出埃及記 20 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

出埃及記 20:1-26

十誡

1以下是上帝的訓示:

2「我是你的上帝耶和華,曾把你領出埃及,使你不再受奴役。

3「除我以外,你不可有別的神。

4「不可為自己雕刻神像,不可仿照任何飛禽走獸或水族的樣子造神像, 5不可跪拜它們,也不可供奉它們,因為我——你的上帝耶和華痛恨不貞,我必追討背棄我之人的罪,從父到子直到三四代。 6但那些愛我、遵守我誡命的人,我必以慈愛待他們,直到千代。

7「不可妄用你上帝耶和華的名,違者必被耶和華定罪。

8「要記住安息日,守為聖日。 9你一週可工作六天, 10但第七天是你的上帝耶和華的安息日,這一天你和兒女、僕婢、牲畜及你那裡的外族人不可做任何工。 11因為耶和華用六天造了天、地、海和其中的萬物,第七天便休息了,所以耶和華賜福這日,把它定為聖日。

12「要孝敬父母,以便在你的上帝耶和華賜給你的土地上享長壽。

13「不可殺人。

14「不可通姦。

15「不可偷盜。

16「不可作偽證陷害人。

17「不可貪戀別人的房屋,不可貪戀別人的妻子、僕婢、牛驢或其他任何物品。」

18那時雷電交加,號角嘹亮,山上冒煙,百姓看見此情景,都嚇得渾身顫抖,不敢挨近。 19他們對摩西說:「求你跟我們說話,我們必聽從。不要讓上帝直接跟我們說話,恐怕我們會喪命!」 20摩西對百姓說:「不用害怕,上帝降臨是要試驗你們,好讓你們時時敬畏祂,不致犯罪。」

21百姓都站得遠遠的,摩西獨自走進上帝所在的密雲中。 22耶和華吩咐摩西以色列百姓說:「既然你們已經親眼看見我從天上向你們說話, 23除了敬拜我之外,不可為自己製造金銀神像。 24你們要為我築一座土壇,把你們的牛羊獻在壇上作燔祭和平安祭。凡是我使自己的名號被尊崇的地方,我會親臨那裡賜福給你們。 25你們若為我築石壇,不可用鑿刻的石頭,因為用工具鑿刻的石頭會玷污祭壇。 26不可踩著臺階登我的祭壇,免得露出你們的下體。

Luganda Contemporary Bible

Okuva 20:1-26

Amateeka Ekkumi

1Awo Mukama n’ayogera ebigambo bino, n’agamba nti:

220:2 Kuv 13:3“Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri, mu nsi gye mwafuulibwa abaddu.

320:3 Ma 6:14; Yer 35:15Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.

420:4 Lv 26:1; Ma 4:15-19, 23; 27:15Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi. 520:5 a Is 44:15, 17, 19 b Kuv 34:14; Ma 4:24 c Kbl 14:18; Yer 32:18Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa. 620:6 Ma 7:9Naye abo enkumi n’enkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo.

720:7 Lv 19:12; Mat 5:33Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa; kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.

820:8 Kuv 31:13-16; Lv 26:2Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga. 920:9 Kuv 34:21; Luk 13:14Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga, 10naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, wadde ensolo zo, wadde omugenyi ali omumwo. 1120:11 Lub 2:2Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama Katonda mwe yakolera eggulu n’ensi, n’ennyanja, ne byonna ebibirimu, n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu. Mukama kyeyava awa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti n’alutukuza.

1220:12 Mat 15:4*; Mak 7:10*; Bef 6:2Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.

1320:13 Mat 5:21*; Bar 13:9*Tottanga.

1420:14 Mat 19:18*Toyendanga.

1520:15 Lv 19:11, 13; Mat 19:18*Tobbanga.

1620:16 Kuv 23:1, 7; Mat 19:18*Towaayirizanga muntu munno.

1720:17 Bar 7:7*; 13:9*Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”

1820:18 Kuv 19:16-19; Beb 12:18-19Awo abantu bwe baalaba okumyansa kw’eraddu, ne bawulira n’okubwatuka kw’eggulu awamu n’eddoboozi ly’akagombe, ne balaba n’olusozi nga lunyooka ne bakankana nga batidde nnyo. Ne bayimirira walako, 1920:19 Ma 5:5, 23-27; Bag 3:19ne bagamba Musa nti, “Ggwe yogera naffe, tujja kubiwuliriza. Naye Katonda aleme kwogera naffe tuleme okufa.”

2020:20 a Ma 4:10; Is 8:13 b Nge 16:6Musa n’agamba abantu nti, “Temutya, kubanga Katonda azze kubagezesa, mumutyenga bulijjo, mulyoke muleme okwonoona.”

Ebiragiro ku Byoto

2120:21 Ma 5:22Abantu ne basigala nga bayimiridde walako, naye Musa n’asembera mu kizikiza ekikwafu Katonda mwe yali. 2220:22 Nek 9:13Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oti bw’oba otegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mmwe bennyini mwerabiddeko nga njogera nammwe nga nsinziira mu ggulu. 2320:23 a nny 3 b Kuv 32:4, 8, 31Temwekoleranga bakatonda balala wendi; temwekoleranga bakatonda ba ffeeza oba bakatonda ba zaabu.

2420:24 a Ma 12:5; 16:6, 11; 2By 6:6 b Lub 12:2“ ‘Munkolere ekyoto eky’ettaka, muweereyo okwo ssaddaaka zammwe ezookebwa, n’essaddaaka olw’emirembe, ey’endiga zo n’ente zo. Mu buli kifo mwe nnaaleeteranga erinnya lyange okuweebwa ekitiibwa, nnajjanga ne mbaweera omwo omukisa. 2520:25 Ma 27:5-6Bwe munzimbiranga ekyoto eky’amayinja, temukizimbisanga mayinja mayooyoote, kubanga ekyuma bwe kirigakoonako kirigafuula agatasaanira kyoto kyange. 26Ekyoto kyange temukizimbangako madaala, muleme okukiweebuula nga mulinnya amadaala.’ ”