士師記 20 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

士師記 20:1-48

討伐基比亞

1於是,從別示巴以及基列的全體以色列人萬眾一心,來到米斯巴,聚集在耶和華面前。 2以色列各支派的首領都參加了這次上帝子民的聚會,當時有四十萬持刀的步兵。 3便雅憫人也聽見以色列人聚集在米斯巴的消息。以色列人問那個利未人:「請告訴我們,這件邪惡的事是怎麼發生的。」 4利未人,就是被害女子的丈夫說:「我和我的妾到便雅憫基比亞住宿。 5那天晚上,基比亞人包圍我們住宿的房子,要殺死我。他們把我的妾蹂躪致死。 6我就把她的屍體切成塊,送到以色列的各個地區,讓以色列人都知道基比亞人做了邪惡、無恥的事。 7以色列人啊,你們看該怎麼處理吧!」

8眾人起來異口同聲地說:「我們誰也不回帳篷,誰也不回家。 9現在我們要抽籤去攻打基比亞10我們要從各支派中抽出十分之一的人負責運糧,等軍隊到達基比亞後,就可以討伐在以色列做出這種卑鄙之事的基比亞人。」 11於是,以色列人團結一致,一起去攻打那城。

12他們派人去對便雅憫各地的人說:「你們中間怎麼發生了這種邪惡的事! 13現在把那些基比亞的無賴交出來,我們要處死他們,從以色列剷除罪惡。」便雅憫人卻充耳不聞, 14還從各城聚集到基比亞以色列人打仗。 15便雅憫人從各城召集了兩萬六千刀兵,還從基比亞召集了七百精兵。 16軍中有七百精兵善用左手甩石,毫髮不差。 17其他十一個以色列支派則召集了四十萬善戰的刀兵。

18以色列人到伯特利去求問上帝,說:「我們當中哪個支派應當先去攻打便雅憫人呢?」耶和華說:「猶大支派。」

19第二天清早,以色列人就在基比亞附近安營, 20擺開陣勢,準備攻打便雅憫人。 21便雅憫人從基比亞出來,當天殺了以色列軍兩萬二千人。 22以色列人重整士氣,仍在第一天列陣的地方列陣。 23列陣之前,他們在耶和華面前一直哀哭到晚上。他們求問耶和華,說:「我們應該再去攻打我們的同胞便雅憫人嗎?」耶和華說:「可以去。」

24第二天,以色列人前去攻打便雅憫人。 25便雅憫人從基比亞出來迎戰,又殺了以色列軍一萬八千刀兵。 26以色列全軍來到伯特利,坐在耶和華面前哀哭,那天他們一直禁食到晚上,又在耶和華面前獻上燔祭和平安祭。 27-28那時,上帝的約櫃就在那裡,亞倫的孫子、以利亞撒的兒子非尼哈任祭司。以色列人求問耶和華,說:「我們應該再去攻打我們的同胞便雅憫人嗎?還是退兵?」耶和華說:「去攻打吧,因為明天我必把他們交在你們手中。」

29以色列人在基比亞周圍設下伏兵。 30第三天,以色列人又像前兩次一樣在基比亞列陣,攻打便雅憫人。 31便雅憫人前來迎戰,被以色列人誘到城外。他們又像前兩次一樣擊殺以色列人,大約三十名以色列人死在通往基比亞伯特利的兩條路上。 32便雅憫人說:「我們又打敗他們了。」但以色列人已經商議好,用詐敗的方法誘敵離城到大路上來。 33以色列全軍在巴力·他瑪列陣反攻,埋伏在基比亞西面的以色列人也衝了出來。 34有一萬以色列精兵從正面攻打基比亞,戰事非常激烈。便雅憫人大禍臨頭了仍懵然不知。 35耶和華幫助以色列人戰勝了便雅憫人。那天,以色列人殺了便雅憫兩萬五千一百刀兵。 36便雅憫人這才意識到自己戰敗了。

原來以色列人在便雅憫人面前詐敗,因為他們已在基比亞附近設下伏兵。 37那些伏兵迅速衝進基比亞,殺了全城的人。 38以色列人和伏兵已有約定,伏兵在城內點起一股濃煙時, 39以色列人便轉身殺回。便雅憫人殺了詐敗的以色列軍大約三十人,以為像以前一樣打敗了他們。 40這時基比亞城已濃煙滾滾,便雅憫人回頭觀望,只見全城濃煙四起。 41以色列人轉身殺了回來,便雅憫人大驚失色,知道大禍臨頭了。 42他們從以色列人面前轉身逃往曠野,卻無法逃脫。以色列人從各城出來夾攻他們。 43以色列人圍攻便雅憫人,一路追殺他們直到基比亞的東邊。 44便雅憫人共死了一萬八千名勇士。 45餘下的人都逃往曠野的臨門岩,沿途有五千人被殺。以色列人追殺他們,一直追到基頓,又消滅了他們兩千人。 46那天,便雅憫人共死了兩萬五千名英勇的刀兵, 47只有六百人逃到了臨門岩,在那裡住了四個月。 48以色列人回師便雅憫境內,將各城的男女老少以及牲畜全部殺死,又放火燒毀所有的城邑。

Luganda Contemporary Bible

Balam 20:1-48

Abayisirayiri Balwana n’Ababenyamini

120:1 a Bal 21:5 b 1Sa 3:20; 2Sa 3:10; 1Bk 4:25 c 1Sa 11:7 d 1Sa 7:5Awo abaana ba Isirayiri bonna okuva ku Ddaani okutuuka ku Beeruseba wamu n’ensi ya Gireyaadi ne bakuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa, nga bali omuntu omu. 220:2 Bal 8:10Abakulembeze b’abantu bonna mu bika byonna ebya Isirayiri ne batuula mu bifo byabwe mu kuŋŋaaniro ly’abantu ba Katonda, nga bawera abaserikale abaalina ebitala, emitwalo amakumi ana. 3Awo abaana ba Benyamini ne bawulira nti Abantu ba Isirayiri bambuse e Mizupa. Abaana ba Isirayiri ne boogera nti, “Ekintu kino eky’ekivve bwe kiti, kyabaawo kitya?”

420:4 a Yos 15:57 b Bal 19:15Omuleevi bba w’omukazi eyattibwa n’addamu nti, “Natuuka e Gibea ekya Benyamini, ne mukazi wange, tusule eyo. 520:5 a Bal 19:22 b Bal 19:25-26Abasajja ab’e Gibea ne bangolokokerako mu kiro, ne bazingiza ennyumba gye twalimu, ne baagala okunzita. Kyokka ne bakwata mukazi wange ne bamusobyako n’afa. 620:6 a Bal 19:29 b Yos 7:15; Bal 19:23Kyennava ntwala mukazi wange ne musalaasala, ne mpeereza ebitundu bye mu buli kifo eky’omugabo gwa Isirayiri, kubanga baakola ekikolwa eky’obugwenyufu era eky’ekivve. 720:7 Bal 19:30Kaakano mmwe abaana ba Isirayiri mwenna, musaleewo eky’okukola.”

8Awo abantu bonna ne bagolokoka nga bali omuntu omu, ne boogera nti, “Tewali muntu mu ffe aliddayo ewuwe. Tewali aliddayo mu nnyumba ye. 920:9 Lv 16:8Naye kaakano ekintu kye tulikola Gibea okumulwanyisa, kwe kumukubira akalulu. 10Abantu kkumi ku bantu kikumi okuva mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abalala kikumi ku bantu olukumi, n’abalala lukumi ku bantu omutwalo ogumu bagende bafunire eggye ebyetaago. Eggye bwe lirituuka e Gibea eky’e Benyamini balyoke bababonereze ng’ekikolwa kyabwe eby’obugwenyufu bwe kiri, kye baakola mu Isirayiri.” 1120:11 nny 1Awo abantu bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne baba omuntu omu, ne balumba ekibuga.

12Ebika bya Isirayiri ne bituma ababaka mu kika kyonna ekya Benyamini, nga babuuza nti, “Kikolwa ki eky’ekivve ekyakolebwa wakati mu mmwe? 1320:13 a Ma 13:13; Bal 19:22 b Ma 17:12Kale kaakano muweeyo abasajja abaana b’ebikolwa ebitali bya butuukirivu abali mu Gibea tubatte, tuggyewo ekibi mu Isirayiri.”

Naye abaana ba Benyamini ne bagaana okuwuliriza eddoboozi ly’abaana ba Isirayiri. 14Awo abaana ba Benyamini ne bakuŋŋaanira mu Gibea nga bava mu bibuga byonna, bagende balwanyise abaana ba Isirayiri. 15Ku lunaku olwo, abaana ba Benyamini ne bavaayo okuva mu bibuga abasajja abalina ebitala emitwalo ebiri mu kakaaga. 1620:16 Bal 3:15; 1By 12:2Mu bantu abo bonna mwalimu abasajja abalondemu lusanvu abakozesa kkono. Buli omu ku bo yayinzanga okuteeka ejjinja mu nvumuulo ekube oluviiri, n’atasubwa.

17Abasajja ba Isirayiri, nga totaddeeko abava mu Benyamini, ne bakuŋŋaana abasajja abalwanyi abasitula ebitala, emitwalo amakumi ana. 1820:18 a nny 26-27; Kbl 27:21 b Kbl 27:23, 28Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka ne bayambuka e Beseri ne beebuuza ku Katonda nga bagamba nti, “Ani ku ffe alisooka okugenda okulwanyisa abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Yuda yalisooka.”

19Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka mu makya ne basiisira okumpi ne Gibea. 20Abasajja ba Isirayiri ne bagenda okulwanyisa Benyamini, n’abasajja ba Benyamini ne basimba ennyiriri okulwanyisa abasajja ba Isirayiri e Gibea. 2120:21 nny 25Abaana ba Benyamini ne bava mu Gibea ne batta abasajja ba Isirayiri emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lutalo ku lunaku olwo. 22Naye abantu bazzaamu abasajja ba Isirayiri amaanyi, ne baddayo ne basimba ennyiriri mu kifo mwe baali ku lunaku olwasooka. 2320:23 a Yos 7:6 b nny 18Awo abaana ba Isirayiri ne bambuka ne bakaabira Mukama okutuusa akawungeezi. Ne beebuuza ku Mukama nti, “Tuddeyo tulwanyise baganda baffe abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende mubalwanyise.”

24Ku lunaku olwokubiri Abayisirayiri ne basembera okulwanyisa Ababenyamini. 2520:25 nny 21Ababenyamini ne bavaayo ne balumba okuva e Gibea, ne batta abaana ba Isirayiri abalala omutwalo gumu mu kanaana mu lutalo ku lunaku olwo olwokubiri; Abayisirayiri abo bonna baalina ebitala.

2620:26 a nny 23 b Bal 21:4Awo abaana ba Isirayiri bonna n’abantu bonna, ne bambuka okulaga e Beseri, ne bakaabira Mukama Katonda ne batuula eyo mu maaso ge ne basiiba olunaku olwo okutuusa akawungeezi, lwe baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Mukama. 2720:27 Yos 18:1Abaana ba Isirayiri ne beebuuza ku Mukama Katonda, kubanga essanduuko ey’endagaano ya Katonda yaliyo mu biro ebyo, 2820:28 a Yos 24:33 b Ma 18:5 c Bal 7:9nga Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni yaweereza mu maaso ga Mukama Katonda. Ne bamwebuuzaako nga bagamba nti, “Tuddeyo tulumbe baganda baffe abaana ba Benyamini oba tetuddayo?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende kubanga enkya nzija kubagabula mu mukono gwammwe.”

2920:29 Yos 8:2, 4Awo Abayisirayiri ne bateegera ku njuyi zonna eza Gibea. 30Ku lunaku olwokusatu abaana ba Isirayiri ne bambuka okulwanyisa abaana ba Benyamini ne basimba ennyiriri nga boolekedde Gibea ng’olulala. 3120:31 Yos 8:16Abaana ba Benyamini ne bavaayo okubalwanyisa ne basikirizibwa okuva mu kibuga, ne batandika okukuba n’okutta ng’olulala, nga bava ku luguudo olumu okudda e Beseri, ne ku lulala oludda e Gibea mu nnimiro. Ne batta abasajja Abayisirayiri ng’amakumi asatu.

3220:32 nny 39Abaana ba Benyamini bwe baagambanga nti, “Tubawangula nga luli bwe kyali ku mulundi ogwasooka,” Abayisirayiri bo ne beeteesa nti, “Tuddeyoko emabega, tubasikirize okubaggya mu kibuga badde mu nguudo.” 3320:33 Yos 8:19Abasajja bonna aba Isirayiri ne bava mu nnyiriri zaabwe mu bifo byabwe, ne badda e Baalutamali. Abayisirayiri abaateega ne bafubutuka okuva mu bifo byabwe mu ttale erya Gibea. 3420:34 a Yos 8:14 b Is 47:11Awo abasajja omutwalo gumu abaalondebwa okuva mu Isirayiri yonna, ne balumba Gibea ne waba okulwana okw’amaanyi, Ababenyamini ne batamanya nti akabi kabajjidde. 3520:35 1Sa 9:21Awo Mukama Katonda n’awangula Benyamini mu maaso ga Isirayiri, era ku lunaku olwo abaana ba Isirayiri ne batta Ababenyamini bonna abaalina ebitala, abasajja emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu kikumi. 3620:36 Yos 8:15Abaana ba Benyamini ne balaba nga bakubiddwa.

Abasajja ba Isirayiri ne bakolera Ababenyamini ekkubo, nga bo Abayisirayiri beesize abateezi be baali batadde okumpi ne Gibea. 3720:37 Yos 8:19Abaali bateeze ne badduka ne beesogga mu Gibea, ne basaasaana ne batta abaakirimu bonna. 3820:38 Yos 8:20Abasajja ba Isirayiri baali balagaanye n’abaateega nti abateezi bwe banaanyoosa omukka omungi mu kibuga, 3920:39 nny 32abasajja ba Isirayiri abali mu ddwaniro banaakyuka. Mu kiseera ekyo Ababenyamini baali batanudde okukuba n’okutta abasajja ba Isirayiri ng’amakumi asatu, nga luli olwasooka.

Ne bagamba nti, “Ddala ddala tubawangudde nga mu lutalo luli olwasooka.” 4020:40 Yos 8:20Naye omukka bwe gwatandika okunyooka, ekibuga kyonna nga kigya, Ababenyamini ne bakyuka okutunula emabega, laba, ng’ekibuga kyonna kikutte omuliro. 41Abasajja ba Isirayiri ne babakyukira. Abasajja ba Benyamini ne batya bwe baalaba ng’akabi kabajjidde. 42Kyebaava badduka abasajja ba Isirayiri nga baddukira mu ddungu, kyokka olutalo ne lubayinza. Buli eyadduka okuva mu bibuga n’afiira wamu nabo. 43Abayisirayiri ne bazingiza Ababenyamini, ne babagoba okutuukira ddala ku buvanjuba bw’e Gibea we butandikira. 4420:44 Zab 76:5Abasajja abalwanyi abazira Ababenyamini abaafa baali omutwalo gumu mu kanaana. 4520:45 Yos 15:32; Bal 21:13Ababenyamini bwe baddukira mu ddungu nga boolekedde olwazi lwa Limoni, Abayisirayiri ne batta enkumi ttaano ku bo. Abayisirayiri ne bongera okubagobera ddala okutuuka e Gidomu, era n’eyo ne battirayo abasajja enkumi bbiri.

46Bwe batyo Ababenyamini bonna abaafa ku lunaku olwo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ttaano, bonna abo nga basajja bazira. 47Naye abasajja lukaaga be baddukira mu ddungu okwolekera olwazi lwa Limoni, ne babeera eyo okumala emyezi ena. 4820:48 Bal 21:23Abasajja ba Isirayiri ne bakyuka ne baddayo eri abaana ba Benyamini ne batta buli kintu ekyali mu kibuga, ne batta ensolo, ne batta buli muntu gwe baasanga mu bibuga byonna bye baalaba, ne babikumako omuliro.