Chinese Contemporary Bible (Traditional)

彼得後書 1

1我是耶穌基督的奴僕和使徒西門·彼得,寫信給藉著我們的上帝和救主耶穌基督的義,與我們得到同樣寶貴信心的人。

願你們因認識上帝和我們主耶穌而得到豐富的恩典和平安!

追求長進

因為我們認識了用自己的榮耀和美德呼召我們的上帝,上帝以祂神聖的能力將生命與敬虔所需要的一切賜給了我們。 藉此,祂已將既寶貴又偉大的應許賞給了我們,使我們脫離世上私慾帶來的敗壞,能夠有份於上帝的性情。

正因如此,你們要加倍努力,不僅要有信心,還要有好的德行;不僅要有好的德行,還要有知識; 不僅要有知識,還要有節制;不僅要有節制,還要有忍耐;不僅要有忍耐,還要有敬虔; 不僅要有敬虔,還要有愛弟兄姊妹的心;不僅要有愛弟兄姊妹的心,還要有愛眾人的心。 如果充分具備了這些品德,你們對我們主耶穌基督的認識就不會停滯不前,毫無收穫。 缺乏上述品德的人不是瞎眼就是目光短淺,忘記他從前的罪已經得到潔淨。

10 所以,弟兄姊妹,你們要更加努力,以確定自己蒙了呼召和揀選。這樣,你們就絕不會失足犯罪, 11 進入我們的主和救主耶穌基督永恆國度的大門必為你們敞開。

12 雖然你們已經知道這些事,並且在所領受的真道上也很堅固,但我還是要常常提醒你們。 13 我覺得應當趁著我還在世的時候[a]提醒你們,激勵你們, 14 因我知道自己離世的日子已經不遠了,正如我們的主耶穌基督指示我的。 15 我要盡力使你們在我離世以後仍然常常記得這些事。

見證基督的榮耀

16 我們從前告訴你們有關主耶穌基督的大能和祂降臨的事,並非根據巧妙虛構的神話,而是我們親眼見過祂的威榮。 17 祂從父上帝那裡得到了尊貴和榮耀,那時從極大的榮光中有聲音對祂說:「這是我的愛子,我甚喜悅祂。」 18 當時我們和祂一同在聖山上,親耳聽見了這來自天上的聲音。

19 這使我們更加確信先知的預言。你們要留意這些預言,把這些預言看作照耀在黑暗中的明燈,一直到天破曉、晨星在你們心中升起。 20 你們首先該知道:聖經上的一切預言都不可隨人的私意解釋, 21 因為預言絕非出於人的意思,都是人受了聖靈的感動,講出上帝的信息。

Notas al pie

  1. 1·13 還在世的時候」希臘文是「還在這帳篷裡的時候」,作者用帳篷代表自己的身體。

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

2 Peetero 1

1Nze Simooni Peetero omuddu era omutume wa Yesu Kristo mpandiikira abo abaafuna okukkiriza okw’omuwendo nga ffe, mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo, ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe nga mutegeera Katonda ne Yesu Mukama waffe.

Okuyita n’okulonda kwa Katonda

Kubanga mu maanyi g’obwakatonda bwe, mwe twaweerwa ebintu byonna olw’obulamu buno n’okutya Katonda mu kumanya oyo eyatuyita olw’ekitiibwa kye n’obulungi bwe ye. Ebyo bye byatuweesa ebisuubizo eby’omuwendo ebikulu, mu byo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bw’obwakatonda, muwone okuzikirira okuva mu kwegomba okubi okw’omu nsi.

Noolwekyo mufubenga nnyo, okukkiriza kwammwe mukwongereko obulungi, ne ku bulungi mwongereko okutegeera, ne ku kutegeera mwongereko okwefuganga, ne ku kwefuganga mwongereko obugumiikiriza, ne ku bugumiikiriza mwongereko okutya Katonda, ne ku kutya Katonda mwongereko okufaayo ku booluganda abalala bonna ne ku kufaayo ku booluganda bonna abalala mwongereko okwagalananga. Kubanga bwe muba n’ebyo ne byeyongera obungi, bibafuula ba mugaso era ababala ebibala olw’okutegeera Mukama waffe Yesu Kristo. Oyo atalina ebyo muzibe wa maaso era awunaawuna, era yeerabidde bwe yanaazibwako ebibi bye eby’edda.

10 Kale, abooluganda mweyongerenga okunywerera mu kulondebwa kwammwe ne mu kuyitibwa kwammwe. Kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temulyesittala n’omulundi n’ogumu. 11 Era mulyanirizibwa n’essanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.

12 Noolwekyo, ebyo nzija kubibajjukizanga buli kiseera, newaakubadde nga mubimanyi, era nga ddala munyweredde mu mazima ge mwategeera. 13 Era ndowooza nti kiŋŋwanira nga nkyali mu mubiri guno, okubakubirizanga nga nneeyongera okubibajjukiza. 14 Kubanga mmanyi nga nnaatera okuva mu mubiri guno, nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza. 15 Kyenva nfuba ennyo okukola kyonna kye nsobola, ne bwe ndivaawo mube ng’ebyo byonna mubijjukira.

16 Kubanga tetwagoberera ngero bugero ezaagunjibwa wabula twabategeeza ebyo bye twalabirako ddala, eby’amaanyi n’okukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era n’obukulu bwe. 17 Kubanga Katonda Kitaffe yamuwa ekitiibwa n’ettendo, eddoboozi bwe lyawulikika okuva mu ggulu mu kitiibwa ekingi ekimasamasa nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.” 18 Ffe bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu, twawulirira ddala eddoboozi eryo eryava mu ggulu.

19 Kyetuvudde tweyongera okukakasa ebyo bannabbi bye baategeeza, era bwe munaabigonderanga munaabanga mukoze bulungi. Kubanga biri ng’ettaala eyaka mu kizikiza okutuusa obudde lwe bukya, emunyeenye ey’enkya n’eryoka eyaka mu mitima gyammwe. 20 Okusooka mukimanye nga buli bunnabbi obuli mu byawandiikibwa, tewali ayinza kubunnyonnyola ku bubwe yekka. 21 Kubanga bannabbi tebaayogeranga byabwe ku bwabwe, wabula baategeezanga ebyo Katonda bye yabalagiranga nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabibawanga.