以西結書 24 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以西結書 24:1-27

鏽鍋的比喻

1第九年十月十日,耶和華對我說: 2「人子啊,今天是巴比倫王圍攻耶路撒冷的日子,你要記下這日子。 3你要向叛逆的以色列人說比喻,告訴他們,主耶和華這樣說,

『把鍋放在火上,

裡面倒進水,

4把羊腿、羊肩等上好的肉塊放進鍋裡,

讓鍋裡盛滿精選的骨頭。

5要從羊群中選一頭上好的羊,

把柴堆在鍋下,

燒開鍋煮裡面的骨頭。』」

6主耶和華說:「這像鏽鍋一樣充滿血腥的城有禍了!要把肉從這鏽跡斑斑的鍋中一塊塊地取出來。 7這城沾滿血腥,任憑受害者的血流在光禿禿的磐石上,而不是流在地上用土掩蓋。 8我任憑這城把受害者的血灑在磐石上,不加掩蓋,好激起我的烈怒,使她受報應。 9所以主耶和華說,『血腥的城啊,你有禍了!我要預備大堆木柴, 10添在火上,燃起旺火,把肉煮爛,加入香料,燒焦骨頭。 11然後,把倒空的鍋放在炭火上燒熱,把銅燒紅,好熔化它的雜質,除淨鏽垢, 12卻徒勞無功,因為鏽垢太厚,就是用火也不能清除。 13耶路撒冷啊,淫蕩使你污穢不堪,我要潔淨你,你卻不願被潔淨。所以,除非我向你傾盡一切憤怒,否則你的污穢將不能清除。 14我耶和華言出必行,決不寬容,也不留情,我必照你的所作所為來審判你。』這是主耶和華說的。」

15耶和華對我說: 16「人子啊,我要突然奪去你心愛的人,你不可悲傷,也不可流淚哭泣。 17你要默然哀歎,不可為死人辦喪事,仍要纏著頭巾,穿著鞋,不可蒙著臉,也不可吃喪家吃的飯。」 18早晨我把這事告訴百姓,晚上我的妻子便死了。次日早晨,我便遵照耶和華的吩咐行。

19百姓問我:「你可以告訴我們,你這樣做跟我們有什麼關係嗎?」 20我告訴他們:「耶和華對我說, 21『你告訴以色列人,我要使我的聖所,就是你們引以為傲、眼中所愛、心裡所慕的受到褻瀆。你們留下的兒女必死於刀下。 22那時,你們將像我的僕人一樣不蒙臉,不吃喪家吃的飯。 23你們仍將裹著頭巾,穿著鞋,不哭泣,也不悲傷。你們必因自己的罪惡而默然歎息,逐漸滅亡。 24以西結做的事都是你們的預兆,你們也將做他做的。當這事發生時,你們就知道我是主耶和華了。』

25「人子啊,有一天我要奪去他們所喜悅、所誇耀、眼中所愛、心裡所慕的堡壘,也要奪去他們的兒女。 26那日,倖存的人必來告訴你這個消息。 27那時,你必開口向那人說話,不再沉默。你必成為他們的預兆,他們就知道我是耶和華。」

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 24:1-27

Entamu Efumba

124:1 Ez 8:1Awo olwatuuka mu mwaka ogw’omwenda, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 224:2 2Bk 25:1; Yer 39:1; 52:4“Omwana w’omuntu wandiika ennaku z’omwezi eza leero, kubanga kabaka w’e Babulooni azingizza Yerusaalemi olwa leero. 324:3 a Is 1:2; Ez 2:3, 6 b Ez 17:2; 20:49 c Yer 1:13; Ez 11:3Gerera ennyumba eyo enjeemu olugero obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Muteeke entamu ku kyoto,

musseemu amazzi.

4Mugiteekemu ebifi eby’ennyama,

ebifi byonna ebirungi, ekisambi n’omukono.

Mugijjuze n’amagumba agasinga obulungi,

524:5 a Yer 52:10 b Yer 52:24-27mulonde endiga esinga obulungi okuva mu kisibo,

Oteeke ebisiki wansi w’entamu,

mweseze ebigirimu,

era ofumbe n’amagumba agalimu.

624:6 a Ez 22:2 b Ob 11; Nak 3:10“ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi,

ggwe entamu eriko enziro,

eteereddwamu ebintu ebitaaveemu.

Gyamu ekifi kimu kimu

awatali kukuba kalulu.

724:7 Lv 17:13“ ‘Omusaayi gwe yayiwa guli wakati mu ye,

yaguyiwa ku lwazi olwereere;

teyaguyiwa wansi

enfuufu ereme okugubikka.

8Okusiikula ekiruyi kyange nsobole okuwalana eggwanga

n’ateeka omusaayi gwe ku lwazi olwereere,

guleme okubikkibwako.

9“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera nti,

“ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi!

Nange ndituuma enku nnyingi ddala.

10Mutuume ebisiki,

mukume omuliro,

ennyama mugifumbe bulungi,

mugiteekemu ebirungo,

n’amagumba gasiriire.

1124:11 Yer 21:10; Ez 22:15Oluvannyuma muddire entamu enkalu mugiteeke ku masiga,

okutuusa lw’eneeyokya ennyo n’ekikomo mwe yakolebwa ne kyengerera,

ebitali birongoofu ebigirimu ne bisaanuuka,

n’ebyateekebbwamu ne byokebwa.

12Okufuba kwonna kubadde kwa bwereere,

kubanga ebyateekebbwamu ebingi tebiggiddwamu,

n’omuliro nagwo tegubyokeza.

1324:13 Yer 6:28-30; Ez 16:42; 22:24“ ‘Kaakano mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga nagezaako okukutukuza ggwe, naye ne kitasoboka kukutukuza, era tolitukuzibwa okutuusa ekiruyi kyange bwe kirikkakkana.

1424:14 a Ez 36:19 b Ez 18:30“ ‘Nze Mukama njogedde. Ekiseera kituuse okubaako ne kye nkola. Siritunula butunuzi so sirisaasira newaakubadde okwejjusa. Ndikusalira omusango nga nsinziira ku neeyisaayo ne ku bikolwa byo, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Mukazi wa Ezeekyeri Afa

15Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 1624:16 Yer 13:17; 16:5; 22:10“Omwana w’omuntu, luliba lumu oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye gasinga okwegomba, naye tokungubaganga newaakubadde okukuba ebiwoobe newaakubadde okukaaba. 1724:17 Yer 16:7Osindanga mu kasirise naye tokungubagiranga mufu. Ekiremba ku mutwe gwo okinywezanga, era osigalanga oyambadde engatto zo; tobikkanga wansi w’amaaso go wadde okulya emmere ey’omulumbe.”

18Awo ne njogera eri abantu ku makya, akawungeezi mukazi wange n’afa. Enkeera ne nkola nga bwe nalagiddwa.

1924:19 Ez 12:9; 37:18Abantu ne bambuuza nti, “Bino bitegeeza ki?”

20Awo ne mbaddamu nti, “Ekigambo kya Mukama kyanzijira n’aŋŋamba nti, 2124:21 a Zab 27:4 b Ez 23:25 c Yer 7:14, 15; Ez 23:47Tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, nnaatera okwonoona awatukuvu wange, ekigo kye mwegulumiririzangamu, amaaso gammwe kye geegombanga, n’emitima gyammwe kye gyayagalanga, ne batabani bammwe ne bawala bammwe abaasigala emabega, balifa n’ekitala. 2224:22 Yer 16:7Mulikola nga nze bwe nkoze, so temulibikka wansi w’amaaso gammwe newaakubadde okulya emmere ey’omulumbe. 2324:23 a Yob 27:15 b Zab 78:64Mulisigala nga mwesibye ebiremba ku mitwe gyammwe, era mulisigala nga mwambadde engatto zammwe. Temulikuba biwoobe newaakubadde okukaaba naye muliyongobera olw’ebibi byammwe, buli muntu n’asindira munne ennaku. 2424:24 Is 20:3; Ez 4:3; 12:11Era Ezeekyeri aliba kabonero gye muli, era mulikola nga bw’akoze. Ebyo bwe biribaawo, mulimanya nga nze Mukama Katonda.’

2524:25 Yer 11:22“Ate ggwe, omwana w’omuntu, olunaku lwe ndibaggyako ekigo kyabwe, n’essanyu lyabwe n’ekitiibwa kyabwe, n’okwegomba okw’amaaso gaabwe, n’okwegomba okw’emitima gyabwe, ne batabani baabwe ne bawala baabwe, 2624:26 1Sa 4:12; Yob 1:15-19ku lunaku olwo aliba awonyeewo y’alikuwa amawulire. 2724:27 Ez 3:26; 33:22Mu kiseera ekyo olyasamya akamwa ko, era olyogera eri kaawonawo so toliddayo kusirika. Era oliba kabonero gye bali, bamanye nga nze Mukama.”