但以理書 10 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

但以理書 10:1-21

底格里斯河邊的異象

1波斯塞魯士執政第三年,但以理,又名伯提沙撒,得到啟示。這啟示是真實的,是關於一場大爭戰的事。但以理通過異象明白了啟示的意思。

2那時,我但以理悲傷了三個星期, 3期間沒有吃過美味,沒有嚐過酒肉,沒有抹過膏油。 4一月二十四日,我站在底格里斯河邊, 5舉目觀看,見有一個人身穿細麻衣,腰束純金的帶子, 6身體如碧玉,面貌如閃電,眼睛如火炬,四肢如明亮的銅,聲音如眾人的呼喊。 7只有我但以理看見了這異象,跟我在一起的人都沒有看見,但他們極其恐懼,紛紛逃匿, 8只剩下我一人觀看這奇異的景象。我渾身無力,臉色蒼白,精疲力盡。 9接著,我聽見他說話的聲音,一聽見他的聲音,我便俯伏在地上昏睡過去。 10忽然有一隻手輕拍我,扶我用膝和手掌支撐起身體。 11他對我說:「倍受眷愛的但以理啊,要留心聽我說,站起來吧,因為我是奉命到你這裡來的。」他說完這話,我便戰戰兢兢地站起來。 12他說:「但以理啊,不要怕,從你在上帝面前謙卑地懇求明白這異象的第一天,你的禱告已蒙垂聽。我是來答覆你的。 13波斯國的守護神攔阻我二十一日。由於我滯留在波斯諸王那裡,天使長米迦勒便來幫助我。 14我來是要使你明白將來你同胞的遭遇,因為這異象是關於將來的事。」 15他對我說話時,我低著頭,說不出話。 16後來,有一位樣子像人的用手摸我的嘴唇,我便開口對站在我面前的說:「我主啊,因為這異象,我痛苦不堪,毫無氣力。 17僕人我怎能跟我主說話?我現在渾身無力,沒有氣息。」

18於是,那位樣子像人的再次摸我,使我有力量。 19他對我說:「倍受眷愛的人啊,不要怕,願你平安!要剛強勇敢。」我聽到他的話,便有了力量,於是對他說:「我主啊,請說,因為你使我有了力量。」 20他說:「你知道我為什麼要到你這裡來嗎?現在我要回去與波斯的守護神爭戰。我離開後,希臘的守護神就會來。 21除了你們的守護天使米迦勒以外,誰也不能幫助我抵擋他們。我來是要把記錄在真理書上的事告訴你。

Luganda Contemporary Bible

Danyeri 10:1-21

Danyeri Alaba Malayika mu Kwolesebwa

110:1 a Dan 1:21 b Dan 1:7 c Dan 8:26Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka w’e Buperusi, Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’afuna okwolesebwa okulala. Ekigambo kye yafuna kyali kya mazima nga kyogera ku lutalo olw’amaanyi. N’ategeera obubaka obwamuweebwa mu kwolesebwa okwo.

210:2 Ezr 9:4Mu biro ebyo, nze Danyeri ne mmala wiiki ssatu nga nkungubaga. 3Saalya ku mmere ennungi, newaakubadde ennyama wadde okunywa ku wayini; era ne nsiwuukira ddala okumala wiiki ssatu.

410:4 Lub 2:14Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogw’olubereberye nga nyimiridde ku mabbali g’omugga omunene Tigiriisi, 510:5 a Ez 9:2; Kub 15:6 b Yer 10:9ne nnyimusa amaaso gange, ne ntunula waggulu, ne ndaba omusajja ayambadde linena, nga yeesibye olukoba olwa zaabu ennongooseemu mu kiwato. 610:6 a Mat 17:2 b Kub 19:12 c Kub 1:15Omubiri gwe gwali gumasamasa ng’ejjinja erya berulo, n’ekyenyi kye nga kiri ng’okumyansa okw’eggulu, n’amaaso ge nga gali ng’ettabaaza ez’omuliro, n’emikono gye n’amagulu ge nga biri ng’ebbala ly’ekikomo ekizigule, n’eddoboozi lye ng’oluyoogaano olw’ekibiina ekinene.

710:7 2Bk 6:17-20Nze Danyeri nzekka, nze nalaba okwolesebwa okwo, abasajja be nnali nabo tebaakulaba, wabula bajjula entiisa, ne badduka ne beekweka. 810:8 a Lub 32:24 b Dan 8:27 c Kbk 3:16Ne nsigala nzekka, nga neewuunya okwolesebwa okunene okwo; ne nzigwamu amaanyi; amaaso gange ne gayongobera, ne mba, nga seesobola. 910:9 Dan 8:18Awo ne mpulira ng’ayogera, era bwe nnali nga nkyamuwuliriza, ne neebaka otulo tungi nnyo, amaaso gange nga gatunudde wansi ku ttaka.

1010:10 a Yer 1:9 b Kub 1:17Ne wabaawo omukono ogunkwatako, emikono gyange n’amaviivi gange ne bitanula okujugumira. 1110:11 a Dan 9:23 b Ez 2:1N’aŋŋamba nti, “Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera era osseeyo omwoyo ku bigambo bye njogera naawe, era yimuka oyimirire kubanga ntumiddwa gy’oli.” Awo bwe yayogera ebigambo ebyo gye ndi ne nnyimirira nga nkankana.

1210:12 a Dan 9:3 b Dan 9:20N’alyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri, kubanga okuva ku lunaku olwasooka lwe wamalirira okutegeera ne weetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era nzize olw’ebigambo byo. 1310:13 nny 21; Dan 12:1Namala ennaku amakumi abiri mu lumu nga nkyalwana n’omulangira w’e Buperusi, naye Mikayiri omu ku balangira abakulu n’ajja n’annyamba, kubanga kabaka w’e Buperusi yali ankwatidde eyo. 1410:14 a Dan 9:22 b Dan 2:28; 8:26Kaakano nzize okukunnyonnyola ebigenda okutuuka ku bantu bo mu biro eby’omu maaso; kubanga bye wayolesebwa byogera ku biro ebigenda okujja.”

1510:15 Ez 24:27; Luk 1:20Awo bwe yali ng’akyambuulira ebyo, ne nkutama, ne ntunuza amaaso gange wansi, ne nsirika. 1610:16 a Is 6:7; Yer 1:9 b Is 21:3Awo ne wajja eyafaanana ng’omuntu n’akoma ku mimwa gyange, ne ntanula okwogera. Ne ŋŋamba eyali annyimiridde mu maaso nti, “Mukama wange nzijjudde obuyinike, era n’amaanyi sirina olw’ebyo bye njolesebbwa. 1710:17 Dan 4:19Nnyinza ntya nze omuddu wo okwogera naawe ggwe mukama wange? Amaanyi gampweddemu, sikyayinza na kussa bulungi mukka.”

1810:18 nny 16Nate eyafaanana ng’omuntu n’ankomako n’anzizaamu amaanyi. 1910:19 a Bal 6:23; Is 35:4 b Yos 1:9N’aŋŋamba nti, “Ggwe omwagalwa ennyo, totya. Emirembe gibeere gy’oli, guma omwoyo era beera n’obuvumu.”

Awo bwe yayogera nange, ne nziramu amaanyi, ne njogera nti, “Yogera mukama wange, kubanga onzizizzaamu amaanyi.”

2010:20 Dan 8:21; 11:2N’alyoka ayogera nti, “Ekindeese gy’oli okimanyi? Mu bbanga eritali ly’ewala, nzija kuddayo okulwanyisa omulangira ow’e Buperusi, era bwe ndimuwangula, omulangira ow’e Buyonaani alijja. 2110:21 Dan 11:2Naye okusooka byonna, ka nkutegeeze ebyawandiikibwa ebiri mu kitabo eky’amazima: Tewali n’omu ambeera okuggyako Mikayiri, omulangira wammwe abakuuma.