马太福音 20 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

马太福音 20:1-34

葡萄园工人的比喻

1耶稣接着说:“因为天国就像一个园主清早去外面请工人到他的葡萄园做工。 2他跟工人讲好一天的工钱是一个银币,然后派他们去葡萄园。

3“大约上午九点钟,园主出去看见一些人站在街市上无所事事, 4就对他们说,‘你们到我的葡萄园来工作吧,我会给你们合理的工钱。’

5“他们便去了。正午和下午三点钟,他又出去继续请人到葡萄园做工。 6到了下午五点钟的时候,他再次出去,看见还有人闲站在那里,就问他们,‘为什么你们整天站在这里无所事事呢?’ 7他们回答说,‘因为没有人雇用我们。’园主说,‘你们也到我的葡萄园来吧!’

8“到了傍晚,园主对工头说,‘叫工人来领工钱吧,最晚来的先领,最先来的后领。’

9“下午五点来的工人每人得了一个银币。 10最早来的工人来领的时候,以为必定可以多得一点工钱,谁知也各得一个银币。

11“他们拿着工钱满腹牢骚地对园主说, 12‘那些最晚来的人只工作了一小时,而我们在烈日之下辛苦了一整天,怎么会领同样的工钱呢?’

13“园主对他们当中的一个人说,‘朋友,我并没有欠你呀!我们不是讲好付你一个银币吗? 14拿着你的工钱走吧。我给那后来的和你一样的工钱,是我愿意。 15难道我不可随意使用自己的钱吗?因为我慷慨,你就眼红吗?’ 16因此,为首的将要殿后,殿后的将要为首。”

耶稣第三次预言自己受难

17在去耶路撒冷的途中,耶稣把十二个门徒带到一边,对他们说: 18“你们要留意,我们现在前往耶路撒冷,人子将被交给祭司长和律法教师。他们要判祂死刑, 19把祂交给外族人,受嘲弄、鞭打,被钉在十字架上。但第三天祂必复活。”

一个母亲的请求

20当时,西庇太的妻子带着两个儿子上前,跪在耶稣面前,有事要求祂。

21耶稣问她:“你要什么呢?”

她说:“在你的国度,请让我这两个儿子一个坐在你右边,一个坐在你左边。”

22耶稣回答说:“你们不知道自己在求什么。我要喝的那一杯,你们能喝吗?”

他们说:“我们能。”

23耶稣对他们说:“我要喝的那一杯,你们也要喝。不过谁坐在我的左右不是我来定,而是我父为谁预备的,就让谁坐。”

24其他十个门徒听见这事,都对他们兄弟二人十分恼火。 25于是,耶稣把他们叫来,说:“外族人有君王统治他们,有大臣管理他们。但你们不可这样。 26你们中间,谁要当首领,谁就要做大家的仆人; 27谁要居首位,谁就要做大家的奴仆。 28正如人子不是来受人服侍,而是来服侍人,并且牺牲性命,作许多人的赎价。”

治好两个瞎子

29耶稣和祂的门徒离开耶利哥时,有一大群人跟着祂。 30有两个瞎子正坐在路旁,听说耶稣经过,就高声喊叫:“主啊,大卫的后裔啊,可怜我们吧!” 31众人责备他们,叫他们不要出声,他们却喊得更大声了:“主啊,大卫的后裔啊,可怜我们吧!”

32耶稣停下脚步,叫了他们来,问他们:“你们要我为你们做什么?” 33他们说:“主啊,我们想能够看见。” 34耶稣就动了慈心,摸他们的眼睛,他们立刻得见光明,并跟从了耶稣。

Luganda Contemporary Bible

Matayo 20:1-34

Olugero lw’Abalimi mu Nnimiro y’Emizabbibu

120:1 a Mat 13:24 b Mat 21:28, 33Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omuntu ssemaka, eyakeera mu makya n’apangisa abakozi okukola mu nnimiro ye ey’emizabbibu. 2N’alagaana n’abapakasi okubasasula omuwendo eddinaali emu emu, ze zaali ensimbi ez’olunaku olumu. N’abasindika mu nnimiro ye ey’emizabbibu.

3“Bwe waayitawo essaawa nga bbiri n’asanga abalala nga bayimiridde mu katale nga tebalina kye bakola, 4nabo n’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mu nnimiro y’emizabbibu, era nnaabasasula empeera ebasaanira.’ 5Ne bagenda.

“Ku ssaawa omukaaga ne ku mwenda n’asindikayo abalala mu ngeri y’emu. 6Essaawa nga ziweze nga kkumi n’emu n’asanga abalala nga bayimiridde awo, n’ababuuza nti, ‘Lwaki muyimiridde awo olunaku lwonna nga temulina kye mukola?’

7“Ne bamuddamu nti, ‘Kubanga tetufunye atuwa mulimu.’ N’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro yange ey’emizabbibu.’

820:8 Lv 19:13; Ma 24:15“Awo obudde nga buwungeera nannyini nnimiro n’alagira nampala ayite abakozi abawe empeera yaabwe ng’asookera ku b’oluvannyuma.

9“Abaatandika ku ssaawa ekkumi n’emu ne baweebwa eddinaali emu emu. 10Bali abaasookayo bwe bajja ne basuubira nti bo ze banaasasulwa zijja kusingako obungi. Naye nabo yabasasula omuwendo gwe gumu ogw’olunaku olumu nga bali. 1120:11 Yon 4:1Bwe baagifuna ne beemulugunyiza nannyini nnimiro 1220:12 Yon 4:8; Luk 12:55; Yak 1:11nga bagamba nti, ‘Bano abooluvannyuma baakoledde essaawa emu yokka naye lwaki obawadde empeera eyenkana eyaffe, ffe abaakoze okuva mu makya ne mu musana gw’omu tuntu?’

1320:13 Mat 22:12; 26:50“Mukama waabwe kwe kuddamu omu ku bo nti, ‘Munnange si kubbye; bwe wabadde otandika okukola tetwalagaanye eddinaali emu? 14Twala eddinaali yo ogende. Naye njagala n’ono asembyeyo okumuwa empeera y’emu nga gye nkuwadde. 1520:15 Ma 15:9; Mak 7:22Siyinza kukozesa byange nga bwe njagala? Obuggya bukukutte kubanga ndi wa kisa?’

1620:16 Mat 19:30“Kale nno bwe kityo bwe kiriba abooluvannyuma ne baba aboolubereberye, n’aboolubereberye ne baba abooluvannyuma.”

17Awo Yesu bwe yali ayambuka e Yerusaalemi n’atwala abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, mu kyama. Bwe baali mu kkubo, n’abagamba nti, 1820:18 a Luk 9:51 b Mat 8:20 c Mat 16:21; 27:1, 2“Laba twambuka e Yerusaalemi, Omwana w’Omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, bamusalire omusango ogw’okufa. 1920:19 a Mat 16:21 b Bik 2:23 c Mat 16:21 d Mat 16:21Era balimuwaayo eri Abamawanga ne bamuduulira ne bamukuba, era balimukomerera ku musaalaba. Naye ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.”

Okusaba kwa Nnyina Yakobo ne Yokaana

2020:20 a Mat 4:21 b Mat 8:2Awo nnyina w’abaana ba Zebbedaayo, n’ajja eri Yesu ne batabani be bombi, n’amusinza ng’ayagala okubaako ky’amusaba.

2120:21 Mat 19:28Yesu n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala?” N’addamu nti, “Nsaba, mu bwakabaka bwo, abaana bange bano bombi batuule naawe omu ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono.”

2220:22 Is 51:17, 22; Yer 49:12; Mat 26:39, 42; Mak 14:36; Luk 22:42; Yk 18:11Naye Yesu n’amuddamu nti, “Tomanyi ky’osaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” Ne baddamu nti, “Tuyinza.”

2320:23 Bik 12:2; Kub 1:9N’abagamba nti, “Weewaawo ekikompe mugenda kukinywako. Naye eky’okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ogwa kkono nze sikirinaako buyinza. Ebifo ebyo byategekebwa dda Kitange.”

2420:24 Luk 22:24, 25Abayigirizwa bali ekkumi bwe baawulira ebyo abooluganda ababiri bye baasaba, ne babanyiigira nnyo. 25Yesu kwe kubayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga babazitoowereza embeera, n’abakulu baabwe babafuza lyanyi. 2620:26 Mat 23:11; Mak 9:35Naye tekisaanye kuba bwe kityo mu mmwe. Buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe, abeerenga muweereza wa banne. 27Na buli ayagala okuba omwami mu mmwe aweerezenga banne ng’omuddu waabwe. 2820:28 a Mat 8:20 b Luk 22:27; Yk 13:13-16; 2Ko 8:9; Baf 2:7 c Is 53:10; Mat 26:28; 1Ti 2:6; Tit 2:14; Beb 9:28; 1Pe 1:18, 19Mube nga Omwana w’Omuntu atajja kuweerezebwa wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”

Yesu Azibula Bamuzibe Babiri

29Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bava mu kibuga Yeriko, ekibiina kinene ne kimugoberera. 3020:30 Mat 9:27Abazibe b’amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g’ekkubo bwe baawulira nga Yesu ayita mu kkubo eryo, ne baleekaanira waggulu nnyo nga bakoowoola nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, otusaasire!”

31Ekibiina ne kibalagira okusirika, naye bo, ne beeyongera bweyongezi okukoowoolera waggulu nga boogera nti, “Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusasire.”

32Yesu bwe yabatuukako n’ayimirira n’ababuuza nti, “Mwagala mbakolere ki?”

33Ne bamuddamu nti, “Mukama waffe, twagala otuzibule amaaso.”

34Yesu n’abasaasira n’akwata ku maaso gaabwe amangwago ne gazibuka, ne bamugoberera.