創世記 11 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

創世記 11:1-32

巴別塔

1那時,天下人都用同一種語言,講同一種話。 2人們向東遷移時,在示拿地區找到一處平原,定居下來。 3他們彼此商量說:「來呀,我們燒些磚吧。」他們用磚作石塊,用柏油作水泥來造塔, 4說:「來吧,讓我們造一座城和一座高聳入雲的塔,這樣我們可以揚名天下,不致分散在地上。」 5耶和華從天上下來,要察看人建造的城和塔。 6耶和華說:「看啊,他們同屬一個民族,都用同一種語言,現在就做這樣的事,如果繼續下去,他們會為所欲為。 7讓我們下去變亂他們的語言,使他們彼此言語不通。」 8於是,耶和華把他們從那裡分散到世界各地,他們便不再建造那城了。 9因此,人稱那城為巴別,因為耶和華在那裡變亂了人類的語言,把他們分散到世界各地。

閃的後代

10以下是的後代。

洪水過後兩年,一百歲生亞法撒11之後又活了五百年,生兒育女。

12亞法撒三十五歲生沙拉13之後又活了四百零三年,生兒育女。

14沙拉三十歲生希伯15之後又活了四百零三年,生兒育女。

16希伯三十四歲生法勒17之後又活了四百三十年,生兒育女。

18法勒三十歲生拉吳19之後又活了二百零九年,生兒育女。

20拉吳三十二歲生西鹿21之後又活了二百零七年,生兒育女。

22西鹿三十歲生拿鶴23之後又活了二百年,生兒育女。

24拿鶴二十九歲生他拉25之後又活了一百一十九年,生兒育女。

26他拉七十歲後,生了亞伯蘭拿鶴哈蘭

他拉的後代

27以下是他拉的後代。

他拉亞伯蘭拿鶴哈蘭哈蘭羅得28哈蘭比他父親他拉先去世,他死在自己的家鄉——迦勒底吾珥29亞伯蘭拿鶴都娶了妻子,亞伯蘭的妻子名叫撒萊拿鶴的妻子名叫密迦,是哈蘭的女兒。哈蘭密迦亦迦的父親。 30撒萊不能生育,沒有孩子。

31他拉帶著兒子亞伯蘭、孫子——哈蘭的兒子羅得、兒媳婦——亞伯蘭的妻子撒萊,離開迦勒底吾珥前往迦南,他們來到哈蘭定居下來。 32他拉在那裡去世,享年二百零五歲11·32 二百零五歲」有古卷作「一百四十五歲」。

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 11:1-32

Omunaala gwa Babiri

1Ensi yonna yalina olulimi lumu, nga bakozesa ebigambo bye bimu. 211:2 Lub 10:10Abantu bwe baava oluuyi olw’ebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinaali ne babeera omwo.

311:3 a Kuv 1:14 b Lub 14:10Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi. 411:4 a Ma 1:28; 9:1 b Lub 6:4 c Ma 4:27Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.”

511:5 nny 7; Lub 18:21; Kuv 3:8; 19:11, 18, 20Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba. 6Mukama n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. 711:7 a Lub 1:26 b Lub 42:23Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.”

811:8 Lub 9:19; Luk 1:51Bw’atyo Mukama n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza. 911:9 Lub 10:10Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.

Abaana n’abazzukulu ba Seemu

10Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Seemu:

Seemu bwe yali ng’aweza emyaka kikumi, n’azaala11:10 n’azaala kiyinza okutegeeza jjajja Alupakusaadi nga wakayita emyaka ebiri okuva ku mataba. 11Seemu n’amala emyaka ebikumi bitaano nga Alupakusaadi amaze okusaalibwa. N’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

1211:12 Luk 3:35Alupakusaadi bwe yaweza emyaka asatu mu etaano n’azaala Seera, 13Alupakusaadi bwe yamala okuzaala Seera n’awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu esatu, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

14Seera bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Eberi, 15ate Seera n’aweza emyaka emirala ebikumi bina mu asatu ng’amaze okuzaala Eberi, era omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.

16Eberi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ena n’azaala Peregi. 17Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n’awangaala emyaka ebikumi bina mu amakumi asatu, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.

18Peregi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Leewo, 19bwe yamala okuzaala Leewo n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

2011:20 Luk 3:35Leewo bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri n’azaala Serugi. 21N’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

22Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Nakoli, 23bwe yamala okuzaala Nakoli n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

2411:24 Luk 3:34Nakoli bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda n’azaala Teera. 25Bwe yamala okuzaala Teera n’awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, era omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

2611:26 a Luk 3:34 b Yos 24:2Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani.

Obuzaale bwa Ibulaamu

2711:27 nny 31; Lub 12:4; 14:12; 19:1; 2Pe 2:7Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera:

Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti. 2811:28 nny 31; Lub 15:7Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli ey’Abakaludaaya mwe yazaalirwa. 2911:29 a Lub 17:15 b Lub 22:20Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika. 3011:30 Lub 16:1; 18:11Salaayi yali mugumba, teyalina mwana.

3111:31 a Lub 15:7; Nek 9:7; Bik 7:4 b Lub 10:19Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani,11:31 Kalani kibuga ekisangibwa mu Mesopotamiya, era ky’ekifo ekikulu awasinzibwa omwezi, ng’ekibuga ky’e Uli bwe kiri. ne babeera omwo.

32Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera n’afiira mu Kalani.