出埃及記 21 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

出埃及記 21:1-36

如何對待奴僕

1「你要向百姓頒佈下列法令。 2你若買一個希伯來人當奴僕,他必須服侍你六年,到第七年便可以獲得自由,不用支付任何贖金。 3倘若買他的時候,他是單身,那麼期滿的時候,他可以單身離開。如果他跟妻子一同被買,就可以帶妻子一起離開。 4倘若主人給他娶了妻,妻子生了兒女,那麼期滿的時候,他只能單獨離開,他的妻兒要歸主人。 5倘若奴僕說,『我愛我的主人和我的妻子兒女,我不願意離開他們做自由人。』 6主人就要帶他到審判官面前,讓他靠著門或門框,用錐子為他穿耳洞。這樣,他就要永遠服侍主人。 7倘若有人把女兒賣為奴婢,她不可像男僕那樣離開。 8倘若買她的主人本想把她留在身邊,後來卻不喜歡她,就應當讓她贖身。主人無權把她轉賣給外族人,因為是主人對她不守信用。 9倘若是買來給自己的兒子,就要把她當作自己的女兒一般看待。 10倘若有人娶了奴婢為妻,後來又另娶,他還是要照常供給她飯食和衣服,並履行同房的義務。 11倘若主人不履行以上的三個條件,奴婢就可以隨時離開,不用繳付任何贖金。

如何處理人身傷害

12「打人致死的,必須被處死。 13倘若不是故意殺人,而是上帝許可那人死在他手裡,他就可以逃往我指定的地方。 14倘若是蓄意殺人,就算他逃到我的祭壇那裡,也要把他拉出來處死。 15毆打父母的,必須被處死。 16綁架他人販賣或自用的,必須被處死。 17咒罵父母的,必須被處死。 18倘若鬥毆時一方用拳頭或石塊致另一方受傷、躺臥在床,但不至於死, 19日後能起床扶著拐杖走路,傷人者便不算有罪,但要賠償受傷者停工期間的損失,並要負責醫好他。

20「倘若有人用棍子打他的僕婢,導致他們當場死亡,他必須受懲罰。 21倘若傷者過了一兩天才死去,主人就可免刑,因為死者是他的財產。 22倘若有人彼此鬥毆,傷了孕婦,導致早產,但未造成其他傷害,傷人者要按她丈夫所要求的金額,經審判官判定以後,如數賠償。 23倘若孕婦身體其他部位也受了傷,傷人者就要以命償命, 24以眼還眼,以牙還牙,以手還手,以腳還腳, 25以燒傷還燒傷,以創傷還創傷,以毆打還毆打。

26「主人若打壞僕婢的一隻眼睛,就要因僕婢眼睛受傷而使僕婢得自由。 27同樣,倘若他打掉了僕婢的一顆牙齒,也要因此而釋放他。

28「倘若有牛牴死了人,要用石頭打死那頭牛,並且不可吃牠的肉,牛的主人可算無罪。 29但倘若牛常常用角傷人,並且已經有人向牛的主人投訴,他卻不拴好牛,以致牛牴死了人,就要用石塊打死牛,並處死主人。 30若判他以罰款抵命,不論金額多少,他都得照付。 31牛若牴死了別人的兒女,也要照以上的條例辦理。 32牛若牴死了別人的僕婢,牛的主人要賠三百三十克銀子21·32 三百三十克銀子約是當時一個奴僕的身價。給那僕婢的主人,並要用石頭打死牛。 33倘若有人打開井蓋或挖了井後不把井口蓋好,以致有牛或驢掉進井裡, 34井的主人就要賠償牲畜的主人,死牲畜則歸井的主人。 35倘若某人的牛牴死了別人的牛,兩家的主人就要賣掉活牛,平分所得,同時也要平分那頭死掉的牛。 36倘若素知牛好牴,主人卻沒有拴好牠,他就要以牛還牛,死牛則歸他。

Luganda Contemporary Bible

Okuva 21:1-36

Amateeka ku Baddu

121:1 Ma 4:14Amateeka gano gabategeeze nti:

221:2 Yer 34:8, 14“Bw’ogulanga omuddu Omwebbulaniya, akuweererezanga emyaka mukaaga. Mu mwaka ogw’omusanvu omuddizanga eddembe lye n’agenda, era talisasuliranga. 3Bw’aba nga yajja yekka, era agendanga yekka; naye bw’aba nga yajja ne mukazi we, era agendanga naye. 4Mukama we bw’abanga amuwadde omukazi, n’amuzaalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala; omukazi n’abaana babanga ba mukama wa muddu oyo; omusajja yekka ye yaddizibwanga eddembe lye. 521:5 Ma 15:16Naye omuddu bw’agambanga nti, ‘Nze mukama wange mmwagala, ne mukazi wange n’abaana bange bonna mbagala, era seetaaga ddembe,’ 621:6 a Kuv 22:8-9 b Nek 5:5mukama we amutwalanga eri abalamuzi, amuleetanga ku luggi oba ku mwango gw’oluggi, n’amuwummula okutu n’olukato.21:6 Okuwummula amatu, yali mpisa y’Abasuli n’amawanga agabeetoolodde. Kaali kabonero akakakasa ng’omuddu bw’ali owa mukama we. Olwo anaamuweerezanga okutuusa okufa.

7“Omusajja bw’anaatundanga omwana we owoobuwala ng’omuddu, omuwala oyo taddizibwenga ddembe ng’omuddu omusajja. 8Bw’ataasanyusenga mukama we eyamugula, anaayinzanga okununulibwa. Kyokka mukama we taabenga na buyinza kumutunda mu bannamawanga, kubanga mukama we yanaabanga amukuusizakuusiza okumala okumuwasa ate n’amwegobako. 9Singa amugabira mutabani we, olwo anaabanga ng’omu ku bawala be. 1021:10 1Ko 7:3-5Singa amuwasizaako omukazi omulala, mukama we taamuggyengako mmere ye oba engoye ze, wadde ebimukwatako byonna eby’obufumbo. 11Ebintu ebyo ebisatu singa abimumma, omuwala omuddu anaayinzanga okuleka mukama we n’amuvaako awatali kusasulirwa.

Amateeka ku Butemu

1221:12 Lub 9:6; Mat 26:52“Anaakubanga omuntu n’amutta, naye ateekwa buteekwa okuttibwa. 1321:13 Kbl 35:10-34; Ma 19:2-13; Yos 20:9; 1Sa 24:4, 10, 18Kyokka singa akikola nga tagenderedde, naye Katonda n’akikkiriza okubaawo, anaddukanga ne yeekweka mu kifo kye ndibateekerateekera. 1421:14 a Beb 10:26 b Ma 19:11-12; 1Bk 2:28-34Naye singa omuntu anaasalanga olukwe n’alumba munne n’amutta mu bugenderevu, bw’anaabanga ku kyoto kyange, mumusikangako ne mumutwala ne mumutta.

15“Akubanga kitaawe oba nnyina, ateekwa buteekwa okuttibwa.

1621:16 a Kuv 22:4; Ma 24:7 b Lub 37:28“Oyo awambanga omuntu n’amutunda oba n’akwatibwa naye nga tannamutunda attibwanga buttibwa.

1721:17 Lv 20:9-10; Mat 15:4*; Mak 7:10*“Anaakolimiranga kitaawe oba nnyina ateekwa kuttibwa.

Amateeka ku Kuyomba n’Okulwana

18“Abantu singa bayomba ne balwana, omu n’akuba munne ejjinja oba ekikonde, n’atafa wabula n’abeera ku kitanda; 19singa ava ku kitanda, n’atandika n’okutambulako ebweru n’omuggo gwe, oli eyamukuba taavunaanibwenga; wabula anaasasuliranga ebiseera by’oyo gwe yakuba, era n’amujjanjaba okutuusa ng’awonedde ddala.

20“Omuntu bw’anaakubanga omuddu we omusajja oba omuddu we omukazi n’omuggo, omuddu oyo emiggo ne gimutta, omusajja oyo anaabonerezebwanga; 2121:21 Lv 25:44-46naye omuddu oyo bw’anaalamanga okumala olunaku oba ennaku ebbiri, mukama we taabonerezebwenga, kubanga ye nannyini ye.

2221:22 nny 30; Ma 22:18-19“Singa abantu babadde balwana, ne bakubiramu omukazi ali olubuto, olubuto ne luvaamu, kyokka n’atabaako mutawaana mulala gwonna, oyo amukubye anaatanzibwanga omutango bba w’omukazi gw’anaasalanga, era nga n’abalamuzi bagukkirizza. 2321:23 Lv 24:19; Ma 19:21Naye singa omukazi oyo abaako omutawaana ogw’amaanyi, ekibonerezo kineenkanaakananga n’ekyo ky’amukoze. Bw’anattanga anattibwanga, 2421:24 Mat 5:38*bw’anaaggyangamu eriiso lya munne, n’erirye banaaligyangamu, oba omuntu bw’anaaggyangamu erinnyo lya munne, n’erirye banaalikuulangamu, bw’anaamutemangako omukono, n’ogugwe banaagutemangako, bw’anaamutemangako ekigere, n’ekikye banaakitemangako, 25bw’anaamwokyanga, naye anaayokebwanga, bw’anaamussangako ekiwundu, naye anaassibwangako ekiwundu, bw’anaamunuubulanga, naye anaanuubulwanga.

26“Omuntu bw’akubanga omuddu we omusajja oba omuddu we omukazi, n’amuggyamu eriiso, anaamuddizanga eddembe lye n’amuleka n’agenda, nga kwe kumuliyira olw’eriiso eryo. 27Singa akuba omuddu we omusajja oba omuddu we omukazi, n’amukuulamu erinnyo, anaamuddizanga eddembe lye, nga kwe kumuliyira olw’erinnyo eryo.

Amateeka ku Nsolo Ezirundibwa

2821:28 nny 32; Lub 9:5“Singa ente ya seddume etomera omusajja oba omukazi n’emutta, seddume eyo eteekwa okukubwanga amayinja n’efa, n’ennyama yaayo teriibwanga. Kyokka nannyini yo taabengako musango. 29Naye seddume eyo singa emanyiddwa nga bulijjo ntomezi, era nga ne nannyini yo yalabulwako dda, kyokka n’atagisibira mu lugo lwayo, n’etta omusajja oba omukazi, eneekubwanga amayinja n’efa, ne nannyini yo anattibwanga. 3021:30 nny 22; Kbl 35:31Naye singa asalirwa engassi, aneenunulanga n’awona okufa ng’asasuddeyo kyonna ekinaabanga kimusaliddwa. 31Seddume bw’eneetomeranga mutabani w’omuntu oba muwala we, etteeka lye limu eryo lye linaakozesebwanga. 3221:32 Zek 11:12-13; Mat 26:15; 27:3, 9Seddume bw’etomeranga omuddu omusajja oba omuddu omukazi, nannyini yo ateekwa okusasula mukama w’omuddu oyo, ebitundu bya ffeeza amakumi asatu,21:32 ebitundu bya ffeeza amakumi asatu Omuddu omunnaggwanga yali yenkanankana ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. ne seddume ekubwenga amayinja efe.

33“Omuntu bw’anaabikkulanga ekinnya n’akireka nga kyasamye, oba bw’anaasimanga ekinnya n’atakisaanikirako, seddume n’ekigwamu oba endogoyi, 34nannyini kinnya anaasasuliranga okufiirwa okwo; anaasasulanga nannyini nsolo efudde, era n’okugitwala anaagitwalanga.

35“Seddume y’omuntu bw’eneerumyanga seddume y’omulala, n’emala egitta; banaatundanga seddume ennamu, ensimbi ne bazigabana; ne seddume enfu nayo banaagigabananga. 36Oba singa seddume eyo ng’emanyiddwa nga ntomezitomezi, naye nannyini yo nga tagiggalira mu lugo lwayo, ateekwa asasule seddume olwa seddume, yo enfu eneebanga yiye.