出埃及記 17 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

出埃及記 17:1-16

磐石出水

1以色列全體會眾按照耶和華的吩咐,從曠野啟程,一程一程往前行,來到利非訂安營,可是那裡沒有水喝。 2百姓便跟摩西吵鬧,要他給他們水喝。摩西便對他們說:「你們為什麼跟我吵鬧?為什麼試探耶和華?」 3百姓非常口渴,他們向摩西抱怨說:「你為什麼要把我們帶出埃及,讓我們一家大小和牲畜都在這裡渴死?」

4摩西就呼求耶和華說:「我拿這些百姓怎麼辦?他們準備拿石塊打死我!」 5耶和華對摩西說:「你帶著之前擊打尼羅河水的杖,率領以色列的幾個長老走在眾人前面。 6我必在何烈的磐石那裡等候你們,你用杖擊打磐石,磐石必流出水來給眾人喝。」摩西便當著以色列長老的面這樣做了。 7摩西稱那地方為瑪撒米利巴17·7 瑪撒」意思是「試探」;「米利巴」意思是「爭鬧」。,因為百姓在那裡吵鬧,又試探耶和華,說:「耶和華真的在我們當中嗎?」

戰勝亞瑪力人

8後來,亞瑪力人到利非訂攻打以色列人。 9摩西約書亞說:「選一些人出去迎戰亞瑪力人。明天,我會帶著上帝的杖站在山頂上。」 10約書亞便遵照摩西的吩咐迎戰亞瑪力人,摩西亞倫戶珥站在山頂上。 11摩西什麼時候舉手,以色列人就得勝;他的手什麼時候垂下來,亞瑪力人就佔上風。 12不久,摩西的手疲倦發軟,亞倫戶珥就抬來一塊石頭讓摩西坐下,然後站在他的兩邊扶著他的手,他就穩穩地舉著手,直到日落。 13這樣,約書亞用刀殺敗了亞瑪力人。

14耶和華對摩西說:「我要抹去世人對亞瑪力人的記憶。你要把這話記在書卷上作紀念,也要把這話告訴約書亞。」 15摩西在那裡築了一座壇,稱之為耶和華尼西17·15 耶和華尼西」意思是「耶和華是我的旌旗」。16摩西說:「耶和華已經起誓要世代與亞瑪力人為敵。」

Luganda Contemporary Bible

Okuva 17:1-16

Amazzi Agaava mu Lwazi

117:1 a Kuv 16:1 b Kbl 33:14Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kisitula okuva mu ddungu lya Sini, ne batambula ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Ne bakuba eweema zaabwe mu Lefidimu, naye nga tewaliiwo mazzi bantu ge banaanywa. 217:2 a Kbl 20:2 b Ma 6:16; Zab 78:18, 41; 1Ko 10:9Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n’abaddamu nti, “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Mukama?”

317:3 Kuv 15:24; 16:2-3Naye abantu ennyonta y’amazzi n’ebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, “Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe n’abaana baffe n’ebisibo byaffe?”

417:4 Kbl 14:10; 1Sa 30:6Musa n’akaabira Mukama nti, “Abantu bano mbakole ntya? Baabano baagala kunkuba mayinja.”

517:5 Kuv 7:20Mukama n’addamu Musa nti, “Abantu abo bakulembere, otwale ne ku bakulembeze ba Isirayiri; n’omuggo gwo gwe wakubisa ku mugga genda nagwo ng’ogukutte mu mukono gwo, mutambule. 617:6 Kbl 20:11; Zab 114:8; 1Ko 10:4Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba. 717:7 Kbl 20:13, 24; Zab 81:7Ekifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa Mukama nga bagamba nti, “Mukama waali mu ffe oba taliiwo?”

Olutalo Abayisirayiri lwe Baasooka Okulwana

817:8 Lub 36:12; Ma 25:17-19Awo Abamaleki17:8 Abamaleki baali bazzukulu ba mukoddomi wa Esawu, eyawasa muwala wa Esawu, era baanyaganga bunyazi batambuze mu ddungu. ne bajja balwane ne Isirayiri mu Lefidimu. 917:9 Kuv 4:17Musa n’agamba Yoswa nti, “Tuyunguliremu abasajja bagende balwanyise Abamaleki. Enkya nzija kuyimirira ku ntikko y’olusozi nga nkutte omuggo gwa Katonda mu mukono gwange.”

1017:10 Kuv 24:14Yoswa n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’alwana n’Abamaleki. Musa ne Alooni ne Kuli ne bambuka ku ntikko y’olusozi. 1117:11 Yak 5:16Musa bwe yawanikanga emikono gye, Abayisirayiri nga bagoba, naye bwe yagissanga, nga Abamaleki bagoba. 12Emikono gya Musa ne gitandika okumufuuyirira. Alooni ne Kuli ne bamuleetera ejjinja, n’atuula okwo; ne bawanirira emikono gye, omu ng’ali ku ludda olumu, ne munne ku ludda olulala, emikono gye olwo ne ginywerera waggulu okutuusa enjuba lwe yagwa. 13Yoswa n’awangula Abamaleki ng’akozesa obwogi bw’ekitala.

1417:14 a Kuv 24:4; 34:27; Kbl 33:2 b 1Sa 15:3; 30:17-18Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Kino kiwandiike mu kitabo kiryoke kijjukirwenga ennaku zonna, era Yoswa asaana akimanye, kubanga Abamaleki ŋŋenda kubasangulirawo ddala ku nsi.”

15Musa n’azimbawo ekyoto n’akituuma erinnya Mukama ye Bendera Yange. 16N’agamba nti, “Kubanga Mukama alayidde okulwanyisa Abamaleki emirembe gyonna.”