约翰福音 5 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约翰福音 5:1-47

耶稣在毕士大池边治病

1这事以后,犹太人的一个节期到了,耶稣便上耶路撒冷2耶路撒冷靠近羊门的地方有一个水池,希伯来话叫毕士大,池边有五条走廊, 3里面躺着瞎眼的、瘸腿的、瘫痪的等许多病人。 4他们都在等候天使来搅动池水。水动时,第一个下去的,无论患什么病都会痊愈。5:4 有些经卷无“他们都在等候天使来搅动池水。水动时,第一个下去的,无论患了什么病都会痊愈。”

5那里有一个人病了三十八年。 6耶稣看他躺着,知道他病了很久,就问他:“你想痊愈吗?”

7那人回答说:“先生,水动的时候,没有人把我放进池子里,我要下去的时候,别人总是先我一步。”

8耶稣对他说:“起来,拿起你的垫子走吧!”

9那人立刻痊愈了,拿起垫子开始行走。那天正好是安息日, 10犹太人便对那人说:“今天是安息日,你不可拿着垫子走路。”

11他说:“那位医好我的叫我拿起垫子走。”

12他们问他:“叫你拿起垫子走的人是谁?”

13那人不知道是谁,因为那里人多,耶稣已经躲开了。

14后来,耶稣在圣殿里遇见他,对他说:“现在你已经完全好了,别再犯罪了,免得你遭遇更不幸的事。”

15那人便去告诉犹太人医好他的是耶稣。 16因为耶稣在安息日给人治病,犹太人开始迫害祂。 17耶稣对他们说:“我父一直在工作,我也一直在工作。”

18犹太人听了,更想杀祂,因祂不但违犯了安息日的规矩,还称上帝为父,把自己看作与上帝平等。

圣子的权柄

19耶稣说:“我实实在在地告诉你们,子凭自己什么都不能做,唯有看见父做什么,子才做什么。无论父做什么,子也照样做。 20父因为爱子,便把自己的一切作为给祂看,而且还要把比这些更大的作为给祂看,叫你们惊奇。 21父如何使死人复活、赐生命给他们,子也照样想赐生命给谁,就赐给谁。 22父不审判人,祂将审判的事全交给子, 23叫人尊敬子如同尊敬父。不尊敬子的,就是不尊敬差子来的父。

24“我实实在在地告诉你们,谁听从我的话,又信差我来的那位,谁就有永生,不被定罪,已经出死入生了。 25我实实在在地告诉你们,时候快到了,现在就是,死人将听见上帝儿子的声音,听见的将存活。 26因为正如父自己是生命的源头,祂也同样让子作生命的源头, 27又把审判的权柄交给祂,因为祂是人子。 28你们不要因此而惊奇,时候一到,一切在坟墓里的死人都要听见上帝儿子的声音, 29他们都要从坟墓里出来。行善的人复活后得永生,作恶的人复活后被定罪。”

见证耶稣

30耶稣继续说:“我凭自己不能做什么,我按父上帝的旨意审判,我的审判是公平的;因为我不是按自己的旨意行,而是按差我来者的旨意行。

31“如果我为自己做见证,我的见证是无效的。 32然而,有别的人给我做见证,我知道他为我做的见证是真实的。 33你们曾派人到约翰那里,他为真理做过见证。 34其实我并不需要人的见证,我之所以提起这些事是为了使你们得救。 35约翰是一盏点亮的明灯,你们情愿暂时享受他的光。 36但是我有比约翰更大的见证,因为父交待我去完成的工作,就是我现在所做的工作,证明我是父差来的。 37差我来的父曾亲自为我做过见证。你们从未听过祂的声音,从未见过祂, 38心里也没有祂的道,因为你们不信祂所差来的那位。 39你们研读圣经,以为从圣经中可以得到永生。其实为我做见证的正是这圣经, 40但你们却不肯到我这里来得生命。

41“我不接受人所给予的荣耀, 42我知道你们没有爱上帝的心。 43我奉我父的名来,你们不接受我;若有人奉自己的名来,你们却接受他。 44你们喜欢互相恭维,却不追求从独一上帝来的荣耀,怎能信我呢? 45不要以为我会在父面前控告你们,其实控告你们的是你们一直信赖的摩西46你们若信摩西,就应该信我,因为他的书里也提到我。 47如果你们连他写的都不信,又怎能信我的话呢?”

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 5:1-47

Yesu Awonyeza ku Kidiba

1Oluvannyuma Yesu n’addayo e Yerusaalemi abeewo ku emu ku mbaga z’Abayudaaya. 25:2 a Nek 3:1; 12:39 b Yk 19:13, 17, 20; 20:16; Bik 21:40; 22:2; 26:14Munda mu Yerusaalemi, okumpi n’Omulyango gw’Endiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola. 3Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe b’amaaso, n’abakoozimbye. 4Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama n’ajja n’atabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa, ng’awonyezebwa. 5Waaliwo omusajja eyali yaakalwalira emyaka amakumi asatu mu munaana. 6Yesu bwe yamulaba n’amanya nga bw’amaze ebbanga eddene nga mulwadde, n’amubuuza nti, “Oyagala okuwonyezebwa?”

7Omusajja omulwadde n’amuddamu nti, “Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ng’omulala yansoose dda.”

85:8 Mat 9:5, 6; Mak 2:11; Luk 5:24Yesu n’amugamba nti, “Situka ozingeko omukeeka gwo otambule.” 95:9 Yk 9:14Amangwago omusajja n’awonyezebwa. N’azingako omukeeka gwe ne yeetambulira.

Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti. 105:10 a nny 16 b Nek 13:15-22; Yer 17:21; Mat 12:2Abayudaaya kyebaava bagamba omusajja awonyezebbwa nti, “Toteekwa kwetikka mukeeka gwo ku Ssabbiiti, oba omenye etteeka lya Ssabbiiti.”

11Ye n’addamu nti, “Omuntu amponyezza y’aŋŋambye nti, ‘Situlawo omukeeka gwo otambule.’ ”

12Ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo ye ani eyakugambye okusitula omukeeka gwo otambule?”

13Kyokka omusajja eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.

145:14 Mak 2:5; Yk 8:11Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’amulaba mu Yeekaalu, n’amugamba nti, “Kaakano oli mulamu, naye toddangamu okwonoona, akabi akasingawo kaleme okukutuukako.” 155:15 Yk 1:19Omuntu oyo n’agenda n’ategeeza Abayudaaya nti Yesu ye yamuwonya.

16Okuva olwo Abayudaaya ne batandika okuyigganya Yesu, kubanga yakolanga ebintu ebifaanana ng’ekyo ku Ssabbiiti. 175:17 Yk 9:4; 14:10Yesu n’abaddamu nti, “Kitange bulijjo akola, nange nteekwa okukola.” 185:18 a Yk 7:1 b Yk 10:30, 33; 19:7Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya mateeka ga Ssabbiiti kyokka, naye yeeyita Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanaankana ne Katonda.

195:19 nny 30; Yk 8:28Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana taliiko ky’akola ku bubwe, wabula ekyo ky’alaba Kitaawe ng’akola. Kubanga ye by’akola n’Omwana by’akola. 205:20 a Yk 3:35 b Yk 14:12Kubanga Kitaawe w’Omwana ayagala Omwana we era amulaga ky’akola, era Omwana ajja kukola ebyamagero bingi ebyewuunyisa okusinga na bino. 215:21 a Bar 4:17; 8:11 b Yk 11:25Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’azuukiza abafu, bw’atyo n’Omwana awa obulamu abo baayagala. 225:22 nny 27; Yk 9:39; Bik 10:42; 17:31Era Kitaawe w’Omwana talina n’omu gw’asalira musango, naye obuyinza obw’okusala emisango gyonna yabuwa Omwana we, 235:23 Luk 10:16; 1Yk 2:23abantu bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa nga bwe bassa mu Kitaawe ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Kitaawe eyamutuma tamussaamu kitiibwa.

245:24 a Yk 3:18 b 1Yk 3:14“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu. 255:25 a Yk 4:23 b Yk 8:43, 47Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu. 26Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’alina obulamu mu ye, bw’atyo bwe yawa Omwana okuba n’obulamu mu ye, 275:27 nny 22; Bik 10:42era yamuwa obuyinza okusalira abantu emisango, kubanga ye Mwana w’Omuntu.

285:28 Yk 4:21“Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye 295:29 Dan 12:2; Mat 25:46ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa. 305:30 a nny 19 b Yk 8:16 c Mat 26:39; Yk 4:34Kyokka Nze siyinza kukola kintu kyonna ku bwange. Kitange nga bw’aŋŋamba bwe nkola, era n’omusango gwe nsala gwa nsonga kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala. 315:31 Yk 8:14Singa nneeyogerako nzekka, bye nneyogerako tebiba bya mazima. 325:32 nny 37; Yk 8:18Waliwo ategeeza gwe ndi, era mmanyi nga bya njogerako bya mazima.

335:33 Yk 1:7“Mmwe mwatuma ababaka eri Yokaana, era ayogedde eby’amazima. 345:34 1Yk 5:9Ebigambo ebinkakasa tebiva mu muntu, naye ebyo mbyogera mulyoke mulokolebwe. 355:35 2Pe 1:19Oyo ye yali ettaala eyayaka okubaleetera ekitangaala, ne musalawo mubeere mu kitangaala ekyo akaseera katono.

365:36 a 1Yk 5:9 b Yk 14:11; 15:24 c Yk 3:17; 10:25“Naye nnina ebinkakasa okukira ebyo ebya Yokaana, bye byamagero bye nkola, Kitange bye yampa, era bikakasa nti Kitange ye yantuma 375:37 a Yk 8:18 b Ma 4:12; 1Ti 1:17; Yk 1:18ne Kitange yennyini eyantuma akakasa ebinkwatako. Temuwuliranga ku ddoboozi lye wadde okulaba ekifaananyi kye. 385:38 a 1Yk 2:14 b Yk 3:17N’ekigambo kye tekiri mu mmwe, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma. 395:39 a Bar 2:17, 18 b Luk 24:27, 44; Bik 13:27Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira. 40Naye temwagala kujja gye ndi mulyoke mufune obulamu obutaggwaawo.

415:41 nny 44“Sinoonya kusiimibwa bantu. 42Naye mmwe mbamanyi temuliimu kwagala kwa Katonda. 43Nzize mu linnya lya Kitange ne mutannyaniriza. Omulala bw’anajja ku bubwe oyo mujja kumwaniriza. 445:44 Bar 2:29Kale muyinza mutya okukkiriza nga munoonya kusiimibwa bantu bannammwe, so nga temunoonya kusiimibwa Katonda oyo Omu yekka?

455:45 a Yk 9:28 b Bar 2:17“Naye temulowooza nti ndibawawaabira eri Kitange. Abawawaabira ye Musa, mmwe gwe mulinamu essuubi. 465:46 Lub 3:15; Luk 24:27, 44; Bik 26:22Singa Musa mumukkiriza, nange mwandinzikirizza, kubanga yampandiikako. 475:47 Luk 16:29, 31Kale obanga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya ebigambo byange?”