约翰福音 9 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约翰福音 9:1-41

医治盲人

1耶稣在路上看见一个生来失明的人。 2门徒问耶稣:“老师,这个人生下来便双目失明,是因为他犯了罪呢,还是他父母犯了罪呢?”

3耶稣说:“不是他犯了罪,也不是他父母犯了罪,而是要在他身上彰显上帝的作为。 4趁着白天,我们必须做差我来者的工作,黑夜一到,就没有人能工作了。 5我在世上的时候,是世界的光。”

6耶稣讲完后,便吐唾沫在地上,用唾沫和泥抹在那盲人的眼睛上, 7对他说:“到西罗亚池去洗洗!”西罗亚是“奉差遣”的意思。那盲人照着去做,回来的时候已经能看见了。

8他的邻居和从前见他讨饭的人说:“他不是那个常在这里讨饭的人吗?”

9有人说:“是他。”有人说:“不是他,只是长得像他。”

他自己说:“我就是那个人。”

10他们问:“你的眼睛是怎么好的?”

11他回答说:“有一位叫耶稣的人和泥抹我的眼睛,叫我到西罗亚池子去洗。我照着去做,眼睛就能看见了。”

12他们问:“那个人现在在哪里?”他说:“我不知道。”

盘问复明的盲人

13他们就把这个从前失明的人带到法利赛人那里。 14耶稣和泥开他眼睛的那天是安息日。 15法利赛人也查问他的眼睛是怎么复明的。盲人便对他们说:“祂把泥抹在我的眼睛上,我去一洗,眼睛就看见了。”

16有些法利赛人说:“那个人不是从上帝那里来的,因为祂不守安息日。”有些人却说:“如果祂是个罪人,又怎能行这样的神迹呢?”他们就争论起来。

17于是,他们又问那个盲人:“既然祂开了你的眼睛,你认为祂是什么人?”

他说:“祂是先知。”

18犹太人不相信他以前是瞎眼的,现在能看见了,便叫来他的父母, 19问他们:“这是你们的儿子吗?你们不是说他生来就瞎眼吗?怎么现在能看见了?”

20他父母回答说:“我们知道他是我们的儿子,生来双目失明。 21至于他现在怎么能看见了,我们就不知道了。是谁医好了他,我们也不知道。他现在已经长大成人,你们可以去问他,他自己可以回答。”

22他父母因为害怕那些犹太人,所以才这样说,因为那些犹太人早就商量好了,谁承认耶稣是基督,就把他赶出会堂。 23因此他父母才说他已经长大成人,叫他们去问他。

24法利赛人又把那个从前失明的人叫来,对他说:“你应该把荣耀归给上帝9:24 这是古时叫人在上帝面前起誓说实话的惯用语,参见约书亚记7:19!我们知道那个人是罪人。”

25他说:“祂是不是罪人,我不知道;我只知道从前我是瞎眼的,现在能看见了。”

26他们就问他:“祂向你做了些什么?祂是怎样医好你眼睛的?”

27他回答说:“我已经告诉过你们了,你们不听,现在又问,难道你们也想做祂的门徒吗?”

28他们就骂他:“你才是祂的门徒!我们是摩西的门徒。 29我们知道上帝曾对摩西讲话,至于这个人,我们不知道祂是从哪里来的。”

30那人说:“祂开了我的眼睛,你们竟不知道祂从哪里来,真是奇怪。 31我们知道上帝不听罪人的祷告,只听那些敬拜祂、遵行祂旨意者的祷告。 32从创世以来,从未听过有人能把天生失明的人医好。 33如果这个人不是从上帝那里来的,就什么也不能做。”

34法利赛人斥责他:“你这生来就深陷罪中的家伙,居然敢教导我们!”于是把他赶了出去。

35耶稣听说了这事,后来祂找到这个人,对他说:“你信上帝的儿子吗?”

36他说:“先生,谁是上帝的儿子?我要信祂。”

37耶稣说:“你已经看见祂了,现在跟你说话的就是祂。”

38他说:“主啊!我信!”他就敬拜耶稣。

39耶稣说:“我为了审判来到这世界,使瞎眼的可以看见,使看得见的反成了瞎眼的。”

40有些跟祂在一起的法利赛人听了这句话,就问:“难道我们也瞎了眼吗?”

41耶稣说:“如果你们是瞎眼的,就没有罪了。但现在你们自称看得见,所以你们的罪还在。”

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 9:1-41

Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso

1Awo Yesu bwe yali ng’atambula, n’alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe w’amaaso. 29:2 a Mat 23:7 b nny 34; Luk 13:2; Bik 28:4 c Ez 18:20 d Kuv 20:5; Yob 21:19Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe w’amaaso?”

39:3 Yk 11:4Yesu n’addamu nti, “Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye. 49:4 Yk 11:9; 12:35Kale kitugwanidde okukola emirimu gy’oyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mw’atasobolera kukola. 59:5 Yk 1:4; 8:12; 12:46Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi.”

69:6 Mak 7:33; 8:23Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka n’atabula, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo. 79:7 a nny 11; 2Bk 5:10; Luk 13:4 b Is 35:5; Yk 11:37N’amugamba nti, “Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu,” amakulu nti, “Eyatumibwa”. Awo omusajja n’agenda, n’anaaba, n’adda ng’alaba.

89:8 Bik 3:2, 10Baliraanwa b’oyo eyawonyezebwa era n’abalala abaali bamumanyi nga muzibe w’amaaso, asabiriza, ne beebuuzaganya nti, “Ono si ye musajja oli eyatuulanga wali ng’asabiriza?” 9Abamu ne bagamba nti, “Ye ye,” abalala ne bagamba nti, “Nedda, anaamufaanana bufaananyi.” Kyokka ye n’abagamba nti, “Ye nze ddala.” 10Bo kwe ku mubuuza nti, “Kale amaaso go gaazibuse gatya?” 119:11 nny 7N’abategeeza nti, “Omuntu ayitibwa Yesu, yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, n’andagira nti, ‘Genda e Sirowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda ne naaba, ne nsobola okulaba.”

12Ne bamubuuza nti, “Ali ludda wa?” N’addamu nti, “Simanyi.”

Abafalisaayo Bakemekkereza Eyawonyezebwa

13Awo ne batwala omusajja eyali omuzibe w’amaaso eri Abafalisaayo. 149:14 Yk 5:9Olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka n’azibula omusajja oyo amaaso, lwali lwa Ssabbiiti. 159:15 nny 10Abafalisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo engeri gye yazibuka amaaso. Awo n’ababuulira ng’agamba nti, “Yesu yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, ne naaba, kaakano ndaba.”

169:16 a Mat 12:2 b Yk 6:52; 7:43; 10:19Abamu ku bo ne bagamba nti, “Omusajja oyo Yesu teyava wa Katonda kubanga takwata Ssabbiiti.” Kyokka abalala ne bagamba nti, “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola eby’amagero ebifaanana bwe bityo?” Ne wabaawo okwawukana kunene mu bo.

179:17 Mat 21:11Awo Abafalisaayo ne bakyukira omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo eyakuzibula amaaso olowooza wa ngeri ki?”

Omusajja n’addamu nti, “Ndowooza nnabbi.”

189:18 Yk 1:19Ne batakkiriza nti omusajja oyo yali muzibe, okutuusa lwe baayita abazadde be, 19ne bababuuza nti, “Ono mutabani wammwe? Era yazaalibwa nga muzibe wa maaso? Kale obanga bwe kiri kaakano asobola atya okulaba?”

20Bakadde be ne baddamu nti, “Tumanyi ng’oyo ye mutabani waffe era nga yazaalibwa muzibe wa maaso. 21Naye engeri gye yazibukamu amaaso tetugimanyi, era n’eyamuzibula amaaso tetumumanyi. Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize ajja kweyogerera.” 229:22 a Yk 7:13 b nny 34; Luk 6:22 c Yk 12:42; 16:2Ekyaboogeza batyo lwa kutya Bayudaaya. Kubanga Abayudaaya baali bamaze okuteesa nti buli ayatula nti Yesu ye Kristo agobebwe mu kuŋŋaaniro. 239:23 nny 21Ekyo kye kyaboogeza nti, “Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize.”

249:24 a Yos 7:19 b nny 16Awo ate ne bongera okuyita omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamugamba nti, “Gulumiza Katonda, kubanga tumanyi omusajja oyo mwonoonyi.”

25Omusajja n’addamu nti, “Oba mwonoonyi oba si mwonoonyi simanyi, wabula kye mmanyi kiri kimu nti nnali muzibe w’amaaso, naye kaakano ndaba.”

26Kyebaava bamubuuza nti, “Kiki kye yakola? Amaaso yagazibula atya?”

279:27 nny 15Omusajja n’addamu nti, “Nabategeezezza dda ne mutawuliriza. Lwaki ate mwagala mbaddiremu? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?” 289:28 Yk 5:45Ne bamuvuma ne bamugamba nti, “Ggwe oli muyigirizwa we. Naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. 299:29 Yk 8:14Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa, naye oyo tetumanyi gy’ava.”

30Ye n’addamu nti, “Kino kitalo, mmwe obutamanya gye yava ate nga nze yanzibula amaaso. 319:31 Lub 18:23-32; Zab 34:15, 16; 66:18; 145:19, 20; Nge 15:29; Is 1:15; 59:1, 2; Yk 15:7; Yak 5:16-18; 1Yk 5:14, 15Tumanyi nti Katonda tawulira balina bibi, naye awulira abo abamutya era abakola by’ayagala. 32Ensi kasookedde ebaawo tewalabikangawo yali azibudde maaso ga muntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. 339:33 nny 16; Yk 3:2Kale omuntu ono eyanzibula amaaso singa teyava wa Katonda ekyo teyandikisobodde.”

349:34 a nny 2 b nny 22, 35; Is 66:5Awo ne bamuboggolera nga bagamba nti, “Ggwe eyazaalirwa mu bibi, ggw’oyigiriza ffe?” Ne bamusindika ebweru.

Obuzibe bw’Amaaso ag’Omwoyo

35Yesu n’ategeera nga bamusindise ebweru. Bwe yamusanga n’amugamba nti, “Ggwe okkiriza Omwana w’Omuntu?”

369:36 Bar 10:14Omusajja n’amubuuza nti, “Ssebo, y’aluwa mmukkirize?”

379:37 Yk 4:26Yesu n’amugamba nti, “Omulabye, ye wuuyo ayogera naawe.”

389:38 Mat 28:9Omusajja n’agamba nti, “Mukama wange, nzikiriza!” N’amusinza.

399:39 a Yk 5:22 b Yk 3:19 c Luk 4:18 d Mat 13:13Awo Yesu n’agamba nti, “Najja mu nsi okusala omusango, abatalaba balabe, ate naabo abalaba babe bazibe ba maaso.”

409:40 Bar 2:19Abamu ku Bafalisaayo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ebigambo ebyo ne bamubuuza nti, “Ky’ogamba nti naffe tuli bazibe ba maaso?”

419:41 Yk 15:22, 24Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi. Naye kubanga mugamba nti tulaba, ekibi kyammwe kyekiva kibasigalako.”