马太福音 10 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

马太福音 10:1-42

差遣使徒

1耶稣叫了十二位门徒来,将权柄赐给他们,使他们能够赶出污鬼、医治各样的疾病。 2以下是这十二位使徒的名字:

首先是西门,又名彼得,还有彼得的兄弟安得烈西庇太的儿子雅各雅各的兄弟约翰3腓力巴多罗买多马、税吏马太亚勒腓的儿子雅各达太4激进党人10:4 激进党人”指当时激进的犹太民族主义者,常以行动反抗统治他们的罗马政府。西门和出卖耶稣的加略犹大

5耶稣差遣这十二个人出去,嘱咐他们:“外族人的地方不要去,撒玛利亚人的城镇也不要进, 6要到以色列人当中寻找迷失的羊。

7“你们要边走边传,‘天国临近了!’ 8要医好病人,叫死人复活,使麻风病人痊愈,赶走邪灵。你们白白地得来,也应当白白地给人。 9出门时钱袋里不要带金、银、铜币, 10不要带行李、备用的衣服、鞋子或手杖,因为做工的理应得到供应。 11你们无论到哪座城、哪个村,要在那里寻找愿意接待你们的人,然后住在他家,一直住到离开。 12你们进他家的时候,要为他们祝福。 13如果那家配得福气,你们的祝福必临到他们;如果那家不配蒙福,祝福仍归给你们。 14如果有人不接待你们,不听你们传的信息,你们离开那家或那城时,就把脚上的尘土跺掉作为对他们的警告。 15我实在告诉你们,在审判之日,他们所受的痛苦比所多玛蛾摩拉所受的还大!

将临的迫害

16“听着,我差你们出去,就好像使羊走进狼群一般。所以,你们要像蛇一样机灵,像鸽子一样驯良。

17“你们要小心谨慎,因为人们要把你们送上法庭,也要在会堂里鞭打你们。 18你们要因我的缘故被带到官长和君王面前,在他们和外族人面前为我做见证。 19当你们被押送公堂时,不用顾虑如何应对,或说什么话,那时必会赐给你们当说的话。 20因为那时候说话的不是你们自己,乃是你们父的灵借着你们说话。

21“那时,人必把自己的弟兄置于死地,父亲必把儿子置于死地,儿女必反叛父母,置他们于死地。 22你们将为我的名而被众人憎恨,但坚忍到底的必定得救。 23如果你们在一个地方遭迫害,就避到另一个地方。我实在告诉你们,没等你们走遍以色列的城镇,人子就来了。

24“学生不能高过老师,奴仆也不能大过主人。 25学生顶多和老师一样,奴仆顶多和主人一样。连一家之主都被骂成是别西卜10:25 别西卜”是鬼王的名字。,更何况祂的家人呢?

26“不要害怕那些迫害你们的人。因为掩盖的事终会暴露出来,隐藏的秘密终会被人知道。 27你们要把我私下告诉你们的当众讲出来,你们要在屋顶上把听到的悄悄话宣告出来。 28那些只能杀害身体,不能毁灭灵魂的人,不用怕他们。但要畏惧那位有权将身体和灵魂一同毁灭在地狱里的上帝。 29两只麻雀不是只卖一个铜钱吗?然而没有天父的许可,一只也不会掉在地上。 30就连你们的头发都被数过了。 31所以不要害怕,你们比许多麻雀更贵重!

32“凡公开承认我的,我在天父面前也必承认他; 33凡公开不承认我的,我在天父面前也必不承认他。

跟从主的代价

34“不要以为我来了会让天下太平,我并非带来和平,乃是带来刀剑。 35因为我来是要叫儿子与父亲作对,女儿与母亲作对,媳妇与婆婆作对, 36家人之间反目成仇。

37“爱父母过于爱我的人不配做我的门徒;爱儿女过于爱我的人不配做我的门徒; 38不肯背起他的十字架跟从我的人不配做我的门徒。 39试图保全自己生命的反而会失去生命,但为我舍弃生命的反而会得到生命。

得赏赐

40“人接待你们就是接待我,接待我就是接待差我来的那位。 41因为某人是先知而接待他的,必得到和先知一样的赏赐;因为某人是义人而接待他的,必得到和义人一样的赏赐。 42人若接待我门徒中最卑微的人,并因为他是我的门徒而给他一杯凉水喝,我实在告诉你们,那人必得到赏赐。”

Luganda Contemporary Bible

Matayo 10:1-42

Yesu Atuma Abayigirizwa Ekkumi n’Ababiri

110:1 Mak 3:13-15; Luk 9:1Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, ne bajja gy’ali n’abawa obuyinza okugobanga baddayimooni, n’okuwonyanga buli ndwadde n’okukozimba ebya buli ngeri.

2Amannya g’abayigirizwa ekkumi n’ababiri ge gano:

Simooni, ayitibwa Peetero; ne Andereya, muganda wa Peetero;

ne Yakobo, omwana wa Zebbedaayo; ne Yokaana, muganda wa Yakobo;

3Firipo; ne Battolomaayo;

ne Tomasi; ne Matayo, omusolooza w’omusolo;

ne Yakobo, omwana wa Alufaayo; ne Saddayo;

410:4 Mat 26:14-16, 25, 47; Yk 13:2, 26, 27ne Simooni, Omukananaayo; ne Yuda Isukalyoti, eyalya mu Yesu olukwe.

510:5 2Bk 17:24; Luk 9:52; Yk 4:4-26, 39, 40; Bik 8:5, 25Abo ekkumi n’ababiri Yesu n’abatuma ng’abalagira nti: “Temugenda eri bannamawanga wadde mu kibuga ky’Abasamaliya. 610:6 Yer 50:6; Mat 15:24Naye mugende eri abaana ba Isirayiri, endiga za Katonda ezaabula. 710:7 Mat 3:2Mugende mubabuulire nti, ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’ 8Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.

910:9 Luk 22:35“Temubanga na zaabu oba ffeeza wadde ekikomo mu nkoba zammwe, 1010:10 1Ti 5:18wadde ensawo ey’oku mugongo, wadde essaati ebbiri, wadde omugogo gw’engatto omulala, wadde omuggo. Kubanga omukozi asaanira okuweebwa eby’okumuyamba. 11Buli kibuga oba kyalo mwe mutuukanga, munoonyengamu amaka g’omuntu asaanidde, musulenga omwo okutuusa lwe mulivaayo. 1210:12 1Sa 25:6Bwe muyingiranga mu nnyumba mubeeyanjulire, amaka ago mugalagenga okwagala kwammwe. 13Amaka ago bwe gabanga ag’abantu abasaanidde, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku bo, naye bwe gatabanga bwe gatyo emirembe gyammwe ginaabaddiranga. 1410:14 Nek 5:13; Luk 10:11; Bik 13:51Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufu10:14 Omuntu okukunkumulira omulala enfuufu y’ebigere bye, kaali kabonero akaakolebwanga Abafalisaayo nga bava mu bitundu bannamawanga gye baabeeranga, ebyalowoozebwanga okuba ebitali birongoofu. ey’oku bigere byammwe. 1510:15 a 2Pe 2:6 b Mat 12:36; 2Pe 2:9; 1Yk 4:17 c Mat 11:22, 24Ddala ddala mbagamba nti ensi ya Sodomu ne Ggomola ziriweebwa ekibonerezo ku lunaku olw’okusalirako omusango ekirigumiikirizika okukira ekibuga ekyo oba amaka ago.

1610:16 a Luk 10:3 b Bar 16:19“Laba mbatuma ng’endiga mu misege. Noolwekyo mubeere bagezigezi ng’emisota, era abataliiko kya kunenyezebwa ng’amayiba. 1710:17 a Mat 5:22 b Mat 23:34; Mak 13:9; Bik 5:40; 26:11Mwekuume abantu! Kubanga balibawaayo eri enkiiko z’Abakadde, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe, ne babakuba emigo. 1810:18 Bik 25:24-26Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, okuba abajulirwa eri bo n’abannaggwanga. 1910:19 Kuv 4:12Bwe muweebwangayo, temweraliikiriranga kye munaawoza, kubanga kinaabaweebwanga mu kiseera ekyo. 2010:20 Bik 4:8Kubanga si mmwe mugenda okwogera wabula Omwoyo wa Kitammwe y’alyogerera mu mmwe!

2110:21 nny 35, 36; Mi 7:6“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa era n’abazadde baliwaayo abaana baabwe okuttibwa. Abaana nabo balyefuukira bazadde baabwe ne babatta. 2210:22 Mat 24:13Mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange. Naye oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero alirokolebwa. 23Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu muddukirenga mu kirala! Ddala ddala mbagamba nti muliba temunnabuna bibuga bya Isirayiri, Omwana w’Omuntu n’ajja.

2410:24 Luk 6:40; Yk 13:16“Omuyigirizwa tasinga amusomesa, so n’omuddu tasinga mukama we. 2510:25 Mak 3:22Kirungi omuyigirizwa okuba ng’omusomesa we, n’omuddu okuba nga mukama we. Obanga nnannyinimu ayitibwa Beeruzebuli, tekisingawo nnyo ku b’omu nju ye.

2610:26 Mak 4:22; Luk 8:17“Noolwekyo temubatyanga. Teri kyakisibwa ekitalimanyibwa, era tewali kyakwekebwa ekitalizuulibwa. 27Buli kye mbabuulira mu kizikiza mukyogereranga mu musana, na buli kye mbagamba mu kaama, nakyo mukyasanguzanga waggulu ku nnyumba. 2810:28 Is 8:12, 13; Beb 10:31Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena. 29Enkazaluggya ebbiri tezigula sente emu? Naye tewali n’emu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi. 3010:30 1Sa 14:45; 2Sa 14:11; Luk 21:18; Bik 27:34Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa. 3110:31 Mat 12:12Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.

3210:32 Bar 10:9“Buli muntu alinjatulira mu maaso g’abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 3310:33 Mak 8:38; 2Ti 2:12Na buli muntu alinneegaanira mu maaso g’abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

34“Temulowooza nti najja okuleeta emirembe ku nsi! Sajja kuleeta mirembe wabula ekitala. 3510:35 nny 21Kubanga najja okwawukanya

“ ‘omwana owoobulenzi ne kitaawe,

n’omwana owoobuwala ne nnyina

n’okwawukanya muka mwana ne nnyazaala we.

3610:36 Mi 7:6Abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nju ye.’

3710:37 Luk 14:26“Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga Nze tansaanira, n’oyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga Nze naye tansaanira. 3810:38 Mat 16:24; Luk 14:27N’oyo ateetikkenga musaalaba gwe n’angoberera tansaanira. 3910:39 Luk 17:33; Yk 12:25Omuntu ayagala ennyo obulamu bwe alibufiirwa, naye alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola.

4010:40 a Mat 18:5; Bag 4:14 b Luk 9:48; Yk 12:44; 13:20“Buli abasembeza, aba asembezezza Nze, ate asembeza Nze aba asembezezza oyo eyantuma. 41Oyo asembeza nnabbi mu linnya lya nnabbi, alifuna empeera y’emu nga nnabbi. Era buli anaasembezanga omuntu omutuukirivu mu linnya ly’omuntu omutuukirivu, alifuna empeera y’emu ng’ey’omutuukirivu. 4210:42 Mat 25:40; Mak 9:41; Beb 6:10Ddala ddala mbagamba nti buli aliwa omu ku baana bano abato egiraasi y’amazzi agannyogoga olw’erinnya ly’omuyigiriza talirema kuweebwa mpeera ye.”