利未記 6 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

利未記 6:1-30

1耶和華對摩西說: 2「如果有人犯罪,不忠於耶和華,拒絕歸還同胞委託他保管的物品或抵押品,或搶掠同胞,或欺騙同胞, 3或撿到東西卻矢口否認,或起假誓,或犯其他類似的罪, 4他必須歸還一切靠偷盜、欺詐、侵佔、拾遺、 5或起假誓得來的東西,他必須在獻贖過祭那天如數歸還物主,並加賠五分之一。 6他要從羊群中選一隻毫無殘疾的公綿羊,或把同等價值的銀子帶到祭司那裡,獻給耶和華作贖過祭。 7祭司要在耶和華面前為他贖罪,他就會得到赦免。」

祭司獻燔祭的條例

8耶和華對摩西說: 9「你要吩咐亞倫及其子孫遵行以下獻燔祭的條例。

「燔祭要整夜留在祭壇上,壇上的火要不停地燃燒。 10早晨,祭司要穿上細麻衣袍和內衣,將燔祭壇上的灰燼清理好,放在祭壇旁邊。 11然後,他要更換衣服,把灰燼拿到營外潔淨的地方。 12祭壇上的火要不斷燃燒,不能熄滅。祭司每天早上要在壇上加柴,擺上燔祭,在上面燒平安祭牲的脂肪。 13壇上的火必須不斷燃燒,不可熄滅。

祭司獻素祭的條例

14「以下是獻素祭的條例。

「祭司——亞倫的子孫要在祭壇前向耶和華獻素祭。 15祭司要從素祭中拿一把調油的細麵粉和所有的乳香,作為象徵放在壇上焚燒,作蒙耶和華悅納的馨香之祭。 16亞倫及其子孫要吃剩下的祭物,要在會幕院子裡的聖潔之處做無酵餅吃。 17做餅時不可加酵。這些祭物是我從獻給我的火祭中賜給他們的,像贖罪祭和贖過祭一樣是至聖之物。 18亞倫的子孫中,男子都可以吃。這是他們世世代代應得之份。凡接觸到這些祭物的都會變得聖潔。」

19耶和華對摩西說: 20亞倫及其子孫受膏那天,要獻給耶和華一公斤細麵粉作為日常獻的素祭,早晚各獻一半。 21要把這些細麵粉調上油,用煎鍋做餅,切成塊獻上,作為蒙耶和華悅納的馨香之祭。 22亞倫子孫中繼任大祭司的,受膏時要獻上素祭。這種祭物屬於耶和華,必須全部燒掉。 23祭司獻的這種素祭不可以吃,要全部燒掉。」

祭司獻贖罪祭的條例

24耶和華對摩西說: 25「你把以下贖罪祭的條例告訴亞倫及其子孫。

「贖罪祭是至聖的,要在殺燔祭牲的地方,在耶和華面前宰祭牲。 26獻這祭的祭司要在會幕院子裡的聖潔之處吃這祭牲。 27凡接觸到這些祭肉的,都會變得聖潔。如果衣服被濺上血,則要在聖潔之處把衣服洗淨。 28用來煮祭肉的瓦鍋,用後都要打碎。如果用的是銅鍋,要擦乾淨並用水沖洗。 29這些祭肉是至聖之物,祭司家族中的男子都可以吃。 30如果祭牲的血被帶進會幕,在聖所內進行贖罪,就不可吃祭肉,必須全部燒掉。

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 6:1-30

1Awo Mukama n’agamba Musa nti, 26:2 a Kbl 5:6; Bik 5:4; Bak 3:9 b Nge 24:28 c Kuv 22:7“Omuntu bw’anaayonoonanga n’amenya obwesigwa eri Mukama olw’okulimbalimba munne ku kye yamuteresa, oba kye yamukwasa, oba omuntu oyo kye yabba; oba bw’anabbiranga munne, 36:3 Ma 22:1-3oba bw’anaazuulanga ebyali bibuze naye n’alimba; oba bw’anaalayiranga eby’obulimba, oba bw’anaayonoonanga mu bintu ng’ebyo byonna abantu mwe batera okwonoona, 46:4 Luk 19:8bw’anaayonoonanga bw’atyo anaabangako omusango; kinaamusaaniranga okuzzaayo ebyo bye yabba oba bye yanyaga, oba bye yateresebwa oba ebyo ebyali bibuze naye n’abizuula, 56:5 a Kbl 5:7 b Lv 5:15oba ekintu kyonna kye yalayirirako eby’obulimba. Anaaliwanga mu bujjuvu era anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano eky’ebyo by’aliwa; bw’atyo anaabiddizanga nnyinibyo ku lunaku omuntu oyo lw’anaaleeterangako ekiweebwayo olw’omusango. 66:6 Lv 5:15Era anaaleeteranga kabona ekiweebwayo eri Mukama olw’omusango, nga kya ndiga ennume eteriiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye, ng’ogibaliriddemu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olw’omusango. 76:7 Lv 4:26Awo kabona anaatangiririranga omuntu oyo mu maaso ga Mukama, era anaasonyiyibwanga mu bintu ebyo byonna by’anaabanga akoze n’azza omusango.”

Ebiweebwayo Ebyokebwa

8Mukama n’agamba Musa nti, 9“Lagira Alooni ne batabani be nti: Lino lye tteeka ery’ebiweebwayo ebyokebwa. Ekiweebwayo ekyokebwa kinaabeeranga ku kyoto ekiro kyonna okutuusa enkeera, era omuliro gw’omu kyoto gunaabanga gwaka ebbanga lyonna. 106:10 Kuv 28:39-42, 43; 39:28Awo kabona anaayambalanga ebyambalo bye ebya bafuta, ng’asooseemu eby’omunda ebya bafuta ku mubiri gwe, n’addira evvu eriri mu kyoto ery’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto, n’alissa wabbali w’ekyoto. 116:11 Lv 4:12Aneeyambulangamu ebyambalo ebyo, n’ayambala ebyambalo ebirala, n’asitula evvu n’alitwala ebweru w’olusiisira mu kifo ekirongoofu eky’emikolo ng’egyo. 12Omuliro gunaasigalanga nga gwaka ebbanga lyonna, teguuzikirenga. Buli nkya kabona anaayongerangako enku ku kyoto; era anaatereezangako ekiweebwayo ekyokebwa ng’akitegese bulungi; era anaayokerangako amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe. 13Omuliro gunaasigalanga gwaka ku kyoto ebbanga lyonna; teguuzikirenga.

Ebiweebwayo eby’Emmere ey’Empeke

146:14 Lv 2:1; 15:4“Era lino ly’etteeka ery’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke. Batabani ba Alooni banaaleetanga ekiweebwayo ekyo awali Mukama mu maaso g’ekyoto. 156:15 a Lv 2:9 b Lv 2:2Kabona anaayoolanga olubatu lw’obuwunga obulungi obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’amafuta gaako ag’omuzeeyituuni n’obubaane bwonna, ebiri ku kiweebwayo ekyo, n’akyokya ku kyoto nga kye kitundu eky’ekijjukizo kyakyo, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 166:16 a Lv 2:3 b Ez 44:29 c Lv 2:11 d Lv 10:13Batabani ba Alooni banaalyanga ekisigaddewo, naye nga tebaliiramu kizimbulukusa mu kifo ekyo ekitukuvu; banaakiriiranga mu luggya lw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 176:17 nny 29; Kuv 40:10; Kbl 18:9, 10Tekiiyokerwengamu kizimbulukusa. Nkibawadde nga kye kinaabanga omugabo gwabwe ogw’oku biweebwayo byange ebyokebwa, kye kintu ekitukuvu ennyo okufaanana ng’ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo olw’omusango. 186:18 a nny 29; Kbl 18:9-10 b Kbl 18:27Buli mwana mulenzi ava mu Alooni anaayinzanga okukiryako, ng’etteeka ery’emirembe gyonna bwe ligamba erifa ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Buli anaabikwatangako anaafuukanga mutukuvu.”

19Mukama n’agamba Musa nti, 206:20 a Kuv 16:36 b Kuv 29:2“Kino ky’ekiweebwayo Alooni ne batabani be kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lwe banaafukibwangako amafuta ag’omuzeeyituuni: ekitundu eky’ekkumi ekya liita bbiri, nga kilo emu ey’obuwunga obulungi, nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kisalirwa wakati ekitundu ekimu, enkya, n’ekitundu ekirala, akawungeezi. 216:21 Lv 2:5Bunaafumbibwanga n’amafuta ag’omuzeeyituuni ku fulampeni, ne butabulwa bulungi, ne buweebwayo eri Mukama nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 22Kabona ow’omu baana ba Alooni anaabanga afukiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni okumusikira, y’anaakiwangayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira emirembe gyonna; ekiweebwayo kyonna kinaayokebwanga. 23Buli kiweebwayo kyonna eky’emmere ey’empeke kabona ky’anaawangayo kinaayokebwanga bulambalamba; tekiiriibwenga.”

Ebiweebwayo olw’Ekibi

24Mukama n’agamba Musa nti, 256:25 a Lv 1:3 b Lv 1:5, 11“Tegeeza Alooni ne batabani be nti bino bye biragiro eby’ekiweebwayo olw’ekibi. Ekiweebwayo olw’ekibi kinattirwanga mu maaso ga Mukama awo wennyini ebiweebwayo ebyokebwa we bittirwa; kiweebwayo kitukuvu nnyo. 266:26 a nny 16 b Lv 10:17-18Kabona anaakiwangayo olw’ekibi y’anaakiryanga. Kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu mu luggya lwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 276:27 Kuv 29:37Buli ekinaakoonanga ku nnyama y’ekiweebwayo ekyo, kinaafuukanga kitukuvu; era ogumu ku musaayi gwakyo bwe gunaamansukiranga ekyambalo, kinaayozerwanga mu kifo ekitukuvu. 286:28 Lv 11:33; 15:12Ensaka ey’ebbumba mwe kinaafumbirwanga eneeyasibwanga; naye bwe kinaafumbirwanga mu nsaka ey’ekyuma, eneekuutibwanga n’emunyunguzibwamu n’amazzi. 296:29 a nny 18 b nny 17Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kiweebwayo kitukuvu nnyo. 306:30 a Lv 4:18 b Lv 4:12Naye ekiweebwayo olw’ekibi, omusaayi gwakyo nga guleeteddwako mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu olw’okwetangirira mu kifo ekyo ekitukuvu, tekiiriibwenga, kyonna kinaayokebwanga.