傳道書 2 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

傳道書 2:1-26

1我心裡想:「來吧,不如盡情享樂,好好享受!」唉!結果這也是虛空。 2我說:「歡笑只不過是一陣狂妄,享樂又有什麼用!」 3於是,我決意用酒使自己快樂,在體驗愚昧的同時仍然保持理智,直到我明白在短暫的人生歲月中做何事才有益。 4我大動工程,為自己建造房屋,栽種葡萄園, 5開墾花圃園囿,種植各種果樹, 6開鑿池塘,澆灌茂林。 7我買了僕婢,又有生在家中的僕婢,擁有的牛羊遠超過有史以來耶路撒冷的任何人。 8我為自己積聚金銀,搜羅列王和各省的奇珍異寶,得到男女歌優及許多妃嬪——都是世人所想望的。 9這樣,我便財勢日增,享譽盛名,超過耶路撒冷歷來所有的人。然而,我仍然保持智慧。 10凡我眼睛愛看的、心裡渴慕的,我都隨心所欲,盡情享受。我的心從勞碌中得到歡樂,這是我勞碌所得的回報。 11然而,當我回顧雙手辛勤經營的一切成就時,唉,卻發現都是虛空,都是捕風;日光之下的一切都毫無益處。 12於是,我轉念思考什麼是智慧、狂妄和愚昧。其實以後接替君王的人除了重演歷史之外,還能做什麼呢? 13我領悟到智慧勝過愚昧,如同光明勝過黑暗。 14智者高瞻遠矚,愚人卻在黑暗中摸索。但我知道兩者終必有同樣的命運。 15於是,我想:「既然愚人的命運也將是我的命運,我有智慧又怎麼樣呢?我只能說,『這也是虛空。』」 16因為智者和愚人一樣,不過被人記得一時,日後都會被遺忘。兩者都難逃死亡。 17所以,我憎惡生命,因為在日光之下所做的一切都令我愁煩。唉!這一切都是虛空,都是捕風。 18我憎惡自己在日光之下勞碌得來的一切,因為這些必留給後人。 19誰知道那人是智者還是愚人呢?然而,他卻要接管我在日光之下用智慧辛勤經營的產業。這也是虛空。 20因此,我對自己在日光之下一切的勞碌感到絕望。 21一個人用智慧、知識和技能所得來的一切,卻要留給不勞而獲的人享用,這也是虛空,是極大的不幸! 22世人在日光之下勞心勞力,究竟得到什麼呢? 23他們一生充滿痛苦,勞碌中盡是愁煩,即使夜間心裡也不安寧。這也是虛空。 24對人而言,沒有什麼比吃喝並享受勞碌之樂更好,我看這也是出自上帝的手。 25離了上帝,誰還能吃喝享受呢? 26上帝把智慧、知識和喜樂賜給祂喜悅的人,卻讓罪人忙於積攢財富,然後把他們的財富賜給祂喜悅的人。這也是虛空,也是捕風。

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 2:1-26

Amasanyu Tegagasa

12:1 Mub 7:4; 8:15; Luk 12:19Nayogera munda yange nti, “Jjangu kaakano ngezese okusanyuka. Weesanyuse.” Naye laba, na kino kyali butaliimu. 22:2 Nge 14:13; Mub 7:6Nagamba nti, “Okuseka busirusiru. Era okusanyuka kugasa ki?” 32:3 a nny 24-25; Mub 3:12-13 b Mub 1:17Nanoonyereza n’omutima gwange, bwe nnaasanyusa omubiri gwange n’omwenge, nga nkyagoberera okunoonya amagezi. Nayagala okulaba abantu kyebasaanira okukola wansi w’enjuba mu nnaku ez’obulamu bwabwe entono.

42:4 a 1Bk 7:1-12 b Lu 8:11Natandikawo emirimu egy’amaanyi: ne neezimbira amayumba ne neesimbira ennimiro ez’emizabbibu. 5Ne neerimira ennimiro, ne neekolera n’ebifo ebigazi, ne nsimbamu buli ngeri ya miti egy’ebibala. 6Ne neesimira ebidiba omuva amazzi ag’okufukirira ebibira by’emiti emito. 7Neefunira abaddu abasajja n’abakazi, era nalina abaddu abaazaalirwa mu nnyumba yange. Ne mbeera n’amagana g’ente n’ebisibo by’endiga okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemi. 82:8 a 1Bk 9:28; 10:10, 14, 21 b 2Sa 19:35Ne neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu ebyavanga mu misolo, egyampebwanga bakabaka n’egyavanga mu bwakabaka bwabwe. Neefunira abayimbi abasajja n’abakazi, ne nfuna n’ebintu byonna ebisanyusa omuntu, ne neefunira n’abakazi. 92:9 1By 29:25; Mub 1:16Ne nfuuka mukulu ne nsukkirira bonna abansooka mu Yerusaalemi. Mu ebyo byonna nasigala siweebuuse mu magezi.

10Na buli amaaso gange kye gaayagala okulaba sa kigamma,

omutima gwange ne ngusanyusa mu buli kimu.

Omutima gwange gwasanyukira bye nakola byonna,

era eyo y’empeera yange olw’okutegana kwange kwonna.

112:11 a Mub 1:14 b Mub 1:3Awo bwe nalowooza byonna emikono gyange bye gyakola,

n’okutegana kwonna nga nkola,

laba, byonna bwali butaliimu na kugoberera mpewo,

tewaali na kimu kye nagobolola wansi w’enjuba.

Amagezi Agatali ga Katonda n’Obusirusiru Byombi Butaliimu

122:12 a Mub 1:17 b Mub 1:9; 7:25Awo ne nkyuka ne ndowooza ku magezi,

ne ku ddalu ne ku busirusiru,

kubanga oyo aliddirira kabaka mu bigere alibaako ki ky’akola,

okuggyako ekyo kabaka ky’akoze?

132:13 a Mub 7:19; 9:18 b Mub 7:11-12Awo ne ndaba amagezi nga gasinga obusirusiru,

n’ekitangaala nga kisinga ekizikiza.

142:14 Zab 49:10; Nge 17:24; Mub 3:19; 6:6; 7:2; 9:3, 11-12Omugezi amaaso ge gali mu mutwe gwe,

naye atalina magezi atambulira mu kizikiza.

Kyokka ne ntegeera

nga bombi akabi kabatuukako.

152:15 Mub 6:8Ne ndyoka njogera mu mutima gwange nti,

“Ekyo ekigwa ku musirusiru nange kirintuukako.

Kale lwaki mbeera omugezi?”

Era na kino ne nkizuula

nga butaliimu.

162:16 Mub 1:11; 9:5Kubanga ku mugezi ne ku musirusiru tewaliwo ajjukirwa lubeerera;

mu nnaku ezirijja bombi baliba beerabirwa dda.

Okufaanana ng’omusirusiru n’omugezi naye alifa.

172:17 Mub 4:2Awo ne nkyawa obulamu kubanga buli ekikolebwa wansi w’enjuba kindeetera buyinike. Byonna butaliimu na kugoberera mpewo. 182:18 Zab 39:6; 49:10Nakyawa okutegana kwange kwonna kwe nateganamu wansi w’enjuba, kubanga byonna ndi wakubirekera oyo alinzirira mu bigere. 19Kale ani amanyi obanga aliba musajja mugezi oba musirusiru? Kyokka ye y’aliba mukama w’ebyo byonna bye nateganira nga nkozesa amagezi gange wansi w’enjuba; era na kino nakyo butaliimu. 20Awo ne nterebuka olw’okutegana kwange kwonna wansi w’enjuba. 21Kubanga oluusi omuntu ategana ng’akozesa amagezi ge n’okumanya awamu n’obukalabakalaba bwe, naye byonna ateekwa okubirekera oyo atabiteganiranga nako. Na kino nakyo butaliimu na kabi keereere. 222:22 Mub 1:3; 3:9Omuntu afuna ki mu kutegana kwe kwonna n’okukaluubirirwa mu ebyo by’ateganamu wansi w’enjuba? 232:23 Yob 5:7; 14:1; Mub 1:18Kubanga ennaku ze zonna n’okutegana kwe bijjula bulumi; era ne mu kiro omutima gwe teguwummula; na kino nakyo butaliimu.

242:24 a Mub 8:15; 1Ko 15:32 b Mub 3:22 c Mub 3:12-13; 5:17-19; 9:7-10Tewali kisingira muntu kulya na kunywa na kusanyukira mu ebyo by’akola. Na kino nkiraba, kiva mu mukono gwa Katonda, 25kubanga awatali ye, ani ayinza okulya oba asobola okusanyuka? 262:26 a Yob 27:17 b Nge 13:22Kubanga omuntu asanyusa Katonda, Katonda amuwa amagezi n’okumanya n’essanyu; naye omwonoonyi Katonda amuwa omulimu gw’okukuŋŋaanyiza oyo asanyusa Katonda. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.