马可福音 9 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

马可福音 9:1-50

1耶稣继续说:“我实在告诉你们,有些站在这里的人会在有生之年看见上帝的国带着能力降临。”

登山变象

2六天后,耶稣带着彼得雅各约翰暗暗地登上一座高山。耶稣在他们面前改变了形象, 3衣服变得洁白放光,世上找不到漂得那么白的布。 4这时,以利亚摩西在他们眼前出现,与耶稣谈话。 5彼得对耶稣说:“老师,我们在这里真好!我们搭三座帐篷吧,一座给你,一座给摩西,一座给以利亚。”

6其实彼得当时不知说什么才好,因为他们都很害怕。 7就在这时候,有一朵云彩飘来遮住他们,云彩中有声音说:“这是我的爱子,你们要听从祂。” 8门徒立刻四处观看,发现没有其他人,只有耶稣和他们在那里。

9下山的时候,耶稣叮嘱他们在人子还没有从死里复活之前,不要把刚才看见的告诉别人。

10门徒把这话谨记在心,彼此议论“从死里复活”这句话的意思。 11他们问耶稣:“律法教师为什么说以利亚必须先来?”

12耶稣回答说:“以利亚固然要先来复兴一切,但为什么圣经上说人子一定会饱受痛苦、遭人蔑视呢? 13其实我告诉你们,以利亚已经来了,人们却任意对待他,正如圣经的记载。”

治好污鬼附身的孩子

14他们与其他门徒会合时,看见一大群人围住门徒,几个律法教师正在跟他们辩论。 15大家一看到耶稣,都十分惊奇,立刻跑上去迎接祂。 16耶稣问门徒:“你们跟他们辩论什么?”

17人群中有一个人说:“老师,我带了我的儿子来找你,因为他被哑巴鬼附身。 18每次鬼控制他,把他摔在地上,他就口吐白沫,咬牙切齿,全身僵硬。我请你的门徒赶走那鬼,他们却办不到。”

19耶稣说:“唉,这不信的世代啊!我要跟你们在一起待多久,容忍你们多久呢?把他带到我这里吧。”

20他们把那孩子带到耶稣面前。那鬼一见耶稣,就使孩子抽搐,倒在地上打滚,口吐白沫。 21耶稣问孩子的父亲:“他这样子多久了?”孩子的父亲回答道:“他从小就这样, 22鬼常常将他扔进火里或水里,要害他的命。如果你能,求你怜悯我们,帮助我们吧!”

23耶稣说:“如果你能?对于相信的人,凡事都有可能!”

24孩子的父亲立刻喊着说:“我信!但我信心不足,求你帮助我!”

25耶稣看见人群都跑了过来,就斥责那污鬼:“你这个聋哑鬼,我命令你从他身上出来,不许再进去!”

26那鬼发出喊叫,使孩子剧烈地抽搐了一阵,就出来了。孩子躺在地上一动也不动,大家都以为他死了。 27但耶稣拉着他的手扶他起来,他就站了起来。

28耶稣进屋后,门徒悄悄问祂:“我们为什么赶不走那鬼呢?”

29耶稣说:“要赶走这类鬼只有靠祷告9:29 祷告”有古卷作“祷告和禁食”。。”

再次预言受难

30他们离开那里,途经加利利。耶稣不想任何人知道祂的行踪, 31因为祂在教导门徒。祂说:“人子将被交在人的手中,被他们杀害,但三天之后,祂必复活。” 32门徒却不明白这句话的意思,又不敢问祂。

谁最伟大

33他们回到迦百农的住所,耶稣问门徒:“你们一路上争论些什么?”

34他们都沉默不语,因为刚才他们在争论谁最伟大。 35耶稣坐下,叫十二个门徒过来,对他们说:“谁想为首,就该在众人中做最小的,做众人的仆人。” 36祂领了一个小孩子来,叫他站在门徒中间,又抱起他,对他们说: 37“任何人为我的缘故接待这样一个小孩子,就是接待我;凡接待我的,不单是接待我,也是接待差我来的那位。”

警戒犯罪

38约翰对耶稣说:“老师,我们看见有人奉你的名赶鬼,就阻止他,因为他不是跟从我们的。”

39耶稣说:“不要阻止他,因为没有人奉我的名行过神迹后,会很快毁谤我。 40不反对我们的,就是支持我们的。 41我实在告诉你们,若有人因为你们属于基督而给你们一杯水喝,他也必得到赏赐。

42“但若有人使这样一个小信徒失足犯罪,他的下场比把大磨石挂在他脖子上扔到海里还要惨。 43如果你一只手使你犯罪,就砍掉它! 44拖着残废的身体进入永生,胜过双手健全却落入地狱不灭的火中。 45倘若你一只脚使你犯罪,就砍掉它!瘸着腿进入永生, 46胜过双脚健全却被丢进地狱! 47如果你的一只眼睛使你犯罪,就剜掉它!独眼进上帝的国,胜过双目健全却被丢进地狱。 48在那里,

“‘虫是不死的,

火是不灭的。’

49“每个人都要被火炼,像被盐腌一样。 50盐是好东西,但如果失去咸味,怎能使它再咸呢?你们里面要有盐,要彼此和睦。”

Luganda Contemporary Bible

Makko 9:1-50

Okufuusibwa kwa Yesu

19:1 a Mak 13:30; Luk 22:18 b Mat 24:30; 25:31Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Abamu ku bantu abali wano tebalifa okuggyako nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n’amaanyi.”

29:2 Mat 4:21Bwe waayitawo ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana n’abakulembera ne bagenda ku ntikko y’olusozi oluwanvu ne babeera eyo bokka. Amangwago n’afuusibwa nga balaba, 39:3 Mat 28:3ebyambalo bye ne byeruka nnyo, nga tewali muntu ku nsi asobola kubyoza kubituusa awo! 4Awo Eriya ne Musa ne babalabikira ne batandika okwogera ne Yesu!

59:5 Mat 23:7Peetero n’agamba Yesu nti, “Labbi, kirungi tubeere wano, tubazimbire ensiisira ssatu, emu nga yiyo, n’endala nga ya Musa, n’endala nga ya Eriya.” 6Yayogera atyo olw’okutya okungi okwabajjira.

79:7 a Kuv 24:16 b Mat 3:17Awo ne walabika ekire, ne kibasaanikira ne muvaamu eddoboozi ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa. Mumuwulirirenga.”

8Amangwago okugenda okukyusa amaaso gaabwe nga tewali muntu mulala okuggyako Yesu eyaliwo yekka nabo.

99:9 a Mak 8:30 b Mat 8:20Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira ekyo kye balabye obutakyogerangako okutuusa ng’Omwana w’Omuntu amaze okuzuukira mu bafu. 10Bwe batyo nabo ne bakikuuma nga kya kyama, naye ne beebuuzaganya ku by’okufa n’okuzuukira kwe.

11Awo ne bamubuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Eriya asaanira asooke okujja.”

129:12 a Mat 8:20 b Mat 16:21 c Luk 23:11Yesu n’abagamba nti, “Weewaawo Eriya y’ateekwa okusooka okujja alongoose ebintu byonna. Lwaki kyawandiikibwa ku Mwana w’Omuntu nti ateekwa okubonaabona ennyo n’okunyoomebwa? 139:13 Mat 11:14Naye mbagamba nti, Ddala ddala Eriya yajja! Naye yayisibwa bubi nnyo, nga bwe baayagala, nga bwe kyawandiikibwa ku ye.”

Yesu Awonya Omulenzi Eyaliko Dayimooni

14Yesu n’abayigirizwa bali abasatu bwe bakka eri bannaabwe okuva ku lusozi, ne basanga ekibiina kinene nga kyetoolodde bannaabwe, abannyonnyozi b’amateeka nga bawakana nabo. 15Amangwago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne badduka ne bagenda gy’ali ne bamwaniriza.

16Yesu n’ababuuza nti, “Kiki kye muwakana nabo?” 17Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo n’agamba nti, “Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi. 18Era buli lwe gumulumba gumusuula wansi, n’abimba ejjovu ku mimwa n’aluma amannyo, olwo yenna n’akakanyala. Nsabye abayigirizwa bo bagumugobeko, naye ne balemwa.”

19Yesu n’agamba nti, “Mmwe, omulembe ogutakkiriza ndituusa ddi okubeera nammwe? Mbagumiikirize kutuusa ddi? Mumundeetere wano.”

209:20 Mak 1:26Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba ne gusikambula omulenzi, ne gumusuula wansi, nga bwe yeevulungula nga bw’abimba n’ejjovu ku mimwa.

21Yesu n’abuuza kitaawe w’omwana nti, “Kino kimaze bbanga ki?” Kitaawe n’addamu nti, “Okuviira ddala mu buto. 22Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina ky’osobola okutukolera, tusaasire.”

239:23 Mat 21:21; Mak 11:23; Yk 11:40Yesu n’amuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.”

24Amangwago Kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!”

259:25 nny 15Yesu bwe yalaba ng’ekibiina kyeyongera obunene, n’aboggolera dayimooni nti, “Ggwe omwoyo omubi ogutayogera era omuggavu gw’amatu nkulagira muveeko, era tomuddiranga.”

26Awo omwoyo ne guwowoggana nnyo, ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako n’aba ng’afudde, bangi ne balowooza nti afudde. 27Naye Yesu n’amukwata ku mukono n’amuyimiriza.

289:28 Mak 7:17Awo Yesu bwe yayingira mu nnyumba abayigirizwa be, ne bamubuuza mu kyama nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kumugoba?”

29N’addamu nti, “Ogw’engeri eno teguyinza kugenda awatali kusaba.”9:29 mu biwandiiko ebimu kigamba kusaba na kusiiba

30Bwe baava mu bitundu ebyo ne bayita mu Ggaliraaya. Yesu yali tayagala muntu yenna kumanya. 319:31 a Mat 8:20 b nny 12; Bik 2:23; 3:13 c Mat 16:21 d Mat 16:21Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa ng’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ajja kuliibwamu olukwe era ajja kuweebwayo mu mikono gy’abantu abalimutta era nga wayise ennaku ssatu alizuukira.” 329:32 Luk 2:50; 9:45; 18:34; Yk 12:16Wabula tebaategeera bye yayogera ate ne batya okumubuuza.

339:33 a Mat 4:13 b Mak 1:29Awo ne batuuka e Kaperunawumu. Bwe baali mu nnyumba, n’ababuuza nti, “Mubadde muwakana ku ki mu kkubo?” 349:34 Luk 22:24Naye ne basirika kubanga mu kkubo baawakanira asinga ekitiibwa mu bo!

359:35 Mat 18:4; 20:26; Mak 10:43; Luk 22:26Awo bwe yatuula n’ayita ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Omuntu yenna bw’ayagala okuba oweekitiibwa okusinga banne, asaana yeetoowaze era abe omuweereza w’abalala.” 369:36 Mak 10:16N’addira omwana omuto n’amussa wakati waabwe, n’amusitula mu mikono gye n’abagamba nti, 379:37 Mat 10:40“Buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange, aba asembezezza nze. N’oyo asembeza nze aba tasembezezza nze nzekka, wabula aba asembezezza n’oyo eyantuma.”

389:38 Kbl 11:27-29Yokaana n’amugamba nti, “Omuyigiriza, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo, ne tumuziyiza kubanga tayita naffe.”

39Naye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga, kubanga tewali muntu n’omu akola ebikolwa eby’amaanyi mu linnya lyange ate amangwago n’anjogerako bibi. 409:40 Mat 12:30; Luk 11:23Kubanga buli atatuvuganya aba akolera wamu naffe. 419:41 Mat 10:42Buli abawa eggiraasi y’amazzi okunywako mu linnya lyange kubanga muli bantu ba Kristo, ddala ddala mbagamba nti talirema kuweebwa mpeera.”

Okwesittaza Abato

429:42 a Mat 5:29 b Mat 18:6; Luk 17:2“Na buli alyesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze, kwe kumusiba ejjinja ery’olubengo olunene, n’asuulibwa mu nnyanja. 439:43 a Mat 5:29 b Mat 5:30; 18:8 c Mat 25:41Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde okusinga okuba n’emikono ebiri n’olaga mu ggeyeena, 44mu muliro ogutazikira. 459:45 a Mat 5:29 b Mat 18:8Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; okuba omulema n’oyingira mu bulamu kisinga okuba n’ebigere ebibiri n’osuulibwa mu ggeyeena 46envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira. 479:47 a Mat 5:29 b Mat 5:29; 18:9Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng’oli wa liiso limu okusinga okubeera n’amaaso go gombi, 489:48 Is 66:24; Mat 25:41n’osuulibwa mu ggeyeena,

“envunyu gye zitafa

n’omuliro gye gutazikira.

499:49 Lv 2:13Buli muntu aliyisibwa mu muliro, ng’emmere bwerungibwamu omunnyo.”

509:50 a Mat 5:13; Luk 14:34, 35 b Bak 4:6 c Bar 12:18; 2Ko 13:11; 1Bs 5:13“Omunnyo mulungi, naye bwe guggwaamu ensa, guzzibwamu gutya obuka bwagwo? Noolwekyo mube n’omunnyo mu mmwe era mubeerenga n’emirembe buli muntu ne munne.”