耶利米书 27 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

耶利米书 27:1-22

耶利米负轭的比喻

1犹大约西亚的儿子约雅敬执政初期,耶和华的话传给了耶利米2耶和华对我说:“你要做个木轭,用绳索套在自己颈上。 3然后请那些到耶路撒冷朝见犹大西底迦的使者传话给他们的主人以东王、摩押王、亚扪王、泰尔王和西顿王, 4说,‘以色列的上帝——万军之耶和华说, 5我伸出大能的臂膀创造了大地、地上的人类和动物,我想把大地赐给谁就赐给谁。 6现在,我要把你们的国家交给我的仆人巴比伦尼布甲尼撒,连田野的走兽也要归他管辖。 7各国都要臣服于他和他的子孙,直到他的国家灭亡。那时,许多国家和强大的君王必奴役他。 8如果哪一邦或哪一国不肯臣服于巴比伦尼布甲尼撒,不肯负巴比伦王的轭,我必用战争、饥荒和瘟疫惩罚他们,直到我借巴比伦王的手毁灭他们。这是耶和华说的。 9你们不可听信你们的先知、占卜者、解梦者、巫师和术士的话,他们说巴比伦王不会征服你们。 10他们的预言是骗人的,只会使你们远离家园。我会赶走你们,使你们灭亡。 11但如果哪一国肯负巴比伦王的轭,臣服于他,我必使那国的人们留在本国,安居乐业。这是耶和华说的。’”

12我照耶和华的吩咐对犹大西底迦说:“你们要负巴比伦王的轭,臣服于他和他的人民,这样你们就可存活。 13你和你的人民何必死于战争、饥荒和瘟疫呢?耶和华要降这些灾难给不肯臣服于巴比伦王的国家。 14不要听信那些先知骗人的预言,他们说巴比伦王不会征服你们。 15耶和华并没有派他们,他们却奉祂的名说假预言。如果你们听信他们的话,耶和华必把你们和假先知赶走,使你们一同灭亡。” 16我也对祭司和全体民众说:“耶和华说,‘你们不要听信假先知骗人的预言,他们说耶和华殿里的器皿很快就要从巴比伦运回来了。 17你们不可听信他们的话。你们要臣服于巴比伦王,以便存活。何必使这城沦为废墟呢? 18如果他们真的是先知,有耶和华给他们的信息,就让他们求万军之耶和华不要使圣殿中、犹大王宫内和耶路撒冷剩余的器皿被掳到巴比伦去。’ 19-20巴比伦尼布甲尼撒犹大约雅敬的儿子耶哥尼雅,以及犹大耶路撒冷的贵族从耶路撒冷掳到巴比伦去的时候,没有带走耶和华殿的铜柱、铜海、铜底座及其他器皿。 21论到这些剩下来的物件,以色列的上帝——万军之耶和华说, 22‘它们必被掳到巴比伦,一直留在那里,直到有一天我眷顾以色列人,把它们带回原处。这是耶和华说的。’”

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 27:1-22

Yuda Alibeera Muddu wa Nebukadduneeza

127:1 2By 36:11Ku ntandikwa y’obufuuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kino kyajjira Yeremiya okuva eri Mukama: 227:2 Yer 28:10, 13Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti: “Weekolere ekikoligo okiteeke ku nsingo yo, 327:3 Yer 25:21oweereze ekigambo eri bakabaka ba Edomu, ne Mowaabu, ne Ammoni, ne Tuulo ne Sidoni, ng’otuma ababaka abazze mu Yerusaalemi eri Zeddekiya kabaka wa Yuda. 4Tumira bakama baabwe obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Kino mukitegeeze bakama bammwe. 527:5 a Ma 9:29 b Zab 115:16N’amaanyi gange amangi n’omukono ogugoloddwa natonda ensi n’abantu baamu n’ensolo ezigiriko, era ngiwa omuntu yenna gwe njagala. 627:6 a Yer 25:9 b Yer 21:7; Ez 29:18-20 c Yer 28:14; Dan 2:37-38Kaakano ŋŋenda kuwaayo amawanga gammwe eri omuddu wange Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’ensolo ez’omu nsiko nzija kuziteeka wansi we. 727:7 a 2By 36:20 b Yer 25:12 c Yer 25:14; Dan 5:28Amawanga gonna galimuweereza ne mutabani we ne muzzukulu we okutuusa ekiseera eky’ensi ye okusalirwa omusango lwe kirituuka; olwo amawanga mangi ne bakabaka bangi ab’amaanyi balimuwangula.

8“ ‘ “Naye singa eggwanga lyonna oba obwakabaka bwonna tebuliweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni oba okuteeka ensingo wansi w’ekikoligo ky’abwo, nzija kubonereza ensi eyo n’ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli, bw’ayogera Mukama, okutuusa lwe ndigizikiriza n’omukono gwange. 927:9 Ma 18:11Noolwekyo bannabbi bammwe, n’abalaguzi, n’abavvuunuzi b’ebirooto, temubawuliriza wadde abalogo wadde abafumu ababagamba nti, ‘Temulibeera baddu ba kabaka w’e Babulooni.’ 1027:10 Yer 23:25Baabawa bunnabbi bwa bulimba obunaabaleetera okutwalibwa ewala okuva mu mawanga gammwe. Ndibagobera wala era mulizikirira. 1127:11 Yer 21:9Naye singa eggwanga lirikutamya ensingo yaalyo wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni limuweereze, nzija kuleka eggwanga eryo lisigale mu nsi yaalyo, okugirima, n’okugibeeramu, bw’ayogera Mukama.” ’ ”

12Nategeeza obubaka bwe bumu eri Zeddekiya kabaka wa Yuda nga ŋŋamba nti, “Kutamya ensingo yo wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni, beera omuddu we n’abantu be, onoobeera mulamu. 1327:13 Ez 18:31Lwaki ggwe n’abantu bo mufa ekitala, n’ekyeya ne kawumpuli Mukama by’agambye okutuuka ku nsi yonna eteefuuke muddu wa kabaka w’e Babulooni? 1427:14 Yer 14:14Towuliriza bigambo bya bannabbi abakugamba nti, ‘Tolibeera muddu wa kabaka w’e Babulooni,’ kubanga bakutegeeza bya bulimba. 1527:15 a Yer 23:21 b Yer 29:9 c Yer 6:15‘Sibatumanga,’ bw’ayogera Mukama. ‘Bawa obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Noolwekyo, nzija kubagobera wala muzikirire, mmwe ne bannabbi ababategeeza obunnabbi.’ ”

1627:16 2Bk 24:13; 2By 36:7, 10; Yer 28:3; Dan 1:2Olwo ne ŋŋamba bakabona n’abantu bano bonna nti, “Kino Mukama ky’agamba nti, Temuwuliriza bannabbi abagamba nti, ‘Amangu ddala ebintu by’omu nnyumba ya Mukama bijja kukomezebwawo okuva mu Babulooni.’ Bababuulira bunnabbi bwa bulimba. 17Temubawuliriza. Muweereze kabaka w’e Babulooni, mubeere balamu. Lwaki ekibuga kino kifuuka amatongo? 1827:18 1Sa 7:8Bwe baba bannabbi nga balina ekigambo kya Mukama, leka bakaabirire Mukama Katonda ow’Eggye nti ebintu eby’omuwendo ebikyasigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu lubiri lwa kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme kutwalibwa Babulooni. 1927:19 a 2Bk 25:13 b Yer 52:17-23Kubanga bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’ayogera ku mpagi, n’Ennyanja, okuteekebwa ebintu, n’ebintu ebirala ebisigadde mu kibuga kino, 2027:20 a 2By 36:10; Yer 24:1 b Yer 22:24kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni by’ataatwala lwe yatwala Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi. 21Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ku bikwata ku bibya ebyasigala mu nnyumba ya Mukama ne mu lubiri olwa kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti, 2227:22 a 2Bk 25:13 b 2By 36:21 c Ezr 1:7; 7:19‘Biritwalibwa mu Babulooni eyo gye birisigala okutuusa ku lunaku lwe ndibikima, olwo ndibikomyawo mbizze mu kifo kino,’ ” bw’ayogera Mukama.