出埃及記 29 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

出埃及記 29:1-46

立祭司的條例

1「你要使亞倫父子們分別出來,做聖潔的祭司事奉我。你要選一頭公牛犢和兩隻毫無殘疾的公綿羊, 2用細麵粉預備無酵餅、調上油的無酵餅和塗上油的無酵薄餅。 3所有的餅都要用一個籃子盛,連同公牛和綿羊一起帶到會幕那裡。 4你要先讓亞倫父子們在會幕門前沐浴, 5然後給亞倫穿上內袍、以弗得和以弗得的外袍,戴上胸牌,束上精緻的以弗得帶子, 6戴上禮冠,把聖冠29·6 聖冠」應指28提到的金牌。繫在禮冠上。 7之後,把膏油倒在他的頭上,立他為祭司。 8接著輪到亞倫的兒子們,要給他們穿上內袍, 9為他們束上腰帶,戴上帽子,他們就按永遠的條例得到祭司的職分。你要這樣把聖職授予他們。

10「要把公牛牽到會幕前面,亞倫父子們要把手按在公牛頭上, 11在會幕門前,在耶和華面前宰牛。 12然後,把血帶到祭壇那裡,用手指把血塗在壇的四個角上,剩下的血倒在壇腳。 13再把遮蓋內臟的脂肪、肝、兩個腎臟和附在上面的脂肪都放在祭壇上燒掉。 14但牛皮、肉和糞要拿到營外焚燒。這是贖罪祭。

15「要把一隻公綿羊牽來,亞倫父子們要把手按在羊頭上, 16然後宰羊,把血灑在祭壇的四周。 17再把羊切成塊狀,用水洗淨所有的內臟和腿,跟肉塊和頭放在一起。 18然後,把整隻羊放在祭壇上焚燒,這是獻給耶和華的燔祭,是蒙耶和華悅納的馨香火祭。

19「你要把另一隻公綿羊牽來,亞倫父子們要把手按在羊頭上, 20然後宰羊,取一點血塗在亞倫和他兒子們的右耳垂、右手的大拇指和右腳的大腳趾上,餘下的血就灑在祭壇的四周。 21再從祭壇上取一點血,與膏油一起灑在亞倫父子及其衣服上。這樣,他們和他們的衣服就被分別出來,變得聖潔。

22「你要取出羊的脂肪、肥尾巴、遮蓋內臟的脂肪、肝葉、兩個腎臟和附在上面的脂肪以及右腿,因為這是授聖職時所獻的羊。 23再從耶和華面前的籃子裡取一個無酵餅、一個調油的無酵餅和一個薄餅。 24把這些祭物都放在亞倫和他兒子的手中,作為搖祭在耶和華面前搖一搖。 25然後,你要把這些祭物接過來,放在祭壇上焚燒獻給耶和華,成為蒙耶和華悅納的馨香火祭。 26你要拿起亞倫承受聖職時所獻的那頭公羊的胸肉,作為搖祭在耶和華面前搖一搖。之後,這份祭肉就歸你。

27「要將屬於亞倫父子們、授聖職時所獻的搖祭胸肉和舉祭腿肉分別出來,使之聖潔。 28這些祭物要從以色列人所獻的平安祭中取出來,歸給亞倫父子們,作為永遠的定例。這是以色列人當向耶和華獻的祭物。

29亞倫的聖衣要留給他的子孫,他們可以穿上這聖衣受膏,承受聖職。 30接替亞倫做祭司的那位後裔,每次進會幕的聖所供職時,都要一連七天穿著聖衣。

31「要在聖潔的地方煮授聖職時所用的公綿羊肉。 32亞倫父子們可以在會幕的門前吃這些祭肉和籃內的餅。 33他們要吃這些在授聖職時用來贖罪、使他們聖潔的祭物。但普通人不能吃,因為這些是聖物。 34若有授聖職時的肉或餅留到早上,就要燒掉,不可再吃,因為這些都是聖物。

35「你要照我的吩咐,為亞倫父子們舉行授聖職禮,歷時七天。 36每天要獻一頭公牛作贖罪祭潔淨祭壇,然後用膏油抹祭壇,使祭壇聖潔。 37你們連續七天都要這樣做,這樣祭壇便完全聖潔,凡是碰到祭壇的都變得聖潔。

38「你們每天要獻上兩隻一歲的羊羔作燔祭。 39一隻在早晨獻上,另一隻在黃昏獻上。 40要用一公斤細麵粉調一升橄欖油做成素祭,與早晨獻的羊羔一同獻上,再獻上一升酒作奠祭。 41另一隻羊要在黃昏的時候獻上,所獻的素祭和奠祭要跟早晨的一樣,作為蒙耶和華悅納的馨香火祭。

42「你們世世代代要不斷地在我面前獻上燔祭,祭禮要在會幕門前舉行,這會幕就是我跟你們會面和交談的地方。 43我要在那裡和以色列人相會,我的榮耀將使整座會幕聖潔。

44「我要使會幕和祭壇聖潔,也要使亞倫父子們聖潔,做祭司事奉我。 45我要住在以色列人中間,做他們的上帝。 46他們必知道我是他們的上帝耶和華。我帶領他們離開埃及,就是為了要住在他們中間。我是他們的上帝耶和華。

Luganda Contemporary Bible

Okuva 29:1-46

Okwawula Bakabona

1“Bino by’onookola okwawula Alooni ne batabani be okubafuula bakabona balyoke bampeereze. Ojja kulaba ente ya seddume emu ento, n’endiga ennume ento bbiri, zonna nga teziriiko kamogo. 229:2 Lv 2:1, 4; 6:19-23Era onookola mu buwunga bw’eŋŋaano ennungi emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne zikkeeke enkole n’amafuta ag’omuzeeyituuni ezitali nzimbulukuse, n’obusukuuti obw’oluwewere obutaliimu kizimbulukusa naye nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni. 3Obiteeke mu kibbo kimu obireete awamu n’ente n’endiga ebbiri. 429:4 Kuv 40:12; Beb 10:22Leeta Alooni ne batabani be ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, obanaaze n’amazzi. 529:5 a Kuv 28:2; Lv 8:7 b Kuv 28:8Ddira ebyambalo, oyambaze Alooni ekkooti, n’ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekyomukifuba, omusibeko omusipi gw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ogwalukibwa n’amagezi amangi; 629:6 Lv 8:9omusibe n’ekitambaala ku mutwe olyoke otereeze bulungi engule entukuvu ku kitambaala eky’oku mutwe. 729:7 Kuv 30:25, 30, 31; Lv 8:12; 21:10; Kbl 35:25; Zab 133:2Ddira amafuta ag’okwawula ogafuke ku mutwe gwe, omwawule. 8Leeta batabani be obambaze amakooti, 929:9 a Kuv 28:40 b Kuv 40:15; Kbl 3:10; 18:7; 25:13; Ma 18:5obasibeko emisipi, obambaze n’enkuufiira; olwo nga bafuuka bakabona emirembe gyonna ng’ekiragiro bwe kigamba. Bw’otyo bw’onooyawula Alooni ne batabani be.

Ekiweebwayo olw’Ebibi

10“Onooleeta ente eyo ento mu maaso g’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Alooni ne batabani be banaagikwatako ku mutwe, 11n’olyoka ogittira awo awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 1229:12 Kuv 27:2Onoddira omusaayi ogw’ente eyo omutonotono, n’ogusiiga n’olugalo lwo ku mayembe ag’oku kyoto; omusaayi ogunaasigalawo oguyiwe wansi w’ekyoto. 1329:13 Lv 3:3, 5, 9Onoddira amasavu gonna ag’oku byenda n’ogabikka ku kibumba n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, obyokere ku kyoto. 1429:14 Lv 4:11-12, 21; Beb 13:11Naye ennyama y’ente eyo n’eddiba lyayo, n’obusa bwayo, byokere ebweru w’olusiisira. Ekyo ky’ekiweebwayo olw’ekibi.

Ekiweebwayo Ekyokye

15“Kwata endiga zombi, Alooni ne batabani be banaakwatanga ku mutwe gw’endiga emu; 16otte endiga eyo, n’oddira omusaayi gwayo n’ogumansa buli wantu ku kyoto. 17Onoosalaasala endiga eyo mu bifi, onaaze eby’omunda byayo n’amagulu gaayo; obisse wamu n’ebifi n’omutwe, 1829:18 Lub 8:21endiga yonna ogyokere ku kyoto. Ekyo ky’ekiweebwayo eri Mukama ekyokye, eky’akawoowo akasanyusa, nga kiweebwayo ku muliro eri Mukama.

Ekiweebwayo ku Kwawulibwa

1929:19 nny 3“Onoddira endiga endala, Alooni ne batabani be ne bassa emikono ku mutwe gwayo; 20onoogitta, n’oddira ku musaayi gwayo n’ogusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku busongezo bw’amatu ga batabani be aga ddyo, ne ku binkumu by’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere byabwe ebisajja ebya ddyo; omusaayi ogunaasigalawo ogumansire ku kyoto okukyetooloola. 2129:21 a Beb 9:22 b Kuv 30:25, 31 c nny 1Onoddira ku musaayi oguli ku kyoto, oddire ne ku mafuta ag’okwawula, obimansire ku Alooni ne ku byambalo bye, era ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo Alooni ne batabani be bajja kutukuzibwa awamu n’ebyambalo byabwe.

22“Onoggya ku ndiga eyo amasavu, n’omukira omusava, n’amasavu agabikka eby’omu lubuto ne ku kibumba, n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko, n’ekisambi ekya ddyo; kubanga eyo y’endiga ey’okukozesa mu kwawula bakabona. 23Era olabe mu kibbo ekirimu ebitali bizimbulukuse ebiri awali Mukama oggyemu omugaati gumu, ne keeke emu okuli amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere; 2429:24 Lv 7:30ebyo byonna obikwase Alooni ne batabani be, babiwuubire awali Mukama ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 25Onoobibaggyako, n’obyokera ku kyoto ng’obyongera ku kiweebwayo ekyokebwa, mulyoke muveemu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama; kye kiweebwayo eri Mukama ekyokye mu muliro. 2629:26 Lv 7:31-34Era onoddira ekifuba ky’endiga y’okwawulibwa kwa Alooni, okiwuube ng’ekiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa; ogwo gwe gunaaba omugabo gwo. 2729:27 Lv 7:31, 34; Ma 18:3Onootukuza ekifuba eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’omugabo gwa bakabona era nga nakyo kiwuubibwa ekiva ku ndiga y’okwawulibwa, nga bwe guli omugabo gwa Alooni ne batabani be. 2829:28 Lv 10:15Gunaabanga mugabo gwa Alooni ne batabani be, nga guva mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna; kubanga gwe mugabo gwa bakabona ogunaavanga ku kiweebwayo ky’abaana ba Isirayiri eky’emirembe, nga kye kiweebwayo kyabwe eri Mukama.

2929:29 Kbl 20:26, 28“Ebyambalo bya Alooni ebitukuvu, batabani be, be banaabisikiranga, era mwe banaafukirwangako amafuta, era mwe banaayawulirwanga. 3029:30 Kbl 20:28Omwana anaabanga azze mu bigere bya Alooni nga kabona, anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw’anajjanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu okuweereza mu Kifo Ekitukuvu.

Emmere ku Kwawulibwa

31“Ojja kuddira endiga y’okwawulibwa, ofumbe ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu; 3229:32 Mat 12:4Alooni ne batabani be balye ku nnyama y’endiga eyo, ne ku mugaati oguli mu kibbo, nga bali ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 3329:33 Lv 10:14; 22:10, 13Banaalya ku ebyo ebikozesebbwa ku mukolo ogw’okusonyiyibwa kwabwe lwe batukuzibwa era lwe bayawulirwako. Naye atali kabona tabiryangako, kubanga bitukuvu. 3429:34 Kuv 12:10Era singa ku nnyama y’okwawula ne ku migaati wasigalawo ebiremye okutuusa enkeera, byonna byokebwanga bwokebwa; tewabanga abirya, kubanga bitukuvu.

35“Bwe kutyo okwawulibwa kwa Alooni ne batabani be bw’onookukola nga bwe nkulagidde. Omukolo gwonna gujja kumala ennaku musanvu; 3629:36 a Beb 10:11 b Kuv 40:10era buli lunaku ojja kuwaayo seddume y’ente emu ng’ekiweebwayo olw’ekibi, olw’okusonyiyibwa. Waayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okifukeko amafuta, okitukuze. 3729:37 Kuv 30:28-29; 40:10; Mat 23:19Ojja kumala ennaku musanvu ng’owaayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okitukuze; era ekyoto kijja kubeera kitukuvu nnyo, buli ekinaakikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.

Ekyoto eky’Ebiweebwayo Ebyokebwa

3829:38 Kbl 28:3-8; 1By 16:40; Dan 12:11“Bino by’onoowangayo ku kyoto buli lunaku: onoowangayo endiga ento bbiri ez’omwaka ogumu. 3929:39 Ez 46:13-15Endiga emu onoogiwangayo mu makya, ne ginnaayo n’ogiwaayo akawungeezi. 40Endiga esooka onoogiwaayo ne lita bbiri ez’obuwunga obulungi, nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni, n’oteekerako ne lita emu ey’envinnyo nga ky’ekiweebwayo ekyokunywa. 41Endiga eyookubiri onoogiwaayo akawungeezi awamu n’obuwunga n’ebyokunywa nga bw’onooba okoze mu makya, ne biryoka bivaamu akawoowo akalungi akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.

4229:42 a Kuv 30:8 b Kuv 25:22“Mu mirembe gyonna egigenda okujja, ekiweebwayo kino ekyokebwa kinaaweebwangayo eri Mukama obutayosa, mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Awo we nnaakusanga ne njogera naawe. 4329:43 1Bk 8:11Era awo we nnaasisinkana abaana ba Isirayiri, ekifo ekyo ne kitukuzibwa nga kijjudde ekitiibwa kyange.

4429:44 Lv 21:15“Bwe ntyo nnaatukuza Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, era Alooni ne batabani be nabo nnaabatukuza, bampeereze nga bakabona. 4529:45 a Kuv 25:8; Lv 26:12; Zek 2:10; Yk 14:17 b 2Ko 6:16; Kub 21:3Bwe ntyo ndyoke mbeere mu baana ba Isirayiri era mbeere Katonda waabwe. 4629:46 Kuv 20:2Awo banaamanya nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri ndyoke mbeerenga mu bo. Nze Mukama Katonda waabwe.”