Chinese Contemporary Bible (Traditional)

提摩太後書 1

1我保羅奉上帝的旨意,按照在基督耶穌裡所應許的生命作基督耶穌的使徒, 寫信給我親愛的兒子提摩太。

願父上帝和我們的主基督耶穌的恩典、憐憫和平安臨到你!

勉勵忠心事奉

我日夜不停地為你禱告,對我效法祖先用清潔的良心事奉的上帝充滿了感恩。 每逢想起你流淚的情形,我就渴望見你,好使我的心充滿喜樂。 我記得你那真誠無偽的信心。你外祖母羅以和你母親友妮基首先有了這信心,我深信你也有。 因此我提醒你,要把上帝在我把手按在你身上時賜給你的恩賜充分發揮出來。 因為上帝賜給我們的不是懦弱的心,而是剛強、仁愛、自律的心。

所以,你不要羞於為我們的主做見證,也不要以我這為主被囚的人為恥,要靠著上帝的能力和我一同為福音受苦。 上帝拯救了我們,並呼召我們過聖潔的生活,不是因為我們的行為,而是出於祂的旨意和恩典。早在萬古以前,祂就在基督耶穌裡把這恩典賜給我們了, 10 如今藉著我們救主基督耶穌的降世顯明了出來。基督已經消滅了死亡,藉著福音將不朽的生命彰顯了出來。

11 我為了這福音受委派做傳道人、使徒和教師。 12 我因此而遭受這些苦難,但我不以為恥,因為我知道我所信的是誰,也深信祂能保守祂所託付我的[a],一直到那日[b] 13 你要以在基督耶穌裡的信心和愛心,把從我這裡聽到的正確教導當作典範遵守, 14 要靠著住在我們裡面的聖靈牢牢守住交託給你的美善之道。

15 你知道幾乎所有亞細亞的人都離棄了我,其中包括腓吉路和黑摩其尼。 16 願主憐憫阿尼色弗一家人,他常常鼓勵我,不以我被囚禁為恥。 17 他在羅馬的時候千方百計尋訪我的下落,直到找著我為止。 18 你很清楚,他從前在以弗所怎樣在各個方面服侍我。願主再來時格外地憐憫他。

Notas al pie

  1. 1·12 祂所託付我的」又可翻譯為「我所信託祂的」。
  2. 1·12 那日」指保羅站在基督面前交帳的日子。

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

2 Timoseewo 1

1Nze, Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, ng’okusuubiza bwe kuli okw’obulamu obuli mu Kristo Yesu, nkuwandiikira ggwe Timoseewo omwana wange omwagalwa, nga nkwagaliza ekisa n’okusaasirwa, n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Kristo Yesu Mukama waffe.

Okwebaza n’Okugumya

Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n’ekiro. Bwe nzijukira amaziga go ne neegomba okukulaba ndyoke nzijule essanyu. Nzijukira okukkiriza kwo okw’amazima olubereberye okwali mu jjajjaawo Looyi ne mukadde wo Ewuniike; era nga nkakasiza ddala nga naawe okulina. Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe kye yakuwa, bwe nakussaako emikono gyange. Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.

Noolwekyo tokwatibwa nsonyi kwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we, wabula naawe bonaabona olw’Enjiri ng’oyambibwa amaanyi ga Katonda, eyatulokola n’atuyita tubeere babe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku bikolwa byaffe, wabula ng’asinziira mu kuyitibwa okutukuvu, si ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye olw’ekigendererwa kye ye, n’ekisa kye, kye yatukwatirwa ng’ayita mu Kristo Yesu okuva edda n’edda Lyonna. 10 Kaakano ekisa ekyo kyolesebbwa mu kulabika kw’Omulokozi waffe Kristo Yesu eyaggyawo okufa, n’aleeta obulamu obutazikirizibwa ng’ayita mu Njiri, 11 gye nalonderwa okugisaasaanya, n’okuba omutume, era omuyigiriza, 12 era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.

13 Gobereranga ebigambo ebireeta obulamu bye wawulira njogera, mu kukkiriza ne mu kwagala mu Kristo Yesu. 14 Ekintu ekirungi eky’omuwendo kye wateresebwa kikuumenga ng’oyambibwa Mwoyo Mutukuvu abeera mu ffe.

15 Kino okimanyi, ng’ab’omu Asiya bonna banjabulira, mu abo mwe muli Fugero ne Kerumogene.

16 Mukama akwatirwe ekisa ab’omu nnyumba ya Onesifolo, kubanga yambeesabeesa emirundi mingi era teyankwatirwa nsonyi kubanga ndi musibe; 17 bwe yatuuka e Ruumi, yafuba nnyo okunnoonya era n’anzuula. 18 Mukama amukwatirwe ekisa ku lunaku luli. Era gw’omanyi bulungi nnyo byonna bye yakola mu Efeso.