马可福音 12 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

马可福音 12:1-44

凶狠的佃户

1耶稣用比喻对他们说:“有人开辟了一个葡萄园,在四周筑起篱笆,又在园中挖了一个榨酒池,建了一座瞭望台,然后把葡萄园租给佃户,就出远门了。

2“到葡萄成熟时,园主派一个奴仆去收取他该得的一份。 3那些佃户却捉住那个奴仆,打了他一顿,使他空手而归。

4“园主又差另一个奴仆去。这一次,佃户不但侮辱他,还把他打得头破血流。 5园主再派一个奴仆前往,他们却把他杀掉了。园主后来派去的人不是挨打,就是被杀。 6最后只剩下园主的爱子,园主就派他去,以为那些佃户会尊重他的儿子。 7这班佃户却彼此商量说,‘这个就是园主的继承人。来吧!我们杀掉他,产业就归我们了。’

8“于是他们抓住他,杀了他,把他抛到葡萄园外。 9那么,园主会采取什么行动呢?他必定会来杀掉这些佃户,把葡萄园转给别人。 10圣经上说,

“‘工匠丢弃的石头已成了房角石。

11这是主的作为,

在我们看来奇妙莫测。’

你们没有读过这经文吗?”

12他们听出这比喻是针对他们说的,就想逮捕耶稣,但又害怕百姓,只好先离开了。

纳税给凯撒的问题

13后来,他们派了几个法利赛人和希律党人到耶稣那里,企图利用祂所说的话设计陷害祂。

14他们上前对耶稣说:“老师,我们知道你诚实无伪,不看人的情面,因为你不以貌取人,而是按真理传上帝的道。那么,向凯撒纳税对不对呢? 15我们该不该纳呢?”耶稣看破他们的阴谋,就说:“你们为什么试探我呢?拿一个银币来给我看。”

16他们就拿来一个银币,耶稣问他们:“上面刻的是谁的像和名号?”

他们说:“凯撒的。”

17耶稣说:“属于凯撒的东西应该给凯撒,属于上帝的东西应该给上帝。”

他们听了这话,都很惊奇。

论复活

18撒都该人向来不相信有复活的事,他们来问耶稣: 19“老师,摩西为我们写下律例,如果一个人死了,遗下妻子,又没有儿女,他的兄弟就当娶嫂嫂,替哥哥传宗接代。 20有弟兄七人,老大结了婚,没有孩子就死了。 21二弟把大嫂娶过来,也没有生孩子就死了,三弟也是一样, 22七个人都没有留下孩子。最后,那女人也死了。 23那么,到复活的时候,她将是谁的妻子呢?因为七个人都娶过她。”

24耶稣说:“你们弄错了,因为你们不明白圣经,也不知道上帝的能力。 25死人复活之后,将不娶也不嫁,就像天上的天使一样。 26关于死人复活的事,你们没有读过摩西书有关火中荆棘的记载吗?上帝对摩西说,‘我是亚伯拉罕的上帝,以撒的上帝,雅各的上帝。’ 27上帝不是死人的上帝,而是活人的上帝。你们大错了!”

最大的诫命

28有一位律法教师听到他们的辩论,觉得耶稣的回答很精彩,就走过去问道:“诫命中哪一条最重要呢?”

29耶稣回答道:“最重要的诫命是,‘听啊,以色列!主——我们的上帝是独一的主。 30你要全心、全情、全意、全力爱主——你的上帝’; 31其次就是‘要爱邻如己’。再也没有任何诫命比这两条更重要了。”

32那位律法教师说:“老师,你说的对,上帝只有一位,除祂以外,别无他神。 33我们要全心、全意、全力爱祂,又要爱邻如己。这样做比献什么祭都好。”

34耶稣见他答得很有智慧,就告诉他:“你离上帝的国不远了。”此后,没人再敢问耶稣问题了。

基督的身份

35耶稣在圣殿里教导的时候,问道:“律法教师为什么说基督是大卫的后裔呢? 36大卫自己曾经受圣灵的感动,说,

“‘主对我主说,

你坐在我的右边,

等我使你的仇敌伏在你脚下。’

37既然大卫自己称基督为主,基督又怎能是大卫的后裔呢?”百姓听得津津有味。 38耶稣又教导他们,说:“你们要提防律法教师,他们爱穿着长袍招摇过市,喜欢人们在大街上问候他们, 39又喜欢会堂里的上座和宴席中的首位。 40他们侵吞寡妇的财产,还假意做冗长的祷告。这种人必受到更严厉的惩罚。”

穷寡妇的奉献

41然后,耶稣走到圣殿的奉献箱对面坐下,看大家怎样奉献。很多财主奉献了大量的钱。 42后来一个穷寡妇来了,投进了相当于一文钱的两个小铜钱。 43耶稣叫门徒来,说:“我实在告诉你们,这位穷寡妇比其他人奉献的都多, 44因为他们不过奉献了自己剩余的,但这穷寡妇却奉献了她赖以为生的。”

Luganda Contemporary Bible

Makko 12:1-44

Olugero lw’Abalimi Ababi

112:1 Is 5:1-7Awo Yesu n’atandika okwogera nabo mu ngero, ng’agamba nti, “Waaliwo omusajja eyalima ennimiro y’emizabbibu, n’ateeka olukomera okugyetooloola, n’ateekamu essogolero, n’azimbamu n’omunaala, n’agifuniramu abalimi abaagipangisa, n’agenda olugendo. 2Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’abatumira omuddu okufuna ebibala okuva mu nnimiro ey’emizabbibu. 3Naye bwe yatuuka ku nnimiro abalimi ne bamukuba ne bamusindika n’addayo ngalo nsa. 4Nannyini nnimiro n’atuma omuddu we omulala, oyo ne bamukuba olubale, ne bamuswaza. 5Omubaka omulala gwe yatuma baamutta bussi, ate abalala be yazzaako okutuma, abamu baabakuba n’abalala ne babatta.

612:6 Beb 1:1-3“Yali asigazzaawo omu yekka ow’okutuma, ye mutabani we omwagalwa. Bw’atyo n’amutuma gye bali ng’agamba nti, ‘Bajja kussaamu mutabani wange ekitiibwa.’

7“Naye abalimi abo ne bateesa bokka na bokka nti, Ono ye musika, mujje tumutte ebyobusika tubyesigalize! 8Awo ne bamukwata ne bamutta omulambo gwe ne bagusuula ebweru w’ennimiro y’emizabbibu.

9“Mulowooza nannyini nnimiro alikola atya? Agenda kujja, abalimi abo bonna abazikirize, ennimiro ye agipangiseemu abalimi abalala. 1012:10 Bik 4:11Temusomangako byawandiikibwa nti,

“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana,

lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.

1112:11 Zab 118:22, 23Ekyo Mukama ye yakikola

era kitwewuunyisa nnyo okukiraba.’ ”

1212:12 a Mak 11:18 b Mat 22:22Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamanya ng’olugero lwali lukwata ku bo, olwo ne banoonya engeri gye bayinza okumukwata, naye ne batya ekibiina. Ne bamuviira ne bagenda.

Okuwa Kayisaali Omusolo

1312:13 a Mat 22:16; Mak 3:6 b Mat 12:10Ne bamuweereza abamu ku Bafalisaayo n’Abakerodiyaani boogere, bagezeeko okumutega mu bigambo. 14Awo ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oyogera mazima era tolina gw’otya. Toffaayo ku nfaanana y’abantu, wabula amazima ameereere, era oyigiriza ekkubo lya Katonda. Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tetugumuwa?”12:14 Okuwa Kayisaali omusolo: Abayudaaya mu Yuda baali bateekwa okuwa Kayisaali omusolo. Bangi ku bo baali tebakkiriziganya kalombolombo ako, kubanga baalowooza nga kyali kukkiriza bufuzi bw’Abaruumi

15Naye Yesu n’ategeera obunnanfuusi bwabwe n’abagamba nti, “Lwaki munkema. Mundeetere ensimbi ngirabe.” 16Ne bagimuleetera, n’ababuuza nti, “Ekifaananyi kino n’ebiwandiiko ebiri ku nsimbi kuno by’ani?”

Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.”

1712:17 Bar 13:7N’abagamba nti, “Kale ebintu bya Kayisaali mubiwenga Kayisaali n’ebya Katonda, mubiwenga Katonda!”

Ne bamwewuunya nnyo.

Yesu Abuuzibwa ku by’Okuzuukira

1812:18 a Bik 4:1 b Bik 23:8; 1Ko 15:12Awo Abasaddukaayo abagamba nti tewali kuzuukira, ne bamubuuza nti, 1912:19 Ma 25:5“Omuyigiriza, Musa yatuwa etteeka erigamba nti omusajja omufumbo bw’afanga nga tazadde baana, muganda w’omufu awasenga nnamwandu wa muganda we oyo alyoke amuzaalire abaana. 20Waaliwo abooluganda musanvu, mukulu waabwe n’awasa, Oluvannyuma n’afa nga tazadde baana. 21Muto w’omufu kwe kuwasa nnamwandu wa mukulu we, waayitawo akabanga katono naye n’afa, nga naye tazadde mwana. Muganda w’omufu amuddako n’awasa nnamwandu oyo, naye n’atazaala. 22Bonna omusanvu ne bafa ne baggwaawo. Oluvannyuma n’omukazi naye n’afa. 23Kale, mu kuzuukira kw’abafu omukazi oyo aliba muka ani, kubanga bonna yabafumbirwako?”

2412:24 2Ti 3:15-17Yesu n’abaddamu nti, “Ekibaleetedde okukyama bwe butamanya byawandiikibwa, n’obutategeera maanyi ga Katonda. 2512:25 1Ko 15:42, 49, 52Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebagenda kufumbiriganwa, kubanga bonna baliba nga bamalayika bwe bali mu ggulu. 2612:26 Kuv 3:6Ate ebifa ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga mu kitabo Musa bwe yali ku kisaka Katonda n’amugamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu era Katonda wa Isaaka era Katonda wa Yakobo?’ 27Katonda si Katonda w’abafu, wabula ow’abalamu. Mukyamye nnyo.”

Etteeka Ekkulu

2812:28 Luk 10:25-28; 20:39Awo omu ku bannyonnyozi b’amateeka eyali ayimiridde awo ng’awuliriza bye baali beebuuza, n’ategeera nga Yesu azzeemu bulungi. Naye n’amubuuzaayo nti, “Mu mateeka gonna, erisingamu obukulu lye liruwa?”

29Yesu n’amuddamu nti, “Ery’olubereberye lye lino nti, ‘Wulira, Isirayiri! Mukama Katonda waffe, Mukama ali omu yekka. 3012:30 Ma 6:4, 5Era yagala Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’omwoyo gwo gwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.’ 3112:31 Lv 19:18; Mat 5:43N’eryokubiri lye lino nti, ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewaliiwo mateeka malala gasinga ago bukulu.”

3212:32 Ma 4:35, 39; Is 45:6, 14; 46:9Omunnyonnyozi w’amateeka n’agamba nti, “Omuyigiriza ekigambo ky’oyogedde kya mazima bw’ogambye nti waliwo Katonda omu yekka era teriiyo mulala. 3312:33 1Sa 15:22; Kos 6:6; Mi 6:6-8; Beb 10:8Era mmanyi nga kikulu nnyo okumwagala n’omutima gwaffe gwonna, n’okutegeera kwaffe n’amaanyi gaffe, n’okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka, era ng’ekyo kikulu okusinga ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.”

3412:34 a Mat 3:2 b Mat 22:46; Luk 20:40Yesu bwe yalaba ng’omusajja azzeemu n’amagezi n’amugamba nti, “Toli wala n’obwakabaka bwa Katonda.” Okuva ku ekyo ne watabaawo muntu n’omu eyayaŋŋanga okwongera okumubuuza ebibuuzo ebirala.

Kristo Mwana wa Ani

3512:35 a Mat 26:55 b Mat 9:27Bwe waayitawo akabanga, Yesu yali ayigiriza mu Yeekaalu, n’ababuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Kristo Mwana wa Dawudi? 3612:36 a 2Sa 23:2 b Zab 110:1; Mat 22:44Kubanga Mwoyo Mutukuvu bwe yali ali ku Dawudi, Dawudi yennyini yagamba ku bwa Mwoyo Mutukuvu nti,

“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,

“Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo,

okutuusa lwe nditeeka abalabe bo

wansi w’ebigere byo.” ’

3712:37 Yk 12:9Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ayinza atya ate okuba Omwana we?”

Ekibiina kyalimu abantu bangi, ne bamuwuliriza n’essanyu.

38Awo Yesu n’ayigiriza ng’agamba nti, “Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka, kubanga baagala nnyo okwambala ne batambulatambula mu butale ng’abantu babalamusa. 3912:39 Luk 11:43Baagala nnyo okutuula mu bifo ebisinga obulungi mu makuŋŋaaniro, n’okutuula mu bifo eby’ekitiibwa ku mbaga. 40Kyokka, banyagako bannamwandu ebintu byabwe, ne beeraga nga basaba esaala empanvu ennyo. Ekibonerezo kyabwe kyekiriva kibeera ekinene ddala.”

Ekirabo kya Nnamwandu

4112:41 2Bk 12:9; Yk 8:20Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika ly’ensimbi, n’alaba engeri ekibiina ky’abantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi.12:41 Etterekero ly’ensimbi mu yeekaalu lyabeeranga mu luggya lw’abakazi. Abasajja n’abakazi bakkirizibwanga mu luggya olwo, kyokka ng’abakazi bo bakoma awo, ate abasajja bo nga beeyongerayo munda mu yeekaalu 42Awo nnamwandu eyali omwavu n’ajja n’ateekamu ebitundu bibiri, ye kodulante.12:42 ze ssente ezaali zisingirayo ddala okuba eza wansi mu muwendo mu Palesitayini mu biro ebyo

43Yesu n’ayita abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu awaddeyo nnyo okusinga bonna bali abatadde mu ggwanika. 4412:44 2Ko 8:12Kubanga bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ate nnamwandu ono mu kwetaaga kwe ataddemu kyonna ky’abadde nakyo, ekibadde kijja okumuyamba obulamu bwe bwonna.”