創世記 2 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

創世記 2:1-25

1天地萬物都造好了。 2第七天,上帝完成了祂的創造之工,就在第七天歇了一切的工。 3上帝賜福給第七天,將其定為聖日,因為祂在這一天歇了祂一切的創造之工。 4這是有關創造天地的記載。

上帝造亞當和夏娃

耶和華上帝創造天地的時候, 5地上還沒有草木菜蔬,因為耶和華上帝還沒有降雨在地上,土地也沒有人耕作, 6但有水從地裡湧出,澆灌大地。 7耶和華上帝用地上的塵土造了人,把生命的氣息吹進他的鼻孔裡,他就成了有生命的人。 8耶和華上帝在東方的伊甸開闢了一個園子,把祂所造的人安置在裡面。 9耶和華上帝使地面長出各種樹木,它們既好看又能結出可吃的果子。在園子的中間有生命樹和分別善惡的樹。

10有一條河從伊甸流出來灌溉那園子,又從那裡分出四條支流。 11第一條支流叫比遜河,它環繞著哈腓拉全境。那裡有金子, 12且是上好的金子,還有珍珠和紅瑪瑙。 13第二條支流是基訓河,它環繞著古實全境。 14第三條支流名叫底格里斯河,它流經亞述的東邊。第四條支流是幼發拉底河。

15耶和華上帝把那人安置在伊甸的園子裡,讓他在那裡耕種、看管園子。 16耶和華上帝吩咐那人說:「你可以隨意吃園中所有樹上的果子, 17只是不可吃那棵分別善惡樹的果子,因為你若吃了,當天必死。」

18耶和華上帝說:「那人獨自一人不好,我要為他造一個相配的幫手。」 19耶和華上帝用塵土造了各種田野的走獸和空中的飛鳥,把牠們帶到那人跟前,看他怎麼稱呼這些動物。他叫這些動物什麼,牠們的名字就是什麼。 20那人給所有的牲畜及田野的走獸和空中的飛鳥都起了名字。可是他找不到一個跟自己相配的幫手。 21耶和華上帝使那人沉睡,然後從他身上取出一根肋骨,再把肉合起來。 22耶和華上帝用那根肋骨造成一個女人,帶到那人跟前。 23那人說:

「這才是我的同類,

我骨中的骨,肉中的肉,

要稱她為女人,

因為她是從男人身上取出來的。」

24因此,人要離開父母,與妻子結合,二人成為一體。 25當時,他們夫婦二人都赤身露體,並不覺得羞恥。

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 2:1-25

1Bwe bityo eggulu n’ensi awamu ne byonna ebigirimu ne biggwa okukolwa.

22:2 Kuv 20:11; 31:17; Beb 4:4*Ku lunaku olw’omusanvu Katonda yali amaze ebyo byonna bye yali akola; n’awummulira ku lunaku olwo ng’ava ku mirimu gye gyonna gye yakola. 32:3 Lv 23:3; Is 58:13Bw’atyo Katonda olunaku olw’omusanvu n’aluwa omukisa n’alutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda.

Adamu ne Kaawa

4Ebyo bye bifa ku ggulu n’ensi nga bwe byatondebwa, Mukama Katonda we yamalira okutonda eggulu n’ensi.

52:5 a Lub 1:11 b Zab 65:9-10Tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu ow’okulima ettaka. 6Naye ensulo n’eva mu ttaka n’efukirira ensi yonna. 72:7 a Lub 3:19 b Zab 103:14 c Yob 33:4 d Bik 17:25 e 1Ko 15:45*Mukama Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu. 82:8 Lub 3:23, 24; Is 51:3Mukama Katonda yali asimbye ennimiro Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba, omuntu gwe yabumba n’amuteeka omwo. 92:9 a Lub 3:22, 24; Kub 2:7; 22:2, 14, 19 b Ez 47:12Mukama Katonda n’ameza mu ttaka buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya. N’ateeka omuti ogw’obulamu, n’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi wakati mu nnimiro.

10Omugga ne gusibuka mu nnimiro Adeni ne gukulukuta okulufukirira, ne gwanjaalira omwo ne guvaamu emigga ena. 11Erinnya ly’ogusooka Pisoni, gwe gwo ogukulukuta okwetooloola ensi ya Kavira, awali zaabu; 12ne zaabu y’ensi eyo nnungi; mulimu bideriamu n’amayinja onuku. 13Omugga ogwokubiri ye Gikoni, gwe gukulukuta okwetooloola ensi ya Kuusi.2:13 Kuusi, mu Ndagaano Enkadde, ly’erinnya ly’ekifo mu Lwebbulaniya eky’e Sudaani oba Buwesiyopya. Omugga ye Kiyira. 142:14 Dan 10:4N’erinnya ly’ogwokusatu ye Tigiriisi ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati.

15Mukama Katonda n’ateeka omuntu mu nnimiro Adeni agirimenga era agikuumenga. 16Mukama Katonda n’alagira omuntu nti, “Emiti gyonna egy’omu nnimiro olyangako, 172:17 Ma 30:15, 19; Bar 5:12; 6:23; Yak 1:15naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi ogwo togulyangako, kubanga lw’oligulyako tolirema kufa.”

182:18 1Ko 11:9Mukama Katonda n’ayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.” 192:19 a Zab 8:7 b Lub 1:24Naye olwo Mukama Katonda yali amaze okukola ensolo zonna ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga. N’abireeta eri omuntu abituume amannya. Buli kiramu omuntu nga bwe yakiyita, lye lyabeera erinnya lyakyo. 20Bw’atyo omuntu n’atuuma buli nsolo ey’awaka, n’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko amannya.

Adamu yali tannaba kufunirwa mubeezi. 21Mukama Katonda n’aleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzaawo ennyama. 222:22 1Ko 11:8, 9, 12Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera.

232:23 Lub 29:14; Bef 5:28-30Omusajja n’agamba nti,

“Lino lye ggumba ery’omu magumba gange,

ye nnyama ey’omu nnyama yange,

anaayitibwanga mukazi;

kubanga aggyibbwa mu musajja.”

242:24 a Mal 2:15 b Mat 19:5*; Mak 10:7-8*; 1Ko 6:16*; Bef 5:31*Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.

252:25 Lub 3:7, 10-11Omusajja n’omukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi.