但以理書 2 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

但以理書 2:1-49

尼布甲尼撒的夢

1尼布甲尼撒在執政第二年做了夢,心裡煩亂,無法入睡, 2便派人召來術士、巫師、行法術的和占星家2·2 占星家」亞蘭文作「迦勒底人」,同下2·4510節;3·84·75·711,為他解夢。他們都來到王面前。 3王對他們說:「我做了一個夢,心裡煩亂,想知道夢的意思。」 4占星家用亞蘭話對王說:「願王萬歲!請將夢告訴僕人,僕人好解釋夢的意思。」 5王對占星家說:「我的旨意已定,你們若不能將夢和夢的意思告訴我,必被碎屍萬段,你們的家必淪為廢墟。 6你們若能將夢和夢的意思告訴我,我必給你們禮物、賞賜和極大的尊榮。所以你們要將夢和夢的意思告訴我。」 7他們再次對王說:「請王將夢告訴僕人,僕人好解釋夢的意思。」 8王說:「我敢肯定,你們是在拖延時間,因為你們知道我的旨意已定, 9你們若不將夢告訴我,我必懲治你們。你們串通起來在我面前胡言亂語,期待情況會改變。現在將夢告訴我,我就相信你們能解夢。」 10占星家說:「王所要求的,世上無人能做到,因為再偉大、再有權勢的君王也沒問過術士、巫師或占星家這樣的事。 11王問的事太難,除了不在人間居住的神明外,無人能為王解答。」 12王大怒,下令處死巴比倫所有的智者。 13於是,處死智者的諭旨發出,但以理和他的同伴都在被殺之列。

14王的護衛長亞略奉命要處死巴比倫的智者,但以理機智、謹慎地應對。 15他問王的護衛長亞略:「王的命令為何這樣緊急?」亞略就把情況告訴他。 16但以理便進宮求王寬限,以便為王解夢。 17然後,他回到居所將這事告訴同伴哈拿尼雅米沙利亞撒利雅18要同伴祈求天上的上帝施憐憫,顯明這奧秘,以免他們和其他巴比倫的智者一起被殺。 19這奧秘在夜間的異象中向但以理顯明,他便頌讚天上的上帝, 20說:

「上帝的名永永遠遠當受稱頌,

因為智慧和能力都屬於祂。

21祂改變時令和季節,廢王立王,

賜智慧給智者,賜知識給哲士。

22祂顯明深奧隱秘之事,

洞悉暗中的隱情,

有光與祂同住。

23我祖先的上帝啊,我感謝你,讚美你,

因你賜我智慧和能力,

應允我們的祈求,

使我們明白王的夢。」

但以理解夢

24於是,但以理去見王指派處死巴比倫智者的亞略,對他說:「不要處死巴比倫的智者,請帶我去見王,我要為王解夢。」 25亞略急忙帶但以理去見王,對王說:「我在被擄的猶大人中找到一個能為王解夢的。」 26王就問又名伯提沙撒但以理:「你能將我做的夢和夢的意思告訴我嗎?」 27但以理回答說:「沒有智者、術士、巫師或占星家可以解答王所問的奧秘, 28-30但天上的上帝能揭開奧秘,祂已把將來要發生的事告訴了王。王啊,你在床上夢見了將來的事,揭開奧秘的上帝已把將來的事指示給你。上帝將王做的夢啟示給我,並非因為我的智慧勝過其他人,而是要讓王知道夢的意思和王的心事。以下是王在床上做的夢和腦中出現的異象。

31「王啊,你夢見一個高大宏偉、極其明亮的塑像站在你面前,相貌可怕, 32有純金的頭、銀的胸和臂、銅的肚腹和大腿、 33鐵的小腿和半鐵半泥的腳。 34在你觀看的時候,有一塊非人手鑿出的石頭打在塑像半鐵半泥的腳上,砸碎了腳。 35鐵、泥、銅、銀、金隨即粉碎,猶如夏天麥場上的糠秕,被風吹得無影無蹤。但打碎這像的石頭變成一座大山,充滿整個大地。

36「這就是夢的內容。現在我們要為王解夢。 37王啊,你是萬王之王,天上的上帝已將國度、權柄、能力和尊榮賜給你, 38也將居住在各地的世人、走獸和飛禽都交在你手中,讓你管理。你就是那金頭。 39在你之後,必有另一國興起,不及你的國強大。之後是將要統治天下的第三個國,是銅的。 40接著是堅如鐵的第四國,能擊垮、打碎列國,正如鐵能擊垮、打碎一切。 41你看見半鐵半陶泥的腳和腳趾,表示那將是一個分裂的國。正如你看見鐵和泥混雜在一起,它必有鐵一般的力量。 42半鐵半泥的腳趾表示那國必半強半弱。 43你看見鐵和泥混雜在一起,這表示那國的民族彼此混雜通婚,卻不能團結,正如鐵和泥無法混合。 44在以上列王統治的時候,天上的上帝必設立一國——永不滅亡、外族無法奪其政權。這國將擊垮、消滅列國,並且永遠長存。 45你看見那塊非人手從山中鑿出的石頭打碎鐵、銅、泥、銀和金。偉大的上帝已把將來的事告訴了王。這夢是真實的,解釋是可靠的。」

46尼布甲尼撒王俯伏在地,向但以理下拜,並下令給他獻供物和香。 47王對但以理說:「你們的上帝真是萬神之神、萬王之主、奧秘的啟示者,因為你能揭開這個奧秘。」 48王賜但以理高官及許多貴重的禮物,派他治理巴比倫全省,管理巴比倫所有的智者。 49王又應允但以理的請求,派沙得拉米煞亞伯尼歌負責巴比倫省的事務。但以理仍在朝中供職。

Luganda Contemporary Bible

Danyeri 2:1-49

Ekirooto kya Nebukadduneeza

12:1 a Yob 33:15, 18; Dan 4:5 b Lub 41:8 c Es 6:1; Dan 6:18Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza, Nebukadduneeza n’aloota ekirooto; ne yeeraliikirira nnyo, n’otulo ne tumubula. 22:2 a Lub 41:8 b Kuv 7:11 c nny 10; Dan 5:7 d Dan 4:6Awo kabaka n’atumya abasawo, n’abafumu, n’abalaguzi n’Abakaludaaya okumutegeeza ekirooto kye yaloota. Ne bajja ne bayimirira mu maaso ga kabaka. 32:3 Dan 4:5N’abagamba nti, “Naloota ekirooto ekimbuzizza otulo, njagala mukintegeeze n’amakulu gaakyo.”

42:4 a Ezr 4:7 b Dan 3:9; 5:10Awo Abakaludaaya ne baddamu kabaka mu lulimi Olusuuli nti, “Ayi kabaka, owangaale emirembe gyonna! Buulira abaddu bo ekirooto, nabo banaakunnyonnyola amakulu gaakyo.”

52:5 a nny 12 b Ezr 6:11; Dan 3:29Kabaka n’addamu Abakaludaaya nti, “Kino kye nsazeewo; bwe mutantegeeze kirooto ekyo, n’amakulu gaakyo, nzija kulagira mutemebwetemebwe, era n’amayumba gammwe gamenyebwemenyebwe. 62:6 nny 48; Dan 5:7, 16Kyokka bwe munaantegeeza ekirooto n’amakulu gaakyo, nnaabawa ebirabo, n’empeera, n’ekitiibwa kinene. Noolwekyo mumbuulire ekirooto n’amakulu gaakyo.”

7Ne bamuddamu nate nti, “Tubuulire ekirooto kyo, tusobole okukubuulira amakulu gaakyo.”

8Awo kabaka n’addamu nti, “Ntegeeredde ddala nga mwagala kufuna bbanga ddene, kubanga mutegedde nga kye nsazeewo mmaliridde okukikola, 92:9 a Es 4:11 b Is 41:22-24era bwe mutantegeeze kirooto, ekibonerezo kiri kimu kyokka. Mwekobaanye okunnimba n’okumbuulira ebigambo ebikyamu, nga munsuubira okukyusa ku ndowooza yange. Kale nno, muntegeeze ekirooto, munnyinnyonnyole n’amakulu gaakyo.”

102:10 nny 27Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu n’omu ku nsi ayinza okukola kabaka ky’asaba. Ate era tewabangawo kabaka ne bw’aba w’amaanyi atya oba wa buyinza atya, eyali asabye omulaguzi yenna newaakubadde omufumu yenna newaakubadde Omukaludaaya yenna ekintu ng’ekyo. 112:11 Dan 5:11Kabaka ky’asaba kizibu nnyo. Tewali n’omu ayinza kukibikkulira kabaka, wabula bakatonda abatalina mubiri ogwa bulijjo.”

122:12 a Dan 3:13, 19 b nny 5Ekigambo ekyo ne kisunguwaza nnyo kabaka, kyeyava alagira abagezigezi bonna mu Babulooni okuttibwa. 132:13 Dan 1:20Ekiragiro ne kiyita okutta abagezigezi bonna, era ne wabaawo abasajja abaatumibwa okunoonya Danyeri ne mikwano gye okubatta.

14Awo Danyeri n’asisinkana Aliyooki omuduumizi w’abakuumi ba kabaka, bwe yali ng’agenda okutta abagezigezi ab’e Babulooni; n’ayogera naye mu magezi n’obukalabakalaba, 15n’amubuuza nti, “Kyavudde ku ki kabaka okuwa ekiragiro eky’obukambwe bwe kityo?” Aliyooki n’annyonnyola Danyeri ensonga eyavaako ekyo. 16Awo Danyeri n’alaga eri kabaka, n’asaba aweebwe ekiseera okwogera ne kabaka, alyoke amutegeeze amakulu g’ekirooto.

172:17 Dan 1:6Awo Danyeri n’addayo ewuwe, n’ategeeza mikwano gye Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya, 182:18 a Is 37:4 b Yer 33:3n’abagamba basabe Katonda ow’eggulu abalage ekisa ababikkulire amakulu ag’ekyama ekyo, ye ne banne baleme kuzikirizibwa wamu n’abagezigezi abalala ab’e Babulooni. 192:19 a nny 28 b Yob 33:15; Dan 1:17Mu kiro ekyo Danyeri n’afuna okwolesebwa ku kigambo ekyo, n’atendereza Katonda ow’eggulu. 202:20 a Zab 113:2; 145:1-2 b Yer 32:19N’ayogera nti,

“Erinnya lya Katonda litenderezebwenga emirembe n’emirembe,

kubanga amagezi n’obuyinza bibye.

212:21 a Dan 7:25 b Yob 12:19; Zab 75:6-7 c Yak 1:5Ategeera ebiseera n’ebiro;

assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka;

awa amagezi abagezigezi,

era n’okumanyisa abo abategeevu.

222:22 a Yob 12:22; Zab 25:14; Dan 5:11 b Zab 139:11-12; Yer 23:24; Beb 4:13 c Is 45:7; Yak 1:17Abikkula ebyama ebyakisibwa edda;

amanyi ebifa mu nzikiza,

n’ekitangaala kibeera naye.

232:23 a Kuv 3:15 b Dan 1:17Nkwebaza era nkutendereza, Ayi Katonda wa bajjajjange

ompadde amagezi n’amaanyi,

ombikkulidde ekyo kye twakusabye,

otutegeezezza ekirooto kya kabaka.”

Danyeri Ategeeza Amakulu ag’Ekirooto

242:24 nny 14Awo Danyeri n’alaga eri Aliyooki, kabaka gwe yali alonze okuzikiriza abasajja abagezigezi aba Babulooni, n’amugamba nti, “Tozikiriza basajja bagezigezi ba Babulooni. Ntwala eri kabaka mmutegeeze amakulu g’ekirooto kye.”

252:25 Dan 1:6; 5:13; 6:13Amangwago, Aliyooki n’atwala Danyeri eri kabaka, n’ategeeza kabaka nti, “Nsanze omusajja, omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, asobola okutegeeza kabaka amakulu g’ekirooto kye.”

262:26 Dan 1:7Kabaka n’abuuza Danyeri eyayitibwanga Berutesazza nti, “Oyinza okuntegeeza ekirooto kye nalabye, n’amakulu gaakyo?”

272:27 nny 10Danyeri n’addamu kabaka nti, “Tewali muntu mugezigezi, newaakubadde omufumu, newaakubadde omulaguzi, newaakubadde omulogo asobola okutegeeza kabaka ekigambo kye yasabye. 282:28 a Lub 40:8; Am 4:13 b Lub 49:1; Dan 10:14 c Dan 4:5Waliwo Katonda ow’omu ggulu annyonnyola abantu ebitategeerekeka. Abikkulidde Kabaka Nebukadduneeza ebigenda okubaawo mu nnaku ez’enkomerero. Ekirooto n’okwolesebwa bye wafuna nga weebase bye bino.

29“Bwe wali ng’ogalamidde mu kitanda kyo, ayi kabaka omutima gwo ne gutandika okulowooza ku bintu ebiribaawo, era oyo abikkula ebigambo ebitategeerekeka bantu abaabulijjo, yakulaze ebigenda okubaawo. 302:30 Is 45:3; Dan 1:17; Am 4:13Naye ekigambo kino ekitategeerekeka bantu abaabulijjo kimbikkuliddwa, si lwa kuba nga ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna, naye nkifunye bwe ntyo, kabaka ategeere amakulu gaakyo, era otegeere ebirowoozo bye wafuna mu mutima gwo.

312:31 Kbk 1:7“Watunula, ayi kabaka, era laba, mu maaso go nga wayimiriddewo ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo kyali kinene nnyo, nga kimasamasa nnyo nnyini era nga kya ntiisa. 32Omutwe gwakyo gwali gwa zaabu ennongoose, ekifuba kyakyo n’emikono gyakyo nga bya ffeeza, n’olubuto lwakyo n’ebisambi byakyo nga bya kikomo, 33n’amagulu gaakyo nga ga kyuma. N’ebigere byakyo ekitundu ekimu kyali kya kyuma, n’ekitundu ekirala nga kya bbumba. 342:34 a Zek 4:6 b nny 44-45; Zab 2:9; Is 60:12; Dan 8:25Awo bwe wali ng’okyakitunuulira, olwazi ne lutemebwa, naye si na ngalo, ejjinja ne livaako ne likuba ekifaananyi ku bigere byakyo eby’ekyuma n’ebbumba, ne libyasaayasa. 352:35 a Zab 1:4; 37:10; Is 17:13 b Is 2:3; Mi 4:1Ekyuma n’ebbumba, n’ekikomo, ne zaabu, byonna ne biyasibwayasibwa wamu, ne bifuuka ng’ebisusunku eby’omu gguuliro mu biro eby’omusana omungi; kibuyaga n’abifuuwa obutalekaawo na kimu. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lujjula ensi yonna.

36“Ekyo kye kyali ekirooto; kaakano tunaategeeza kabaka amakulu gaakyo. 372:37 a Ez 26:7 b Yer 27:7Ggwe, ayi kabaka, ggwe kabaka wa bakabaka, Katonda ow’eggulu gwe yawa obwakabaka, n’obuyinza, n’amaanyi, n’ekitiibwa; 382:38 Yer 27:6; Dan 4:21-22era akukwasizza abantu n’ensolo ez’omu nsiko, n’ennyonyi ez’omu bbanga. Buli we bibeera, akuwadde okubifuga, era ggwe mutwe ogwa zaabu.

39“Bw’olivaawo, obwakabaka obulala buliddawo, obutenkanankana bubwo. N’oluvannyuma waliddawo obwakabaka obwokusatu nga bwa kikomo obulifuga ensi yonna. 402:40 Dan 7:7, 23Oluvannyuma lw’ebyo byonna waliddawo obwakabaka obwokuna obuliba obw’amaanyi ng’ekyuma; era ng’ekyuma ekimenyaamenya ne kibetentabetenta buli kintu, era ng’ekyuma bwe kimenyaamenya obutundutundu, bwe kityo bwe kiribetentabetenta ne kimenyaamenya obwakabaka obulala bwonna. 41Nga bwe walaba ebigere n’obugere ekitundu nga kya bbumba ery’omubumbi, n’ekitundu nga kya kyuma, bwe butyo obwakabaka bwe buligabanyizibwamu; ate nga bulisigala n’amaanyi ag’ekyuma, nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba. 42Ng’obugere bwe bwali, ekitundu nga kya kyuma n’ekitundu ekirala nga kya bbumba, n’obwakabaka buno buliba bwe butyo, ekitundu ekimu nga ky’amaanyi n’ekitundu ekirala nga kinafu. 43Era nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba bwe batyo n’abantu bwe baliba so tebalisigala bumu, ng’ekyuma bwe kitasobola kwetabula bulungi na bbumba.

442:44 a Zab 2:9; 1Ko 15:24 b Is 60:12 c Zab 145:13; Is 9:7; Dan 4:34; 6:26; 7:14, 27; Mi 4:7, 13; Luk 1:33“Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna. 452:45 a Is 28:16 b Dan 8:25Gano ge makulu ag’okwolesebwa okukwata ku jjinja eryatemebwa mu lusozi, eritatemebwa na ngalo za muntu; eryabetentabetenta ekyuma, n’ekikomo, n’ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu.

“Katonda omukulu abikkulidde kabaka ebigenda okubaawo mu biro eby’omu maaso. Ekirooto kituufu n’amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.”

462:46 a Dan 8:17; Bik 10:25 b Bik 14:13Awo Kabaka Nebukadduneeza ne yeeyaliira ku lubuto lwe mu maaso ga Danyeri n’amuwa ekitiibwa, n’alagira okuwaayo obubaane n’ebiweebwayo eri Danyeri. 472:47 a Dan 11:36 b Dan 4:25 c nny 22, 28Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Mazima Katonda wo ye Katonda wa bakatonda era ye Mukama wa bakabaka, era omubikkuzi w’ebyama ebyakisibwa, kubanga osobozebbwa okututegeeza ekyama ekyakisibwa.”

482:48 nny 6; Dan 4:9; 5:11Awo kabaka n’akuza Danyeri n’amufuula omuntu omukulu ennyo, n’amuwa n’ebirabo bingi. N’amufuula mufuzi w’essaza lyonna erya Babulooni, n’amuwa n’obuvunaanyizibwa obw’okukulira abasajja abagezigezi bonna ab’e Babulooni. 492:49 Dan 1:7Awo Danyeri n’asaba kabaka akuze ne Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego; kabaka n’abafuula abakulembeze n’abawa ebifo eby’obuvunaanyizibwa mu ssaza ery’e Babulooni, Danyeri ye n’asigala awali kabaka.