尼希米記 8 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

尼希米記 8:1-18

以斯拉宣讀律法書

1全體民眾萬眾一心,聚集在水門前的廣場上。他們請律法教師以斯拉帶來耶和華藉摩西頒給以色列人的律法書。 2七月一日,以斯拉祭司把律法書帶到能聽懂的男女會眾面前, 3面向水門前的廣場,從清早到正午一直向他們宣讀律法書,人們都側耳傾聽。 4律法教師以斯拉站在為這聚會預備的木臺上,站在他右邊的是瑪他提雅示瑪亞奈雅烏利亞希勒迦瑪西雅;站在他左邊的是毗大雅米沙利瑪基雅哈順哈拔大拿撒迦利亞米書蘭5以斯拉站在高處,他在全體會眾面前一打開書卷,他們都站了起來。 6以斯拉稱頌偉大的上帝耶和華,全體民眾都舉手應聲說:「阿們!阿們!」他們又面伏於地,俯伏敬拜耶和華。 7耶書亞巴尼示利比雅憫亞谷沙比太荷第雅瑪西雅基利他亞撒利雅約撒拔哈難毗萊雅利未人幫助民眾明白律法,當時民眾都站在自己的地方。 8他們宣讀上帝的律法書,並解釋清楚,使民眾明白所宣讀的。

9全體民眾聽到律法書上的話都哭了。尼希米省長、律法教師以斯拉祭司和教導民眾的利未人對他們說:「今天是你們上帝耶和華的聖日,不要悲哀、哭泣。」 10尼希米又說:「你們去吃肥美的肉,喝甘甜的酒,並分些給一無所有的人,因為今天是我們主的聖日。不要悲傷,因為從耶和華而來的喜樂就是你們的力量。」 11利未人使全體民眾安靜,說:「請安靜,因為今天是聖日。不要悲傷。」 12於是,全體民眾去吃喝,並分給他人,非常歡喜,因為他們明白了教導給他們的話。

守住棚節

13第二天,全體民眾的族長、祭司和利未人都到律法教師以斯拉那裡,要深入研究律法上的話。 14當時,他們發現耶和華藉摩西吩咐的律法上記載,以色列人要在七月節期期間住在棚子裡, 15並且要在他們的各城邑和耶路撒冷宣佈:「你們要上山取橄欖樹、野橄欖樹、番石榴樹、棕櫚樹和其他茂密樹木的枝子,照著所規定的搭棚。」 16於是,民眾都出去取來樹枝,在自家的屋頂上、庭院裡、上帝殿的院子裡、水門的廣場上和以法蓮門的廣場上搭棚。 17從流亡之地歸回的民眾都搭起棚子,住在裡面。從的兒子約書亞時代直到那天,以色列人從沒有這樣做過。民眾非常歡喜。 18從第一天到最後一天,以斯拉每天都誦讀上帝的律法書。他們守節期七天,第八天根據典章舉行莊嚴的聚會。

Luganda Contemporary Bible

Nekkemiya 8:1-18

18:1 a Nek 3:26 b Ma 28:61; 2By 34:15; Ezr 7:6abantu bonna nga bassa kimu ne bakuŋŋaanira mu kifo ekigazi ekyali mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi. Ne bagamba Ezera omuwandiisi, okuleeta Ekitabo ky’Amateeka ga Musa, Mukama ge yalagira Isirayiri.

28:2 a Lv 23:23-25; Kbl 29:1-6 b Ma 31:11Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu, Ezera kabona n’aleeta Ekitabo ky’Amateeka mu maaso g’ekibiina ekyalimu abasajja n’abakazi n’abalala abaali basobola okutegeera. 38:3 Nek 3:26N’akisomera mu kifo ekigazi mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi mu ddoboozi ery’omwanguka, okuva ku makya okutuusa essaawa mukaaga ez’omu tuntu, mu maaso g’abasajja n’abakazi n’abalala abasobola okutegeera. Abantu bonna ne batega amatu okuwulira ebyava mu Kitabo ky’Amateeka.

48:4 2By 6:13Ezera omuwandiisi n’ayimirira ku kituuti eky’embaawo kye baazimbira omukolo ogwo. Mattisiya, ne Sema, ne Anaya, ne Uliya, ne Kirukiya ne Maaseya be baamuliraana ku mukono gwe ogwa ddyo, ate Pedaya, ne Misayeri, ne Malukiya, ne Kasimu, ne Kasubaddana, ne Zekkaliya ne Mesullamu be baamuliraana ku mukono gwe ogwa kkono.

58:5 Bal 3:20Awo Ezera n’abikkula ekitabo, abantu bonna nga bamutunuulidde kubanga ekifo we yali ayimiridde kyali waggulu w’abantu bonna, era bwe yali ng’ayanjuluza ekitabo, abantu bonna ne bayimirira. 68:6 Kuv 4:31; Ezr 9:5; 1Ti 2:8Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu; abantu bonna ne bayimusa emikono gyabwe ne baddamu nti, “Amiina! Amiina!” Ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka ne basinza Mukama.

78:7 a Ezr 10:23 b Lv 10:11; 2By 17:7Yesuwa, ne Baani, ne Serebiya, ne Yamini, ne Akkubu, ne Sabbesayi, ne Kodiya, ne Masseya, ne Kerita, ne Azaliya, ne Yozabadi, ne Kanani ne Peraya, Abaleevi ne bannyonnyola abantu Amateeka, abantu nga bayimiridde mu bifo byabwe. 8Ne basoma mu Kitabo ky’Amateeka ga Katonda, nga bataputa, era nga bannyonnyola amakulu, abantu bategeere ebyasomebwa.

98:9 a Nek 7:1, 65, 70 b Ma 12:7, 12; 16:14-15Naye Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi, n’Abaleevi abaali bayigiriza abantu, ne bagamba abantu bonna nti, “Olunaku lwa leero lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba.”

108:10 a 1Sa 25:8; Luk 14:12-14 b Lv 23:40; Ma 12:18; 16:11, 14-15Nekkemiya n’abagamba nti, “Mugende mulye ebyassava, munywe n’ebiwoomerera, muweerezeeko n’abo abatalina kye bateeseteese. Leero lunaku lutukuvu eri Mukama, temunakuwala, kubanga essanyu eriva eri Mukama ge maanyi gammwe.”

11Awo Abaleevi ne bakkakkanya abantu bonna, nga boogera nti, “Mubeere bakkakkamu kubanga leero lunaku lutukuvu. Temunakuwala.”

128:12 Es 9:22Oluvannyuma abantu bonna ne beddirayo ewaabwe ne balya ne banywa ne baweerezaako ne bannaabwe abatalina kyakulya, era ne basanyuka nnyo, kubanga baategeera amakulu g’ebigambo ebyabategeezebwa.

13Ku lunaku olwokubiri olw’omwezi ogwo, abakulu b’ennyumba awamu ne bakabona n’Abaleevi, ne bakuŋŋaanira eri Ezera omuwandiisi okusoma n’okutegeera ebigambo by’Amateeka. 14Ne basanga mu byawandiikibwa mu Mateeka, Mukama ge yalagira Musa, nga Abayisirayiri baali bateekwa okusulanga mu weema mu biseera eby’embaga ey’omwezi ogw’omusanvu, 15era nga kibagwanidde okubunyisa amawulire ago n’okulangirira mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi, nga boogera nti, “Mugende mu nsozi mukuŋŋaanye amatabi ag’emizeeyituuni n’ago ag’emizeeyituuni egy’omu nsiko, n’ag’emikadasi,8:15 Emikadasi biti bimpi ebirina akaloosa akalungi. n’ag’enkindu, n’ag’emiti emirala egirina ebikoola ebingi okuzimba weema nga bwe kyawandiikibwa.”

168:16 2Bk 14:13; Nek 12:39Awo abantu ne bagenda ne bagaleeta ne beezimbira weema, abamu ku busolya bwabwe, ne mu mpya zaabwe, ne mu luggya lw’ennyumba ya Katonda, ne mu kibangirizi okuliraana Omulyango gw’Amazzi, ne mu kibangirizi okuliraana Omulyango gwa Efulayimu. 178:17 2By 7:8; 8:13; 30:21Awo ekibiina kyonna ekyakomawo okuva mu buwaŋŋanguse, ne beezimbira weema ne babeera omwo; kubanga okuva mu biro bya Yesuwa8:17 Yesuwa ye Yoswa mutabani wa Nuuni mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku olwo, Abayisirayiri baali tebakwatanga kiseera ekyo bwe batyo. Ne basanyuka nnyo nnyini.

188:18 a Ma 31:11 b Lv 23:36, 40; Kbl 29:35Buli lunaku, Ezera n’asomanga mu Kitabo ky’Amateeka ga Katonda okuva ku lunaku olwasooka okutuusa ku lunaku olwasembayo. Ne bakwata embaga okumala ennaku musanvu, ne ku lunaku olw’omunaana, ne bakola olukuŋŋaana, ng’ekiragiro bwe kiri.