路加福音 24 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

路加福音 24:1-53

耶稣死里复活

1周日黎明时分,几位妇女带着预备好的香料来到坟前, 2发现墓口的大石头已经滚到旁边, 3便进去,却没有看见主耶稣的遗体。 4正在猜疑之间,突然有两个衣服发光的人站在旁边, 5她们吓得俯伏在地。那两个人对她们说:“你们为什么在死人中找活人呢? 6祂不在这里,已经复活了!记住祂在加利利对你们说的话, 7‘人子必须被交在罪人的手中,被钉在十字架上,在第三天复活。’”

8她们想起耶稣的话来, 9便离开墓地回去把事情的经过告诉十一个使徒和其他人。 10这些妇女就是抹大拉玛丽亚约亚娜雅各的母亲玛丽亚及其他人。

11大家听了都不相信,认为是无稽之谈。 12彼得却起身跑到墓地,屈身往墓里张望,只见细麻布在那里,他便离开了,对发生的事大惑不解。

耶稣的显现

13同一天,有两个门徒前往离耶路撒冷十一公里的以马忤斯村, 14一路谈论着最近发生的一切事。 15正谈论的时候,耶稣走过来和他们同行。 16可是,他们认不出耶稣。

17耶稣问他们:“你们一路上在谈论什么?”

他们停下脚步,满面愁容, 18其中一个叫革流巴的说:“难道在耶路撒冷作客的人中,只有你不知道近日发生的大事吗?”

19耶稣问:“什么事?”

他们说:“就是拿撒勒人耶稣的事。祂本来是个先知,在上帝和百姓面前言谈举止充满力量。 20我们的祭司长和官长却把祂押去判了死刑,钉在十字架上。

21“我们一直希望祂就是要拯救以色列的那位。还有,今天是事发后的第三天, 22我们当中有几位妇女一早到耶稣的坟墓, 23发现耶稣的遗体不见了,回来说天使曾向她们显现并告诉她们耶稣已经复活了。

24“后来我们有几个人亲自去坟墓察看,果然像她们所说的,耶稣的遗体不见了。”

25耶稣对他们说:“无知的人啊!为什么迟迟不肯相信先知的话呢? 26基督岂不是要先这样受害,然后进入祂的荣耀吗?”

27耶稣接着从摩西和众先知的记载开始,把有关自己的经文都向他们讲解明白。

28快到以马忤斯村时,耶稣好像还要继续前行。 29他们极力挽留祂,说:“天快黑了,时候不早了,跟我们一同住宿吧。”耶稣就和他们一起进村住下。

30吃饭的时候,耶稣拿起饼来,祝谢后,掰开递给他们。 31忽然他们眼睛明亮了,认出是耶稣。耶稣很快从他们眼前消失了。

32二人彼此议论说:“一路上祂和我们说话、为我们解释圣经的时候,我们心里不是很火热吗?” 33二人马上赶回耶路撒冷,看到十一位使徒及其同伴正聚在一起谈论: 34“主真的复活了,祂向西门显现了。”

35二人也把路上发生的事以及掰饼时认出主的经过述说了一遍。

36正说的时候,耶稣出现在他们中间,说:“愿你们平安!” 37他们又惊又怕,以为是看见了鬼魂。

38耶稣说:“你们为什么忧心忡忡?为什么心存疑惑呢? 39你们看我的手和脚,就知道真的是我。来摸摸看,鬼魂没有骨和肉,你们看!我有。” 40说完,便伸出手和脚给他们看。

41门徒又惊又喜,半信半疑。耶稣问:“你们这里有吃的吗?” 42他们便给祂一片烤鱼, 43祂接过鱼来在他们面前吃了。

44耶稣对他们说:“我跟你们在一起的时候曾经说过,摩西的律法书、先知的书以及诗篇里有关我的记载都要应验。” 45于是,耶稣开启了他们的心窍,使他们明白这些经文, 46又对他们说:“圣经上说,基督必受害,然后在第三天从死里复活, 47人们要奉祂的名传扬悔改、赦罪的福音,从耶路撒冷一直传遍万国。

48“你们是这些事的见证人, 49我要把我父所应许的赐给你们。不过,你们要留在城里,直到你们得到天上来的能力。”

耶稣升天

50耶稣带着门徒来到伯大尼附近,举起双手为他们祝福。 51正祝福的时候,祂就离开了他们,被接到天上去了。 52门徒都敬拜祂,然后欢欢喜喜地回到耶路撒冷53他们常在圣殿里赞美上帝。

Luganda Contemporary Bible

Lukka 24:1-53

Okuzuukira kwa Mukama Waffe

124:1 Luk 23:56Awo ku lunaku Lwassande24:1 Lwassande, lwe lunaku olusooka mu wiiki, lwe lusooka mu wiiki, mu makya ennyo, abakazi ne baddira ebyakaloosa n’amafuta, bye baali bategese, ne bagenda ku ntaana. 2Ne basanga ejjinja eryali liggadde omulyango oguyingira mu ntaana, nga liyiringisibbwa okudda wabbali. 324:3 nny 23, 24Bwe batyo ne bayingira mu ntaana, naye omulambo gwa Mukama waffe Yesu tebaagusangamu. 424:4 Yk 20:12Ne bayimirira awo nga babuliddwa eky’okukola. Amangwago, abasajja babiri ne balabika mu maaso gaabwe nga bambadde engoye ezimasamasa ng’okumyansa kw’eraddu. 5Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, “Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana? 624:6 Mat 17:22, 23; Mak 9:30-31; Luk 9:22; nny 44Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti, 724:7 a Mat 8:20 b Mat 16:21‘Omwana w’Omuntu, ateekwa okuweebwayo mu mikono gy’abantu ababi, bamukomerere ku musaalaba, naye nga ku lunaku olwokusatu alizuukira.’ ” 824:8 Yk 2:22Ne bajjukira ebigambo bye ebyo.

9Awo ne bayanguwa mangu ne bagenda, ne bategeeza abayigirizwa ekkumi n’omu n’abalala bonna, ebintu ebyo byonna. Bano be bakazi abaalaga ku ntaana, era ne bategeeza abayigirizwa ebintu ebyo: 1024:10 a Luk 8:1-3 b Mak 6:30Maliyamu Magudaleene, ne Jowaana, ne Maliyamu nnyina Yakobo, n’abalala. Ne bategeeza abatume ebintu ebyo. 1124:11 Mak 16:11Naye bye baababuulira nga biwulikika ng’ebitaliimu makulu, era tebaabikkiriza. 1224:12 a Yk 20:3-7 b Yk 20:10Kyokka Peetero n’adduka n’alaga ku ntaana, n’akutama n’alingiza n’alaba ng’engoye za linena Yesu mwe yali azingiddwa ziri wabbali zokka nga njereere, n’addayo eka nga yeewuunya.

Ku Luguudo lw’e Emawu

1324:13 Mak 16:12Ku lunaku olwo lwennyini abasajja babiri, abamu ku abo abaagobereranga Yesu, baali batambula nga bagenda mu kabuga akayitibwa Emawu, akaali kilomita nga kkumi na bbiri okuva e Yerusaalemi. 14Baali bagenda boogera ku kufa kwa Yesu. 1524:15 nny 36Amangwago Yesu yennyini n’abeegattako n’atambula nabo. 1624:16 Yk 20:14; 21:4Kyokka tebaamutegeera, kubanga ekyo Katonda yali akibakisizza.

17Yesu n’abagamba nti, “Biki bye munyumyako nga bwe mutambula mu kkubo?”

Ne bayimirira ng’amaaso gaabwe gajjudde ennaku. 1824:18 Yk 19:25Omu ku bo, erinnya lye Kulyoppa n’amuddamu nti, “Oli mugenyi mu Yerusaalemi atamanyi bya kitalo ebyaliwo mu wiiki eyise?”

1924:19 a Mak 1:24 b Mat 21:11Yesu n’ababuuza nti, “Biki ebyo?” Ne baddamu nti, “Ebyagwa ku Yesu Omunnazaaleesi eyali omusajja Nnabbi ow’amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga eyakola ebyamagero ebyewuunyisa, era yali Muyigiriza wa kitalo, mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu bonna. 2024:20 Luk 23:13Naye bakabona abakulu n’abakulembeze baffe baamukwata ne bamuwaayo n’asalirwa omusango ogw’okufa, ne bamukomerera ku musaalaba. 2124:21 a Luk 1:68; 2:38; 21:28 b Mat 16:21Twali tusuubira nti, Ye Kristo anaalokola Isirayiri. 2224:22 nny 1-10Ebyo nga bikyali awo, nga wayiseewo ennaku ssatu bukyanga bino bibaawo abamu ku bakazi b’ewaffe baatwewuunyisizza. Olwa leero baakedde ku ntaana, 23naye omulambo gwe tebaagusanzeemu. Bwe baakomyewo baatugambye nti bayolesebbwa ba bamalayika abaabagambye nti mulamu! 2424:24 nny 12Abamu ku bannaffe abasajja nabo ne bagendayo mangu, nabo ne basanga ng’omulambo gwa Yesu teguliimu mu ntaana, ng’abakazi bwe baagambye.”

25Yesu n’abagamba nti, “Nga muli bantu basirusiru! Mmwe ab’emitima eminafu egirwawo okukkiriza bannabbi bye baategeeza! 2624:26 Beb 2:10; 1Pe 1:11Tekyagwanira Kristo okubonaabona mu bintu byonna n’oluvannyuma alyoke ayingire mu kitiibwa kye?” 2724:27 a Lub 3:15; Kbl 21:9; Ma 18:15 b Is 7:14; 9:6; 40:10, 11; 53; Ez 34:23; Dan 9:24; Mi 7:20; Mal 3:1 c Yk 1:45N’atandikira ku Musa n’ayitaayita mu bannabbi bonna ng’agenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.

28Bwe baasemberera akabuga we baali bagenda, Yesu n’aba nga eyeeyongerayo, 29naye ne bamuwaliriza asule ewaabwe kubanga n’obudde bwali buwungedde. N’akkiriza, asigale.

3024:30 Mat 14:19Awo bwe yali ng’alya nabo n’addira omugaati, ne yeebaza n’agumenyamu, n’abawa. 3124:31 nny 16Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera! Ate n’ababulako mu kaseera ako! 3224:32 a Zab 39:3 b nny 27, 45Ne batandika okwewuunaganya nga bagamba nti, “Emitima gyaffe tegyabuguumiridde bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?”

33Awo ne basituka mangu ne baddayo mu Yerusaalemi, ne basanga abayigirizwa ekkumi n’omu ne bannaabwe abalala nga bakuŋŋaanye, 3424:34 1Ko 15:5nga bagamba nti, “Ddala Mukama waffe azuukidde! Alabikidde Peetero!” 3524:35 nny 30, 31Ne bannyonnyola, nga Yesu bwe yabalabikira nga bali mu kkubo batambula, era nga bwe yategeerekeka gye bali ng’amaze okumenya omugaati.

Yesu alabikira Abayigirizwa be

3624:36 Yk 20:19, 21, 26; 14:27Awo bwe baali bakyayogera ebyo Yesu n’ayimirira mu makkati gaabwe n’abalamusa nti, “Emirembe gibeere nammwe!” 3724:37 Mak 6:49Naye bonna ne bakankana nga batidde nnyo, nga balowooza nti balaba muzimu! 38Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki mutidde bwe mutyo? Lwaki mubuusabuusa mu mitima gyammwe? 3924:39 Yk 20:27; 1Yk 1:1Mulaba ebibatu byange. Mutunule ne ku bigere byange! Kaakano mutegeere nga ye Nze kennyini. Munkwateko mukakasize ddala nti ssiri muzimu, kubanga omuzimu tegubeera na mubiri na magumba nga Nze bye nnina.”

40Bwe yali ng’ayogera n’abalaga ebibatu bye n’ebigere bye. 41Naye nga bakyabuusabuusa kyokka nga balina essanyu era nga basamaaliridde n’alyoka ababuuza nti, “Mulinawo wano ekyokulya?” 42Ne bamuwa ekitundu ky’ekyennyanja ekyokye, 4324:43 Bik 10:41n’akitoola n’akiriira mu maaso gaabwe nga bamutunuulira!

4424:44 a Luk 9:45; 18:34 b Mat 16:21; Luk 9:22, 44; 18:31-33; 22:37 c nny 27 d Zab 2; 16; 22; 69; 72; 110; 118N’abagamba nti, “Nabategeeza nga nkyali nammwe nti ebintu byonna ebyampandiikibwako mu mateeka ga Musa, ne mu bya bannabbi, ne mu Zabbuli, byali biteekwa okutuukirira.”

45N’alyoka asumulula emitima gyabwe, ne bategeera ebyawandiikibwa. 46N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa dda nnyo nti Kristo kimugwanira okubonaabona, n’okufa era ku lunaku olwokusatu azuukire mu bafu. 4724:47 a Bik 5:31; 10:43; 13:38 b Mat 28:19Era mu linnya lye Enjiri ey’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi eribuulirwa amawanga gonna okutandikira mu Yerusaalemi. 4824:48 Bik 1:8; 2:32; 5:32; 13:31; 1Pe 5:1Muli bajulirwa b’ebyo, 4924:49 Yk 14:16; Bik 1:4Laba mbaweereza ekisuubizo kya Kitange. Mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava mu ggulu.”

Okugenda mu Ggulu

5024:50 Mat 21:17Awo Yesu n’abakulembera ne balaga e Besaniya. N’ayimusa emikono gye waggulu, n’abawa omukisa. 5124:51 2Bk 2:11Bwe yali ng’akyabawa omukisa, n’abavaako, n’asitulibwa, n’atwalibwa mu ggulu. 52Ne bamusinza, ne baddayo mu Yerusaalemi nga bajjudde essanyu lingi. 5324:53 Bik 2:46Ne babeeranga mu Yeekaalu bulijjo nga batendereza Katonda.