以西結書 47 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以西結書 47:1-23

從聖殿流出的水

1他又領我回到聖殿門口,我看見有水從聖殿的門檻下往東流去。殿的正面朝東,這水從殿的南側經祭壇的南邊往下流。 2隨後他領我由北門出來,從外面繞到外院的東門,我見水從東門的南面涓涓流出。

3那人手拿量繩向東量了五百米,然後領我涉水前行,水深及踝。 4他又量了五百米,領我涉水前行,水深及膝。他又量了五百米,領我涉水前行,水深及腰。 5他又量了五百米,水已高漲成河,足可游泳,無法再涉水而行。 6他問我:「人子啊,你看見了什麼?」

然後,他帶我回到河邊, 7我發現河的兩岸長滿了樹木。 8他對我說:「這水向東流,經過亞拉巴流到鹽海,使那裡的鹹水變為淡水。 9河水流經的地方,萬物滋長,魚產豐盛,因為河水使那裡的鹹水變成淡水了。 10漁夫要站在岸邊捕魚,從隱·基底隱·以革蓮都是曬網的地方。那裡的魚就像大海的魚一樣種類繁多。 11但沼澤和濕窪之地卻不會改變,留作產鹽之地。 12沿河兩岸長著各種果樹,樹的葉子不會枯乾,果實也不會斷絕。樹必月月結出新果,不但果實可吃,葉子還可作藥用,因為這水是從聖所流出來的。」

地界

13主耶和華說:「你要按照我劃定的地界,把土地分給以色列的十二支派作產業,除約瑟支派47·13 約瑟支派」就是以法蓮和瑪拿西兩支派。要得兩份地業外, 14其他各支派都要均分,因為我曾起誓將這地方賜給你們祖先。這地方必成為你們的產業。

15「以下是這地方的地界:北界從地中海岸經希特倫哈馬口、西達達16比羅他大馬士革哈馬邊界中間的西伯蓮,一直到浩蘭邊界的哈撒·哈提幹17這樣,北界是從地中海岸一直到大馬士革邊界的哈撒·以難,以哈馬為界。

18「東界是從北界南下經浩蘭大馬士革、沿著基列以色列中間的約旦河為界,一直伸展到東部的海。

19「南界從他瑪西經米利巴·加低斯泉和埃及小河直到地中海。

20「西界從南界沿地中海的海岸到北界哈馬口對面的地方。

21「你們要按照以色列的各支派分這塊地, 22用抽籤的方法來分產業,也要分給在你們中間居住、生兒育女的外族人。你們要視他們如同以色列人,要讓他們與你們同分產業。 23他們居住在哪一支派,哪一支派便要把產業分給他們。這是主耶和華說的。」

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 47:1-23

Oluzzi Olusibuka mu Yeekaalu

147:1 a Is 55:1 b Zab 46:4; Yo 3:18; Kub 22:1Awo omusajja n’ankomyawo ku mulyango ogwa yeekaalu, ne ndaba amazzi nga gava wansi w’omulyango gwa yeekaalu ku luuyi olw’ebuvanjuba kubanga yeekaalu yali etunudde ku luuyi olw’ebuvanjuba. Amazzi gaali gakulukuta nga gava wansi ku luuyi olwa ddyo olwa yeekaalu, ku luuyi olw’Obukiikaddyo obw’ekyoto. 2N’anfulumiza mu mulyango gw’Obukiikakkono, n’ankulembera n’anneetoolooza ebweru eri oluggi olw’ebweru olutunuulidde Ebuvanjuba, era laba amazzi gaali gakulukuta okuva ku luuyi olw’Obukiikaddyo.

347:3 Ez 40:3Awo omusajja eyalina olupimo mu mukono gwe, n’alaga ku luuyi olw’ebuvanjuba yapima mita ebikumi bina mu ataano, n’alyoka ampisa mu mazzi, agaali gakoma mu bukongovvule. 4N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, n’ampisa mu mazzi agaali gankoma mu maviivi. N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, n’ampisa mu mazzi agaali gankoma mu kiwato. 547:5 Is 11:9; Kbk 2:14N’apima mita endala ebikumi bina mu ataano, naye kati amazzi gaali gafuuse mugga gwe nnali sisobola kusomoka kubanga amazzi gaali gatumbidde era nga mangi agawugibwamu obuwugirwa, omugga ogwali gutasoboka kusomokebwa. 6N’ambuuza nti, “Omwana w’omuntu, kino okiraba?”

N’anzizaayo ku lubalama lw’omugga. 747:7 nny 12; Kub 22:2Awo bwe natuuka eyo, laba ne ndaba ku lubalama lw’omugga emiti mingi nnyo eruuyi n’eruuyi w’omugga. 847:8 a Ma 3:17; Yos 3:16 b Is 41:18N’aŋŋamba nti, “Amazzi gano gakulukuta gadda mu kitundu eky’ensi eky’Ebuvanjuba, ne gaserengeta mu ddungu, ne gayingira mu Nnyanja.47:8 ye Nnyanja ey’Omunnyo Omugga bwe guyiwa mu Nnyanja47:8 ye Nnyanja ey’Omunnyo amazzi ne galongooka. 947:9 Is 12:3; 55:1; Yk 4:14; 7:37-38Buli kiramu tekirifa yonna omugga gye guyita, era mulibeeramu ebyennyanja bingi nnyo, kubanga amazzi gano agakulukutirayo gafuula amazzi ag’omu Nnyanja ey’Omunnyo okuba amalungi, noolwekyo omugga gye guyita, ebintu byonna binaabeeranga biramu. 1047:10 a Mat 4:19 b Yos 15:62 c Ez 26:5 d Zab 104:25; Mat 13:47 e Kbl 34:6Abavubi banaayimiriranga ku lubalama lwagwo okuva mu Engedi okutuuka e Negalayimu; walibeerayo ebifo ebyokwanikamu obutimba. Buli byannyanja biriba mu bika byabyo, era nga bingi nnyo nnyini ng’ebyennyanja eby’omu Nnyanja Ennene, ye Meditereeniya. 1147:11 Ma 29:23Naye ebifo eby’ettosi n’ebisaalu tebirilongooka, birisigala nga bya munnyo. 1247:12 a nny 7; Kub 22:2 b Zab 1:3 c Lub 2:9; Yer 17:8Emiti egy’ebibala ebya buli kika girimera eruuyi n’eruuyi w’omugga, n’ebikoola byagyo tebiriwotoka era tegiibulengako bibala. Buli mwezi ginaabeerangako ebibala, kubanga amazzi gaagyo agava mu Watukuvu gagifukirira. Ebibala byagyo biriba mmere, n’ebikoola byagyo biriba ddagala eriwonya.”

Ensalo ez’ensi

1347:13 a Kbl 34:2-12 b Lub 48:5Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bwe muti bwe munaasala ensalo nga mugabanya ensi mu bika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri, ng’ekika kya Yusufu kiweebwa emigabo ebiri. 1447:14 Lub 12:7; Ma 1:8; Ez 20:5-6Muligibagabanyizaamu mu bwenkanya, kubanga nagirayirira bajjajjammwe, era ettaka liriba mugabo gwabwe.

1547:15 Ez 48:1“Ensalo z’ensi eyo ziriba bwe ziti:

“Ku luuyi olw’Obukiikakkono, eriva ku Nnyanja Ennene ku mabbali g’ekkubo ery’e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Kamasi, ng’ogenda e Zedadi, 1647:16 a 2Sa 8:8 b Kbl 13:21; Ez 48:1Berosa, Sibulayimu ekiri ku nsalo wakati w’e Ddamasiko n’e Kamasi, okutuukira ddala e Kazerukattikoni ekiri ku nsalo y’e Kawulaani. 1747:17 Ez 48:1Era ensalo eriva ku nnyanja okutuuka e Kazalenooni ekiri ku nsalo y’e Ddamasiko ey’Obukiikakkono, okuliraana Kamasi mu Bukiikakkono. Era eyo y’eriba ensalo ey’Obukiikakkono.

18Ku luuyi olw’ebuvanjuba ensalo eriva e Kazalenooni ekiri wakati wa Kawulaani ne Ddamasiko ku lubalama lwa Yoludaani wakati wa Gireyaadi n’ensi ya Isirayiri era n’okutuuka ku nnyanja ey’Ebuvanjuba. Eyo y’eriba ensalo ey’Ebuvanjuba.

1947:19 a Ma 32:51 b Is 27:12 c Ez 48:28Ku luuyi olw’Obukiikaddyo eriva e Tamali okutuukira ddala ku mazzi ag’e Meribosukadesi, ne ku kagga ak’e Misiri okutuuka ku Nnyanja Ennene. Eyo y’eriba ensalo ey’Obukiikaddyo.

2047:20 a Ez 48:1 b Kbl 34:6Ku luuyi olw’ebugwanjuba, Ennyanja Ennene, ye Meditereeniya y’eriba ensalo okutuuka awayolekera awayingirirwa e Kamasi, era eyo y’eriba ensalo ey’Ebugwanjuba.

21“Muligabana ensi eno ng’ebika bya Isirayiri bwe biri. 2247:22 a Is 14:1 b Kbl 26:55-56; Is 56:6-7; Bar 10:12; Bef 2:12-16; 3:6; Bak 3:11Muligigabana ng’omugabo wakati wammwe ne bannaggwanga abali nammwe, abazaalidde abaana mu mmwe. Mulibatwala ng’abazaaliranwa ba Isirayiri, era baligabana omugabo mu bika bya Isirayiri. 23Era mu buli kika munnaggwanga mw’anaabeeranga, eyo gye mulimuwa omugabo gwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.