以賽亞書 18 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以賽亞書 18:1-7

關於古實的預言

1古實河那邊、翅膀刷刷作響之地有禍了!

2那裡派出的使節乘蘆葦船行駛在水面上。

迅捷的使節啊,

去身材高大、皮膚光滑、

遠近畏懼、強盛兇悍、

國土河流縱橫的民族那裡吧!

3世上的一切居民啊,

山上豎立旗幟的時候,

你們要看;

號角吹響的時候,你們要聽。

4耶和華對我說:

「我要從我的居所靜靜地觀看,

無聲無息,就像豔陽下的熱氣,

又如夏收時節的露水。」

5在收割之前,

在花已凋謝、葡萄將熟之時,

耶和華必毀滅古實人,

就像用刀削去葡萄樹的嫩枝,

砍掉蔓延的枝條。

6他們的屍首成了山間鷙鳥和田野走獸的食物,

夏天被鷙鳥啄食,

冬天被走獸吞噬。

7那時,這身材高大、皮膚光滑、

遠近畏懼、強盛兇悍、

國土河流縱橫的民族,

必帶著禮物來到錫安山,

獻給萬軍之耶和華。

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 18:1-7

Obunnabbi Obukwata ku Kuusi

118:1 Is 20:3-5; Ez 30:4-5, 9; Zef 2:12; 3:10Zikusanze, ggwe ensi ey’ebiwaawaatiro ebikwakwaya,

eri emitala w’emigga gya Kuusi,18:1 Mu biro bya Isaaya, waaliwo bafalaawo aba Esiyopya abaafuganga Misiri. Abo be baanoonya okubeerwa okuva eri Abapalesitayini, balwanyise Bwasuli

218:2 a Kuv 2:3 b Lub 10:8-9; 2By 12:3 c nny 7etuma ababaka ne bagendera mu maato

ag’ebitoogo ku nnyanja.

Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,

eri abantu abatiibwa abeewala n’ab’okumpi,

eggwanga ery’amaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa,

ensi eyawulwamu emigga.

318:3 Is 5:26Mmwe mwenna abantu abali mu nsi,

mmwe ababeera ku nsi,

bendera lweriwanikibwa ku nsozi,

muligiraba,

era ekkondeere bwe lirifuuyibwa,

muliriwulira.

418:4 a Is 26:21; Kos 5:15 b Is 26:19; Kos 14:5Kubanga bw’atyo Mukama bw’aŋŋambye nti,

“Ndyesirikira ntunule nga nsinziira ewange,

ng’olubugumu olutemagana mu musana,

ng’ekire ky’omusulo mu lubugumu olw’omu biro eby’amakungula.”

518:5 Is 17:10-11; Ez 17:6Kubanga okukungula kuliba tekunatuuka,

okumulisa nga kuwedde, n’ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengedde,

aliwawaagula obutabi n’ebiwabyo,

n’amatabi agalanda aligasalira.

618:6 Is 56:9; Yer 7:33; Ez 32:4; 39:17Gonna galirekerwa ennyonyi ez’oku nsozi ezirya ebiramu

n’ensolo ez’ensi.

Era ennyonyi ezirya ebiramu zirye okwo mu biseera by’ekyeya,

n’ensolo zonna ez’omu nsiko zirye okwo mu biseera by’obunnyogovu.

718:7 Zab 68:31Mu kiseera ekyo Mukama Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo,

ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,

abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi,

ensi ey’eryanyi,

eyawulwamu emigga,

ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya Mukama Ayinzabyonna.