列王紀上 8 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

列王紀上 8:1-66

運約櫃入聖殿

1所羅門以色列的長老、各支派的首領和族長召集到耶路撒冷,準備把耶和華的約櫃從大衛錫安運上來。

2以他念月,即七月住棚節的時候,以色列人都聚集到所羅門王那裡。 3以色列的長老到齊後,祭司便抬起約櫃, 4祭司和利未人將約櫃、會幕和會幕裡的一切聖器運上來。 5所羅門王和聚集到他那裡的以色列全體會眾在約櫃前獻祭,獻上的牛羊多得不可勝數。 6祭司把耶和華的約櫃抬進內殿,即至聖所,放在兩個基路伯天使的翅膀下面。 7基路伯天使展開翅膀,遮蓋約櫃和抬約櫃的橫杠。 8橫杠相當長,在至聖所前面的聖所中可以看見橫杠的末端,在聖所外面看不見。橫杠至今仍在那裡。 9約櫃裡除了兩塊石版,沒有別的東西。石版是以色列人離開埃及後,耶和華在何烈山跟他們立約時,摩西放進去的。 10祭司從聖所出來的時候,就有雲彩充滿了耶和華的殿, 11以致祭司不能留在殿裡供職,因為那裡充滿了耶和華的榮光。 12那時,所羅門說:

「耶和華啊,

你曾說你要住在密雲中,

13現在,我為你建造了殿宇,

作你永遠的居所。」

14然後,王轉身為站立在那裡的以色列民眾祝福, 15說:「以色列的上帝耶和華當受稱頌!祂親口給我父大衛的應許,現在祂親手成就了! 16祂曾說,『自從我把我的以色列子民帶出埃及以來,我並沒有在以色列各支派中選出一座城來建造殿宇,作為我名下的居所。我只是揀選了大衛來治理我的以色列子民。』」 17所羅門又說:「我父大衛曾想為以色列的上帝耶和華建殿, 18但是耶和華對我父大衛說,『你想為我建殿,這番心意是好的, 19但你不要建,要由你的親生兒子為我建殿。』

20「耶和華已經實現祂的應許,祂讓我繼承我父大衛的王位統治以色列。現在,我為以色列的上帝耶和華的名建了殿, 21並在殿裡預備了放約櫃的地方。約櫃裡有耶和華的約,是祂把我們的祖先帶出埃及時跟他們立的。」

所羅門的禱告

22所羅門當著以色列會眾的面,站在耶和華的壇前,向天伸出雙手, 23禱告說:「以色列的上帝耶和華啊,天上地下沒有神明可以與你相比!你向盡心遵行你旨意的僕人守約,施慈愛。 24你持守向你僕人——我父大衛的應許,你曾親口應許,你今天親手成就了。

25以色列的上帝耶和華啊,你曾對你僕人——我父大衛說,『你的子孫若像你一樣謹慎行事、遵行我的旨意,你的王朝就不會中斷。』求你信守這應許。 26以色列的上帝耶和華啊,求你實現你向你僕人——我父大衛的應許。

27「然而,上帝啊,你真的會住在人間嗎?看啊,諸天尚且不夠你居住,更何況我建造的這殿呢? 28可是,我的上帝耶和華啊,求你垂顧你僕人的禱告和祈求,垂聽你僕人今天在你面前的呼求和祈禱。 29願你晝夜看顧這殿——你應許立你名的地方!你僕人向著這地方禱告的時候,求你垂聽。 30你僕人和你的以色列子民向這地方祈禱的時候,求你從你天上的居所垂聽,赦免我們的罪。

31「如果有人得罪鄰舍,被叫到這殿中,在你的壇前起誓, 32求你從天上垂聽,在你眾僕人當中施行審判,按他們的行為罰惡賞善。

33「當你的以色列子民因得罪你而敗在敵人手中時,如果他們回心轉意歸向你,承認你的名,在這殿裡祈禱, 34求你從天上垂聽,赦免他們的罪,帶領他們回到你賜給他們祖先的土地上。

35「當你的子民得罪你,你懲罰他們,叫天不降雨時,如果他們向著這殿禱告,承認你的名,並離開罪惡, 36求你在天上垂聽,赦免你僕人——你以色列子民的罪,教導他們走正道,降下甘霖滋潤你賜給你子民作產業的土地。

37「如果國中有饑荒、瘟疫、旱災、黴病、蝗災、蟲災,或是城邑被敵人圍困,無論遭遇什麼災禍疾病, 38只要你的以色列子民,或個人或全體,自知心中痛苦並向著這殿伸手禱告,無論祈求什麼, 39求你從天上的居所垂聽,赦免他們。唯獨你能洞察人心,你必按各人的行為施行賞罰, 40使你的子民在你賜給我們祖先的土地上終生敬畏你。

41-42「如果有遠方的外族人聽說你的大能大力,慕名而來,向著這殿禱告, 43求你從天上的居所垂聽,應允他們的祈求,好叫天下萬民都像你的以色列子民一樣認識你的名,敬畏你,並知道我建造的這殿屬於你的名下。

44「你的子民奉你的命令上陣與敵人作戰,無論他們在哪裡,如果他們向著你選擇的這城和我為你建造的這殿禱告, 45求你從天上垂聽,使他們得勝。

46「世上沒有不犯罪的人,如果你的子民得罪你,以致你向他們發怒,讓敵人把他們擄走,不論遠近, 47若他們在那裡回心轉意,向你懇求,承認自己犯罪作惡了; 48若他們全心全意地歸向你,朝著你賜給他們祖先的這片土地、你選擇的這城和我為你建的這殿向你禱告, 49求你從天上的居所垂聽他們的祈求,為他們伸張正義, 50赦免得罪你的子民,赦免他們的一切過犯,使擄掠他們的人善待他們。 51因為他們是你的子民、你的產業,是你從埃及那熊熊的火爐裡拯救出來的。

52「願你垂顧僕人和你的以色列子民的祈求。無論他們什麼時候向你祈求,都求你垂聽。 53主耶和華啊,因為你把我們祖先帶出埃及的時候,曾經藉著你的僕人摩西應許將以色列人從萬民中分別出來,作你自己的產業。」

所羅門為民祝福

54所羅門跪在耶和華的壇前,舉著手向耶和華禱告完畢, 55便站起來高聲為以色列全體會眾祝福: 56「耶和華當受稱頌!祂照著應許賜平安給祂的以色列子民。祂從前藉著僕人摩西賜下的美好應許一句也沒有落空。 57願我們的上帝耶和華與我們同在,就像與我們的祖先同在一樣。願祂永遠都不撇下我們,不丟棄我們, 58使我們的心歸向祂,遵行祂的旨意,謹守祂吩咐我們祖先的誡命、律例和典章。 59願我們的上帝耶和華晝夜顧念我在祂面前的這些祈求,天天護佑祂的僕人和祂的以色列子民, 60叫地上萬民都知道,耶和華是獨一無二的上帝。 61願你們像今天一樣專心事奉我們的上帝耶和華,遵行祂的律法,謹守祂的誡命。」

聖殿奉獻禮

62王和以色列眾民一同向耶和華獻祭。 63所羅門向耶和華獻上兩萬二千頭牛、十二萬隻羊作平安祭,王和以色列眾民為耶和華的殿舉行奉獻典禮。

64那天,因為耶和華殿前的銅壇太小,容不下燔祭、素祭和平安祭祭牲的脂肪,所羅門王就把殿前院子中間分別出來作聖潔之地,在那裡獻上燔祭、素祭和平安祭祭牲的脂肪。 65所羅門和從哈馬口直至埃及小河而來的全體以色列人聚成一大群會眾,在我們的上帝耶和華面前守節期兩週,共十四天。 66之後,所羅門王讓眾民各回本鄉。他們看見耶和華向祂的僕人大衛以色列子民所施的一切恩惠,都為王祝福,並滿心歡喜地回家去了。

Luganda Contemporary Bible

1 Bassekabaka 8:1-66

Essanduuko ya Mukama Ereetebwa mu Yeekaalu

18:1 a Kbl 7:2 b 2Sa 6:17 c 2Sa 5:7Awo Sulemaani n’ayita abakadde ba Isirayiri, n’abakulu b’ebika bonna, n’abaami b’ennyumba za Isirayiri bonna, okuggya essanduuko ey’endagaano ya Mukama mu Sayuuni ekibuga kya Dawudi, okugireeta e Yerusaalemi. 28:2 a 2By 7:8 b Lv 23:34Bonna ne bakuŋŋaanira ewa Kabaka Sulemaani ku mbaga mu mwezi ogwa Esanimu8:2 Esanimu Omwezi gwa Esanimu ly’ebbanga wakati wa Sebutemba ne Okitobba. gwe mwezi ogw’omusanvu.

38:3 Kbl 7:9; Yos 3:3Abakadde bonna aba Isirayiri bwe baatuuka, bakabona ne basitula essanduuko, 48:4 1Bk 3:4; 2By 1:3ne bagireeta, ne baleeterako n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebintu byonna ebitukuvu ebyalimu. 58:5 2Sa 6:13Bakabona n’Abaleevi ne babisitula, Kabaka Sulemaani n’abo abaali awamu naye, n’eggwanga lyonna erya Isirayiri eryali liri naye mu maaso g’essanduuko, ne bawaayo ebiweebwayo ebya ssaddaaka eby’endiga, n’ente, ebitaamanyibwa muwendo.

68:6 a 2Sa 6:17 b 1Bk 6:19, 27Bakabona ne bayingiza essanduuko ey’endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, mu kisenge eky’omunda, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi. 7Ebiwaawaatiro bya bakerubi byali byanjuluze ku kifo essanduuko we yateekebwa, ne bibikka ku ssanduuko ne ku misituliro gyayo. 88:8 Kuv 25:13-15Emisituliro gino gyali miwanvu nnyo nga n’okulabika girabikira mu kifo ekitukuvu mu maaso g’ekisenge ekitukuvu ennyo, naye nga tegirabika okuva ebweru; era gikyaliyo ne leero. 98:9 Kuv 24:7-8; 25:21; 40:20; Ma 10:2-5; Beb 9:4Temwali kintu mu ssanduuko okuggyako ebipande ebibiri eby’amayinja Musa bye yateekamu e Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n’abaana ba Isirayiri, nga bavudde mu nsi y’e Misiri.

108:10 Kuv 40:34-35; 2By 7:1-2Awo bakabona bwe baava mu kifo ekitukuvu, ekire ne kibuna yeekaalu ya Mukama, 11bakabona n’okuyinza ne batayinza kuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kibunye mu yeekaalu.

128:12 Zab 18:11; 97:2Awo Sulemaani n’agamba nti, “Mukama yayogera nti anaabeeranga mu kire ekikutte. 138:13 Kuv 15:17; 2Sa 7:13; Zab 132:13Nkuzimbidde yeekaalu ey’ekitiibwa, ekifo ky’onoobeerangamu emirembe gyonna.”

148:14 2Sa 6:18Ekibiina kyonna ekya Isirayiri bwe kyali kiyimiridde awo, kabaka n’abakyukira n’abasabira omukisa. 158:15 2Sa 7:12-13; 1By 29:10, 20; Nek 9:5; Luk 1:68N’ayogera nti,

Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri, atuukirizza n’omukono gwe bye yasuubiza Dawudi kitange ne bye yayogerera mu ye. 168:16 a Ma 12:5 b 1Sa 16:1 c 2Sa 7:4-6, 8Yayogera nti, ‘Okuva ku lunaku lwe naggyirako abantu bange Isirayiri mu Misiri, seerobozanga kibuga na kimu mu bika byonna ebya Isirayiri okuzimbamu yeekaalu, naye neeroboza Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’

178:17 2Sa 7:2; 1By 17:1“Era kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama, Katonda wa Isirayiri yeekaalu. 18Naye Mukama n’agamba Dawudi kitange nti, ‘Kubanga kyali mu mutima gwo okuzimbira erinnya lyange eyeekaalu, walowooza bulungi. 198:19 a 2Sa 7:5 b 2Sa 7:13; 1Bk 5:3, 5Naye si ggwe olinzimbira yeekaalu, mutabani wo alikuzaalirwa, ow’omusaayi gwo yennyini, y’alizimbira erinnya lyange eyeekaalu.’

208:20 1By 28:6Mukama atuukirizza kye yasuubiza, ne nsikira Dawudi kitange, n’okutuula ne ntuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu. 21Ntaddewo ekifo ky’essanduuko, omuli endagaano ya Mukama gye yakola ne bajjajjaffe, ng’abaggya mu nsi y’e Misiri.”

Okusaba kwa Sulemaani okw’Okuwaayo Yeekaalu eri Mukama

228:22 Kuv 9:29; Ezr 9:5Awo Sulemaani n’ayimirira mu maaso g’ekyoto kya Mukama ekibiina kyonna ekya Isirayiri nga kiraba, n’ayanjuluza emikono gye eri eggulu, 238:23 a 1Sa 2:2; 2Sa 7:22 b Ma 7:9, 12; Nek 1:5; 9:32; Dan 9:4n’ayogera nti,

“Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tewali Katonda akufaanana mu ggulu waggulu oba wansi ku nsi, gwe akuuma endagaano yo ey’okwagala n’okuuma n’abaddu bo abatambulira mu maaso go n’emitima gyabwe gyonna. 24Okuumye ekisuubizo kyo eri omuddu wo Dawudi kitange; wasuubiza n’akamwa ko era okituukirizza n’omukono gwo, nga bwe kiri leero.

258:25 1Bk 2:4“Kaakano Mukama, Katonda wa Isirayiri, otuukirize bye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, bwe wagamba nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu buli kye banaakolanga, ne batambuliranga mu maaso gange nga bw’okoze, wanaabangawo ow’omu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri mu maaso gange.’ 268:26 2Sa 7:25Era kaakano, Ayi Katonda wa Isirayiri, ekigambo kyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, okituukirize.

278:27 a Bik 7:48 b 2By 2:6; Zab 139:7-16; Is 66:1; Yer 23:24“Naye ddala Katonda anaabeeranga ku nsi? Laba, eggulu n’eggulu ly’eggulu terikumala, ne yeekaalu eno toyinza kugigyamu. 28Kaakano osseeyo omwoyo eri okusaba kw’omuddu wo n’okwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange. Owulire okukaaba n’okusaba omuddu wo kw’asaba mu maaso go leero. 298:29 a 2By 7:15; Nek 1:6 b Dan 6:10 c Ma 12:11Amaaso go gatunuulirenga yeekaalu eno emisana n’ekiro, ekifo kino kye wayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabeeranga omwo,’ okuwulira okusaba kw’omuddu wo kw’asabira ekifo kino. 308:30 Zab 85:2Owulire okwegayirira kw’omuddu wo, n’okw’abantu bo Isirayiri, bwe banasabanga nga batunuulidde ekifo kino. Owulire okuva mu ggulu, ekifo gy’obeera, era bw’otuwulira, tukwegayiridde otusonyiwe.

318:31 Kuv 22:11“Omuntu bw’anaasobyanga muliraanwa we, ne kimugwanira okulayira, n’ajja n’alayirira mu maaso g’ekyoto mu yeekaalu eno, 328:32 Ma 25:1owulire okuva mu ggulu, era omukole nga bw’olaba. Osale omusango wakati wa baddu bo, era obonereze oyo omusango gwe gusinze nga bwe kimusaanidde. Olangirire nti atasobezza taliiko musango, ekyo kinaakakasa nti taliiko musango.

338:33 a Lv 26:17; Ma 28:25 b Lv 26:39“Abantu bo Isirayiri bwe banaawaangulibwanga omulabe olw’ebibi byabwe, ne bakyuka ne badda gy’oli, ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne bakwegayirira mu yeekaalu muno, 34kale owulirenga ng’oli mu ggulu, era osonyiwenga abantu bo Isirayiri olw’ebibi byabwe, era obakomyengawo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe.

358:35 Lv 26:19; Ma 28:24“Eggulu bwe linaggalwangawo ne wataba nkuba, olw’ebibi byabwe, era bwe banasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, olw’okubabonereza, 368:36 a 1Sa 12:23; Zab 25:4; 94:12 b Zab 5:8; 27:11; Yer 6:16kale owulirenga ng’oli mu ggulu, era obasonyiwenga ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri. Obayigirize ekkubo etuufu ery’okutambulirangamu, era otonnyese enkuba ku nsi gye wawa abantu bo ng’omugabo gwabwe.

378:37 a Lv 26:26 b Ma 28:22“Bwe wanaabangawo enjala mu nsi, oba kawumpuli, oba okugengewala oba bukuku, oba enzige, oba omulabe ng’abazingizza mu bibuga byabwe, endwadde yonna ne bweneefaanananga etya, 38omuntu yenna ku bantu bo bw’anaasabiranga ekintu kyonna, buli omu n’amanya endwadde ey’omu mutima gwe, era n’ayanjuluza emikono gye eri yeekaalu eno, kale owulirenga ng’oli mu ggulu, ekifo gy’obeera. 398:39 1Sa 16:7; 1By 28:9; Zab 11:4; Yer 17:10; Yk 2:24; Bik 1:24Osonyiwenga era okolenga buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka ggwe omanyi, emitima gy’abantu bonna, 408:40 Zab 130:4balyoke bakutyenga ennaku zonna ze banaabeeranga mu nsi gye wawa bajjajjaffe.

41“Ebikwata ku munnaggwanga atali wa mu bantu bo Isirayiri, naye ng’avudde mu nsi ey’ewala olw’erinnya lyo, 428:42 Ma 3:24kubanga abantu baliwulira erinnya lyo ekkulu n’omukono gwo ogw’amaanyi, bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulidde yeekaalu eno; 438:43 a 1Sa 17:46; 2Bk 19:19 b Zab 102:15owulirenga ng’oli mu ggulu, ekifo gy’obeera, era okolenga buli kintu kyonna omunaggwanga oyo ky’anaakusabanga, abantu bonna ab’omu nsi bamanye erinnya lyo era bakutyenga, ng’abantu bo Isirayiri bwe bakola, era bamanyenga nti Ennyumba eno gye nzimbye, etuumiddwa erinnya lyo.

44“Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe gy’onoobasindikanga ne basaba Mukama nga batunuulidde ekibuga kye weeroboza ne yeekaalu gye nzimbidde erinnya lyo, 45kale owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe ng’oli mu ggulu, otegeere ensonga zaabwe.

468:46 a Nge 20:9; Mub 7:20; Bar 3:9; 1Yk 1:8-10 b Lv 26:33-39; Ma 28:64“Bwe banaayonoonanga mu maaso go, kubanga tewali muntu atasobyanga, n’obasunguwalira n’obagabula eri omulabe, ne batwalibwa mu nsi eyeewala oba eyokumpi; 478:47 a Lv 26:40; Nek 1:6 b Zab 106:6; Dan 9:5era bwe banaakyusanga emitima gyabwe nga bali mu nsi gye baabatwala ne babasibira eyo, ne beenenya era ne bakwegayiririra mu nsi y’abo abaabatwala nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola ebikyamu era ne tukola ekyejo;’ 488:48 a Ma 4:29; Yer 29:12-14 b Dan 6:10 c Yon 2:4bwe banaakukyukiranga n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna mu nsi ey’abalabe baabwe abaabawamba, ne bakusaba nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, ekibuga kye weeroboza ne yeekaalu gye nzimbidde erinnya lyo; 49kale owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe ng’oli mu ggulu ekifo gy’obeera, era otegeerenga ensonga yaabwe. 508:50 2By 30:9; Zab 106:46Osonyiwenga abantu bo abakusobezza, era obasonyiwenga ebibi byabwe byonna, era abo abaabawangula babakwatirwe ekisa, 518:51 a Ma 4:20; 9:29; Nek 1:10 b Yer 11:4kubanga bantu bo era gwe mugabo gwo, be waggya mu Misiri, mu kyoto ekisaanuusa ekyuma.

52“Ontunuulize amaaso ag’ekisa olabe okwegayirira kw’abantu bo Isirayiri, era obawulirenga buli lwe banaakukaabiriranga. 538:53 Kuv 19:5; Ma 9:26-29Ayi Mukama Ayinzabyonna gwe walonda abantu bo mu mawanga gonna ag’omu nsi okuba ababo, nga bwe wayogerera mu muddu wo Musa, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri.”

54Awo Sulemaani bwe yamala okusaba n’okwegayiririra abantu eri Mukama, n’asituka okuva we yali afukamidde ng’emikono gye ajanjuluza eri eggulu, mu maaso g’ekyoto kya Mukama. 558:55 nny 14; 2Sa 6:18N’ayimirira n’asabira ekibiina kyonna ekya Isirayiri omukisa mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti,

568:56 a Ma 12:10 b Yos 21:45; 23:15Mukama yeebazibwe awadde abantu be Isirayiri okuwummula nga bwe yasuubiza. Tewali kigambo na kimu ekitatuukiridde ku ebyo ebirungi bye yasuubiza omuddu we Musa. 578:57 Ma 31:6; Yos 1:5; Beb 13:5Mukama Katonda waffe abeere wamu naffe nga bwe yali ne bajjajjaffe, era aleme okutuleka wadde okutwabulira. 588:58 Zab 119:36Akyuse emitima gyaffe tudde gyali, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okukwatanga ebiragiro bye, n’amateeka ge, n’ebigambo bye n’emisango gye bye yawa bajjajjaffe. 59N’ebigambo byange bino bye nsabye mu maaso ga Mukama, bibeerenga kumpi ne Mukama Katonda waffe emisana n’ekiro, alyoke awanirire ensonga y’abantu be Isirayiri, ng’ebyetaago ebya buli lunaku, 608:60 a Yos 4:24; 1Sa 17:46 b Ma 4:35; 1Bk 18:39; Yer 10:10-12abantu bonna ab’oku nsi bategeere nga Mukama ye Katonda era tewali mulala. 618:61 1Bk 11:4; 15:3, 14; 2Bk 20:3Naye emitima gyammwe giteekwa okunywerera ku Mukama Katonda waffe, nga mutambulira mu mateeka ge, n’okugondera ebiragiro bye, nga bwe mukola leero.”

Okuwonga kwa Yeekaalu

62Awo Kabaka ne Isirayiri yonna ne bawaayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama. 63Sulemaani yawaayo ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe eri Mukama, era bino bye yawaayo: ente emitwalo ebiri, n’endiga n’embuzi emitwalo kkumi n’ebiri. Bwe batyo Kabaka n’Abayisirayiri bonna ne bawonga yeekaalu ya Mukama.

648:64 2By 4:1Ku lunaku olwo Kabaka kwe yatukuliza oluggya olwa wakati mu maaso ga yeekaalu ya Mukama, era eyo n’aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’eby’obutta, n’amasavu g’ebiweebwayo olw’emirembe, kubanga ekyoto eky’ekikomo mu maaso ga Mukama kyali kitono nnyo okugyaako ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’amasavu g’ebiweebwayo olw’emirembe.

658:65 a nny 2; Lv 23:34 b Kbl 34:8; Yos 13:5; Bal 3:3; 2Bk 14:25 c Lub 15:18Sulemaani ne Isirayiri yonna wamu naye, ne batuukiriza embaga eyo mu biro ebyo, ekibiina ekinene ddala mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga beegatiddwako abantu abaava ku mulyango gwa Kamasi n’abaava ku mukutu gw’e Misiri, okumala ennaku kkumi na nnya. 66Ku lunaku olwaddirira abantu ne basabira Kabaka omukisa, n’abasiibula ne baddayo ewaabwe nga basanyuka era nga bajaguza mu mutima olw’ebirungi byonna Mukama bye yali akoledde Dawudi omuddu we n’abantu be Isirayiri.