以賽亞書 21 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以賽亞書 21:1-17

關於巴比倫的預言

1以下是關於海邊沙漠21·1 海邊沙漠」指巴比倫。的預言:

敵人從可怕的沙漠之地上來,

好像狂風掃過南部的曠野。

2我看見一個令人膽戰心驚的異象:

「詭詐的在行詭詐,

毀滅的在行毀滅。

以攔人啊,攻打吧!

瑪代人啊,圍城吧!

耶和華必終止巴比倫帶來的痛苦。」

3這使我充滿痛苦,

我陷入劇痛中,

如同分娩的婦人,

我因聽見的話而驚慌,

因看見的景象而害怕。

4我心慌意亂,驚懼不堪,

我期盼的黃昏卻令我恐懼。

5他們擺設宴席,

坐在地毯上又吃又喝。

突然有人大喊:

「官長啊,起來擦亮盾牌,備戰吧!」

6耶和華對我說:

「你去派人守望,

讓他報告所看見的情況。

7他看到戰車、一對對的騎兵、

驢隊和駱駝隊的時候,

要提高警惕,密切察看。」

8守望的人大喊:

「我主啊,我在瞭望塔上日夜觀看。

9看啊,戰車和一對對的騎兵來了。」

他又接著說:「巴比倫傾倒了!

傾倒了!

她所有的神像都被打碎在地上。」

10於是,我說:「我的百姓啊!

你們像場上被碾、被篩的穀物,

現在我把從以色列的上帝——萬軍之耶和華那裡聽見的都告訴你們了。」

關於以東的預言

11以下是關於以東的預言。

有人從西珥大聲問我:

「守夜的啊,黑夜還有多長?

守夜的啊,黑夜還有多長?」

12我回答:

「黎明將到,但黑夜會再來。

如果你們還想問,再來問吧。」

關於阿拉伯的預言

13以下是關於阿拉伯的預言:

成群結隊的底但客旅必躲在 阿拉伯的荒野過夜。

14提瑪的居民啊,要送水給這些口渴的人,

拿食物給這些逃難的人。

15他們從敵人的刀光箭影中逃生。

16耶和華對我說:「如同雇工合約規定的做工年限,一年之內,基達所有的榮耀必消失, 17勇敢的弓箭手必所剩無幾。這是以色列的上帝耶和華說的。」

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 21:1-17

Obunnabbi Obukwata ku Babulooni

121:1 a Is 13:21; Yer 51:43 b Zek 9:14Obunnabbi obukwata ku Ddungu eririraanye ennyanja:

Ng’embuyaga bwe zikunta nga ziyita mu nsi ey’obukiikaddyo,

bw’atyo alumba bw’ava mu ddungu

eririraanye ensi etiisa.

221:2 a Zab 60:3 b Is 33:1 c Is 22:6; Yer 49:34Nfunye okwolesebwa okw’entiisa:

alyamu olukwe akola omulimu gwe, n’omunyazi anyaga.

Eramu, lumba! Obumeedi zingiza!

Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleeta.

321:3 Zab 48:6; Is 26:17Omubiri gwange kyeguvudde gulumwa,

n’obulumi bunkwata, ng’omukazi alumwa okuzaala;

nnyiize olw’ebyo bye mpulira,

bye ndaba bimazeemu amaanyi.

4Omutima gwange gutya,

Entiisa endetera okukankana;

Akasendabazaana ke nnali njayaanira,

kanfukidde ekikankano.

521:5 Yer 51:39, 57; Dan 5:2Bateekateeka olujjuliro,

bayalirira ebiwempe,

ne balya, ne banywa!

Mugolokoke mmwe abakulembeze,

musiige engabo amafuta.

6Kino Mukama ky’aŋŋamba nti,

“Genda ofune omukuumi

akuleetere amawulire ku ebyo by’alaba.

721:7 nny 9Bw’alaba amagaali

n’ebibinja by’embalaasi,

n’abeebagazi ku ndogoyi

oba abeebagazi ku ŋŋamira

yeekuume,

era yeegendereze.”

821:8 Kbk 2:1Awo omukuumi n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti,

“Mukama wange, buli lunaku nnyimirira ku munaala,

buli kiro mbeera ku mulimu gwange.

921:9 a Kub 14:8 b Yer 51:8; Kub 18:2 c Is 46:1; Yer 50:2; 51:44Laba omusajja wuuno ajjira mu ggaali,

ng’alina n’ekibinja ky’embalaasi.

Era ayanukula bw’ati nti,

‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde.

Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna

bibetenteddwa wansi ku ttaka.’ ”

1021:10 Yer 51:33Abantu bange, abasesebbuddwa ku gguuliro,

mbategeeza kyempulidde okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri.

Obunnabbi obukwata ku Edomu

1121:11 a Lub 25:14 b Lub 32:3Obunnabbi obukwata ku Duuma:

Waliwo ankowoola okuva mu Seyiri ng’ayogera nti,

“Omukuumi, bunaakya ddi?

Omukuumi, bunaakya ddi?”

12Omukuumi ayanukula bw’ati nti,

“Bulikya, era buliziba.

Bw’obaako ne ky’obuuza kibuuze

okomewo nate.”

Obunnabbi obukwata ku Buwalabu

1321:13 Is 13:1Obunnabbi obukwata ku Buwalabu:

Mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja,

abasiisira mu bisaka bya Buwalabu,

1421:14 Lub 25:15muleetere abalumwa ennyonta amazzi; mmwe ababeera mu Teema, muleetere abanoonyi b’obubudamu emmere.

1521:15 Is 13:14Badduka ekitala,

badduka ekitala ekisowole,

badduka omutego ogunaanuddwa,

badduka n’akabi k’entalo.

1621:16 a Is 16:14 b Is 17:3 c Zab 120:5; Is 60:7Bw’ati Mukama bw’aŋŋamba nti, “Mu mwaka gumu, ng’endagaano gye bakolera omukozi bw’eba, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kirikoma. 1721:17 Is 10:19Ku b’obusaale abaliwona, ne ku basajja abalwanyi abazira ab’e Kedali, walisigalawo batono.” Mukama Katonda wa Isirayiri ayogedde.