阿摩司书 4 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

阿摩司书 4:1-13

1住在撒玛利亚山上的巴珊肥母牛啊,

你们要听!

你们压榨贫寒人,欺凌穷苦人,

又使唤丈夫倒酒畅饮。

2因此,主耶和华凭祂的圣洁起誓:

“时候快到了,

有人要用鱼钩钩走你们,一个也不留。

3你们都要从城墙缺口走出来,

被丢到哈门

这是耶和华说的。

4以色列人啊,

你们去伯特利犯罪吧,

吉甲增添罪恶吧!

要每天早晨献上祭物,

每三天奉上你们的十分之一。

5你们献上带酵的饼作感恩祭,

并且到处夸耀你们自愿献的祭。

以色列人啊,这就是你们爱做的事。

这是主耶和华说的。

6“我在各城降下饥荒,

使你们遍地缺粮。

尽管如此,你们仍不归向我。

这是耶和华说的。

7“我在收割前三个月停止降雨。

我在一座城降雨,

在另一座城不降雨;

我使一块田有雨水的滋润,

另一块田因无雨而干裂。

8两三座城的人都踉踉跄跄地涌到一座城找水喝,

水却不够喝。

尽管如此,你们仍不归向我。

这是耶和华说的。

9“我用热风和霉灾击打你们,

叫蝗虫吞噬你们田园中的菜蔬、葡萄树、无花果树和橄榄树。

尽管如此,你们仍不归向我。

这是耶和华说的。

10“我在你们中间降下瘟疫,

如从前降在埃及一样。

我杀戮你们的青年,

掳掠你们的战马,

使你们军营中的死尸臭味扑鼻。

尽管如此,你们仍不归向我。

这是耶和华说的。

11“我在你们中间施行毁灭,

如从前毁灭所多玛蛾摩拉一样,

使你们像从火里抽出的一根柴。

尽管如此,你们仍不归向我。

这是耶和华说的。

12以色列人啊,

我要这样惩罚你们。

以色列人啊,

准备迎见你们的上帝吧!

因为我要这样惩罚你们。”

13看啊,那位造山又造风,

向人显明祂的心意,

将黎明变为黑暗,

将群山踩在脚下的——

祂的名字是万军之上帝耶和华。

Luganda Contemporary Bible

Amosi 4:1-13

Katonda yeerayirira okuzikiriza Abantu

14:1 a Zab 22:12; Ez 39:18 b Am 3:9 c Am 2:8; 5:11; 8:6Muwulire kino mmwe ente ez’omu Basani ezibeera ku Lusozi Samaliya,

mmwe abakazi abajooga abaavu ne munyigiriza abanaku,

era abagamba ba bbaabwe nti, “Mutuletereyo ekyokunywa.”

24:2 Am 6:8Mu butukuvu bwe Mukama Katonda alayidde nti,

“Ekiseera kijja

lwe balibasika n’amalobo,

era abalisembayo ku mmwe ne basikibwa n’amalobo agavuba.

34:3 Ez 12:5Mulisikibwa okuva mu mayumba gammwe

ne musuulibwa ebweru nga muyisibwa mu bituli ebibotoddwa mu bbugwe,

musuulibwe ku Kalumooni,

bw’ayogera Mukama.

44:4 a Kos 4:15 b Kbl 28:3 c Ma 14:28 d Ez 20:39; Am 5:21-22Kale mmwe mugende e Beseri mukoleyo ebitasaana;

era mugende ne Girugaali mwongere okukola ebibi.

Mutwalengayo ssaddaaka zammwe buli nkya,

n’ekimu eky’ekkumi buli myaka esatu.

54:5 a Lv 7:13 b Lv 22:18-21Muweeyo ekiweebwayo eky’okwebaza eky’emigaati egizimbulukusibbwa,

mulangirire n’ebiweebwayo eby’ekyeyagalire;

mwe mwenyumiririza, mmwe Abayisirayiri

kubanga ekyo kye mwagala,”

bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

64:6 Is 3:1; Yer 5:3; Kag 2:17“Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga,

ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga,

naye era ne mugaana okudda gye ndi,”

bw’ayogera Mukama.

74:7 Kuv 9:4, 26; Ma 11:17; 2By 7:13“Ne mbamma enkuba

ng’ekyabulayo emyezi esatu amakungula gatuuke.

Ne ntonnyesa enkuba mu kibuga ekimu

ne ngiziyiza mu kirala.

Yatonnyanga mu nnimiro emu,

mu ndala n’etatonnya, ebirime ne biwotoka.

84:8 a Ez 4:16-17 b Yer 3:7 c Yer 14:4Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne balaga mu kirala nga banoonya amazzi banyweko,

naye ne gababula;

naye era ne mutakyuka kudda gye ndi,”

bw’ayogera Mukama.

94:9 a Ma 28:22 b Yo 1:7 c Yer 3:10; Kag 2:17“Emirundi mingi ebirime byammwe n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu na bigengewaza.

Nabileetako obulwadde.

Enzige nazo ne zirya emitiini gyammwe n’emizeeyituuni gyammwe,

naye era temwadda gye ndi,”

bw’ayogera Mukama.

104:10 a Kuv 9:3; Ma 28:27 b Is 9:13“Nabasindikira kawumpuli

nga gwe nasindika mu Misiri.

Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n’ekitala

awamu n’embalaasi zammwe ze mwawamba.

Okuwunya kw’olusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo

naye era ne mugaana okudda gye ndi,”

bw’ayogera Mukama.

114:11 Lub 19:24; Yer 23:14“Nazikiriza abamu ku mmwe

nga bwe nakola Sodomu ne Ggomola,

ne muba ng’olumuli olusikiddwa mu muliro ogwaka

naye era ne mulema okudda gye ndi,”

bw’ayogera Mukama.

12“Kyendiva nkukola bwe ntyo, ggwe Isirayiri,

era ndikwongerako ebibonoobono.

Noolwekyo weetegeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.”

134:13 a Zab 65:6 b Dan 2:28 c Mi 1:3 d Is 47:4; Am 5:8, 27; 9:6Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi

era ye yatonda n’embuyaga

era abikkulira omuntu ebirowoozo bye.

Yafuula enkya okubeera ekiro,

era alinnya mu bifo ebigulumivu eby’ensi.

Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.