使徒行傳 16 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

使徒行傳 16:1-40

提摩太加入福音事工

1保羅來到特庇,然後又到路司得。那裡有個門徒名叫提摩太,母親是信主的猶太人,父親是希臘人。 2路司得以哥念的弟兄姊妹都稱讚提摩太3保羅打算帶提摩太去傳福音。因為當地的猶太人都知道提摩太的父親是希臘人,保羅就給提摩太行了割禮。 4他們走遍各城,把耶路撒冷的使徒和長老所定下的規條教導當地的門徒遵守。 5這樣,眾教會在信仰上得到堅固,人數天天都在增加。

馬其頓人的呼求

6由於聖靈阻止他們到亞細亞傳福音,他們便經過弗呂迦加拉太地區, 7來到每西亞的邊界,正要進入庇推尼地區,耶穌的靈又加以攔阻。 8他們就越過每西亞,下到特羅亞9當天晚上,保羅在異象中看見一個馬其頓人站在那裡懇求他:「請到馬其頓來幫助我們!」

10保羅見了這個異象,確信是上帝呼召我們16·10 本書作者路加此時加入保羅的行列,故改用第一人稱複數「我們」。馬其頓去傳福音,就立刻準備動身。 11我們從特羅亞啟航,直接駛往撒摩特喇,第二天抵達尼亞坡里12再從那裡來到腓立比腓立比馬其頓的主要城市,是羅馬帝國的殖民地。我們在那裡住了幾天。 13安息日那天,我們到城外的河邊,知道那裡有一個禱告的地方,就坐下來,向已經聚集的婦女講道。 14聽眾中有個賣紫色布匹的婦人名叫呂底亞,是推雅推喇城的人,向來敬拜上帝。上帝開啟她的心,她便留心聽保羅講道。 15呂底亞和家人接受洗禮之後,極力邀請我們,說:「如果你們認為我是真心信主的話,請來我家住。」於是強留我們住下。

保羅和西拉入獄

16一天,我們又去河邊那個禱告的地方,途中遇到一個被巫鬼附身的女奴。她用占卜為她的主人們賺了不少錢。 17她跟著保羅和我們大喊大叫:「這些人是至高上帝的奴僕,是來向你們宣講得救之道的。」 18一連幾天,她都這樣喊叫。保羅不勝其煩,就轉過身來斥責那鬼:「我奉耶穌基督的名命令你從她身上出來!」那鬼立刻從她身上出去了。

19她的主人們眼見財路斷絕了,就把保羅西拉揪住,拖到廣場去見官長。 20他們在官長面前控告保羅西拉,說:「這些是猶太人,竟擾亂我們的城市, 21宣揚我們羅馬人不可接受或實行的風俗。」 22於是,大家都一起攻擊他們,官長下令剝掉他們的衣服,杖打他們。 23他們被毒打一頓,又被關進監獄,官長命獄卒嚴密看守。 24獄卒接到命令後把他們關進內牢,雙腳上了枷鎖。

25半夜,保羅西拉禱告、唱詩讚美上帝,其他的囚犯都側耳傾聽。 26突然間發生大地震,整座監獄的地基都搖動起來,牢門立刻全開了,囚犯的鎖鏈也都鬆開了。 27獄卒驚醒後,看見牢門盡開,以為囚犯已經逃走了,就想拔刀自殺。 28保羅見狀,大聲喝止:「不要傷害自己,我們都在這裡!」

29獄卒叫人拿燈過來,衝進內牢,戰戰兢兢地俯伏在保羅西拉面前。 30獄卒領他們出來後問道:「兩位先生,我該怎樣做才能得救?」

31他們說:「要信主耶穌,你和你一家就必定得救。」 32於是保羅西拉向獄卒和他全家傳講主的道。 33當晚,獄卒把二人帶去,為他們清洗傷口。他一家老小都接受了洗禮。 34他請二人到家裡吃飯,他和全家人充滿了喜樂,因為都信了上帝。

35第二天早上,官長派差役來,說:「把他們放了。」 36獄卒轉告保羅說:「官長下令釋放你們,現在你們可以平安地走了。」 37保羅卻說:「我們是羅馬公民,他們不經審訊就當眾打我們,又把我們關進牢裡,現在卻想偷偷打發掉我們嗎?這樣不行,叫他們親自來領我們出去!」

38差役回報官長。官長得知保羅西拉都是羅馬公民,非常害怕, 39連忙到獄中向他們道歉,領他們出監,又央求他們離開腓立比40二人離開監獄,來到呂底亞家中,見了弟兄姊妹,勸勉一番之後,便離開了那裡。

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 16:1-40

Timoseewo Yeegatta ku Pawulo ne Siira

116:1 a Bik 14:6 b Bik 17:14; 18:5Awo Pawulo n’asookera e Derube n’oluvannyuma n’alaga e Lusitula. Eyo waaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo. Nnyina yali Muyudaaya omukkiriza, nga kitaawe Muyonaani, 216:2 a nny 40 b Bik 13:51abooluganda mu Lusitula ne mu Ikoniya nga bamwogerako birungi byereere. 316:3 Bag 2:3Pawulo n’ayagala Timoseewo agende nabo mu lugendo lwabwe. Bw’atyo n’amala okumukomola, kubanga Abayudaaya bonna mu kitundu ekyo baali bamanyi kitaawe wa Timoseewo nga bw’ali Omuyonaani. 416:4 a Bik 11:30 b Bik 15:2 c Bik 15:28, 29Awo bwe baali nga bayita mu bibuga ne babategeeza okukwatanga ebiragiro ebyasalibwawo abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi ebikwata ku baamawanga. 516:5 Bik 9:31; 15:41Ekkanisa ne yeeyongeranga amaanyi mu kukkiriza era n’abantu ne beeyongera obungi buli lunaku.

Okwolesebwa kwa Pawulo

616:6 a Bik 18:23 b Bik 18:23 c Bik 2:9Pawulo ne banne ne batambula ne bayita mu nsi y’e Fulugiya n’e Ggalatiya kubanga Mwoyo Mutukuvu yali abaziyizza okugenda mu Asiya okubuulirayo Ekigambo. 716:7 Bar 8:9; Bag 4:6Bwe baatuuka e Musiya ne bagezaako okugenda Bisuniya, naye Mwoyo wa Yesu n’atabakkiriza. 816:8 nny 11; 2Ko 2:12Kyebaava bayita obuyisi mu kitundu kya Musiya ne baserengeta e Tulowa. 916:9 a Bik 9:10 b Bik 20:1, 3Ekiro ekyo Pawulo n’afuna okwolesebwa, omusajja Omumakedoni ng’ayimiridde mu maaso ge ng’amwegayirira nti, “Jjangu ewaffe e Makedoniya otuyambe.” 1016:10 a nny 10-17 b Bik 14:7Pawulo bwe yafuna okwolesebwa okwo ne yeetegeka mangu okulaga e Makedoniya, kubanga yakitegeera nga Katonda atutumye okubabuulira Enjiri.

Okukyuka kwa Ludiya mu Firipi

1116:11 nny 8Awo ne tusaabala ku nnyanja e Tulowa, ne tuwunguka okutuuka e Samoserakiya, enkeera ne tulaga e Neyapoli, 12n’oluvannyuma ne tutuuka e Firipi, ettwale ly’Abaruumi, era nga ky’ekibuga ekikulu mu kitundu ekyo ekya Makedoniya. Ne tumalawo ennaku ntonotono.

1316:13 Bik 13:14Ku Ssabbiiti ne tufuluma mu kibuga okulaga ku mugga ogwali okumpi n’ekibuga gye baali batutegeezezza nti waliwo abakuŋŋaanirayo okusabirayo. Ne tutuula wamu n’abakazi abaali bazze okusaba ne twogera nabo. 1416:14 a Kub 1:11 b Luk 24:45Omu ku bakazi abo erinnya lye nga ye Ludiya, yali musuubuzi wa ngoye ez’effulungu ng’abeera mu kibuga Suwatira. Yali asinza Katonda bulijjo. Katonda n’amubikkulira okutegeera obulungi ebyo Pawulo bye yali ayigiriza. 1516:15 Bik 11:14Bw’atyo n’abatizibwa n’ab’omu nnyumba ye bonna. N’atuyita tumukyalire mu maka ge, ng’agamba nti, “Obanga mukakasa nti nzikirizza Mukama, mujje mubeere mu maka gange.” N’atuwaliriza.

Pawulo ne Siira Basibwa mu Kkomera

1616:16 a nny 13 b Ma 18:11; 1Sa 28:3, 7Olunaku lumu twali tuserengeta ku mugga mu kifo we twasabiranga, ne tusisinkana omuwala omuddu ng’aliko ddayimooni eyalagulanga, era n’afuniranga bakama be ensimbi nnyingi. 1716:17 Mak 5:7N’atuvaako emabega ng’aleekaana nti, “Bano baddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, era babategeeza ekkubo ly’obulokozi.” 1816:18 Mak 16:17Ekyo yakikola okumala ennaku nnyingi Pawulo n’anyiiga. Pawulo kyeyava akyuka n’agamba ddayimooni nti, “Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo, muveeko!” Era amangwago dayimooni n’ava ku muwala.

1916:19 a nny 16; Bik 19:25, 26 b Bik 15:22 c Bik 8:3; 17:6; 21:30; Yak 2:6Bannannyini muwala bwe baalaba nga tewakyali ssuubi lya kwongera kumufunamu nsimbi, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babatwala mu katale eri ab’obuyinza. 2016:20 Bik 17:6Ne babaleeta mu maaso g’abalamuzi, ne bagamba nti, “Abasajja bano Bayudaaya, basasamaza ekibuga kyaffe 2116:21 a nny 12 b Es 3:8nga bayigiriza empisa n’obulombolombo bye tutakkirizibwa kugoberera na kukozesa mu mateeka gaffe ag’Ekiruumi.”

2216:22 2Ko 11:25; 1Bs 2:2Ekibiina ky’abantu ne kibeeyiwako, abalamuzi ne balagira bambulwemu engoye era bakubwe emiggo. 2316:23 nny 27, 36Bwe baamala okukubwa emiggo mingi, ne baggalirwa mu kkomera, era omukuumi w’ekkomera n’akuutirwa abakuume butiribiri. 2416:24 Yob 13:27; 33:11; Yer 20:2, 3; 29:26Omukulu w’ekkomera bwe yafuna ebiragiro ebyo, n’abateekera ddala mu kkomera ery’omunda, n’amagulu gaabwe n’agassa mu nvuba.

2516:25 Bef 5:19Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba n’ennyimba ez’okutendereza Katonda, nga n’abasibe abalala bawuliriza, 2616:26 a Bik 4:31 b Bik 12:10 c Bik 12:7amangwago ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo. Emisingi gy’ekkomera ne ginyeenyezebwa, n’enzigi z’ekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era n’enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri! 2716:27 Bik 12:19Omukuumi w’ekkomera n’azuukuka, n’alaba ng’enzigi zonna nzigule, n’alowooza nti abasibe bonna badduse, n’asowolayo ekitala kye yette! 28Naye Pawulo n’aleekaana nti, “Teweekola kabi!”

29Omukuumi w’ekkomera n’akankana nnyo ng’ajjudde entiisa nnyingi, n’alagira ne baleeta ettaala, n’afubutuka n’ayingira munda, n’agwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira ng’akankana. 3016:30 Bik 2:37Awo n’abafulumya, n’ababuuza nti, “Bassebo, nkole ki okulokolebwa?”

3116:31 Bik 11:14Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna.” 32Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye n’ab’omu maka ge bonna. 3316:33 nny 25Mu kiseera ekyo kyennyini n’abatwala n’abanaaza ebiwundu. Era ye n’ab’omu maka ge bonna ne babatizibwa. 3416:34 Bik 11:14Omukuumi w’ekkomera n’abatwala mu nnyumba ye, n’abawa emmere, era amaka gonna ne gajjula essanyu kubanga baali bakkirizza Katonda.

35Awo obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale eri omukuumi w’ekkomera ne bamugamba nti, “Abasajja abo basumulule.” 3616:36 a nny 23, 27 b Bik 15:33Omukuumi w’ekkomera n’ategeeza Pawulo nti, “Abalamuzi balagidde muteebwe. Noolwekyo kaakano mugende mirembe.”

3716:37 Bik 22:25-29Naye Pawulo n’addamu nti, “Ekyo ffe tetukikkiriza! Baatukubidde mu lujjudde lw’abantu nga tebamaze na kutuwozesa, ne batusiba mu kkomera, ng’ate tuli Baruumi! Olwo kaakano baagala batusumulule mu kyama? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggye mu kkomera!”

3816:38 Bik 22:29Abaserikale abaatumibwa ne bazzaayo ebigambo eri abalamuzi. Naye bwe baawulira nti Pawulo ne Siira Baruumi ne batya nnyo. 3916:39 Mat 8:34Ne bajja mu kkomera ne basaba Pawulo ne Siira bagende, ne babaggya mu kkomera ne babeegayirira babaviire mu kibuga kyabwe. 4016:40 a nny 14 b nny 2; Bik 1:16Pawulo ne Siira bwe baava mu kkomera ne bagenda mu maka ga Ludiya, ne bongera okubuulira abooluganda ekigambo kya Katonda nga babanyweza, n’oluvannyuma ne basitula ne bagenda.