda.

83:8 Zab 90:4Naye, abooluganda, temusaana, kwerabira nti mu maaso ga Mukama emyaka olukumi giri ng’olunaku olumu, era n’olunaku olumu luli ng’emyaka olukumi.3:8 laba Zab 90:4 93:9 a Kbk 2:3; Beb 10:37 b Bar 2:4 c 1Ti 2:4Mukama waffe taludde kutuukiriza ekyo kye yasuubiza ng’abamu bwe balowooza. Wabula ye akyabagumiikiriza, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna beenenye.

103:10 a Luk 12:39; 1Bs 5:2 b Mat 24:35; Kub 21:1Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja nga tewali n’omu amanyi; eggulu lirivaawo nga liwuuma nnyo, n’ebiririko birizikirizibwa n’omuliro, era ensi n’ebintu ebigirimu birisirikka.

11Kale obanga ebintu byonna bya kuzikirizibwa, mugwanidde kubeeranga bantu ba mpisa ntukuvu era abatya Katonda, 123:12 a 1Ko 1:7 b Zab 50:3 c nny 10nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olunaku obwengula bwonna3:12 obwengula y’ensi yonna n’ebizungirizi awamu n’ebintu ebirala byonna ebiburimu bwe buryokebwa ne buzikirizirwa n’ebiburimu ne bisaanuuka ne bisirikka. 133:13 Is 65:17; 66:22; Kub 21:1Naye nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira obwengula obuggya n’ensi empya omuli obutuukirivu.

143:14 1Bs 3:13Kale, abaagalwa, nga bwe mulindirira ebintu ebyo okubaawo mufubenga nnyo okuba abalongoofu abataliiko kya kunenyezebwa nga mulina emirembe. 153:15 a Bar 2:4 b nny 9 c Bef 3:3Kyokka mulowoozenga ku kubonyaabonyezebwa okw’obulokozi bwa Mukama waffe, nga ne muganda waffe omwagalwa Pawulo kye yabategeeza mu bbaluwa ze yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa. 163:16 a 2Pe 2:14 b nny 2Weewaawo ebbaluwa ze zirimu bingi ebizibu okutegeera, kyokka buli lw’awandiika aba ayogera ku nsonga ezo; wabula bo abatamanyi era abatali banywevu babinnyonnyola nga bwe bannyonnyola ebyawandiikibwa ebirala ne beereetako okuzikirira.

173:17 a 1Ko 10:12 b 2Pe 2:18 c Kub 2:5Kale, mmwe abaagalwa, ebyo nga bwe mubitegedde, mwekuume muleme kukyamizibwa abantu abo abajeemu, si kulwa nga babaleetera okugwa ne muva we munyweredde. 183:18 2Pe 1:11Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.

Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano n’emirembe gyonna. Amiina.