以賽亞書 22 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以賽亞書 22:1-25

關於耶路撒冷的預言

1以下是關於異象谷22·1 異象谷」指耶路撒冷。的預言。

為什麼你們全城的人都上到房頂呢?

2你們這座充滿喧鬧、騷動和歡樂的城啊,

你們中間被殺的人既非喪身刀下,

也非死於戰場。

3你們的官長一起逃跑,

一箭未發便束手就縛,

逃到遠方的也一同被擒。

4所以,我說:「你們不要管我,

讓我痛哭一場吧!

不要安慰我,

我的同胞都被毀滅了。」

5主——萬軍之耶和華已經定了日子,

要使耶路撒冷飽受恐慌、

失敗和混亂,

城牆被攻破,

哭喊聲響徹山間。

6以攔人帶著箭袋,

率領戰車和騎兵前來,

吉珥人也亮出盾牌。

7你們佳美的山谷中佈滿戰車,

騎兵在你們的城門前列陣。

8猶大毫無防衛之力。

那時,你們依靠藏在林宮裡的兵器。 9你們看見大衛城破口纍纍,你們儲存下池的水, 10數點耶路撒冷城的房屋,把房屋拆掉修補城牆。 11又在兩道城牆之間建造新的蓄水池,用來盛舊池的水。耶和華從古時已定了這一切,要使這一切發生,但你們既不仰望祂,也不理會祂。

12那日,萬軍之耶和華呼召你們哭泣哀號,

剃光頭髮,身披麻衣。

13但你們還是歡喜作樂,

宰牛殺羊,喝酒吃肉,說:

「讓我們吃喝吧!

因為明天我們就死了。」

14萬軍之耶和華啟示我說:

「你們這罪到死也得不到赦免。

這是主——萬軍之耶和華說的。」

15主——萬軍之耶和華吩咐我去見宮廷總管舍伯那,對他說: 16「你在這裡做什麼?你憑什麼在這裡為自己挖墳墓,在高處為自己挖墳墓,在磐石上為自己鑿安息之所? 17看啊,你這有權有勢的人,耶和華必緊緊抓住你,把你猛力拋開。 18祂必把你揉作一團,像球一樣扔到寬闊之地。在那裡,你必死亡,你華美的戰車也必遭毀滅,你是你主人家的羞辱。」 19耶和華對舍伯那說:「我必解除你的官職,把你從高位上拉下來。

20「到那日,我必召來我的僕人——希勒迦的兒子以利亞敬21給他穿上你的朝服,繫上你的腰帶,把你的權柄交給他。他必像父親一樣保護耶路撒冷猶大的人民。 22我必把大衛家的鑰匙交給他。他開啟的,沒有人能關;他關閉的,沒有人能開。 23我要使他像深嵌在堅固之處的橛子一樣穩固,他必給他的家族帶來尊榮。 24他所有的親屬都靠他得榮耀,如同杯子和酒瓶等小器皿掛在一個橛子上。」

25萬軍之耶和華說:「到那日,牢牢釘在堅固之處的釘子必鬆動,被砍落在地上,掛在上面的東西必被除掉。這是耶和華說的。」

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 22:1-25

Obunnabbi Obufa ku Yerusaalemi

122:1 a Is 13:1 b Zab 125:2; Yer 21:13; Yo 3:2, 12, 14Obunnabbi obukwata ku Kiwonvu ky’Okwolesebwa:

Kiki ekikutawanya kaakano,

n’okulinnya n’olinnya waggulu ku busolya,

222:2 Is 32:13ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano,

ggwe ekibuga eky’amasanyu era eky’ebinyumu?

Abantu bo abattibwa,

tebaafa kitala newaakubadde okufiira mu lutalo.

3Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu;

bawambiddwa awatali kulwana.

Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe,

kubanga badduka.

422:4 a Is 15:3; Luk 19:41 b Yer 9:1Kyenava njogera nti, “Munveeko,

mundeke nkaabire ddala nnyo.

Temugezaako kunsaasira

olw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.”

522:5 Kgb 1:5Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku

olw’akatabanguko,

olw’okulinyirirwa n’entiisa mu Kiwonvu ky’Okwolesebwa;

olunaku olw’okumenya bbugwe,

n’okukaabirira ensozi.

622:6 a Is 21:2 b Yer 49:35 c 2Bk 16:9Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale,

n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi,

Kiri22:6 Kiri Kifo ekisangibwa mu Bwasuli asabuukulula engabo.

722:7 2By 32:1-2Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali,

n’abeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki.

822:8 a 2By 32:5 b 1Bk 7:2Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo.

Ku lunaku olwo watunuulira

ebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira.

922:9 2By 32:4Walaba amabanga agaali mu kwerinda

kw’Ekibuga kya Dawudi,

wakuŋŋaanya amazzi

mu Kidiba eky’Emmanga.

10Wabala ebizimbe mu Yerusaalemi

n’omenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe.

1122:11 a 2Bk 25:4; Yer 39:4 b 2By 32:4Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri,

n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde,

naye tewatunuulira Oyo eyakisima,

wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda.

1222:12 a Yo 2:17 b Mi 1:16 c Yo 1:13Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye

yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe,

n’okwemwako enviiri

n’okwambala ebibukutu.

1322:13 a Is 5:22; 28:7-8; 56:12; Luk 17:26-29 b 1Ko 15:32*Naye laba, ssanyu na kujaguza,

okubaaga ente n’okutta endiga,

okulya ennyama n’okunywa envinnyo.

Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe

kubanga enkya tunaafa.”

1422:14 a Is 5:9 b Is 13:11; 26:21; 30:13-14; Ez 24:13Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

1522:15 2Bk 18:18; Is 36:3Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Genda eri omuwanika oyo,

eri Sabuna avunaanyizibwa olubiri omugambe nti,

1622:16 Mat 27:60Okola ki wano era ani yakuwadde olukusa

okwetemera entaana wano,

n’otema n’amaanyi entaana yo waggulu mu lwazi,

ne weerongoosereza eyo ekifo eky’okuwummuliramu?

17“Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira,

akuggyewo ggwe omusajja ow’amaanyi.

1822:18 Is 17:13Alikuzingazingako,

n’akukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa.

Eyo gy’olifiira,

era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galisigala,

ggwe ensonyi ez’ennyumba ya Mukama wo.

19Ndikuggya ku ntebe yo,

era oliggyibwa mu kifo kyo.

2022:20 2Bk 18:18; Is 36:3“Mu biro ebyo nditumya omuweereza wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya. 21Ndimwambaza ekyambalo kyo, ne munyweza n’olukoba lwo, ne mukwasa obuyinza bwo. Aliba kitaawe w’abo ababeera mu Yerusaalemi, n’eri ennyumba ya Yuda. 2222:22 a Kub 3:7 b Is 7:2 c Yob 12:14Ndimukwasa ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi; bw’aliggulawo tewaliba aggalawo, bw’aliggalawo tewaliba aggulawo. 2322:23 a Zek 10:4 b Ezr 9:8 c 1Sa 2:7-8; Yob 36:7Ndimunyweza mu kifo ng’enkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe. 24Ekitiibwa ky’ennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.”

2522:25 a nny 23 b Is 46:11; Mi 4:4Bw’ati bw’ayogera Katonda ow’Eggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo n’enywera erisalibwa, n’eneguka, n’egwa, n’omugugu gw’ekutte gulisarwako.” Mukama ayogedde.