創世記 18 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

創世記 18:1-33

上帝應許撒拉生子

1耶和華在幔利的橡樹那裡向亞伯拉罕顯現。那時天氣很熱,亞伯拉罕坐在帳篷口, 2抬頭看見三個人站在對面,就跑去迎接他們,俯伏在地, 3說:「我主,你們若肯賞光,請不要匆匆路過僕人這裡。 4我讓人拿點水來,你們洗洗腳,在樹下歇一會兒。 5我拿點餅來,你們補充一下體力再上路吧。你們既然路過這裡,我理應招待你們。」他們說:「好,就照你說的做吧!」

6於是,亞伯拉罕連忙進帳篷對撒拉說:「快準備三斗18·6 三斗」希伯來文是「三細亞」,大約是十公斤。細麵粉,和麵烤餅。」 7亞伯拉罕又跑到牛群中牽了一頭肥嫩的小牛,吩咐僕人趕快準備好。 8亞伯拉罕把奶、乳酪和準備好的牛肉擺在客人面前,站在樹蔭下招待他們。

9那三位客人問亞伯拉罕:「你妻子撒拉在哪裡?」亞伯拉罕回答說:「在帳篷裡。」 10其中一人說:「明年這時候,我會再來你這裡,撒拉必生一個兒子。」這話被站在那人後面帳篷口的撒拉聽見了。 11亞伯拉罕撒拉已經年紀老邁,撒拉的月經也已經停了。 12撒拉暗自發笑,心想:「我已經這麼老了,還會有這種福氣嗎?況且我的丈夫也很老了。」 13耶和華問亞伯拉罕:「撒拉為什麼偷笑說,『我這把年紀還會有孩子嗎?』 14什麼事難得住耶和華呢?明年這時候,我會再來你這裡,撒拉必生一個兒子。」 15撒拉聽見後非常害怕,連忙否認說:「我沒有笑!」但耶和華說:「不,你確實笑了。」

亞伯拉罕為所多瑪求情

16那三個人就起身朝所多瑪眺望,亞伯拉罕與他們同行,要送他們一程。 17耶和華說:「我要做的事怎麼可以瞞著亞伯拉罕呢? 18亞伯拉罕必成為強盛的大國,世上萬國必因他而蒙福。 19我揀選了他,是要他教導自己的子孫後代持守我的道、秉公行義。這樣,我必實現對他的應許。」 20耶和華說:「所多瑪蛾摩拉罪惡深重,人們怨聲載道。 21我現在要下去看看他們的所作所為是否如所說的那樣邪惡,如果不是,我也會知道。」

22其中二人轉身向所多瑪走去,亞伯拉罕卻仍舊站在耶和華面前。 23亞伯拉罕上前說:「你要把義人和惡人一同毀滅嗎? 24倘若城中有五十個義人,你還要毀滅那城嗎?你會不會為了五十個義人而饒恕那座城呢? 25你絕不會黑白不分,把義人和惡人一同毀滅。你是普天下的審判者,難道不秉公行事嗎?」 26耶和華回答說:「倘若我在所多瑪城中找到五十個義人,我就要因他們的緣故饒恕全城。」 27亞伯拉罕說:「主啊,雖然我渺小如灰塵,但我還要大膽地求問你, 28倘若只有四十五個義人,你會因為少了五個義人而毀滅全城嗎?」耶和華說:「倘若我在城裡找到四十五個義人,我也不會毀滅那城。」 29亞伯拉罕又說:「倘若在那裡找到四十個義人呢?」耶和華說:「為了那四十個人的緣故,我不會毀滅那城。」 30亞伯拉罕說:「求主不要發怒,容許我再問一次,倘若在那裡只找到三十個義人呢?」耶和華說:「倘若在那裡只找到三十個,我也不會毀滅那城。」 31亞伯拉罕說:「我大膽再問一次,倘若在那裡只找到二十個義人呢?」耶和華說:「為了那二十個人的緣故,我也不會毀滅那城。」 32亞伯拉罕又說:「求主不要發怒,讓我問最後一次,倘若在那裡只找到十個義人呢?」耶和華說:「為了那十個人的緣故,我也不會毀滅那城。」 33耶和華跟亞伯拉罕說完話便離開了,亞伯拉罕也回家去了。

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 18:1-33

Ibulayimu n’Abagenyi Abasatu

118:1 Lub 13:18; 14:13Awo Mukama n’alabikira Ibulayimu mu mivule gya Mamule, mu ttuntu ng’atudde mu mulyango gwa weema ye. 218:2 nny 16, 22; Lub 32:24; Yos 5:13; Bal 13:6-11; Beb 13:2Bwe yasitula amaaso ge n’alaba, era laba, abasajja basatu nga bayimiridde mu maaso ge. Bwe yabalaba, n’adduka okuva mu mulyango gwa weema ye, okubasisinkana n’agwa wansi, 3n’agamba nti, “Mukama wange obanga ndabye ekisa mu maaso go, toyita ku muddu wo. 418:4 Lub 19:2; 43:24Leka tuleete otuzzi munaabe ku bigere, muwummuleko wano wansi w’omuti, 518:5 Bal 13:15nga bwe ndeeta omugaati mulyeko muddemu amaanyi, mulyoke mugende, anti muzze eri muddu wammwe.”

Ne bamugamba nti, “Kola nga bw’ogambye.”

6Ibulayimu n’ayanguwa okugenda eri Saala, n’amugamba nti, “Teekateeka mangu kilo kkumi na mukaaga ez’obutta okande ofumbire mangu abagenyi emmere.”

7Ibulayimu n’agenda bunnambiro mu kisibo n’aggyamu ennyana, ento era ennungi n’agiwa omu ku bavubuka18:7 Akyayinza okuba nga yali Isimayiri eyayanguwa okugifumba. 818:8 Lub 19:3Awo n’addira omuzigo n’amata n’ennyana eyafumbibwa n’abiteeka mu maaso gaabwe; n’ayimirira we baali, wansi w’omuti nga balya. 9Ne bamubuuza nti, “Saala mukyala wo ali ludda wa?” N’addamu nti, “Ali mu weema.”

1018:10 Bar 9:9*Mukama n’amugamba nti, “Ddala ndikomawo gy’oli mu kiseera nga kino, era Saala mukazi wo alizaala omwana owoobulenzi.”

Ne Saala yali awuliriza ng’ali mu mulyango gwa weema emabega we. 1118:11 a Lub 17:17 b Bar 4:19Mu kiseera kino Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo nga Saala takyali na mu nsonga z’abakazi. 1218:12 a Lub 17:17; 21:6 b 1Pe 3:6Awo Saala n’asekera muli ng’agamba nti, “Nga nkaddiye, nga ne baze akaddiye, ndisanyusibwa?”

13Mukama n’abuuza Ibulayimu nti, “Lwaki Saala asese ng’agamba nti, ‘Ndiyinza okuzaala omwana nga nkaddiye?’ 1418:14 Yer 32:17, 27; Zek 8:6; Mat 19:26; Luk 1:37; Bar 4:21Waliwo ekirema Mukama? Omwaka ogujja, mu kiseera kyennyini, ndikomawo gy’oli, ne Saala alizaala omwana owoobulenzi.”

15Naye Saala ne yeegaana ng’agamba nti, “Si sese,” kubanga yali atidde.

N’amuddamu nti, “Nedda osese.”

Ibulayimu Yeegayiririra Sodomu

16Awo abasajja bwe bavaayo ne bagenda, ne boolekera oluuyi lwa Sodomu18:16 Sodomu kikyali mu kifo kye kimu we kyabeeranga, okudda mu bukiikaddyo bw’Ennyanja ey’Omunnyo; Ibulayimu n’abawerekerako. 1718:17 a Am 3:7 b Lub 19:24Mukama n’agamba mu mutima gwe nti, “Ibulayimu namukweka kye ŋŋenda okukola? 1818:18 Bag 3:8*Ibulayimu agenda kufuuka eggwanga eddene, ery’amaanyi, era mu ye, amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa. 1918:19 a Ma 4:9-10; 6:7 b Yos 24:15; Bef 6:4Mmulonze alagire abaana be n’abantu be abaliddawo okukwatanga ekkubo lya Mukama nga bakola eby’obutuukirivu era nga ba mazima, Mukama alyoke atuukirize ekyo kye yasuubiza Ibulayimu.”

20Awo Mukama n’agamba nti, “Olw’okunkaabirira okusukkiridde olw’ebibi bya Sodomu ne Ggomola ebingi ennyo, 2118:21 Lub 11:5nzija kukka ndabe obanga ddala bakozi ba bibi ng’okunkaabirira olw’ebibi byabwe okutuuse gye ndi bwe kuli, era obanga si bwe kiri nnaamanya.”

2218:22 Lub 19:1Awo abasajja ne bakyuka okuva awo, ne batambula okwolekera Sodomu; naye Ibulayimu n’asigala ng’akyayimiridde mu maaso ga Mukama. 2318:23 Kbl 16:22Awo Ibulayimu n’amusemberera n’agamba nti, “Ddala olizikiriza abatuukirivu awamu n’ababi? 2418:24 Yer 5:1Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu amakumi ataano onookizikiriza n’otokisonyiwa olw’abatuukirivu amakumi ataano abakirimu? 2518:25 Yob 8:3, 20; Zab 58:11; 94:2; Is 3:10-11; Bar 3:6Kireme okuba gy’oli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu ne benkana n’ababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi ow’ensi yonna teyandisaanye akole kituufu?”

2618:26 Yer 5:1Mukama n’agamba nti, “Bwe nnaasanga mu Sodomu abatuukirivu amakumi ataano mu kibuga omwo nzija kusonyiwa ekibuga kyonna ku lwabwe.”

2718:27 Lub 2:7; 3:19; Yob 30:19; 42:6Ibulayimu n’addamu nti, “Laba nnyinziza okwogera ne Mukama, nze ani, nze enfuufu n’evvu! 28Singa abatuukirivu babulako bataano okuwera amakumi ataano, onoozikiriza ekibuga kubanga kubulako bataano?”

N’amuddamu nti, “Sijja kukizikiriza, bwe nnaasangamu abatuukirivu amakumi ana mu abataano abampulira.”

29Ate Ibulayimu n’amugamba nti, “Singa musangibwamu amakumi ana.”

Mukama n’amuddamu nti, “Ku lw’amakumi ana sijja kukizikiriza.”

30Ate n’agamba nti, “Kale nno Mukama aleme okunsunguwalira, nange nnaayogera. Singa musangibwamu amakumi asatu.”

N’addamu nti, “Sijja kukizikiriza singa musangibwamu amakumi asatu.”

31N’agamba nti, “Laba ŋŋumye ne njogera ne Mukama. Singa musangibwamu amakumi abiri.”

N’agamba nti, “Ku lw’amakumi abiri sijja kukizikiriza.”

3218:32 a Bal 6:39 b Yer 5:1Ate n’agamba nti, “Kale Mukama aleme okukwatibwa obusungu, nnaayongera okwogera, naye luno lwokka. Singa kkumi lye linaasangibwamu.”

N’addamu nti, “Ku lw’abo ekkumi sijja kukizikiriza.”

33Mukama bwe yamala okwogera ne Ibulayimu n’agenda, ne Ibulayimu n’addayo ewuwe.