有關聖潔生活的條例
1耶和華對摩西說: 2「你把以下條例告訴以色列全體會眾。
「你們要聖潔,因為我——你們的上帝耶和華是聖潔的。 3你們每個人都必須孝敬父母,遵守我的安息日。我是你們的上帝耶和華。 4不要祭拜虛無的神明,也不要為自己鑄造神像。我是你們的上帝耶和華。 5你們獻平安祭給我時,要使你們所獻的蒙悅納。 6要在獻祭當天或第二天吃完祭物。如果第三天還有剩餘,都要燒掉。 7如果有人第三天還吃那些祭物,祭物就不潔淨,我不會悅納。 8那人要自擔罪責,因為他褻瀆了我的聖物。要將他從民中剷除。
9「你們收割的時候,不要割淨田角地邊的莊稼,也不要撿那些掉在田裡的穗子。 10不要摘淨葡萄園裡的葡萄,也不要撿掉在地上的葡萄。要把這些留給窮人和寄居在你們中間的外族人。我是你們的上帝耶和華。 11不可偷盜,不可撒謊,不可互相欺騙。 12不可以我的名義起假誓,從而褻瀆你們上帝的名。我是耶和華。 13不可欺壓鄰居,也不可搶奪他的東西。要當天支付雇工的工錢,不可拖到第二天。 14不可咒罵聾子,也不可絆倒盲人,應當敬畏你們的上帝。我是耶和華。 15不可徇私枉法,不可偏袒窮人,不可諂媚權貴之人,要秉公審判。 16不可到處搬弄是非,不可危害鄰居的生命安全。我是耶和華。 17對同胞不可心中懷恨。同胞有錯,要當面指正,免得自己因他而擔罪。 18不可報復,不可埋怨同胞,要愛鄰如己。我是耶和華。
19「你們要遵守我的律例。不可讓牲畜雜交;不可在同一塊田播撒兩種不同的種子;不可穿兩種材料織成的衣服。
20「一個已經許配人的婢女尚未被贖或未獲自由時,如果有人與她同寢,就要受到處罰,但不可處死他們,因為那婢女還未獲自由。 21和她同寢的人要把一隻公綿羊牽到會幕門口,作為贖過祭獻給耶和華。 22祭司要用作贖過祭的公綿羊為那人贖罪,他的罪便得到赦免。
23「你們到了迦南,在那裡栽種各樣果樹後,前三年不可吃樹上的果子,要視它們是不潔淨的19·23 「不潔淨的」希伯來文是「未受割禮的」。。 24第四年,樹上的所有果子都是聖潔的,要獻給耶和華作頌讚之祭。 25第五年,你們可以吃樹上的果子。你們這樣做,果樹會為你們結出更多果子。我是你們的上帝耶和華。
26「不可吃帶血的肉,不可占卜或行巫術。 27不可修剪鬢角或鬍鬚。 28不可因哀悼死人而割傷身體或紋身。我是耶和華。 29不可辱沒自己的女兒,使她淪為娼妓,免得你們居住的地方充滿淫亂和邪惡。 30要遵守我的安息日,敬畏我的聖所。我是耶和華。 31不可求問靈媒或巫師,玷污自己。我是你們的上帝耶和華。
32「在年長者面前,要恭敬站立,要敬重年長者。要敬畏你們的上帝。我是耶和華。 33不可欺負住在你們境內的外族人, 34要視他們如同胞,愛他們如愛自己,因為你們也曾經寄居埃及。我是你們的上帝耶和華。 35在秤重和度量時,不可騙人。 36要使用準確的秤、尺子和升斗。我是你們的上帝耶和華,曾帶領你們離開埃及。 37你們要遵行我的一切律例和典章。我是耶和華。」
Obutukuvu n’Enneeyisa y’Omuntu
1Awo Mukama Katonda n’agamba Musa 219:2 1Pe 1:16*; Lv 11:44ategeeze ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Mubeerenga batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.
319:3 a Kuv 20:12 b Lv 11:44“Buli omu mu mmwe assengamu nnyina ne kitaawe ekitiibwa; era mukuumenga Ssabbiiti zange. Nze Mukama Katonda wammwe.
419:4 Kuv 20:4, 23; 34:17; Lv 26:1; Zab 96:5; 115:4-7“Temulaganga mu bitali Katonda, era temwekoleranga bakatonda abaweese mu kyuma ekisaanuuse. Nze Mukama Katonda wammwe.
5“Bwe munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo olw’emirembe, mukiwengayo mu butuufu kiryoke kikkirizibwe. 6Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwe kinaaweebwangayo oba enkeera; ekinaabanga kisigaddewo okutuusa ku lunaku olwokusatu kinaazikiribwanga mu muliro. 7Singa kiriibwa ku lunaku olwokusatu tekiibenga kirongoofu, era tekikkirizibwenga, 8ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango; kubanga anaabeeranga aweebudde ekintu kya Mukama ekitukuvu; omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne.
919:9 Lv 23:10, 22; Ma 24:19-22“Bw’okungulanga ekyengera eky’omu ttaka lyo, tokunguliranga ddala ebibala byonna eby’omu nnimiro yo okutuuka ku nkomerero zaayo, oba okukuŋŋaanya obubala obutonotono obunaabanga bugudde wansi ng’okungula. 10Ennimiro yo ey’emizabbibu togimalirangamu ddala bibala byonna, n’ebyo ebibanga bigudde wansi tobikuŋŋaanyanga. Obirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.
1119:11 a Kuv 20:15 b Bef 4:25“Tobbanga.
“Tokumpanyanga.
“Temulimbagananga.
1219:12 Kuv 20:7; Mat 5:33“Tokozesanga linnya lyange ng’olayira ebitaliimu nsa, n’ovumisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.
1319:13 a Kuv 22:15, 25-27 b Ma 24:15; Yak 5:4“Muliraanwa wo tomujooganga so tomunyagangako bibye.
“Tosulanga na mpeera ya mupakasi wo n’omala nayo ekiro kyonna okutuusa enkya nga tonnagimusasula.
1419:14 Ma 27:18“Omuggavu w’amatu tomukolimiranga, so n’omuzibe w’amaaso tomuteganga nkonge w’anaayita, naye otyanga Katonda wo. Nze Mukama.
1519:15 a Kuv 23:2, 6 b Ma 1:17“Tosalirizanga ng’olamula; tobanga na kyekubiira ku ludda lw’omwavu wadde okwekubiira ku ludda lw’ow’ekitiibwa, banno obasalirangawo mu bwenkanya.
1619:16 a Zab 15:3; Ez 22:9 b Kuv 23:7“Togendanga ng’osaasaanya eŋŋambo mu banno.
“Tokolanga kintu kyonna ku munno ekiyinza okumuleetera okufiirwa obulamu bwe. Nze Mukama.
Etteeka ku Kwagala
1719:17 a 1Yk 2:9; 3:15 b Mat 18:15; Luk 17:3“Muganda wo tomukyawanga mu mutima gwo. Naye munno ng’asobezza, omunenyanga, si kulwa nga naawe ogwa mu kibi nga ye.
1819:18 a Bar 12:19 b Zab 103:9 c Mat 5:43*; 19:16*; 22:39*; Mak 12:31*; Luk 10:27*; Yk 13:34; Bar 13:9*; Bag 5:14*; Yak 2:8*“Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna ow’omu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Nze Mukama.
1919:19 a Ma 22:9 b Ma 22:11“Okwatanga amateeka gange.
“Tokkirizanga nsolo za ngeri ndala kuzaazisa mu nsolo zo.
“Mu nnimiro yo tosimbangamu nsigo za ngeri bbiri.
“Toyambalanga kyambalo eky’olugoye olw’ebiwero eby’engeri ebbiri.
20“Omusajja bw’aneebakanga n’omuddu omukazi n’amusobyako, naye ng’omukazi oyo tannaweebwa ddembe lye, kyokka ng’aliko omusajja amwogereza, wanaabangawo okuwozesebwa n’ebibonerezo, naye tebattibwenga, kubanga omukazi anaabanga tannaweebwa ddembe lye. 2119:21 Lv 5:15Naye omusajja anaaleetanga endiga ennume ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo kye eri Mukama eky’omusango. 22Kabona anaakozesanga endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango okutangiririra omusajja oyo eri Mukama; era ekibi kye ky’anaabanga akoze kinaamusonyiyibwanga.
23“Bwe muyingiranga mu nsi ne musimba emiti egya buli ngeri egy’ebibala ebyokulya, mukitegeere nti ebibala byagyo biriba ng’ebiwereddwa. Biriwerebwa okumala emyaka esatu; tebijjanga kuliibwanga. 2419:24 Nge 3:9Mu mwaka ogwokuna ebibala byako byonna binaabanga bitukuvu, nga kye kiweebwayo eri Mukama eky’okumutendereza. 25Naye mu mwaka ogwokutaano munaayinzanga okulya ku bibala byako. Mu ngeri eno ebibala byako bigenda kweyongeranga nnyo. Nze Mukama Katonda wammwe.
2619:26 a Lv 17:10 b Ma 18:10“Tolyanga nnyama yonna nga teweddeemu musaayi;
“so tokolanga bya ddogo wadde eby’okulagula.
2719:27 Lv 21:5“Enviiri ez’oku mabbali g’omutwe gwo tozisalangako; n’ekirevu kyo tokikomolanga.
28“Toweesalanga misale ku mubiri gwo olw’okujjukira abaafa oba okwesalako enjola. Nze Mukama.
2919:29 Ma 23:18“Tofuulanga mwana wo omuwala ekivume ng’omufudde omwenzi, kubanga kirireetera abantu mu nsi yo okufuuka abenzi, n’ensi n’ejjula okwonoona.
3019:30 Lv 26:2“Mukuumanga Ssabbiiti zange era mussangamu ekitiibwa ekifo kyange ekitukuvu. Nze Mukama.
3119:31 Lv 20:6; Is 8:19“Temwebuuzanga ku basamize oba okukyukiranga abalogo, kubanga bagenda kubaleetera okwonooneka. Nze Mukama Katonda wammwe.
3219:32 1Ti 5:1“Ositukiranga ow’envi, n’omukadde omussangamu ekitiibwa, era ne Katonda wo omutyanga. Nze Mukama.
33“Omugwira bw’abeeranga omutuuze mu nsi yammwe, temumuyisanga bubi. 3419:34 a Kuv 12:48 b Ma 10:19Omugwira atuula mu mmwe mumuyisenga ng’omuzaaliranwa ow’omu nsi yammwe. Mumwagalenga nga bwe mweyagala, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
35“Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bw’ebintu. 3619:36 Ma 25:13-15Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri.
37“Munaakwatanga amateeka gange gonna, n’ebiragiro byange byonna, okubitambulirangako. Nze Mukama.”