诗篇 92 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

诗篇 92:1-15

第 92 篇

赞美之歌

安息日唱的诗歌。

1至高的耶和华啊,

赞美你、歌颂你的名是何等美好!

2-3伴随十弦琴和竖琴的乐声,

早晨宣扬你的慈爱,

晚上颂赞你的信实,

是何等美好。

4耶和华啊,你的作为使我快乐,

我要颂扬你手所做的工。

5耶和华啊,你的作为何等伟大!

你的心思何等深奥!

6无知的人不会明白,

愚蠢的人也不会了解:

7恶人虽如草滋生,一时亨通,

但终必永远灭亡。

8耶和华啊,

唯有你永远受尊崇。

9耶和华啊,你的仇敌终必灭亡,

凡作恶的都要被驱散。

10你使我强壮如野牛,

你用新油浇灌我。

11我亲眼看见我的敌人被击溃,

亲耳听见那些攻击我的恶人被打败。

12义人必如生机勃勃的棕榈树,

像茁壮生长的黎巴嫩香柏树。

13他们栽在耶和华的殿中,

他们在我们上帝的院子里长得枝繁叶茂。

14他们到老仍然结果子,

一片青翠,

15宣扬说:“耶和华公正无私,

祂是我的磐石,

祂里面毫无不义。”

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 92:1-15

Zabbuli 92

Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.

192:1 a Zab 147:1 b Zab 135:3Kirungi okwebazanga Mukama,

n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;

292:2 Zab 89:1okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,

n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.

392:3 1Sa 10:5; Nek 12:27; Zab 33:2Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga

n’endere awamu n’entongooli.

492:4 Zab 8:6; 143:5Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;

kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.

592:5 a Kub 15:3 b Zab 40:5; 139:17; Is 28:29; Bar 11:33Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama;

ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!

692:6 Zab 73:22Omuntu atalina magezi tamanyi;

n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;

7newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo,

n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi,

boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!

8Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna.

992:9 Zab 68:1; 89:10Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama,

abalabe bo balizikirira,

abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.

1092:10 a Zab 89:17 b Zab 23:5Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo,

n’onfukako amafuta amalungi.

1192:11 Zab 54:7; 91:8Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange;

n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.

1292:12 Zab 1:3; 52:8; Yer 17:8; Kos 14:6Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,

ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.

1392:13 Zab 100:4Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.

Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.

1492:14 Yk 15:2Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;

baliba balamu era abagimu,

1592:15 Yob 34:10kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,

lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.