诗篇 37 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

诗篇 37:1-40

第 37 篇

义人和恶人的结局

大卫的诗。

1不要因为恶人而烦恼,

也不要羡慕作恶之人,

2因为他们如瞬息枯萎的草芥,

又如转眼消逝的绿草。

3要信靠耶和华,要行善,

要在这片土地上安然度日。

4要以耶和华为乐,

祂必成全你的愿望。

5要把一切交托给耶和华,

信靠祂,祂必帮助你,

6使你的公义如晨光照耀,

你的仁义如日中天。

7要在耶和华面前安静,

耐心等候祂,

不要因恶人道路通达、阴谋得逞而愤愤不平。

8你要抑制怒气,除掉愤怒;

不要心怀不平,

那会导致你作恶。

9因为作恶的终必灭亡,

但等候耶和华的必承受土地。

10再过片刻,恶人必不复存在,

无处可寻。

11但谦卑人必承受土地,

得享太平。

12恶人谋害义人,

对他们咬牙切齿。

13但耶和华嗤笑邪恶人,

因为祂知道他们末日将临。

14恶人拔剑张弓要消灭穷苦人,

杀戮正直人,

15但他们的剑必刺穿自己的心,

他们的弓必被折断。

16义人淡泊一生强过恶人财富如山。

17因为恶人的势力终必瓦解,

耶和华必扶持义人。

18耶和华天天看顾纯全无过的人,

他们的产业永远长存。

19他们在灾难中不致绝望,

在饥荒时仍得饱足。

20但恶人必灭亡,

上帝的仇敌必像野地枯萎的花草,

消逝如烟。

21恶人借债不还,

义人慷慨给予。

22蒙耶和华赐福的人必承受土地,

被耶和华咒诅的人必遭铲除。

23耶和华引领义人的脚步,

喜悦他们所走的路。

24他们即使失脚,也不会跌倒,

因为耶和华的手扶持他们。

25从幼年到老年,

我从未见过义人遭弃,

也未见其后人讨饭。

26他们乐善好施,

后代都蒙祝福。

27你要离恶行善,

就必永远安居。

28因为耶和华喜爱正义,

不丢弃信靠祂的人,

永远保护他们。

恶人的后代必被铲除。

29义人必承受土地,

在地上永远安居。

30义人口出智慧,诉说正义,

31铭记上帝的律法,

从不失脚。

32恶人窥探义人,

伺机谋害。

33但耶和华不会让恶人得逞,

也不会让义人在审判时被定罪。

34要等候耶和华,

坚守祂的道,

祂必赐你土地,使你有尊荣。

你必亲眼看见恶人被铲除。

35我见过邪恶残暴之人,

乍看如葱茏的黎巴嫩香柏树,

36再一看,

他已经消失得无影无踪,

无处可寻。

37你看那纯全正直、爱好和平的人,

他们前途美好。

38罪人必遭毁灭,

恶人必被铲除。

39耶和华拯救义人,

患难时作他们的庇护所。

40耶和华帮助他们,

拯救他们脱离恶人,

因为他们投靠祂。

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 37:1-40

Zabbuli 37

Zabbuli ya Dawudi.

137:1 a Nge 23:17-18 b Zab 73:3Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,

so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.

237:2 Zab 90:6Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,

bafiire ddala ng’essubi ekkalu.

337:3 a Ma 30:20 b Is 40:11; Yk 10:9Weesigenga Mukama okolenga bulungi,

onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.

437:4 Is 58:14Sanyukiranga mu Mukama,

anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.

537:5 Zab 4:5; 55:22; Nge 16:3; 1Pe 5:7By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;

mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.

637:6 a Mi 7:9 b Yob 11:17Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,

n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.

737:7 a Zab 62:5; Kgb 3:26 b Zab 40:1Siriikirira awali Mukama,

ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.

Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.

837:8 Bef 4:31; Bak 3:8Tonyiiganga era weewale ekiruyi;

teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.

937:9 Is 57:13; 60:21Kubanga ababi balisalibwako,

naye abeesiga Mukama baligabana ensi.

1037:10 Yob 7:10; 24:24Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;

wadde mulibanoonya temulibalabako.

1137:11 Mat 5:5Naye abateefu baligabana ensi

ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.

1237:12 Zab 35:16Ababi basalira abatuukirivu enkwe,

ne babalumira obujiji.

1337:13 1Sa 26:10; Zab 2:4Naye Mukama asekerera ababi,

kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.

1437:14 a Zab 11:2 b Zab 35:10Ababi basowoddeyo ebitala byabwe

ne baleega emitego gy’obusaale,

batte abaavu n’abali mu kwetaaga

era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.

1537:15 Zab 9:16Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini,

n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.

1637:16 Nge 15:16Ebitono omutuukirivu by’alina

bisinga obugagga bw’ababi abangi;

1737:17 Yob 38:15; Zab 10:15kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,

naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.

1837:18 Zab 1:6Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,

era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.

19Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,

ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.

2037:20 Zab 102:3Naye ababi balizikirira;

abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale,

era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.

2137:21 Zab 112:5Ababi beewola, ne batasasula;

naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.

2237:22 Yob 5:3; Nge 3:33Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi,

naye abo b’akolimira balizikirizibwa.

2337:23 a 1Sa 2:9 b Zab 147:11Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu,

aluŋŋamya entambula ye.

2437:24 a Nge 24:16 b Zab 145:14; 147:6Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi,

kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.

2537:25 Beb 13:5Nnali muto kati nkaddiye,

naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,

wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.

2637:26 Zab 147:13Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu.

Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.

2737:27 Zab 34:14Muve mu bibi, mukolenga ebirungi,

munaabanga balamu emirembe gyonna.

2837:28 Zab 21:10; Is 14:20Kubanga Mukama ayagala ab’amazima,

n’abeesigwa be taabaabulirenga.

Banaalabirirwanga emirembe gyonna;

naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.

2937:29 nny 9; Nge 2:21Abatuukirivu baligabana ensi

ne babeeranga omwo emirembe gyonna.

30Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,

n’olulimi lwe lwogera bya mazima.

3137:31 a Ma 6:6; Zab 40:8; Is 51:7 b nny 23Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe,

era ebigere bye tebiseerera.

3237:32 Zab 10:8Omubi ateega omutuukirivu

ng’anoonya okumutta,

3337:33 Zab 109:31; 2Pe 2:9naye Mukama taliganya babi kuwangula,

wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.

3437:34 a Zab 27:14 b Zab 52:6Lindirira Mukama n’okugumiikiriza,

otambulirenga mu makubo ge;

naye alikugulumiza n’akuwa ensi;

ababi bwe balisalirwako olikitegeera.

3537:35 Yob 5:3Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi,

ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,

3637:36 Yob 20:5naye teyalwawo n’abula,

ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.

3737:37 Is 57:1-2Tunuulira omuntu ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu;

obulamu bwe bunajjulanga emirembe.

3837:38 Zab 1:4Naye aboonoonyi bonna balizikirizibwa;

ezzadde ly’ababi lirisaanyizibwawo.

3937:39 a Zab 3:8 b Zab 9:9Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri Mukama;

ye ky’ekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera eky’emitawaana.

4037:40 a 1By 5:20 b Is 31:5Mukama abayamba n’abalokola;

abaggya mu mikono gy’ababi n’abalokola,

kubanga gy’ali gye baddukira.