以賽亞書 55 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以賽亞書 55:1-13

上帝施恩典

1耶和華說:「口渴的人啊,來喝水吧!

沒有錢的人啊,

來買東西吃吧!

買酒買奶都不用付錢。

2你們為什麼花錢買不能充饑的食物?

為什麼拿辛苦賺來的錢買不能令人飽足的東西?

要留心聽我的話,

就可以吃美物,

享受豐盛的佳餚。

3你們要到我這裡來,

側耳聽我的話,就必得到生命。

我要跟你們立永久的約,

將應許給大衛的可靠恩福賜給你們。

4我使他統管萬民,

向萬民做見證。

5看啊,你必召集不認識的國民,

不認識你的國民必來投奔你,

因為以色列的聖者——你的上帝耶和華賜給你榮耀。」

6要趁著還可以找到耶和華的時候尋找祂,

趁祂還在附近的時候求告祂。

7願邪惡的人停止作惡,

不義的人除掉惡念。

願他們歸向耶和華,

祂必憐憫他們;

願他們歸向我們的上帝,

祂必仁慈地赦免他們。

8耶和華說:「我的意念並非你們的意念,

我的道路並非你們的道路。

9正如天高過地,

我的道路也高過你們的道路,

我的意念也高過你們的意念。

10雨雪從天降下,並不返回,

而是要滋潤大地,

使地上的植物發芽生長,

叫播種的有種子,

吃飯的有食糧。

11同樣,我口中所出的話也不會徒然返回,

而是要成就我的旨意,

實現我的計劃。

12你們必歡歡喜喜地出來,

平平安安地蒙引導,

大山小山都要在你們面前歌唱,

田野的樹木也都拍掌。

13曾經的荊棘之地必長出松樹,

曾經的蒺藜之地必長出番石榴。

這便是永遠長存的記號,

以宣揚耶和華的名。」

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 55:1-13

Abalumwa Ennyonta Bayitibwa

155:1 a Yk 4:14; 7:37 b Kgb 5:4; Mat 13:44; Kub 3:18 c Lu 5:1 d Kos 14:4; Mat 10:8; Kub 21:6“Kale mujje,

mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi.

Mujje mmwe abatalina ssente zigula,

mujje muweebwe bye mwagala,

envinnyo oba amata ebitali bya kugula

ebitaliiko miwendo gya kusasula.

255:2 a Zab 22:26; Mub 6:2; Kos 8:7 b Is 1:19Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya

muteganira ebyo ebitakkusa?

Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi,

emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.

355:3 a Lv 18:5; Bar 10:5 b Is 61:8 c Is 54:8 d Bik 13:34*Mumpulirize mujje gye ndi.

Muwulirize mubeere balamu;

nnaabakolera endagaano ey’olubeerera,

era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi.

455:4 Yer 30:9; Ez 34:23-24Laba namufuula omujulirwa eri abantu,

omukulembeze era omugabe w’abantu.

555:5 a Is 49:6 b Is 60:9Laba oliyita amawanga g’otomanyi,

era amawanga g’otomanyi galyanguwa okujja gy’oli.

Kiribaawo olw’obuyinza bwa Mukama Katonda wo

era Omutukuvu wa Isirayiri

kubanga akugulumizza.”

655:6 a Zab 32:6; Is 49:8; 2Ko 6:1-2 b Is 65:24Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika,

mumukaabirire nga bw’akyali okumpi.

755:7 a Is 32:7; 59:7 b Is 44:22 c Is 54:10 d Is 1:18; 40:2Omubi aleke ekkubo lye,

n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye.

Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe

kubanga anaamusonyiyira ddala.

855:8 Is 53:6“Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe

era n’amakubo gammwe si ge makubo gange,”

bw’ayogera Mukama.

955:9 Zab 103:11“Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi,

bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’amakubo gammwe,

n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.

1055:10 a Is 30:23 b 2Ko 9:10Era ng’enkuba bwetonnya

n’omuzira ne gugwa okuva mu ggulu

n’ebitaddayo,

wabula ne bifukirira ettaka, ebirime ne bikula,

ne bimerusa ensigo z’omusizi,

era ne biwa omuli emmere,

1155:11 a Is 45:23 b Is 44:26bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri;

tekiriddayo bwereere,

naye kirikola ekyo kye njagala

era kirituukiriza ekyo kye nakituma.

1255:12 a Is 54:10, 13 b 1By 16:33 c Zab 98:8Kubanga mulifuluma n’essanyu

ne mugenda mirembe,

ensozi n’obusozi nabyo

ne bitandika okuyimba nga bibalabye,

n’emiti gyonna

ne gitendereza n’essanyu.

1355:13 a Is 5:6 b Is 41:19 c Is 63:12Mu kifo ky’omweramannyo mulimeramu olusambya,

ne mu kifo ky’omutovu mulimeramu omumwanyi.

Era kino kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibwe

era ako ke kaliba akabonero akataliggwaawo

ak’emirembe n’emirembe.”