使徒行傳 28 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

使徒行傳 28:1-31

在馬爾他島

1我們安全上岸後,才知道那個島的名字叫馬爾他2島上的居民對我們非常友善。因為下雨,天氣又冷,他們就生火接待我們。 3保羅拿起一捆柴放進火堆裡,不料有一條毒蛇經不住熱鑽了出來,咬住了他的手。 4那裡的居民看見毒蛇吊在保羅手上,就交頭接耳地說:「這人一定是個兇手,雖然僥倖沒有淹死,天理卻不容他活下去。」 5可是保羅把蛇甩進火裡,並沒有受傷。 6他們以為保羅的手一定會腫起來或者他會突然倒斃,但是等了很久,見他還是安然無恙,就改變了態度,說他是個神明。

7那個島的首領名叫部百流,他的田產就在附近。他接待我們,熱情款待了我們三天。 8當時,部百流的父親患痢疾,正發熱躺在床上。保羅去為他禱告,把手按在他身上治好了他。 9這事以後,島上其他的病人都來了,他們都得了醫治。 10他們處處尊敬我們,在我們啟航的時候,又贈送我們途中所需用的物品。

保羅抵達羅馬

11三個月後,我們搭乘一艘停在該島過冬的船離開。這船叫「雙神號」,來自亞歷山大12我們先到敘拉古港,在那裡停泊三天, 13然後繼續前行,到達利基翁。第二天,起了南風,第三天我們抵達部丟利14在那裡遇見幾位弟兄姊妹,應邀和他們同住了七天,然後前往羅馬15那裡的弟兄姊妹聽說我們來了,便到亞比烏三館迎接我們。保羅見到他們後,就感謝上帝,心中受到鼓勵。 16進了羅馬城後,保羅獲准在衛兵的看守下自己一個人住。

繼續傳道

17三天後,保羅請來當地猶太人的首領,對他們說:「弟兄們,雖然我沒有做過任何對不起同胞或違背祖先規矩的事,卻在耶路撒冷遭囚禁,又被交到羅馬人的手裡。 18羅馬官員審訊了我,發現我沒有什麼該死的罪,想釋放我, 19猶太人卻反對,我不得已只好上訴凱撒。我並非有什麼事要控告自己的同胞。 20為此,我才請你們來當面談,我受捆綁是為了以色列人所盼望的那位。」

21他們說:「猶太境內的同胞沒有給我們寫信提及你的事,也沒有弟兄到這裡說你的壞話。 22不過,我們倒很想聽聽你的觀點,因為我們知道你們這一派的人到處受人抨擊。」

23於是,他們和保羅約定了會面的日期。那一天,很多人來到保羅住的地方。從早到晚,保羅向他們傳揚上帝國的道,引用摩西律法和先知書勸他們相信有關耶穌的事。 24有些人聽後相信了他的話,有些人不相信, 25他們彼此意見不一。在他們散去之前,保羅說了一句話:「聖靈藉以賽亞先知對你們祖先所說的話真是一點不錯, 26祂說,

『你去告訴百姓,

你們聽了又聽,卻不明白;

看了又看,卻不領悟。

27因為這百姓心靈麻木,

耳朵發背,眼睛昏花,

以致眼睛看不見,

耳朵聽不見,心裡不明白,無法回心轉意,

得不到我的醫治。』

28所以你們當知道,上帝的救恩已經傳給了外族人,他們也必聽。」

29聽完保羅的話後,那些猶太人就回去了,他們中間起了激烈的爭論。28·29 有古卷無「聽完保羅的話後,那些猶太人就回去了,他們中間起了激烈的爭論。」

30後來,保羅租了一間房子,在那裡住了整整兩年,接待所有到訪的人。 31他勇敢地傳講上帝的國,教導有關主耶穌基督的事,沒有受到任何攔阻。

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 28:1-31

Pawulo mu Merita

128:1 a Bik 16:10 b Bik 27:26, 39Awo bwe twamala okutuuka obulungi ku lukalu ne tulyoka tutegeera nti tuli ku kizinga Merita. 2Bannansi b’oku kizinga baatulaga ekisa kingi ekitali kya bulijjo, ne bakuma omuliro ne twota, kubanga obudde bwali bwa butiti nga n’enkuba etandise okutonnya. 3Pawulo yali akuŋŋaanyizza akaganda k’obuku, naye yali akassa ku muliro, omusota ogw’obutwa ennyo ne guva mu buku obwo ne gweripa ku mukono gwe. 428:4 a Mak 16:18 b Luk 13:2, 4Bwe baalaba ekintu ekireebeeta ku mukono gwa Pawulo ne bagambagana nti, “Ddala oyo mutemu. Newaakubadde ng’ennyanja yagiwonye, naye era omusango gukyamulondoola teguumuganye kulama!” 528:5 Luk 10:19Naye Pawulo omusota n’agukunkumulira mu muliro n’atabaako kabi konna. 628:6 Bik 14:11Abantu ne balindirira balabe bw’atandika okuzimba oba okugwa eri afiirewo, naye bwe baalindiririra ebbanga eddene nga tebamulabako kamogo, ne baddamu okwerowooza, ne bagamba nti, “Oyo katonda!”

7Waaliwo ennimiro okuliraana n’olubalama lw’ennyanja we twali, nga ya Pabuliyo eyali omukulu w’ekizinga ekyo. Awo n’atwaniriza mu maka ge n’atusembeza n’atulabirira okumala ennaku ssatu. 828:8 a Yak 5:14, 15 b Bik 9:40Mu kiseera ekyo kitaawe yali mulwadde omusujja ng’alimu ekiddukano ky’omusaayi. Pawulo n’agenda gy’ali n’amusabira, n’amussaako emikono n’amuwonya! 9Ekyo bwe kyabaawo, n’abalwadde abalala bonna ku kizinga abaalina endwadde ne bajja gy’ali ne bawonyezebwa. 10Ne batuwa ebirabo bingi, era ekiseera kyaffe eky’okusaabala ku nnyanja bwe kyatuuka, ne batuleetera ebintu bingi ku kyombo bye twali twetaaga okukozesa mu lugendo lwaffe.

Pawulo Atuuka mu Ruumi

1128:11 Bik 27:6Oluvannyuma lw’emyezi esatu ne tulyoka tusitula. Twagendera mu kyombo eky’e Alegezanderiya ekiyitibwa Abooluganda Abalongo. Kyali kyewogomye awo ku kizinga okumala obudde bwonna olw’obutiti. 12Ne tusooka okugoba mu Sirakusi, ne tumalawo ennaku ssatu. 13Bwe twava awo ne twetooloola ne tutuuka e Regio. Oluvannyuma lw’olunaku lumu ne tujjirwa empewo eva obukiikaddyo bwa bugwanjuba, olunaku olwaddirira ne tutuuka e Putiyooli. 1428:14 Bik 1:16Wano twasangawo abooluganda, ne batusaba tubeere nabo ennaku musanvu. Bwe twava awo ne tutuuka e Ruumi. 1528:15 Bik 1:16Abooluganda abaali eyo bwe baawulira ebyatutuukako, ne bajja okutusisinkana mu Katale ka Apiya ne ku Bisulo Ebisatu. Pawulo bwe yabalaba ne yeebaza Katonda era n’aguma omwoyo.

Pawulo Abuulira mu Ruumi nga bw’akuumibwa

1628:16 Bik 24:23; 27:3Bwe twatuuka mu Ruumi Pawulo n’akkirizibwa okubeera yekka, kyokka ng’abeera n’omuserikale amukuuma. 1728:17 a Bik 25:2 b Bik 22:5 c Bik 25:8 d Bik 6:14Awo nga wayiseewo ennaku ssatu, Pawulo n’ayita abakulembeze b’Abayudaaya. Bwe baakuŋŋaana n’ayogera nabo nti, “Abasajja baganda bange, Abayudaaya bankwatira bwereere mu Yerusaalemi, ne bampaayo mu Baruumi, so nga sirina ky’ensobezza ku bantu, wadde ku mpisa z’abajjajjaffe wadde obulombolombo. 1828:18 a Bik 22:24 b Bik 26:31, 32 c Bik 23:9Abaruumi ne bampozesa, era ne baagala okunta, kubanga tebaalabawo musango gwe nzizizza gunsaanyiza kufa. 1928:19 Bik 25:11Naye Abayudaaya bwe baagaana okukkiriza ensala eyo, ne mpalirizibwa okujulira ewa Kayisaali, newaakubadde nga saaliko kye mpawaabira bantu ba ggwanga lyange. 2028:20 a Bik 26:6, 7 b Bik 21:33Noolwekyo mbayise wano tumanyagane era twogeraganye. Olw’essuubi lya Isirayiri, kyenvudde nsibibwa n’olujegere luno.”

2128:21 Bik 22:5Ne bamuddamu nti, “Tetufunanga ku bbaluwa ziva mu Buyudaaya nga zikwogerako, wadde baganda baffe okubaako bye batutegeeza ku ggwe nga bibi. 2228:22 Bik 24:5, 14Kyokka twagala okuwulira ebirowoozo byo ku kibiina ekyo, kubanga tumanyi nti buli wamu teriiyo gw’owulira ng’akyogerako bulungi.”

2328:23 a Bik 19:8 b Bik 8:35 c Bik 17:3Awo ne bategeka olunaku, era ku olwo abantu ne bajja bangi, mu kifo we yasulanga. N’abannyonnyola ng’ajulira obwakabaka bwa Katonda, n’abategeeza ku Yesu, nga byonna abyesigamya ku mateeka ga Musa ne ku bannabbi. Yatandika ku nkya n’amala akawungeezi. 2428:24 Bik 14:4Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batakkiriza. 25Awo nga balemeddwa okukkiriziganya, Pawulo n’abasiibuza ebigambo bino nti, “Mwoyo Mutukuvu yali mutuufu bwe yayogera eri bajjajjammwe ng’ayita mu nnabbi Isaaya nti,

26“ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti,

Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera

n’okulaba muliraba naye temulyetegereza.

2728:27 a Zab 119:70 b Is 6:9, 10Kubanga omutima gw’abantu bano gugubye.

N’amatu gaabwe gazibikidde,

n’amaaso gaabwe gazibiridde.

Si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe,

ne bawulira n’amatu gaabwe,

ne bategeera n’emitima gyabwe,

ne bakyuka okudda gye ndi, ne mbawonya.’

2828:28 a Luk 2:30 b Bik 13:46“Noolwekyo mumanye nti obulokozi obuva eri Katonda buweereddwa Abaamawanga era bajja kubuwuliriza.”

29Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.

30Awo Pawulo n’amala emyaka ebiri miramba ng’asula mu nnyumba ye gye yeepangisiza, era n’ayanirizanga buli eyajjanga okumulaba. 3128:31 nny 23; Mat 4:23N’abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era n’ayigirizanga ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo mu lwatu nga tewali amuziyiza.